Ebirimu
WIIKI EYA JJUUNI 4-10, 2018
3 Engeri Gye Tuyinza Okufunamu Eddembe Erya Nnamaddala
WIIKI EYA JJUUNI 11-17, 2018
8 Weereza Yakuwa, Katonda ow’Eddembe
Abantu mu nsi yonna baagala okuweebwa eddembe erisingawo. Abakristaayo basaanidde kutunuulira batya eddembe? Ebitundu bino ebibiri bijja kutuyamba okumanya eddembe erya nnamaddala kye kitegeeza, engeri gye tuyinza okulifunamu, n’engeri gye tuyinza okukozesaamu eddembe ery’ekigero lye tulina mu ngeri etuganyula era eganyula n’abalala. Ate era tujja kulaba engeri gye tusobola okuwa Yakuwa, Katonda ow’eddembe, ekitiibwa.
13 Abakadde n’Abaweereza—Muyigire ku Timoseewo
WIIKI EYA JJUUNI 18-24, 2018
15 Koppa Yakuwa—Katonda Azzaamu Amaanyi
WIIKI EYA JJUUNI 25, 2018–JJULAAYI 1, 2018
20 Ka Tweyongere Okuzziŋŋanamu Amaanyi
Ebitundu bino biraga nti Yakuwa abaddenga azzaamu abaweereza be amaanyi era nti nabo bafubye okumukoppa. Era biraga ensonga lwaki kikulu nnyo leero okweyongera okuzziŋŋanamu amaanyi.
WIIKI EYA JJULAAYI 2-8, 2018
25 Abavubuka, Mulina Ebiruubirirwa eby’Omwoyo?
Abavubuka mu kibiina baganyulwa nnyo bwe beemalira ku kuweereza Yakuwa. Ekitundu kino kiraga emiganyulo egiri mu kweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo ng’okyali muto, n’ensonga lwaki kikulu okukulembeza omulimu gw’okubuulira.