LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • cl sul. 13 lup. 153-164
  • “Amateeka ga Yakuwa Gaatuukirira”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Amateeka ga Yakuwa Gaatuukirira”
  • Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Omuwi w’Amateeka ow’Oku Ntikko
  • Ebimu ku Ebyo Ebyali mu Mateeka ga Musa
  • Amateeka Agooleka Obusaasizi n’Obwenkanya
  • Amateeka Gaakubiriza Okwagala
  • Amateeka ga Katonda Gaganyula Ffe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Okwagala n’Obwenkanya mu Isirayiri ey’Edda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Etteeka ly’Okwagala Eriteekeddwa mu Mitima
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
See More
Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
cl sul. 13 lup. 153-164
Musa ng’akutte ebipande by’amayinja bibiri ebiriko Amateeka Ekkumi.

ESSUULA 13

“Amateeka ga Yakuwa Gaatuukirira”

1, 2. Lwaki abantu bangi tebassa kitiibwa mu mateeka, kyokka ffe tuyinza tutya okuba n’endowooza ng’ey’omuwandiisi wa Zabbuli?

“AMATEEKA kinnya ekitakoma, . . . gazikiriza buli kintu.” Ebigambo ebyo byali mu kitabo ekyafulumizibwa mu 1712. Eyakiwandiika yavumirira enkola y’amateeka eviirako emisango okuwozebwa mu kkooti okumala emyaka n’emyaka, ne kireetera abo abanoonya obwenkanya okwavuwala. Mu nsi nnyingi, enkola y’amateeka nzibu nnyo okutegeera, si ya bwenkanya, ekyukakyuka, era erimu obusosoze, ne kiba nti abantu bangi tebassa kitiibwa mu mateeka.

2 Geraageranya ebyogeddwa waggulu n’ebigambo bino ebyawandiikibwa emyaka nga 2,700 emabega: “Amateeka go nga ngaagala!” (Zabbuli 119:97) Lwaki omuwandiisi wa Zabbuli yali ayagala nnyo amateeka ago? Kubanga gaali gava eri Yakuwa Katonda, so si eri gavumenti y’abantu. Naawe bw’onoogenda oyiga amateeka ga Yakuwa, oyinza okuwulira ng’omuwandiisi wa Zabbuli oyo. Ekyo kijja kukuyamba okutegeera endowooza y’Omuwi w’amateeka era Omulamuzi asingiridde.

Omuwi w’Amateeka ow’Oku Ntikko

3, 4. Mu ngeri ki Yakuwa gye yeeraze okuba Omuwi w’Amateeka?

3 Bayibuli egamba nti: “Omuwi w’Amateeka era Omulamuzi ali omu.” (Yakobo 4:12) Mazima ddala, Yakuwa ye Muwi w’Amateeka yekka ow’amazima. N’engeri ebitonde gye bitambula mu bwengula efugibwa ‘amateeka ge ag’omu bwengula.’ (Yobu 38:33, The New Jerusalem Bible) Mu ngeri y’emu, bamalayika abatukuvu bukadde na bukadde nabo bafugibwa amateeka ga Katonda, kubanga bategekeddwa mu bifo eby’enjawulo era baweerereza wansi w’obulagirizi bwa Yakuwa.—Zabbuli 104:4; Abebbulaniya 1:7, 14.

4 Abantu nabo Yakuwa yabawa amateeka. Buli muntu yatondebwa ng’alina omuntu ow’omunda, ekyoleka obwenkanya bwa Yakuwa. Omuntu ow’omunda, kwe kugamba, etteeka eriri mu ffe, ayinza okutuyamba okwawulawo ekituufu n’ekikyamu. (Abaruumi 2:14) Bazadde baffe abaasooka baalina omuntu ow’omunda atuukiridde, n’olwekyo baali beetaaga amateeka matono. (Olubereberye 2:15-17) Kyokka abantu abatatuukiridde beetaaga amateeka mangi okubawa obulagirizi basobole okukola Katonda by’ayagala. Abasajja abeesigwa ab’edda gamba nga Nuuwa, Ibulayimu, ne Yakobo, baafuna amateeka okuva eri Yakuwa Katonda era ne bagategeeza ab’omu maka gaabwe. (Olubereberye 6:22; 9:3-6; 18:19; 26:4, 5) Yakuwa yafuuka Omuwi w’Amateeka mu ngeri esingawo bwe yawa eggwanga lya Isirayiri Amateeka okuyitira mu Musa. Amateeka ago gatuyamba okutegeera obwenkanya bwe.

