LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w18 Jjanwali lup. 32
  • Obadde Okimanyi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obadde Okimanyi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Similar Material
  • Laba! Omuweereza Yakuwa gw’Asanyukira
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • “Amateeka ga Yakuwa Gaatuukirira”
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
w18 Jjanwali lup. 32

Obadde Okimanyi?

Emisingi egiri mu Mateeka ga Musa Abayisirayiri baagyesigamangako nga bakola ku misango gy’abantu mu bulamu obwa bulijjo?

OLUUSI bwe kityo bwe kyali. Lowooza ku Ekyamateeka 24:14, 15 awagamba nti: “Tolyazaamaanyanga omukozi akolera empeera ali mu bwetaavu era omwavu, k’abe omu ku baganda bo oba omu ku bagwira abali mu nsi yo . . . Bw’otookole bw’otyo, ajja kukaabirira Yakuwa ng’akuwawaabira, era ojja kubaako ekibi.”

Ekintu eky’ebbumba

Ekintu eky’ebbumba ebigambo by’omupakasi kwe byali biwandiikiddwa

Waliwo ekiwandiiko ekikwata ku musango ogw’ekika ekyo ekyawandiikibwa mu kyasa eky’omusanvu E.E.T., ekyasangibwa okumpi ne Asudodi. Kyali kya mupakasi omu ow’omu nnimiro oboolyawo ataasobola kuweza kigero kya mmere ey’empeke kye yalina okuwaayo. Ekiwandiiko ekyo kyawandiikibwa ku kintu eky’ebbumba era kyali kigamba nti: “Omuweereza wo [oyo awaaba] bwe yamaze okutereka bye yakungudde ennaku ntono emabega, Hoshayahu mutabani wa Shobay yazze n’atwala ekyambalo ky’omuweereza wo. . . . Abo bonna be nnabadde nabo nga tukungula ebirime mu musana omungi, banjulira . . . nti ebyo bye njogedde bituufu. Sirina musango gwonna. . . . Gavana bw’aba alaba nti tekimukakatako kulaba nti ekyambalo ky’omuweereza wo kimuddizibwa, nsaba okikole olw’okunkwatirwa ekisa. Tosirika busirisi ng’omuweereza wo talina kyambalo kye.”

Munnabyafaayo ayitibwa Simon Schama yagamba nti: “Ebigambo ebyo tebituyamba kumanya bumanya nti omupakasi oyo yali ayagala nnyo okuddizibwa [ekyambalo kye], naye era bitulaga nti yali alina ky’amanyi ku mateeka ga Musa, naddala ago agali mu kitabo ky’Eby’Abaleevi n’Ekyamateeka agagaana omuntu okuyisa obubi omuntu omwavu.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share