Ebirimu
WIIKI YA JJULAAYI 31, 2017–AGUSITO 6, 2017
4 Yakuwa Atubudaabuda nga Tugezesebwa
Wadde nga twolekagana n’ebizibu ebitali bimu, Yakuwa atubudaabuda. Ekitundu kino kiraga ebintu ebitali bimu ebisobola okutuyamba okubudaabudibwa mu kiseera kino ne mu kiseera eky’omu maaso.
WIIKI YA AGUSITO 7-13, 2017
9 Omutima Gwo Gusse ku by’Obugagga eby’Omwoyo
Ekitundu kino kijja kutuyamba okukolera ku kubuulirira okuli mu lugero lwa Yesu olukwata ku musuubuzi eyali anoonya luulu. Ate era kijja kutuyamba okwekebera okulaba engeri gye tutwalamu obuweereza bwaffe n’amazima ge twayiga mu biseera eby’emabega.
16 Onoogonjoola Obutategeeragana Okuume Emirembe?
21 “Katonda Akuwe Omukisa olw’Obutegeevu Bwo!”
WIIKI YA AGUSITO 14-20, 2017
22 Amaaso Go Gakuumire ku Nsonga Enkulu
WIIKI YA AGUSITO 21-27, 2017
Leero kyangu nnyo okwerabira ensonga enkulu ennyo ekwata ku bitonde byonna ebitegeera. Ebitundu bino bijja kutuyamba okulaba ensonga lwaki kikulu okuwagira obufuzi bwa Yakuwa n’engeri gye tusobola okubuwagiramu.