LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w02 5/1 lup. 7-12
  • Amateeka ga Katonda Gaganyula Ffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Amateeka ga Katonda Gaganyula Ffe
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Yakuwa y’Asaanidde Okuteekawo Amateeka
  • Ebizingirwa mu Mateeka ga Katonda
  • Ensonga Lwaki Twagala Nnyo Amateeka ga Yakuwa
  • Emikisa Abo Abagondera Amateeka ga Katonda Gye Bafuna
  • “Amateeka ga Yakuwa Gaatuukirira”
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Etteeka ly’Okwagala Eriteekeddwa mu Mitima
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Ekirabo eky’Ekitalo eky’Eddembe ery’Okwesalirawo
    Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?
  • Okwagala n’Obwenkanya mu Isirayiri ey’Edda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 5/1 lup. 7-12

Amateeka ga Katonda Gaganyula Ffe

“Amateeka go nga ngaagala!”​—ZABBULI 119:97.

1. Ndowooza ki eriwo ekwata ku kugondera amateeka ga Katonda?

ENNAKU zino batono nnyo abaagala okugondera amateeka ga Katonda. Abantu bangi balaba nga si kya makulu n’akatono okugondera obuyinza obwa waggulu ennyo obutalabika. Tuli mu kiseera ng’emitindo gy’empisa gikyukakyuka bulijjo, era nga si kyangu okwawulawo ekituufu n’ekikyamu. (Engero 17:15; Isaaya 5:20) Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa gye buvuddeko awo okukwata ku ngeri abantu bangi abali mu nsi ezaakulaakulana edda gye balowoozaamu, kyazuulibwa nti “abantu b’omu Amereka abasinga obungi baagala okwesalirawo bo bennyini ekirungi n’ekituufu.” ‘Tebaagala Katonda akalambira ennyo ku mateeka. Tebaagala mateeka makakali. Tebaagala kukulemberwa bantu abagoberera ennyo amateeka.’ Omukugu omu mu mbeera z’abantu yagamba nti “leero abantu basuubirwa okuba nga basobola okwesalirawo ku bikwata ku nneeyisa ennungi.” Yayongera n’agamba: “Ow’obuyinza yenna alina okubeera n’amateeka agatuukagana n’ebyetaago by’abantu.”

2. Amateeka agasooka okwogerwako mu Baibuli gakwataganyizibwa gatya n’emikisa, era n’okusiimibwa Katonda?

2 Okuva abantu bangi bwe babuusabuusa omugaso gw’amateeka ga Yakuwa, twetaaga okunyweza okukkiriza kwe tulina nti amateeka ga Katonda galiwo lwa kutuganyula. Kiba kya muganyulo okwekenneenya ekyawandiikibwa amateeka we gasooka okwogerwako mu Baibuli. Mu Olubereberye 26:5, tusoma ebigambo bya Katonda nti: “Ibulayimu . . . yeekuumanga bye nnamukuutiranga, ebigambo byange, amateeka gange n’ebiragiro byange.” Ebigambo ebyo byayogerwa ebyasa bingi nga Yakuwa tannaba kuwa bazzukulu ba Ibulayimu mateeka ge agaali mu buwandiike. Yakuwa yawa atya Ibulayimu empeera olw’obuwulize bwe, nga mw’otwalidde n’okugondera amateeka Ge? Yakuwa Katonda yamusuubiza: “Mu zzadde lyo amawanga gonna ag’omu nsi mwe galiweerwa omukisa.” (Olubereberye 22:18) N’olwekyo, okugondera amateeka ga Katonda kikwataganyizibwa n’okufuna emikisa gye era n’okusiimibwa gy’ali.

3. (a) Omuwandiisi wa Zabbuli omu yalina nneewulira ki ku mateeka ga Yakuwa? (b) Bibuuzo ki bye tulina okwekenneenya?

