Ebirimu
WIIKI YA OKITOBBA 24-30, 2016
WIIKI YA OKITOBBA 31, 2016–NOOVEMBA 6, 2016
8 Weeyongere Okulwanirira Omukisa gwa Yakuwa
Ebizibu n’ebintu ebitweraliikiriza bisobola okutumalamu amaanyi. Laba engeri Yakuwa gy’ayinza okukozesaamu omukono gwe ogw’amaanyi okutunyweza n’okutuyamba okuguma. Era laba by’oyinza okukola okusobola ‘okulwanirira’ omukisa gwa Yakuwa.
14 Okulwanirira Amawulire Amalungi mu Mateeka
WIIKI YA NOOVEMBA 7-13, 2016
17 Engeri gy’Oyambalamu Eweesa Katonda Ekitiibwa?
Abaweereza ba Katonda baagala okwambala n’okwekolako mu ngeri esaana, ekkirizibwa mu kitundu mwe babeera, era etuukana n’emisingi gya Bayibuli. Kiki ky’oyinza okukola okukakasa nti engeri gy’oyambalamu eweesa Katonda ekitiibwa?
22 Ganyulwa mu Bulagirizi Yakuwa bw’Atuwa Leero
WIIKI YA NOOVEMBA 14-20, 2016
23 Abavubuka, Munyweze Okukkiriza Kwammwe
WIIKI YA NOOVEMBA 21-27, 2016
28 Abazadde, Muyambe Abaana Bammwe Okuzimba Okukkiriza Kwabwe
Ebitundu bino biraga engeri abavubuka gye bayinza okukozesaamu obusobozi bwabwe obw’okulowooza okunyweza okukkiriza kwabwe n’okulwanirira enzikiriza yaabwe. Era biraga engeri abazadde gye basobola okuyamba abaana baabwe okukkiririza mu Katonda ne mu Kigambo kye.