Ebirimu
WIIKI YA MAAYI 29, 2017–JJUUNI 4, 2017
3 “Kye Weeyama Okituukirizanga”
Bweyamo ki bwe wakola eri Yakuwa? Okiraba nti ofuba okutuukiriza obweyamo obwo? Watya singa weewaayo eri Yakuwa oba ng’oli mufumbo? Ekitundu kino kyogera ku kyokulabirako ekirungi Yefusa ne Kaana kye baateekawo ekisobola okutuyamba okutuukiriza obweyamo bwaffe.
WIIKI YA JJUUNI 5-11, 2017
9 Biki Ebinaavaawo ng’Obwakabaka bwa Katonda Buzze?
Emirundi egisinga tulowooza ku bintu Yakuwa by’anaatukolera mu nsi empya. Naye ekitundu kino kiraga ebintu Yakuwa by’anaggyawo. Biki Yakuwa by’anaggyawo okusobola okuleetawo embeera ennungi mu nsi? Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kijja kunyweza okukkiriza kwaffe era kituyambe okweyongera okugumiikiriza.
14 Ebyafaayo—Ndi Mumalirivu Okuba Omusirikale wa Kristo
WIIKI YA JJUUNI 12-18, 2017
18 Bulijjo “Omulamuzi w’Ensi Yonna” by’Akola Biba Bituufu
WIIKI YA JJUUNI 19-25, 2017
23 Olina Endowooza ng’Eya Yakuwa ku Bwenkanya?
Bwe tuwulira nti tuyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya kisobola okugezesa okukkiriza kwaffe n’obwetoowaze bwaffe. Ekitundu kino kiraga ebyokulabirako bisatu okuva mu Bayibuli ebisobola okutuyamba okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa ku bwenkanya.
WIIKI YA JJUUNI 26, 2017–JJULAAYI 2, 2017
28 Bwe Weewaayo Kyeyagalire Oleetera Yakuwa Ettendo!
Yakuwa yeemalirira, naye asanyuka nnyo bw’alaba nga tufuba okuwagira obufuzi bwe. Ekyabalamuzi essuula 4 ne 5 ziraga nti Yakuwa asanyuka bwe twewaayo kyeyagalire okukola omulimu gwe.