Ogw’Okusoma mu Kibiina
APULI 2016
EBITUNDU EBY’OKUSOMA OKUVA NGA: MAAYI 30–JJUUNI 26, 2016
© 2016 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
EKIFAANANYI KU DDIBA:
COLOMBIA
Abawayu baagala nnyo okuwulira ebintu ebikwata ku Katonda. Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okubatuusaako amawulire amalungi. Abawayu bakugu mu by’emikono era ebintu byabwe batera okubitunda mu kibuga. Mu kibuga Abajulirwa ba Yakuwa babatuusaako amawulire amalungi nga babuulira mu bifo ebya lukale.
ABABUULIZI
166,049
ABAYIZI BA BAYIBULI
229,723
ABAALIWO KU KIJJUKIZO (2015)
510,952
Akatabo kano tekatundibwa. Ke kamu ku ebyo ebikozesebwa mu mulimu gw’okuyigiriza abantu Bayibuli mu nsi yonna. Ssente ezikozesebwa mu mulimu guno ziweebwayo kyeyagalire.
Bw’oba oyagala okubaako ky’owaayo, genda ku www.pr418.com/lg.
Ebyawandiikibwa ebijuliziddwa mu katabo kano biggiddwa mu Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya. Enkyusa ya Bayibuli endala bw’eba ejuliziddwa, kijja kulagibwa.