3 Omu ku bawandiisi ba Zabbuli, oboolyawo eyali omulangira mu Yuda era nga yali wa kubeera Kabaka mu biseera eby’omu maaso, yayogera ebigambo ebyoleka enneewulira etatera kukwataganyizibwa na mateeka. Yagamba bw’ati Katonda: ‘Amateeka go nga ngaagala!’ (Zabbuli 119:97) Kuno tekwali kukwatibwa bukwatibwa kinyegenyege. Byali bigambo ebyali byoleka okwagala kwe yalina eri ebyo Katonda by’ayagala nga bwe biri mu mateeka ge. Yesu Kristo, Omwana wa Katonda atuukiridde, naye yalina enneewulira bw’etyo. Mu bunnabbi, Yesu yayogerwako ng’agamba: “Nsanyuka okukola by’oyagala, ai Katonda wange; weewaawo, amateeka go gali mu mutima gwange munda.” (Zabbuli 40:8; Abaebbulaniya 10:9) Naye ate kiri kitya gye tuli? Tusanyukira okukola Katonda by’ayagala? Tukkiriza nti amateeka ga Yakuwa malungi era nga ga muganyulo? Okugondera amateeka ga Katonda kirina kifo ki mu kusinza kwaffe, mu bulamu bwaffe obwa bulijjo, mu ebyo bye tusalawo, ne mu ngeri gye tukolaganamu n’abalala? Okusobola okwagala amateeka ga Katonda, tulina okutegeera ensonga lwaki Katonda alina obuyinza okussaawo amateeka era n’okutulagira okugagoberera.

Yakuwa y’Asaanidde Okuteekawo Amateeka

4. Lwaki Yakuwa y’alina obuyinza obw’oku ntikko okuteekawo amateeka?

4 Olw’okuba ye Mutonzi, Yakuwa y’alina obuyinza obw’oku ntikko Okuteekawo Amateeka mu butonde bwonna. (Okubikkulirwa 4:11) Nnabbi Isaaya yagamba: “Mukama ye muteesi w’amateeka gye tuli.” (Isaaya 33:22) Ataddewo amateeka agafuga ebitonde ebiramu n’ebitali biramu. (Yobu 38:4-38; 39:1-12; Zabbuli 104:5-19) Okuva omuntu bw’ali ekitonde kya Katonda, asaanidde okugoberera amateeka ge. Wadde ng’omuntu alina eddembe ly’okwesalirawo, era ng’asobola okulowooza, engeri yokka gy’ayinza okufunamu essanyu kwe kugondera amateeka ga Katonda agakwata ku mpisa n’eby’omwoyo.​—Abaruumi 12:1; 1 Abakkolinso 2:14-16.

5. Omusingi oguli mu Abaggalatiya 6:7 gukwatagana gutya n’amateeka ga Katonda?

5 Nga bwe tumanyi, amateeka ga Yakuwa agafuga obutonde tegasobola kumenyebwa. (Yeremiya 33:20, 21) Singa omuntu akola ekyo ekikontana n’amateeka agafuga obutonde, gamba ng’amaanyi agasika ebintu okubizza ku ttaka, wabaawo ekimutuukako. Mu ngeri y’emu, amateeka ga Katonda agakwata ku mpisa tegayinza kukyusibwa era tegasobola kumenyebwa ne watabaawo kubonerezebwa. Okufaananako n’amateeka ge agafuga obutonde, nago galina okugonderwa, wadde ng’ebiva mu kugajeemera biyinza obutaba bya mbagirawo. “Katonda tasekererwa: kubanga omuntu kyonna ky’asiga era ky’alikungula.”​—Abaggalatiya 6:7; 1 Timoseewo 5:24.

