Abo abanaawonawo ng’enkomerero etuuse bajja kubeera mu nsi erabika obulungi
Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
Ddala tuli mu “nnaku ez’enkomerero”?
Wandizzeemu otya?
Yee
Nedda
Kirabika
Bayibuli ky’egamba
“Mu nnaku ez’enkomerero, ebiseera biriba bizibu nnyo.” (2 Timoseewo 3:1) Obunnabi obuli mu Bayibuli n’ebiriwo mu nsi biraga nti tuli mu “nnaku ez’enkomerero.”
Ebirala bye tuyiga mu Bayibuli
Mu nnaku ez’enkomerero wandibaddewo entalo, musisi, enjala, n’endwadde ez’amaanyi.—Matayo 24:3, 7; Lukka 21:11.
Mu nnaku ez’enkomerero, abantu bandibadde beeyisa bubi, era nga tebaagala Katonda.—2 Timoseewo 3:2-5.
Ebiseera eby’omu maaso binaaba bitya?
Abantu abamu balowooza . . . nti ensi ejja kuzikirizibwa awamu n’abantu bonna abagiriko, ate abalala balowooza nti embeera ejja kutereera. Ggwe olowooza otya?
Bayibuli ky’egamba
“Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:29.
Ebirala bye tuyiga mu Bayibuli
Katonda ajja kuggyawo ebintu ebibi byonna.—1 Yokaana 2:17.
Ensi ejja kulongoosebwa ebeere ng’erabika bulungi nnyo.—Isaaya 35:1, 6.