Ebimu ku Ebyo Ebyali mu Mateeka ga Musa

5. Lwaki tuyinza okugamba nti Amateeka ga Musa tegaali mangi nnyo?

5 Bangi balowooza nti Amateeka ga Musa gaali mangi nnyo era nga mazibu nnyo. Endowooza eyo si ntuufu n’akamu. Amateeka ago gaali gasoba mu 600. Ago gayinza okulabika ng’amangi ennyo, naye lowooza ku kino: Ku nkomerero y’ekyasa 20, amateeka ga Amerika gaali mangi nnyo nga gajjuza empapula ezisoba mu 150,000. Buli luvannyuma lwa myaka ebiri amateeka amalala nga 600 gongerwako! Ekyokulabirako ekyo kiraga nti amateeka g’abantu gasingira wala Amateeka ga Musa obungi. Kyokka Amateeka ga Katonda gaayogera ku bintu ebitali bimu mu bulamu bw’Abayisirayiri amateeka g’omu kiseera kyaffe bye gatayogerako. Weetegereze ebimu ku ebyo ebyali mu mateeka gano.

6, 7. (a) Kiki ekyawula Amateeka ga Musa ku mateeka amalala gonna, era tteeka ki erisinga obukulu? (b) Abayisirayiri bandiraze batya nti bagondera obufuzi bwa Yakuwa?

6 Amateeka ga Musa gaagulumiza obufuzi bwa Yakuwa. N’olwekyo, Amateeka ago tegayinza kugeraageranyizibwa na mateeka malala gonna. Etteeka eryali lisinga obukulu mu mateeka ago lye lino: “Wulira ggwe Isirayiri: Yakuwa Katonda waffe ye Yakuwa omu. Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’obulamu bwo bwonna n’amaanyi go gonna.” Abayisirayiri bandikiraze batya nti baagala Katonda? Nga bamuweereza era nga bagondera obufuzi bwe.—Ekyamateeka 6:4, 5; 11:13.

7 Buli Muyisirayiri yalaga nti akkiriza obufuzi bwa Yakuwa ng’agondera abo Yakuwa be yali awadde obuyinza. Muno mwali muzingiramu abazadde, abakulu b’ebika, abalamuzi, bakabona, ne bakabaka. Abaajeemeranga abantu abo, Yakuwa yabatwala ng’abaali bajeemedde ye kennyini. Ku luuyi olulala, abo abaalina obuyinza Yakuwa yandibasunguwalidde bwe bandiyisizza abalala mu ngeri etali ya bwenkanya. (Okuva 20:12; 22:28; Ekyamateeka 1:16, 17; 17:8-20; 19:16, 17) N’olwekyo, enjuyi zombi zaalina okukkiriza obufuzi bwa Katonda.

8. Amateeka gaayoleka gatya omutindo gwa Yakuwa ogw’obutukuvu?

8 Amateeka gaayoleka omutindo gwa Yakuwa ogw’obutukuvu. Ebigambo ebivvuunulwa ‘omutukuvu’ ne ‘obutukuvu’ birabika mu Mateeka ga Musa emirundi egisoba mu 280. Amateeka gaayamba abantu ba Katonda okwawulawo ekiyonjo n’ekitali kiyonjo, ekirongoofu n’ekitali kirongoofu, nga googera ku bintu nga 70 eby’enjawulo ebyandireetedde Omuyisirayiri obutaba mulongoofu. Amateeka gano gaalimu ebiragiro ebikwata ku buyonjo, eby’okulya, n’ekifo obubi gye bwandiziikiddwa. Amateeka ago gaasobozesa abantu okuba abalamu obulungi.a Naye gaalina ekigendererwa ekisingawo, kwe kugamba, okusobozesa abantu okusiimibwa Yakuwa, nga beeyawudde ku bikolwa ebibi eby’amawanga agaali gabeetoolodde. Lowooza ku kyokulabirako kino.

9, 10. Amateeka gaayogera ki ku by’okwegatta n’okuzaala, era amateeka ng’ago gaaganyula gatya abantu?

