EBIRIMU
WIIKI EYA APULI 30, 2018–MAAYI 6, 2018
3 Omuntu Okufuuka Omukristaayo Aba Alina Okubatizibwa
WIIKI EYA MAAYI 7-13, 2018
8 Abazadde, Muyamba Omwana Wammwe Okukulaakulana Atuuke Okubatizibwa?
Kiruubirirwa ki kye tulina okuba nakyo nga tuyigiriza omuntu Bayibuli? Lwaki si kya magezi okulonzalonza okubatizibwa? Biki ebireetedde abazadde abamu Abakristaayo okugamba abaana baabwe okugira nga balindako okubatizibwa? Ebibuuzo ebyo n’ebirala bijja kuddibwamu mu bitundu bino ebibiri.
WIIKI EYA MAAYI 14-20, 2018
14 Kikulu Okwoleka Omwoyo ogw’Okusembeza Abalala!
Omutume Peetero yagamba Abakristaayo mu kyasa ekyasooka nti: “Musembezeganyenga.” (1 Peet. 4:9) Lwaki kikulu nnyo okukolera ku kubuulirira okwo leero? Tuyinza tutya okukolera ku kubuulirira okwo? Era tuyinza tutya okuba abagenyi abalungi? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu kino.
19 Ebyafaayo—Yakuwa Talekangayo Kunnyamba!
WIIKI EYA MAAYI 21-27, 2018
23 Okukangavvula—Bukakafu Obulaga nti Katonda Atwagala
WIIKI EYA MAAYI 28, 2018–JJUUNI 3, 2018
28 Kolera ku Kukangavvula Obe n’Amagezi
Ebitundu bino ebibiri bijja kutuyamba okukiraba nti okukangavvula Katonda kw’atuwa kulaga nti atwagala nnyo. Naye Katonda atukangavvula atya? Twanditutte tutya okukangavvula kw’atuwa? Era tuyinza tutya okuyiga okwekangavvula? Ebitundu bino biddamu ebibuuzo bino.