Ebizingirwa mu Mateeka ga Katonda

6. Amateeka ga Katonda gazingiramu biki?

6 Amateeka Katonda ge yayisa mu Musa gaali makulu nnyo. (Abaruumi 7:12) Oluvannyuma lw’ekiseera, Yakuwa yaggyawo Amateeka ga Musa n’assaawo “etteeka lya Kristo.”a (Abaggalatiya 6:2; 1 Abakkolinso 9:21) Ffe ng’Abakristaayo abali wansi ‘w’amateeka ag’eddembe amatuukirivu,’ tukitegeera bulungi nti amateeka ga Katonda tegakwata ku mbeera zimu na zimu ez’obulamu bwaffe, gamba ng’enjigiriza oba emikolo egimu. Amateeka ge gakwata ku mbeera zonna ez’obulamu, nga mw’otwalidde ensonga z’amaka, ebya bizineesi, engeri gye tukolaganamu n’abo be tutafaananya kikula, endowooza gye tulina eri Bakristaayo bannaffe, era n’okwenyigira mu kusinza okw’amazima.​—Yakobo 1:25, 27.

7. Waayo ebyokulabirako ku mateeka ga Katonda amakulu.

7 Ng’ekyokulabirako, Baibuli egamba: “Newakubadde abakaba, newakubadde abasinza ebifaananyi, newakubadde abenzi, newakubadde abafuuka abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga, newakubadde ababbi, newakubadde abeegombi, newakubadde abatamiivu, newakubadde abavumi, newakubadde abanyazi, tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.” (1 Abakkolinso 6:9, 10) Yee, obwenzi n’obukaba si bikolwa bya “mukwano.” Okulya ebisiyaga si “ngeri ndala ey’okunyumirwamu obulamu.” Ebintu ebyo bimenya amateeka ga Yakuwa. Era n’ebintu ng’okubba, okulimba n’okuwaayiriza nabyo bimenya amateeka ga Katonda. (Zabbuli 101:5; Abakkolosaayi 3:9; 1 Peetero 4:15) Yakobo yavumirira okwekulumbaza, ate ye Pawulo yatukubiriza okwewala okwogera eby’obusirusiru n’okubalaata. (Abaefeso 5:4; Yakobo 4:16) Ebiragiro bino byonna ebikwata ku mpisa, Abakristaayo babitwala ng’ekitundu ky’amateeka ga Katonda agatuukiridde.​—Zabbuli 19:7.

8. (a) Amateeka ga Yakuwa ga ngeri ki? (b) Makulu ki agali mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “amateeka”?

8 Ebiragiro ng’ebyo ebikulu ennyo ebiri mu Kigambo kya Yakuwa byoleka nti amateeka ge si lukalala bukalala lw’amateeka olulina okugobererwa kyokka nga tegaliimu mugaso. Gasobozesa omuntu okuba n’obulamu obulungi era n’okufuna emiganyulo emirala emirungi. Amateeka ga Katonda ga muganyulo era gayigiriza. (Zabbuli 119:72) Ekigambo “amateeka” ng’omuwandiisi wa Zabbuli bwe yakikozesa, kivvuunulwa okuva mu kigambo ky’Olwebbulaniya toh·rahʹ. Omwekenneenya omu owa Baibuli agamba: “Ekigambo kino kiggibwa mu kigambo ekitegeeza okuwa obulagirizi, okuluŋŋamya, okulasa. N’olwekyo, . . . amakulu gaakyo gandibadde obulagirizi obukwata ku mpisa.” Eri omuwandiisi wa Zabbuli amateeka gaali kirabo okuva eri Katonda. Naffe tetwandigatutte nga ga muganyulo nnyo era ne tugaleka okubaako kye gakola ku bulamu bwaffe?

9, 10. (a) Lwaki twetaaga obulagirizi obwesigika? (b) Tuyinza tutya okubeera n’obulamu obulungi era obw’essanyu?

9 Ebitonde byonna byetaaga obulagirizi obwesigika. Kino kizingiramu ne Yesu wamu ne bamalayika abalala, ebitonde ebya waggulu okusinga abantu. (Zabbuli 8:5; Yokaana 5:30; 6:38; Abaebbulaniya 2:7; Okubikkulirwa 22:8, 9) Bwe kiba nti ebitonde bino ebituukiridde byetaaga obulagirizi bwa Katonda, abantu abatatuukiridde nga bandibadde babwetaaga nnyo n’okusingawo! Ebibaddewo mu byafaayo by’omuntu n’ebyo ebitutuuseeko ffe kennyini bikakasa obutuufu bw’ebigambo bya nnabbi Yeremiya: “Ai Mukama, mmanyi ng’ekkubo ery’omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.”​—Yeremiya 10:23.

10 Bwe tuba nga twagala okubeera n’obulamu obulungi era obw’essanyu, tuteekwa okwesigama ku bulagirizi bwa Katonda. Kabaka Sulemaani yamanya akabi akali mu kugoberera emitindo gy’empisa omuntu gye yeetereddewo ku lulwe egyawukana ku bulagirizi bwa Katonda: “Waliwo ekkubo omuntu ly’ayita eddungi, naye enkomerero yaalyo ge makubo ag’okufa.”​—Engero 14:12.

Ensonga Lwaki Twagala Nnyo Amateeka ga Yakuwa

11. Lwaki twandyagadde okutegeera amateeka ga Katonda?

11 Tusaanidde okwagala ennyo okutegeera amateeka ga Yakuwa. Omuwandiisi wa Zabbuli yayoleka okwagala ng’okwo bwe yagamba: “Onzibule amaaso gange, ndabe eby’ekitalo ebiva mu mateeka go.” (Zabbuli 119:18) Gye tukoma okumanya Katonda n’amakubo ge, gye tukoma okutegeerera ddala obutuufu bw’ebigambo Isaaya bye yayogera: “Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza okugasa, akukulembera mu kkubo ly’oba oyitamu. Singa wawulira amateeka gange!” (Isaaya 48:17, 18) Yakuwa ayagala abantu be okwewala emitawaana era babeere n’obulamu obulungi nga bagoberera amateeka ge. Ka twekenneenye ensonga ezimu lwaki twanditutte amateeka ga Katonda nga ga muwendo.

12. Olw’okuba Yakuwa atumanyi bulungi, kimufuula kitya Omuteesi w’Amateeka asingayo obulungi?

12 Katonda waffe atuwa amateeka atumanyi bulungi. Okuva Yakuwa bw’ali Omutonzi waffe, alina okuba ng’atumanyi bulungi. (Zabbuli 139:1, 2; Ebikolwa 17:24-28) Mikwano gyaffe egy’oku lusegere, ab’eŋŋanda zaffe, oba ne bazadde baffe, tebayinza kutumanya nga Yakuwa bw’atumanyi. Mazima ddala, Yakuwa atumanyi bulungi nnyo n’okusinga ffe bwe twemanyi! Omutonzi waffe ategeerera ddala bulungi embeera zaffe ez’eby’omwoyo, enneewulira, n’ebyetaago byaffe eby’omubiri. Bw’aba akolagana naffe, alaga nti ategeera bulungi nnyo engeri gye twakolebwamu era ne bye twagala. Yakuwa amanyi ekkomo lyaffe, era amanyi obusobozi bwaffe obw’okukola ekirungi. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Amanyi omubiri gwaffe; ajjukira nga ffe tuli nfuufu.” (Zabbuli 103:14) N’olwekyo, tuyinza okufuna obukuumi mu by’omwoyo bwe tutambulira mu mateeka ge, ne tugoberera obulagirizi bwe.​—Engero 3:19-26.

13. Lwaki tuyinza okubeera abakakafu nti Yakuwa atufaako nnyo?

13 Katonda waffe oyo atuwa amateeka atwagala nnyo. Katonda afaayo nnyo ku mbeera yaffe ey’olubeerera. Teyeefiiriza nnyo n’awaayo Omwana we ‘okuba ekinunulo eky’abangi’? (Matayo 20:28) Era Yakuwa tatusuubizza nti ‘taatuganye kukemebwa okusinga bwe tuyinza’? (1 Abakkolinso 10:13) Era Baibuli tetukakasa nti ‘atufaako’? (1 Peetero 5:7) Tewali muntu n’omu ayagala okuwa abantu obulagirizi obusobola okubaganyula okusinga Yakuwa. Amanyi ebisobola okutuganyula era n’ebyo ebisobola okutuleetera essanyu oba ennaku. Wadde nga tetutuukiridde era nga tusobya, bwe tunoonya obutuukirivu, atulaga okwagala mu ngeri eyinza okutuviiramu obulamu n’emikisa.​—Ezeekyeri 33:11.

14. Amateeka ga Katonda gaawukana gatya ku ndowooza z’abantu?

14 Amateeka ga Katonda tegakyukakyuka. Mu biseera ebijjudde enkyukakyuka bye tulimu, Yakuwa tajjulukuka, era abeerawo emirembe gyonna. (Zabbuli 90:2) Yeeyogerako bw’ati: “Nze Mukama sikyuka.” (Malaki 3:6, NW) Emitindo gya Katonda egiri mu Baibuli gyesigika nnyo; tegiringa ndowooza z’abantu ezikyukakyuka buli kiseera. (Yakobo 1:17) Ng’ekyokulabirako, okumala emyaka mingi, abakugu abeekenneenya ebikwata ku ndowooza z’abantu baayigiriza nti abaana balina okuweebwa eddembe lingi. Naye ate oluvannyuma, abamu ku bo baakyusa endowooza zaabwe era ne bagamba nti baali bakyamu. Emitindo gy’ensi n’obulagirizi ku nsonga eno bikyukakyuka buli kiseera. Naye, Ekigambo kya Yakuwa tekikyukakyuka. Okumala ebyasa bingi, Baibuli ewadde okubuulirira ku ngeri y’okukuzaamu abaana mu kwagala. Omutume Pawulo yawandiika: “Bakitaabwe, temusunguwazanga baana bammwe: naye mubalerenga mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe.” (Abaefeso 6:4) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti tusobola okwesiga emitindo gya Yakuwa; tegigenda kukyukakyuka!

Emikisa Abo Abagondera Amateeka ga Katonda Gye Bafuna

15, 16. (a) Kiki ekinaavaamu singa tussa mu nkola emitindo gya Yakuwa? (b) Amateeka ga Katonda gasobola gatya okuyamba abafumbo?

15 Okuyitira mu nnabbi we Isaaya, Katonda yagamba: “Ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange . . . kiriraba omukisa.” (Isaaya 55:11) Awatali kubuusabuusa, bwe tufuba okugoberera emitindo egisangibwa mu Kigambo kye, tujja kutuuka ku buwanguzi era tujja kukola ebintu ebirungi era tujja kufuna essanyu.

16 Weetegereze engeri amateeka ga Katonda gye gasobola okuyambamu abafumbo okuba obulungi. Pawulo yawandiika: “Okufumbiriganwa [kube] kwa kitiibwa eri bonna, n’ekitanda [kibe] kirongoofu; kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango.” (Abaebbulaniya 13:4) Abafumbo basaanidde okwagalana n’okuwaŋŋana ekitiibwa: “Buli muntu ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yekka; n’omukazi atyenga bba.” (Abaefeso 5:33) Okwagala okw’ekika kino kwogerwako mu 1 Abakkolinso 13:4-8: “Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza. Tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga, tekusiba bubi ku mwoyo; tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n’amazima; kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriza byonna. Okwagala tekuggwaawo [“tekulemererwa,” NW] emirembe gyonna.” Obufumbo obwesigamiziddwa ku kwagala nga kuno, tebuyinza kuggwaawo.

17. Miganyulo ki egiva mu kugoberera emitindo gya Yakuwa egikwata ku kunywa omwenge?

17 Obujulizi obulala obulaga nti amateeka ga Yakuwa ga muganyulo, kwe kuba nti avumirira obutamiivu. Ate era tasiima abo ‘abanywa omwenge omungi.’ (1 Timoseewo 3:3, 8; Abaruumi 13:13) Bangi abasuula omuguluka emitindo gya Katonda ku nsonga eno, bafuna endwadde nnyingi ezireetebwa oba ezeeyongeramu amaanyi olw’okunywa ennyo omwenge. Nga basuula muguluka okubuulirira kwa Katonda okukwata ku kunywako ekitono, abamu bafunye omuze ogw’okunywa omwenge ekisukkiridde nga balowooza nti ‘kijja kubayamba okuwummuza ebirowoozo byabwe.’ Ebizibu ebiva mu kunywa omwenge ekisukkiridde bingi, bizingiramu okuggwaamu ekitiibwa, amaka okubeeramu ebizibu oba okusasika, okukozesa obubi ssente, n’okufiirwa omulimu. (Engero 23:19-21, 29-35) Kati olwo, emitindo gya Yakuwa egikwata ku kukozesa obulungi omwenge si bukuumi bwa maanyi gye tuli?

18. Ddala amateeka ga Katonda ga muganyulo ku nsonga ezikwata ku nsimbi? Nnyonnyola.

18 Amateeka ga Katonda era ga muganyulo ne ku nsonga ezikwata ku nsimbi. Baibuli ekubiriza Abakristaayo okubeera abeesigwa era abanyiikivu. (Lukka 16:10; Abaefeso 4:28; Abakkolosaayi 3:23) Olw’okuba bagoberera okubuulirira okwo, Abakristaayo bangi bakuziddwa ku mirimu oba basigadde ku mirimu gyabwe wadde ng’abalala bagobeddwa. Era omuntu ayinza okufuna emiganyulo mu by’ensimbi singa yeewala ebintu ebitakkiriziganya na Byawandiikibwa ng’okukuba zzaala, okunywa ttaaba n’okukozesa obubi amalagala. Awatali kubuusabuusa, oyinza okulowooza ku miganyulo emirala egikwatagana n’eby’ensimbi singa emitindo gya Katonda giba gigobereddwa.

19, 20. Lwaki kiba kya magezi okukkiriza n’okugoberera amateeka ga Katonda?

19 Kyangu abantu abatatuukiridde okuwaba okuva ku mateeka n’emitindo gya Katonda. Lowooza ku Baisiraeri nga bali ku Lusozi Sinaayi. Katonda yabagamba: “Bwe munaawuliranga eddoboozi lyange ddala, ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo munaabanga ekintu kyange ekiganzi mmwe mu mawanga gonna.” Baddamu: ‘Byonna Yakuwa by’ayogedde tujja kubikola.’ Naye tebaagoberera mateeka ga Katonda! (Okuva 19:5, 8; Zabbuli 106:12-43) Okubaawukanako, ka tukkirize era tweyongere okugoberera emitindo gya Katonda.

20 Kibeera kya magezi era kijja kutuviiramu essanyu singa tugoberera amateeka ga Yakuwa amalungi ennyo g’atuteereddewo okutuwa obulagirizi mu bulamu. (Zabbuli 19:7-11) Okusobola okukola ekyo obulungi, era twetaaga okutegeera era n’okusiima omuganyulo gw’emisingi gya Katonda. Kino kye kijja okukubaganyizibwako ebirowoozo mu kitundu ekiddako.

[Obugambo obuli wansi]

a Okumanya ebisingawo ebikwata ku “tteeka lya Kristo,” laba The Watchtower aka Ssebutemba 1, 1996, empapula 14-24.

Ojjukira?

• Lwaki tukakasa nti amateeka ga Katonda galiwo lwa kutuganyula?

• Lwaki twanditutte amateeka ga Yakuwa nga ga muwendo?

• Mu ngeri ki amateeka ga Katonda gye gali ag’omuganyulo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Ibulayimu yaweebwa emikisa mingi olw’okugondera amateeka ga Yakuwa

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 9]

Okweraliikirira okw’omu bulamu kuwugudde bangi ebirowoozo ne bava ku mateeka ga Katonda

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]

Okufaananako omunaala oguzimbiddwa ku lwazi, amateeka ga Katonda manywevu era tegakyukakyuka

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share