9 Amateeka gaalaga nti okweggatta n’okuzaala, wadde ne mu bafumbo, byafuulanga omuntu obutaba muyonjo okumala ekiseera. (Eby’Abaleevi 12:2-4; 15:16-18) Naye amateeka ago gaali tegategeeza nti okwegatta oba okuzaala tebyali birabo okuva eri Katonda. (Olubereberye 1:28; 2:18-25) Wabula, gaayoleka obutukuvu bwa Yakuwa, ne gayamba abantu be okusigala nga balongoofu. Kyokka go amawanga agaali geetoolodde Abayisirayiri gaagattikanga okusinza n’ebikolwa eby’okwegatta. Mu ddiini y’Abakanani abasajja n’abakazi bakkirizibwanga okukola obwamalaaya. Ekyo kyatumbula ebikolwa eby’obugwenyufu. Okwawukana ku ekyo, Amateeka ga Musa gaayawulira ddala okusinza kwa Yakuwa n’ensonga z’okwegatta.b Naye Abayisirayiri baaganyulwa ne mu ngeri endala.

10 Amateeka ago gaayigiriza abantu amazima ag’omuwendo.c Kirowoozeeko, ekibi kya Adamu kisaasaana kitya okuva ku mulembe ogumu okudda ku mulala? Si okuyitira mu kwegatta n’okuzaala? (Abaruumi 5:12) Amateeka ga Katonda gaayamba abantu okukijjukira nti baalina ekibi. Mu butuufu, ffenna tuzaalibwa nga tulina ekibi. (Zabbuli 51:5) Twetaaga okusonyiyibwa n’okununulibwa okusobola okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda waffe omutukuvu.

11, 12. (a) Amateeka gaalimu musingi ki omukulu ogw’obwenkanya? (b) Amateeka gaakugira gatya ebikolwa ebitali bya bwenkanya?

11 Amateeka ga Musa gaayoleka obwenkanya bwa Yakuwa obutuukiridde. Amateeka ago gaalimu omusingi ogukubiriza obutagwa lubege bwe kituuka mu kwoleka obwenkanya. Gaalimu etteeka erigamba nti: “Obulamu bunaaweebwangayo olw’obulamu, eriiso olw’eriiso, erinnyo olw’erinnyo, omukono olw’omukono, ekigere olw’ekigere.” (Ekyamateeka 19:21) Eri abo abaabanga bazizza emisango, ekibonerezo ekyabaweebwanga kyalina okutuukana n’emisango gye baabanga bazizza. Engeri eno ey’obwenkanya bwa Katonda yeeyolekera mu Mateeka gonna, era ne leero etuyamba okutegeera obulungi ekinunulo kya Yesu, nga bwe tujja okulaba mu Ssuula 14.—1 Timoseewo 2:5, 6.

12 Ate era Amateeka gaalimu ebiragiro ebikugira ebikolwa ebitali bya bwenkanya. Ng’ekyokulabirako, abajulizi abatakka wansi wa babiri baali beetaagisa okusobola okukakasa nti omuntu yazzizza omusango. Oyo eyawanga obujulizi obw’obulimba yaweebwanga ekibonerezo kya maanyi. (Ekyamateeka 19:15, 18, 19) Obulyi bw’enguzi bwali tebukkirizibwa. (Okuva 23:8; Ekyamateeka 27:25) Ne mu by’obusuubuzi, abantu ba Katonda baalina okunywerera ku mitindo gye egy’obwenkanya. (Eby’Abaleevi 19:35, 36; Ekyamateeka 23:19, 20) Amateeka ga Musa gaali malungi nnyo era nga ga bwenkanya. Gaaganyula nnyo Abayisirayiri.

Amateeka Agooleka Obusaasizi n’Obwenkanya

13, 14. Mu ngeri ey’obwenkanya, Amateeka gaayisanga gatya omubbi ne gwe yabanga abbye?

13 Amateeka ga Musa gaali makakali, era nga tegooleka busaasizi? N’akatono! Kabaka Dawudi yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Amateeka ga Yakuwa gaatuukirira.” (Zabbuli 19:7) Yali akimanyi nti Amateeka gaali gooleka obusaasizi n’obwenkanya. Gaakikola gatya?

