LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • T-33 lup. 1-4
  • Ddala Ani Afuga Ensi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ddala Ani Afuga Ensi?
  • Ddala Ani Afuga Ensi?
  • Similar Material
  • Olowooza ki ku Biseera eby’Omu Maaso?
    Olowooza Ki ku Biseera eby’Omu Maaso?
  • Obwakabaka bwa Katonda kye ki?
    Obwakabaka bwa Katonda kye ki?
  • Ddala abafu basobola okuddamu okuba abalamu?
    Ddala abafu basobola okuddamu okuba abalamu?
  • Okubonaabona kuliggwaawo?
    Okubonaabona Kuliggwaawo?
See More
Ddala Ani Afuga Ensi?
T-33 lup. 1-4

Ddala Ani Afuga Ensi?

Olowooza . . .

  • Katonda?

  • bantu?

  • Sitaani?

BAYIBULI KY’EGAMBA

“Omubi y’afuga ensi yonna.”​—1 Yokaana 5:19.

“Omwana wa Katonda yajja . . . azikirize ebikolwa by’omulyolyomi.”​—1 Yokaana 3:8, New Century Version.

OMUGANYULO OGULI MU KUMANYA EKYO

Otegeera ekiviirako ebizibu ebiriwo mu nsi.​—Okubikkulirwa 12:12.

Oba n’essuubi nti Katonda ajja kutereeza ensi.​—1 Yokaana 2:17.

Sitaani alina obuyinza ku by’obufuzi, eby’amagye, amadiini, n’abantu

TUSOBOLA OKUKKIRIZA EKYO BAYIBULI KY’EGAMBA

Lwa nsonga nga ssatu:

  • Obufuzi bwa Sitaani bujja kuggibwawo. Yakuwa agenda kuggyawo obufuzi bwa Sitaani ku nsi. Asuubiza ‘okuzikiriza Sitaani,’ amalewo ebizibu byonna Sitaani by’aleese.​—Abebbulaniya 2:14, Enkyusa ey’Ensi Empya.

  • Katonda alonze Yesu Kristo okuba omufuzi w’ensi. Yesu wa njawulo nnyo ku mufuzi w’ensi ono omukambwe era eyeefaako yekka. Ng’ayogera ku bufuzi bwa Yesu, Katonda agamba nti: ‘Anaasaasiranga abanaku n’abaavu. Anaabawonyanga okunyigirizibwa era n’ebikolwa eby’obukambwe.’​—Zabbuli 72:13, 14.

  • Katonda tayinza kulimba. Bayibuli egamba nti: “Katonda tayinza kulimba.” (Abebbulaniya 6:18) Yakuwa bw’asuubiza okukola ekintu aba ng’amaze okukikola! (Isaaya 55:10, 11) “Omufuzi w’ensi eno ajja kugoberwa ebweru.”​—Yokaana 12:31.

KY’OYINZA OKULOWOOZAAKO

ab’omu maka nga batambulirako wamu era nga basanyufu

Ensi eribeera etya ng’omufuzi waayo aggiddwawo?

Bayibuli eddamu ekibuuzo ekyo mu ZABBULI 37:10, 11 ne OKUBIKKULIRWA 21:3, 4.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share