Etteeka ly’Okwagala Eriteekeddwa mu Mitima
“Nditeeka amateeka gange mu bitundu byabwe eby’omunda, era mu mutima gwabwe mwe ndigawandiik[a].”—YEREMIYA 31:33.
1, 2. (a) Kiki kye tugenda okwekenneenya mu kitundu kino? (b) Yakuwa yeeyoleka atya eri Abaisiraeri ku Lusozi Sinaayi?
MU BITUNDU ebibiri ebivuddeko, twalaba nti Musa bwe yava ku Lusozi Sinaayi yali amasamasa nnyo mu maaso, nga kino kyali kyoleka ekitiibwa kya Yakuwa. Ate era twalaba ensonga lwaki yabikkanga ku maaso ge. Kati ka tulabe engeri bino gye bikwata ku Bakristaayo mu kiseera kino.
2 Musa bwe yali ku lusozi, Yakuwa yamuwa amateeka. Ng’Abaisiraeri bakuŋŋaanidde okumpi n’Olusozi Sinaayi, Katonda yeeyoleka gye bali mu ngeri eyeewuunyisa. Waaliwo “okubwatuka n’okumyansa, n’ekire ekizimbye ku lusozi, n’eddoboozi ery’eŋŋombe eddene ennyo; awo abantu bonna abaali mu lusiisira ne bakankana. . . . Olusozi Sinaayi lwonna ne lunyooka omukka, kubanga Mukama yalukkirako mu muliro: omukka gwalwo ne gunyooka ng’omukka gw’ekikoomi olusozi lwonna ne lukankana.”—Okuva 19:16-18.
3. Yakuwa yatuusa atya Amateeka Ekkumi ku Baisiraeri, era kiki kye baategeera?
3 Yakuwa yayogera n’abantu okuyitira mu malayika era n’abawa ebiragiro, kati ebimanyiddwa ng’Amateeka Ekkumi. (Okuva 20:1-17) N’olwekyo, tewaaliwo kubuusabuusa kwonna nti amateeka ago gaali gavudde eri Omuyinza w’Ebintu Byonna. Yakuwa yawandiika amateeka ago ku bipande eby’amayinja—ebipande Musa bye yasuula wansi ne bimenyekamenyeka bwe yasanga Abaisiraeri nga basinza ennyana eya zaabu. Yakuwa yaddamu okuwandiika amateeka ago ku mayinja amalala. Ku mulundi guno, Musa bwe yava ku lusozi ng’alina ebipande ebyo, yali amasamasa nnyo mu maaso. N’olwekyo, abo bonna abaaliwo bandibadde bakitegeera nti amateeka ago makulu nnyo.—Okuva 32:15-19; 34:1, 4, 29, 30.
4. Lwaki Amateeka Ekkumi gaali makulu nnyo?
4 Ebipande ebyo ebibiri Amateeka Ekkumi kwe gaali gawandiikiddwa, byateekebwa mu ssanduuko y’endagaano eyabeeranga Awasinga Obutukuvu mu weema, era oluvannyuma yateekebwa mu yeekaalu. Amateeka agaali ku bipande ebyo, gaali galaga emisingi emikulu egyali mu ndagaano y’Amateeka ga Musa era Katonda ge yasinziirangako okufuga eggwanga lya Isiraeri. Gaali gakola ng’obujulizi obulaga nti Yakuwa yalina abantu ab’enjawulo be yali akolagana nabo, ye kennyini be yeerondera.
5. Tutegeerera ku ki nti Katonda bwe yawa Abaisiraeri Amateeka kyali kiraga nti abaagala?
5 Amateeka ago galina ebintu bingi bye gatutegeeza ku Yakuwa, n’okusingira ddala okwagala kwe yalina eri abantu be. Ng’abo abaagagondera baaganyulwa nnyo! Omwekenneenya omu yagamba nti, tewali mateeka bantu ge baali bataddewo agaali gasinze Amateeka Ekkumi obulungi. Ku bikwata ku Mateeka ga Musa gonna awamu, Yakuwa yagamba: “Bwe munaawuliranga eddoboozi lyange ddala, ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo munaabanga ekintu kyange ekiganzi mmwe mu mawanga gonna: kubanga ensi yonna yange: nammwe mulibeera o[b]wakabaka bwa bakabona, n’eggwanga ettukuvu.”—Okuva 19:5, 6.
Etteeka Eriteekeddwa mu Mutima
6. Mateeka ki ag’omuwendo ennyo okusinga n’ago agaawandiikibwa ku mayinja?
6 Yee, amateeka ga Katonda ago gaali ga muwendo nnyo. Naye, wali okimanyi nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta balina ekintu eky’omuwendo ennyo n’okusinga amateeka agaali ku mayinja? Yakuwa yagamba nti yali ajja kukola endagaano empya eteri nga ndagaano y’Amateeka gye yakola n’Abaisiraeri. Yagamba nti: ‘Nditeeka amateeka gange mu bitundu byabwe eby’omunda, era mu mutima gwabwe mwe ndigawandiika.’ (Yeremiya 31:31-34) Yesu, Omutabaganya w’endagaano empya, teyawa bagoberezi be mateeka gali mu buwandiike. Wabula, yateeka amateeka ga Yakuwa mu mitima gy’abayigirizwa be okuyitira mu bye yabayigirizanga ne bye yakolanga.
7. “Etteeka lya Kristo” lyasooka kuweebwa baani, era oluvannyuma baani abaaligondera?
7 Amateeka ago gonna awamu gayitibwa “etteeka lya Kristo.” Etteeka eryo lyasooka kuweebwa “Isiraeri wa Katonda,” eggwanga ery’omwoyo, so si Isiraeri ow’omubiri, bazzukulu ba Yakobo. (Abaggalatiya 6:2, 16; Abaruumi 2:28, 29) Isiraeri wa Katonda be Bakristaayo abaafukibwako amafuta. Oluvannyuma beegattibwako ‘ab’ekibiina ekinene’ abaali baagala okusinza Yakuwa, nga bava mu mawanga gonna. (Okubikkulirwa 7:9, 10; Zekkaliya 8:23) Nga bali “ekisibo kimu” wansi ‘w’omusumba omu,’ bonna bagondera “etteeka lya Kristo,” mu buli kye bakola.—Yokaana 10:16.
8. Njawulo ki eriwo wakati w’Amateeka ga Musa n’etteeka lya Kristo?
8 Obutafaananako Baisiraeri abaalina okukuuma Amateeka ga Musa olw’okuba baazaalibwa mu ggwanga lya Isiraeri, Abakristaayo bo bakuuma etteeka lya Kristo kyeyagalire, nga kino tekisinziira ku langi oba ekifo gye bazaalibwa. Bayiga ebikwata ku Yakuwa n’amakubo ge era baagala okukola by’ayagala. Nga balina etteeka lya Katonda “mu bitundu byabwe eby’omunda,” kwe kugamba ‘mu mitima gyabwe,’ Abakristaayo abaafukibwako amafuta tebagondera Katonda lwa kuba batya okubonerezebwa era tebakikola kutuusa butuusa luwalo. Obuwulize bwabwe n’obw’ab’endiga endala bwesigamiziddwa ku musingi omunywevu kubanga balina amateeka ga Katonda mu mitima gyabwe.
Amateeka Ageesigamiziddwa ku Kwagala
9. Yesu yakiraga atya nti amateeka ga Yakuwa gonna geesigamiziddwa ku kwagala?
9 Amateeka ga Yakuwa gonna gayinza okuwumbibwawumbibwako mu kigambo kimu: okwagala. Okuva edda n’edda okwagala kubaddenga kitundu kikulu eky’okusinza okulongoofu. Bwe yabuuzibwa etteeka erisingayo obukulu mu Mateeka gonna, Yesu yaddamu nti: “Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.” Ery’okubiri: “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” Oluvannyuma yagamba: “Mu biragiro bino byombi amateeka gonna mwe gasinziira, era ne bannabbi.” (Matayo 22:35-40) Wano Yesu yakyoleka nti, Amateeka omwali Ebiragiro Ekkumi si ge gokka agaali geesigamiziddwa ku kwagala, wabula n’Ebyawandiikibwa byonna eby’Olwebbulaniya nabyo byali byesigamiziddwa ku kwagala.
10. Tumanya tutya nti etteeka lya Kristo lyesigamiziddwa ku kwagala?
10 Etteeka eriteekeddwa mu mitima gy’Abakristaayo, nalyo lyesigamiziddwa ku kwagala Katonda ne muliraanwa? Awatali kubuusabuusa! Etteeka lya Kristo lizingiramu okwagala Katonda n’omutima gwaffe gwonna. Ate era, etteeka eppya likubiriza Abakristaayo okulagaŋŋana okwagala okw’okwerekereza. Balina okulagaŋŋana okwagala ng’okwo Yesu kwe yalaga abayigirizwa be, bwe yawaayo obulamu bwe ku lwabwe. Yayigiriza abagoberezi be okwagala Katonda n’okwagalana, nga bwe yabaagala. Okwagala ng’okwo ke kabonero akakulu akabaawulawo ng’Abakristaayo ab’amazima. (Yokaana 13:34, 35; 15:12, 13) Ate era, Yesu yabalagira n’okwagala abalabe baabwe.—Matayo 5:44.
11. Yesu yalaga atya nti ayagala Katonda n’abantu?
11 Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kulaga okwagala. Wadde nga yali kitonde kya maanyi mu ggulu, yakkiriza okujja ku nsi okukola Kitaawe by’ayagala. Ng’oggyeko okuba nti yawaayo obulamu bwe abantu basobole okufuna obulamu obutaggwaawo, yabalaga n’engeri y’okweyisaamu. Yali mwetoowaze, wa kisa, ng’afaayo ku balala, era ng’ayamba n’abalina ebizibu. Ate era, yabuulira abantu “ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo,” ng’akola butaweera okubayamba okumanya Yakuwa.—Yokaana 6:68.
12. Kakwate ki akaliwo wakati w’okwagala Katonda ne muliraanwa?
12 Waliwo akakwate wakati w’okwagala Katonda n’okwagala muliraanwa. Omutume Yokaana yawandiika: “Okwagala kuva eri Katonda . . . Omuntu bw’ayogera nti njagala Katonda, n’akyawa muganda we, mulimba; kubanga atayagala muganda we gwe yali alabyeko, Katonda gw’atalabangako tayinza kumwagala.” (1 Yokaana 4:7, 20) Yakuwa kwagala era ye nsibuko y’okwagala. Buli ky’akola akikola lwa kwagala. Olw’okuba naffe twatondebwa mu kifaananyi kye, tusobola okulaga abalala okwagala. (Olubereberye 1:27) Bwe tulaga baliraanwa baffe okwagala, kiba kiraga nti twagala Katonda.
Okwagala Kitegeeza Okuba Omuwulize
13. Kiki kye tulina okusooka okukola bwe tuba ab’okwagala Katonda?
13 Tuyinza tutya okwagala Katonda gwe tutasobola kulaba? Kye tulina okusooka okukola kwe kumutegeera. Tosobola kwagala oba okwesiga omuntu gw’otamanyi. N’olwekyo, Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okumanya Katonda nga twesomesa Baibuli, nga tusaba, era nga tukolagana n’abo abamumanyi era abamwagala. (Zabbuli 1:1, 2; Abafiripi 4:6; Abaebbulaniya 10:25) Enjiri ennya zisobola okutuyamba mu nsonga eno, kubanga zitulaga engeri za Yakuwa ezeeyolekera mu bulamu bwa Yesu Kristo n’ebyo bye yakola. Bwe tumanya Katonda era ne tusiima okwagala kwe yatulaga, kijja kutuleetera okukoppa engeri ze n’okumugondera. Yee, okwagala Katonda kizingiramu okuba omuwulize.
14. Lwaki amateeka ga Katonda tegazitowa?
14 Bwe tuba n’omuntu gwe twagala, tumanya by’ayagala ne tubikolerako era ne twewala okukola by’atayagala. Tetwagala kunyiiza mikwano gyaffe. Omutume Yokaana yawandiika nti: “Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa.” (1 Yokaana 5:3) Ebiragiro bya Katonda tebizitowa era si bingi. Buli kye tukola tukikola lwa kwagala. Tekitwetaagisa kukwata mateeka bukusu, wabula okwagala kwe tulina eri Katonda kwe kutukubiriza okukola by’ayagala. Bwe twagala Katonda, tusanyukira okukola by’ayagala. Bwe tukola Katonda by’ayagala atusiima, era amateeka ge galiwo ku lwa bulungi bwaffe.—Isaaya 48:17.
15. Kiki ekituleetera okukoppa Yakuwa? Nnyonnyola.
15 Okwagala kwe tulina eri Katonda kutukubiriza okukoppa engeri ze. Bwe tuba tulina omuntu gwe twagala, twegomba engeri ze era ne tugezaako okuzikoppa. Lowooza ku nkolagana eyaliwo wakati wa Yakuwa ne Yesu. Baali wamu mu ggulu oboolyawo okumala obuwumbi n’obuwumbi bw’emyaka. Baali baagalana nnyo. Yesu yayolekera ddala engeri za Kitaawe n’atuuka n’okugamba abayigirizwa be nti: “Alabye ku nze, ng’alabye ku Kitange.” (Yokaana 14:9) N’olw’ekyo bwe tumanya Yakuwa n’Omwana we era ne tusiima bye batukolera, tujja kwagala okukoppa engeri zaabwe. Okwagala kwe tuba nakwo eri Yakuwa awamu n’obuyambi bw’omwoyo gwe omutukuvu, bijja kutusobozesa ‘okweyambulako omuntu ow’edda ne twambale omuntu omuggya.’—Abakkolosaayi 3:9, 10; Abaggalatiya 5:22, 23.
Ebikolwa Ebyoleka Okwagala
16. Mu ngeri ki okubuulira n’okuyigiriza abantu gye kyolekamu nti twagala Katonda ne balirwana baffe?
16 Ng’Abakristaayo, okwagala Katonda ne muliraanwa kwe kutukubiriza okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka, n’okufuula abalala abayigirizwa. Bwe tukola omulimu ogwo, tusanyusa Yakuwa Katonda kubanga “ayagala abantu bonna okulokoka, era okutuuka mu kutegeerera ddala amazima.” (1 Timoseewo 2:3, 4) Ate naffe bwe tuyamba abalala okufuna etteeka lya Kristo mu mitima gyabwe, tufuna essanyu. Kitusanyusa nnyo bwe bakola enkukakyuka ne batandika okwoleka engeri za Yakuwa. (2 Abakkolinso 3:18) Mazima ddala, okuyamba abalala okumanya Katonda kye kintu ekisingirayo ddala obulungi kye tusobola okubakolera. Abo abafuuka mikwano gya Yakuwa basobola okubeera mikwano gye emirembe gyonna.
17. Lwaki kya magezi okwagala Katonda ne muliraanwa mu kifo ky’okuluubirira eby’obugagga?
17 Tuli mu nsi eyagala ennyo eby’obugagga. Naye eby’obugagga tebiba bya lubeerera. Essaawa yonna biyinza okubbibwa oba okwonooneka. (Matayo 6:19) Baibuli etulabula nti: “Ensi eggwaawo n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.” (1 Yokaana 2:16, 17) Yee, Yakuwa abeerawo emirembe gyonna era n’abo abamwagala bajja kubeerawo emirembe gyonna. N’olwekyo, tekyandibadde kya magezi okwagala Katonda n’abantu mu kifo ky’okuluubirira ebintu by’ensi eby’akaseera obuseera?
18. Omuminsani omu yalaga atya okwagala okw’okwerekereza?
18 Abo abooleka okwagala baweesa Yakuwa ekitiibwa. Lowooza ku kyokulabirako kya Sonia, omuminsani aweereza mu Senegal. Yasomanga Baibuli n’omukyala ayitibwa Heidi, eyafuna obulwadde bwa siriimu okuva ku mwami we ataali mujulirwa. Oluvannyuma lw’okufa kwa mwami we, Heidi yabatizibwa era wayita akaseera katono obulwadde ne bumunyiikirira n’aweebwa ekitanda. Sonia agamba: “Wadde ng’abasawo baali batono, baakola kyonna kye basobola. Ab’oluganda baasabibwa okugenda mu ddwaliro okulabirira mwannyinaffe oyo. Ku lunaku olwaddako nnasula ku mukeeka okumpi n’ekitanda kye, era nnamulabirira okutuusa lwe yafa. Omusawo eyali amujjanjaba yaŋŋamba nti: ‘Ekizibu eky’amaanyi kye tutera okufuna, ab’eŋŋanda balekerera ab’omu maka gaabwe bwe bakimanya nti balwadde ba siriimu. Naye ggwe, lwaki oteeka obulamu bwo mu kabi ne weewaayo okulabirira omuntu gw’otolinaako luganda, era atali wa ggwanga lyo?’ Nnamuddamu nti, Heidi abadde muganda wange ddala era tubadde ng’abaava mu nda emu. Olw’okuba tubadde ba mukwano, abadde nga muganda wange ow’omubiri, ye nsonga lwaki nneewaayo okumulabirira.” Amazima gali nti, Sonia teyatuukibwako kabi konna olw’okulabirira Heidi.
19. Okuva etteeka lya Katonda bwe liteekeddwa mu mitima gyaffe, kiki kye twandikoze?
19 Waliwo abaweereza ba Yakuwa bangi abalaze okwagala okw’okwerekereza. Leero, abantu ba Katonda tebaweereddwa lukalala lwa mateeka gali mu buwandiike nga ag’Abaisiraeri. Wabula, Abaebbulaniya 8:10, wagamba nti: “Eno ye ndagaano gye ndiragaana n’ennyumba ya Isiraeri oluvannyuma lw’ennaku ziri, bw’ayogera Mukama; nditeeka amateeka gange mu magezi gaabwe, era ne ku mutima gwabwe ndigawandiika; nange nnabeeranga Katonda gye bali nabo banaabeeranga bantu gye ndi.” N’olwekyo ka tweyongerenga okusiima etteeka ly’okwagala Yakuwa ly’atadde mu mitima gyaffe, nga tukozesa akakisa konna ke tufuna okulaga abalala okwagala.
20. Lwaki kikulu nnyo okubeera n’etteeka lya Kristo mu mutima gyaffe?
20 Nga kya ssanyu nnyo okuweereza Katonda nga tuli wamu ne baganda baffe okwetooloola ensi yonna abooleka okwagala! Abo abalina etteeka lya Kristo mu mitima gyabwe balina enkizo ey’amaanyi, mu nsi eno etaliimu kwagala. Ng’oggyeko okuba nti Yakuwa abaagala, balina oluganda olw’ensi yonna, era baagalana bokka na bokka. “Laba bwe kuli okulungi, bwe kusanyusa, ab’oluganda okutuula awamu nga batabaganye!” Abajulirwa ba Yakuwa bali bumu mu kukkiriza wadde nga bava mu nsi za njawulo, boogera ennimi za njawulo, era balina obuwangwa bwa njawulo. Olw’obumu obwo Yakuwa abawa emikisa gye. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Eyo [mu bantu abalagaŋŋana okwagala] Mukama gye yalagira [wabeeyo] omukisa, bwe bulamu obw’emirembe n’emirembe.”—Zabbuli 133:1-3.
Osobola Okuddamu?
• Amateeka Ekkumi gaali makulu kwenkana wa?
• Tteeka ki eriteekeddwa mu mitima gyaffe?
• Okwagala kulina kifo ki mu “tteeka lya Kristo”?
• Tuyinza tutya okulaga nti twagala Katonda ne balirwana baffe?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Abaisiraeri baalina amateeka agaali gawandiikiddwa ku mayinja
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20]
Abakristaayo balina etteeka lya Katonda mu mitima gyabwe