14 Mu nsi ezimu leero, kirabika amateeka gayamba abamenyi b’amateeka okusinga abazziddwako emisango. Ng’ekyokulabirako, ababbi bayinza okusibibwa mu kkomera okumala ekiseera. Naye abo be baba babbye bayinza n’okuba nga tebannafuna bintu byabwe ebyabbibwa, kyokka nga balina okusasula omusolo okusobola okulabirira abamenyi b’amateeka abo nga bali mu kkomera. Mu Isirayiri ey’edda tewaaliyo makomera nga ge tulina leero. Amateeka gaalaga bulungi ebibonerezo ebyandiweereddwa abazzi b’emisango. (Ekyamateeka 25:1-3) Omubbi yalinanga okuliyirira oyo gwe yabanga abbye. Ate era waaliwo ebirala omubbi bye yalinanga okusasula. Biki bye yasasulanga? Kyasinziiranga ku mbeera eyabangawo. Kirabika abalamuzi baalina eddembe okutunuulira ensonga ezitali zimu, gamba ng’engeri omwonoonyi gye yabanga yeenenyezzaamu. Eyo ye nsonga lwaki engassi omubbi gye yandiwadde okusinziira ku Eby’Abaleevi 6:1-7, yali ntono nnyo bw’ogigeraageranya n’eyo eyogerwako mu Okuva 22:7.

15. Amateeka gaakakasa gatya nti omuntu eyabanga asse muntu munne mu butanwa asaasirwa era nti ayisibwa mu ngeri ey’obwenkanya?

15 Ate era Amateeka gaakyoleka nti ebibi byonna tebikolebwa mu bugenderevu. Ng’ekyokulabirako, omuntu bwe yattanga omuntu mu butanwa, teyalinanga kusasula bulamu olw’obulamu, singa yaddukiranga mu bibuga eby’okuddukiramu ebyali mu bifo ebitali bimu mu Isirayiri yonna. Abalamuzi abaalina obumanyirivu bwe baamalanga okwekenneenya ensonga ye, yalinanga okusigala mu kibuga ekyo okutuusa nga kabona asinga obukulu afudde. Oluvannyuma lw’ekyo, yabanga n’eddembe okubeera wonna we yandyagaddenga. Mu ngeri eyo, yaganyulwanga mu busaasizi bwa Katonda. Mu kiseera kye kimu, etteeka lino lyalaga nti obulamu bw’omuntu bwa muwendo.—Okubala 15:30, 31; 35:12-25.

16. Amateeka gaakuuma gatya eddembe ly’obuntu?

16 Amateeka gaakuuma eddembe ly’obuntu. Weetegereze engeri gye gaakuumamu abo abaali babanjibwa. Amateeka gaagaana omuntu okuyingira mu nnyumba y’oyo gwe yabanga abanja n’atwala ebintu bye ng’omusingo. Mu kifo kyekyo, oyo eyalinga abanja yalinanga kusigala bweru wa nnyumba n’alinda oyo gwe yabanga abanja okumuleetera ekintu kye yabanga amusingidde. Bwe kityo, ennyumba y’oyo eyabanga abanjibwa teyamalanga gayingirwa. Singa abanja yatwalanga ekyambalo ky’oyo gwe yabanga abanja ng’omusingo, oyo abanja yalinanga okukikomyawo ng’obudde tebunnaziba, kubanga abanjibwa ayinza okuba nga kye yeebikkanga ekiro.—Ekyamateeka 24:10-14.

17, 18. Ku bikwata ku ntalo, Abayisirayiri baayawukana batya ku mawanga amalala, era lwaki?

17 Amateeka gaalimu n’ebiragiro ebikwata ku ngeri Abayisirayiri gye baalina okulwanamu entalo. Tebaalina kugenda mu ntalo okusobola okufuna obufunyi obuyinza oba okuwangula obuwanguzi eggwanga eddala. Bandizenyingiddemu nga Katonda y’abatumye mu ‘Ntalo Ze.’ (Okubala 21:14) Emirundi mingi Abayisirayiri baalina okusooka okugamba abalabe baabwe okuwanika. Singa ab’omu kibuga baagaananga okuwanika, awo Abayisirayiri baali bayinza okukizingiza, naye nga bagoberera amateeka ga Katonda. Okwawukana ku basirikale bangi mu byafaayo by’abantu, abasajja b’omu ggye lya Isirayiri tebakkirizibwanga kukwata bakazi oba okumala gatta bantu. Ate era tebaalina kwonoona butonde, nga batema emiti gy’ebibala egy’abalabe baabwe.d Amagye g’amawanga amalala tegaalina mateeka ng’ago.—Ekyamateeka 20:10-15, 19, 20; 21:10-13.

