Ebirimu
3 Obuweereza Bwo Bulinga Omusulo?
WIIKI YA MAAYI 30, 2016–JJUUNI 5, 2016
5 Bwe Twoleka Okukkiriza, Tusiimibwa Katonda
Ekitundu kino kitulaga ekyayamba Yefusa ne muwala we okunywerera ku misingi gya Yakuwa wadde nga baayolekagana n’okusoomooza okw’amaanyi. Ate era kiraga ensonga lwaki okusiimibwa mu maaso ga Katonda kisinga ekintu ekirala kyonna.
10 Obusobozi bw’Olina obw’Okukuba Akafaananyi Obukozesa Bulungi?
WIIKI YA JJUUNI 6-12, 2016
13 “Muleke Obugumiikiriza Butuukirize Omulimu Gwabwo”
Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo tulina okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero. Ekitundu kino kiraga ebintu bina ebisobola okutuyamba okugumiikiriza n’ebyokulabirako by’abantu basatu abaayoleka obugumiikiriza. Era kiraga omulimu obugumiikiriza gwe bulina okutuukiriza.
WIIKI YA JJUUNI 13-19, 2016
18 Lwaki Tusaanidde Okukuŋŋaananga Awamu Okusinza?
Abakristaayo bonna boolekagana n’ebintu ebiyinza okukifuula ekizibu okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa. Okusobola okulaba ensonga lwaki kikulu okubangawo mu nkuŋŋaana, ekitundu kino kiraga engeri okubaawo kwaffe mu nkuŋŋaana gye kituganyula, gye kikwata ku balala, n’engeri gye kikwata ku Yakuwa.
23 Ebyafaayo—Abaali Ababiikira Baafuuka Baweereza ba Yakuwa
WIIKI YA JJUUNI 20-26, 2016
27 Tobaako Ludda lw’Owagira mu Bintu by’Ensi Eno Eyeeyawuddemu
Ng’enkomerero egenda esembera, tusuubira nti gavumenti z’abantu zijja kweyongera okutupikiriza okubaako oludda lwe tuwagira mu by’obufuzi. Ekitundu kino kiraga ebintu bina ebisobola okutuyamba okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira.