Ensonga Lwaki Kikulu Okuba Omwetoowaze
“Abeetoowaze baba ba magezi.”—NGE. 11:2.
1, 2. Lwaki Yakuwa yaggyako Sawulo obwakabaka? (Laba ekifaananyi waggulu.)
KABAKA SAWULO owa Isirayiri we yatandikira okufuga yali mwetoowaze era ng’assibwamu nnyo ekitiibwa. (1 Sam. 9:1, 2, 21; 10:20-24) Naye oluvannyuma lw’ekiseera, yatandika okwetulinkiriza. Ng’ekyokulabirako, Samwiri, nnabbi wa Katonda, bwe yalwawo okutuuka e Girugaali nga bwe baali balagaanye, Sawulo yalekera awo okuba omugumiikiriza. Abafirisuuti baali bateekateeka okulumba Abayisirayiri era ng’Abayisirayiri batandise okulekawo Sawulo. Sawulo ayinza okuba nga yagamba nti, ‘Nnina okubaako kye nkolawo mu bwangu.’ Bwe kityo, yawaayo ekiweebwayo eri Katonda, ekintu kye yali tasaanidde kukola. Ekyo kyanyiiza Yakuwa.—1 Sam. 13:5-9.
2 Samwiri bwe yatuuka e Girugaali, yanenya Sawulo olw’ekyo kye yali akoze. Naye mu kifo ky’okukkiriza ensobi ye, Sawulo yagezaako okwekwasa obusongasonga n’okulaga nti ensobi gye yali akoze teyali ya maanyi nnyo. (1 Sam. 13:10-14) Ekyo kyaviirako Sawulo okuggibwako obwakabaka n’okufiirwa enkolagana ye ne Yakuwa. (1 Sam. 15:22, 23) Wadde ng’obufuzi bwa Sawulo bwatandika bulungi, enkomerero ye yali mbi ddala.—1 Sam. 31:1-6.
3. (a) Ndowooza ki bangi gye balina ku kuba abeetoowaze? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu?
3 Mu nsi eno ejjudde okuvuganya, abantu bangi balowooza nti okusobola okututumuka, balina okwetwala nga ba waggulu ku balala. Ekyo kibaleetedde obutaba beetoowaze. Ng’ekyokulabirako, omuzannyi wa firimu omu omututumufu eyafuuka munnabyabufuzi yagamba nti: “Nze sisobola kuba mwetoowaze era sisuubira nti lumu lulikya ne mba mwetoowaze.” Naye lwaki kikulu okuba omwetoowaze? Okuba omwetoowaze kitegeeza ki, era kiki kye kitategeeza? Tuyinza tutya okusigala nga tuli beetoowaze ne mu mbeera enzibu? Mu kitundu kino tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo ebibiri ebisooka. Ate kyo ekibuuzo eky’okusatu kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.
LWAKI KIKULU OKUBA OMWETOOWAZE?
4. Omuntu eyeetulinkiriza aba atya?
4 Bayibuli eraga nti omuntu omwetoowaze yeewala okwetulinkiriza. (Soma Engero 11:2.) Eyo ye nsonga lwaki Dawudi yasaba Yakuwa ‘amuyambe okwewala ebikolwa eby’okwetulinkiriza.’ (Zab. 19:13) Omuntu eyeetulinkiriza aba atya? Omuntu eyeetulinkiriza akola ebintu nga talina buyinza kubikola. Kyokka olw’okuba tetutuukiridde, emirundi egimu twetulinkiriza. Naye ng’ebyo bye tusoma ku Kabaka Sawulo bwe biraga, bwe tutafuba kwewala kwetulinkiriza, tujja kufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa. Nga woogera ku Yakuwa, Zabbuli 119:21 wagamba nti: “Onenya abeetulinkiriza.” Lwaki Yakuwa tasanyukira bantu ng’abo?
5. Lwaki kya kabi okwetulinkiriza?
5 Lwaki kya kabi okwetulinkiriza? Okusookera ddala, omuntu eyeetulinkiriza aba tassa kitiibwa mu Yakuwa Omufuzi w’Obutonde Bwonna. Eky’okubiri, bwe tukola ebintu bye tutaaweebwa buyinza kukola, tuyinza okufuna obutategeeragana n’abalala. (Nge. 13:10) N’eky’okusatu, abalala bwe bakimanya nti twetulinkirizza, tuyinza okuswala. (Luk. 14:8, 9) Okwetulinkiriza tekuvaamu kalungi konna. N’olwekyo, ng’Ebyawandiikibwa bwe biraga, kikulu okuba abeetoowaze.
OKUBA OMWETOOWAZE KIZINGIRAMU KI?
6, 7. Omuntu omwetoowaze afaanana atya?
6 Omuntu omwetoowaze taba wa malala. Omuntu omwetoowaze teyeetwala kuba wa waggulu ku balala. (Baf. 2:3) Omuntu oyo akkiriza ensobi ze era akkiriza okuwabulwa.
7 Okugatta ku ekyo, omuntu omwetoowaze aba amanyi obusobozi bwe we bukoma, era ekyo kyeyolekera ne mu ngeri gy’akolaganamu n’abalala. Omuntu omwetoowaze asanyusa Yakuwa.
8. Ebimu ku bintu ebiyinza okulaga nti omuntu takyali mwetoowaze bye biruwa?
8 Biki ebiyinza okulaga nti omuntu takyali mwetoowaze? Lowooza ku bintu bino wammanga. Ayinza okuba nga yeetwala okuba ow’ekitalo, oboolyawo olw’enkizo z’alina oba olw’okuba alina mikwano gye abalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina. (Bar. 12:16) Oba ayinza okuba ng’ayagala nnyo abalala okumumalirako ebirowoozo. (1 Tim. 2:9, 10) Oba ayinza okuba ng’akakaatika endowooza ze ku balala. (1 Kol. 4:6) Emirundi mingi omuntu ng’oyo ayinza n’obutakimanya nti takyali mwetoowaze.
9. Biki ebireetera abantu abamu okuba ab’amalala? Waayo ekyokulabirako okuva mu Bayibuli.
9 Singa omuntu yenna akkiriza okutwalirizibwa okwegomba okubi okw’omubiri, kisobola okumuleetera okuba ow’amalala. Okwagala ennyo ebitiibwa, obuggya, n’obutafuga busungu kireetedde bangi okuba ab’amalala oba okwetulinkiriza. Engeri ezo embi zaaletera abantu gamba nga Abusaalomu, Uzziya, ne Nebukadduneeza okwoleka amalala era Yakuwa n’ababonereza.—2 Sam. 15:1-6; 18:9-17; 2 Byom. 26:16-21; Dan. 5:18-21.
10. Lwaki tusaanidde okwewala okusalira abalala omusango? Waayo ekyokulabirako okuva mu Bayibuli.
10 Kyokka waliwo n’ensonga endala eziyinza okuleetera omuntu okwoleka amalala oba okwetulinkiriza. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo ebyogerwako mu Olubereberye 20:2-7 ne mu Matayo 26:31-35. Okuba nti Abimereki yeetulinkiriza n’okuba nti Peetero yayoleka amalala, kyava ku kuba nti abasajja abo baali batwaliriziddwa okwegomba okubi okw’omubiri? Oba kyandiba nti abasajja abo baali tebamanyi bumanya byonna ebyali ebizingirwamu, bwe kityo ne beesanga nga bakoze ensobi? Okuva bwe kiri nti tetusobola kumanya kiri mu mitima gy’abantu, tusaanidde okwewala okusalira abalala omusango.—Soma Yakobo 4:12.
TUSAANIDDE OKUMANYA EKIFO KYAFFE
11. Okumanya ekifo kye tulina mu kibiina kya Yakuwa kiyinza kitya okutuyamba okuba abeetoowaze?
11 Okusobola okuba abeetoowaze, tulina okusooka okumanya ekifo kye tulina mu kibiina kya Yakuwa. Okuva bwe kiri nti Katonda wa ntegeke, buli omu ku ffe amuwa ekifo mu kibiina kye. Wadde nga buli omu ku ffe alina ekifo kya njawulo mu kibiina, buli omu wa muwendo nnyo. Olw’ekisa kye eky’ensusso, Yakuwa awadde buli omu ku ffe ebirabo, obusobozi, n’ebitone ebitali bimu. Tusaanidde okukozesa ebintu ebyo okumugulumiza n’okuyamba abalala. (Bar. 12:4-8) Mu butuufu, buli omu ku ffe Yakuwa amukwasizza obuvunaanyizibwa obw’amaanyi era amusuubira okubukozesa obulungi.—Soma 1 Peetero 4:10.
Tuyinza tutya okukoppa Yesu nga tuweereddwa obuvunaanyizibwa obulala mu kibiina? (Laba akatundu 12-14)
12, 13. Lwaki tekyanditwewuunyisizza bwe wabaawo enkyukakyuka mu buvunaanyizibwa bwe tulina mu kibiina kya Yakuwa?
12 Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, obuvunaanyizibwa bwe tulina mu kibiina kya Yakuwa busobola okukyuka. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Yesu. Mu kusooka, Yesu ne Kitaawe baali babeera bokka. (Nge. 8:22) Oluvannyuma Yesu yakolera wamu ne Kitaawe mu kutonda bamalayika, obwengula, n’abantu. (Bak. 1:16) Nga wayise emyaka mingi, Yesu yatumibwa ku nsi n’azaalibwa ng’omwana era n’akula. (Baf. 2:7) Oluvannyuma lw’okuwaayo obulamu bwe era n’azuukira, Yesu yaddayo mu ggulu ng’ekitonde eky’omwoyo, era mu 1914 yafuuka Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. (Beb. 2:9) Kyokka eyo si ye nkyukakyuka eyasembayo mu bulamu bwa Yesu. Oluvannyuma lw’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi, Yesu ajja kuwaayo Obwakabaka eri Katonda, “Katonda alyoke abeere byonna eri buli omu.”—1 Kol. 15:28.
13 Mu ngeri y’emu, naffe ekiseera bwe kigenda kiyitawo, obuvunaanyizibwa bwe tulina mu kibiina kya Yakuwa bukyuka, ng’ekyo emirundi mingi kiva ku ebyo bye tuba tusazeewo. Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba nga tewali mufumbo naye kati ng’oli mufumbo. Oba oyinza okuba nga kati wazaala abaana. Oba kiyinzika okuba nti mu myaka gyo egy’obukadde oliko bye weerekereza n’osalawo okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. K’obe nga wasalawo otya, ekyo kye wasalawo kyakuleetera okufuna obuvunaanyizibwa obulala oba enkizo endala. Enkyukakyuka ezibaawo mu bulamu bwaffe, ziyinza okutuleetera okwongera ku buvunaanyizibwa bwe tulina mu kibiina oba okubukendeeza. Oli muvubuka oba okuze mu myaka? Oli mulamu bulungi oba olwalalwala? Yakuwa amanyi engeri esingayo obulungi buli omu ku ffe gy’asobola okukozesebwamu mu kibiina kye. Tatusuubira kukola kusukka ku ekyo kye tusobola, era asiima nnyo ebyo bye tukola.—Beb. 6:10.
14. Okuba abeetoowaze kituyamba kitya okusigala nga tuli basanyufu nga tuweereza Yakuwa?
14 Yesu yasanyukira emirimu gyonna gye yaweebwanga okukola mu kibiina kya Yakuwa, era tusaanidde okumukoppa. (Nge. 8:30, 31) Omuntu omwetoowaze aba mumativu n’enkizo z’alina mu kibiina. Ebirowoozo bye tabimalira ku nkizo z’atannafuna oba ku nkizo abalala ze baba bafunye. Mu kifo ky’ekyo, afuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’alina mu kibiina era aba musanyufu kubanga aba akimanyi nti obuvunaanyizibwa bw’alina buva eri Yakuwa. Mu kiseera kye kimu, assa ekitiibwa mu kifo abalala kye balina mu kibiina kya Yakuwa. Okuba abeetoowaze kituleetera okussa ekitiibwa mu balala n’okubayamba.—Bar. 12:10.
OKUBA OMWETOOWAZE KYE KITATEGEEZA
15. Gidiyooni yateekawo atya ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obwetoowaze?
15 Gidiyooni yateekawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obwetoowaze. Malayika wa Yakuwa bwe yamulabikira, Gidiyooni yayogera ebigambo ebiraga nti yali mwetoowaze. (Balam. 6:15) Oluvannyuma lw’okukkiriza omulimu Yakuwa gwe yali amuwadde, Gidiyooni yafuba okutegeera ebyo Yakuwa bye yali amwetaagisa okukola, era n’asaba Yakuwa amuwe obulagirizi. (Balam. 6:36-40) Gidiyooni yali muvumu. Wadde kyali kityo, yali musajja mwegendereza. (Balam. 6:11, 27) Teyakozesa nkizo eyali emuweereddwa kwenoonyeza ttutumu. Bwe yamala okukola omulimu ogwali gumuweereddwa, Gidiyooni yaddayo ewuwe.—Balam. 8:22, 23, 29.
16, 17. Biki omuntu omwetoowaze by’asooka okulowoozaako nga tannakkiriza buvunaanyizibwa bulala?
16 Okumanya obusobozi bwaffe we bukoma tekitegeeza nti tetulina kuluubirira nkizo mu kibiina oba kwongera ku buweereza bwaffe. Ffenna Ebyawandiikibwa bitukubiriza okukulaakulana. (1 Tim. 4:13-15) Kati olwo tugambe nti okusobola okukulaakulana tulina kusooka kuweebwa nkizo ndala? Nedda. Tusobola okukulaakulana mu by’omwoyo ne bwe tuba nti tetuweereddwa nkizo ndala. Tusobola okweyongera okukulaakulanya obusobozi Yakuwa bwe yatuwa n’okwongera okukola ebikolwa ebirungi.
17 Bw’aba tannakkiriza buvunaanyizibwa obumu, omuntu omwetoowaze asooka n’amanya ebizingirwamu. Olwo nno aba asobola okulaba obanga embeera ye emusobozesa okubutuukiriza. Yeebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Nnaasobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa buno awatali kulagajjalira bintu ebirala ebikulu? Egimu ku mirimu gye nkola nsobola okugikwasa abalala nsobole okutuukiriza obuvunaanyizibwa obupya bwe baagala okunkwasa?’ Bwe kiba nti ekimu ku bibuuzo ebyo aba azzeemu nti nedda, ekyo kiyinza okuba nga kiraga nti kyandibadde kirungi obuvunaanyizibwa obwo buweebwe omuntu omulala asobola okubutuukiriza obulungi. Bwe tusaba Yakuwa atuwe amagezi era ne twekebera mu bwesimbu kisobola okutuyamba okwewala okukola ebintu ebisukka ku busobozi bwaffe. Bwe tuba abeetoowaze kisobola okutuyamba okugaana obuvunaanyizibwa obwo.
18. (a) Obwetoowaze bunaatukubiriza kukola ki nga tukwasiddwa obuvunaanyizibwa obulala? (b) Okusinziira ku Abaruumi 12:3, omuntu omwetoowaze alina kwetwala atya?
18 Ng’ekyokulabirako kya Gidiyooni bwe kiraga, bwe tuba ab’okutuukiriza obuvunaanyizibwa obupya obuba butuweereddwa, tulina okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa n’okumusaba atuyambe. Bayibuli etukubiriza ‘okuba abeetoowaze nga tutambula ne Katonda.’ (Mi. 6:8) N’olwekyo, bwe tuweebwa obuvunaanyizibwa obulala, tusaanide okusaba Yakuwa n’okufumiitiriza ku ebyo by’atugamba okuyitira mu Kigambo kye n’ekibiina kye. Tulina okutuukanya amakubo gaffe n’amakubo ga Yakuwa. Ka bulijjo tukijjukire nti ‘obwetoowaze bwa Yakuwa bwe butufuula ab’ekitiibwa.’ (Zab. 18:35) Bwe tuba abeetoowaze tetujja kwetwala kuba ba kitalo, ate era tetujja kwenyooma.—Soma Abaruumi 12:3.
19. Lwaki tulina okuba abeetoowaze?
19 Okuva bwe kiri nti Yakuwa ye Mutonzi waffe era ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna, omuntu omwetoowaze awa Yakuwa ekitiibwa ky’agwanidde okuweebwa. (Kub. 4:11) Omuntu omwetoowaze aba mumativu n’ekifo ky’alina mu kibiina kya Yakuwa. Omuntu omwetoowaze assa ekitiibwa mu balala, era ekyo kireetawo obumu mu kibiina. Omuntu ng’oyo teyeetwala kuba wa waggulu ku balala, era aba mwegendereza, ekyo ne kimuyamba okwewala okukola ebibi eby’amaanyi. Eyo ye nsonga lwaki abaweereza ba Yakuwa bonna basaanidde okuba abeetoowaze, era abantu ng’abo Yakuwa abatwala nga ba muwendo. Ate watya singa twolekagana n’embeera enzibu? Ekitundu ekiddako kijja kulaga engeri gye tuyinza okwoleka obwetoowaze nga tuli mu mbeera enzibu.