18 Kikuyisa bubi okuwulira nti mu nsi ezimu, abaana abato batendekebwa okubeera abasirikale? Mu Isirayiri ey’edda, tewali muntu eyali taweza myaka 20 eyawandiisibwanga mu magye. (Okubala 1:2, 3) N’omuntu omukulu eyabanga atidde teyayingizibwanga mu magye. Omusajja eyabanga yaakawasa teyayingizibwanga mu magye okumala omwaka mulamba, kimusobozese okufuna omusika nga tannagenda mu ntalo. Bwe kityo, Amateeka galaga nti, omwami yandisobodde ‘okusanyusa’ mukyala we gwe yaakawasa.—Ekyamateeka 20:5, 6, 8; 24:5.

19. Amateeka gaakuuma gatya abakazi, abaana, amaka, bannamwandu, ne bamulekwa?

19 Era Amateeka gaalimu enteekateeka ey’okulabirira abakazi, abaana, n’amaka gaabwe. Gaalagira abazadde okufaayo ennyo ku baana baabwe era n’okubayigiriza ebintu eby’omwoyo. (Ekyamateeka 6:6, 7) Omuntu yenna eyeegattanga n’oyo gwe yalinako oluganda, yaweebwanga ekibonerezo kya kufa. (Eby’Abaleevi, essuula 18) Mu ngeri y’emu, gaagaana obwenzi, emirundi mingi obuviirako amaka okusattulukuka ne kimalawo emirembe n’ekitiibwa mu maka. Amateeka gaalaga nti bannamwandu ne bamulekwa baalina okufiibwako era nti tebaalina kuyisibwa bubi.—Okuva 20:14; 22:22-24.

20, 21. (a) Lwaki Amateeka ga Musa gaali gakkiriza Abayisirayiri okuwasa abakazi abangi? (b) Ku nsonga y’okugoba abakazi, lwaki Amateeka gaayawukana ku mutindo Yesu gwe yazzaawo oluvannyuma?

20 Naye omuntu ayinza okwebuuza nti, ‘Kati olwo lwaki Amateeka gakkiriza abasajja okuwasa abakazi abangi?’ (Ekyamateeka 21:15-17) Tusaanidde okulowooza ku kiseera abantu mwe baaweerwa amateeka ago. Abo abatunuulira Amateeka ga Musa nga basinziira ku biriwo mu biseera byaffe baba bajja kugategeera mu bukyamu. (Engero 18:13) Omutindo Yakuwa gwe yateekawo mu Edeni, gwalaga nti obufumbo bulina kuba bwa lubeerera nga buli wakati w’omusajja omu n’omukazi omu. (Olubereberye 2:18, 20-24) Kyokka mu kiseera Yakuwa we yaweera Abayisirayiri Amateeka, ebikolwa ng’okuwasa abakazi abangi, byali byasimba dda amakanda okumala ebyasa bingi. Yakuwa yali akimanyi nti abantu be abaali ‘abakakanyavu’ emirundi mingi bandiremereddwa n’okukwata ebiragiro gamba ng’obutasinza bifaananyi. (Okuva 32:9) N’olwekyo, yasalawo obutalongoosa nteekateeka y’obufumbo mu kiseera ekyo. Era kijjukire nti Yakuwa si ye yatandikawo enkola ey’okuwasa abakazi abangi. Kyokka yakozesa Amateeka ga Musa okukugira abantu okukozesa obubi enkola eyo.

21 Mu ngeri y’emu, Amateeka ga Musa gakkirizanga omusajja okugoba mukazi we nga waliwo ensonga ez’amaanyi kw’asinziira. (Ekyamateeka 24:1-4) Yesu yagamba nti Katonda yakkiriza Abayudaaya okukola bwe batyo ‘olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe.’ Kyokka enkola ey’okuwasa abakazi abangi yali ya kubaawo kaseera buseera. Bwe yali ayigiriza abagoberezi be, Yesu yazzaawo omutindo gw’obufumbo ogwasooka.—Matayo 19:8.

Amateeka Gaakubiriza Okwagala

22. Mu ngeri ki Amateeka ga Musa gye gaakubiriza abantu okulaga okwagala, era baalina kukulaga baani?

22 Olowooza eriyo amateeka mu kiseera kino agakubiriza abantu okulaga okwagala? Okusingira ddala, Amateeka ga Musa gaakubiriza abantu okulaga okwagala. Mu kitabo ky’e Ekyamateeka, ekigambo ekivvuunulwa ‘okwagala’ kirabika mu ngeri ez’enjawulo emirundi egisukka mu 20. Etteeka ery’okubiri ekkulu mu mateeka gonna lyali ligamba nti: “Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala.” (Eby’Abaleevi 19:18; Matayo 22:37-40) Abantu ba Katonda tebaali ba kulagaŋŋana kwagala ng’okwo kyokka, wabula baalina n’okukulaga abagwira abaabeeranga mu bo, nga bajjukira nti nabo baaliko abagwira. Baalina okulaga abaavu n’abanaku okwagala, nga bakola ku byetaago byabwe eby’omubiri era nga beewala okubaako bye babafunamu mu ngeri etali ya bwenkanya. Ate era baalagirwa n’okuyisa obulungi ebisolo.—Okuva 23:6; Eby’Abaleevi 19:14, 33, 34; Ekyamateeka 22:4, 10; 24:17, 18.

23. Omuwandiisi wa Zabbuli 119 yakubirizibwa kukola ki, era naffe twandimaliridde kukola ki?

23 Ggwanga ki eddala eririna amateeka ng’ago? Tekyewuunyisa nti omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika nti: “Amateeka go nga ngaagala nnyo!” Kyokka okwagala kwe yalina eri Amateeka teyali bubeezi nneewulira. Kwamuleetera okubaako ky’akolawo. Yafuba okukwata amateeka ago. Yeeyongera n’agamba nti: “Ngafumiitirizaako okuzibya obudde.” (Zabbuli 119:11, 97) Omuwandiisi wa Zabbuli oyo, yasomanga amateeka ga Yakuwa obutayosa. Tewali kubuusabuusa kwonna nti gye yakoma okugasoma gye yakoma n’okugaagala. Ekyo kyamuyamba okweyongera okwagala Omuwi w’Amateeka. Naawe bw’oneeyongera okuyiga amateeka ga Katonda, enkolagana yo ne Yakuwa, Omuwi w’Amateeka Omukulu era Katonda ow’obwenkanya, ejja kweyongera okunywera.

a Ng’ekyokulabirako, waamala kuyitawo ebyasa bingi bannassaayansi ne balyoka bategeera obukulu bw’amateeka agakwata ku kuziika obubi, okwawula abalwadde ku balala, n’omuntu aba akutte ku mulambo okunaaba.—Eby’Abaleevi 13:4-8; Okubala 19:11-13, 17-19; Ekyamateeka 23:13, 14.

b Yeekaalu z’Abakanani zaalimu ebisenge abantu mwe beegattiranga, naye go Amateeka ga Musa gaalaga nti abo abataali bayonjo baali tebalina na kuyingira mu yeekaalu. N’olwekyo, okuva okwegatta bwe kwafuulanga omuntu atali muyonjo okumala ekiseera, tewaali n’omu yali ayinza kugattika kwegatta n’okusinza kw’omu yeekaalu ya Yakuwa.

c Ekigendererwa ekikulu eky’Amateeka kyali kya kuyigiriza. Mu butuufu, ekitabo Encyclopaedia Judaica kigamba nti ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa ‘amateeka,’ toh·rah, kitegeeza “okuyigiriza.”

d Amateeka gaali gagamba nti: “Omuti gw’oku ttale muntu olyoke oguzingize?” (Ekyamateeka 20:19) Ng’ayogera ku tteeka eryo, omwekenneenya Omuyudaaya eyali ayitibwa Philo eyaliwo mu kyasa ekyasooka, yagamba nti Katonda akitwala nti “si kya bwenkanya obusungu obwolekezebwa abantu ate okubwolekeza ebintu ebitalina musango.”

Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako

  • Eby’Abaleevi 19:9, 10; Ekyamateeka 24:19 Otwala otya Katonda eyassaawo amateeka ng’ago?

  • Zabbuli 19:7-14 Dawudi yalina ndowooza ki ku ‘mateeka ga Yakuwa,’ era amateeka ago gandibadde ga muwendo gye tuli kwenkana wa?

  • Mikka 6:6-8 Ennyiriri zino zituyamba zitya okulaba nti amateeka ga Yakuwa si mugugu?

  • Matayo 23:23-39 Abafalisaayo baalaga batya nti tebaategeera Mateeka, era ekyo tukiyigirako ki?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share