Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Tuyinza tutya okuyamba abayizi baffe okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa?
Kino okusobola okukikola tulina (1) okubayigiriza Bayibuli obutayosa era mu ngeri eneebayamba okukulaakulana, (2) okubakubiriza okubeerangawo mu nkuŋŋaana zonna ettaano n’okuzenyigiramu, ne (3) okubatendeka n’okubakubiriza okubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu, bwe baba batuukirizza ebisaanyizo eby’omu Byawandiikibwa.
Yesu Kristo yalagira abagoberezi be okufuula abantu abayigirizwa, okubabatiza, n’okubayigiriza okukwata ebiragiro bye. Naffe tulina okukola omulimu ogwo kubanga Yesu yagamba nti: “Era laba! Ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu.”—Mat. 28:19, 20.
Omuyigirizwa y’oyo akkiriza enjigiriza z’omuntu omulala era n’azibunyisa. N’olwekyo, ng’omuntu tannabatizibwa ateekwa okuba ng’amanyi enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako era ng’atambuliza obulamu bwe ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. Okugatta ku ekyo, ng’abayigirizwa ba Yesu Kristo, basaanidde okugoberera obulagirizi bwe tufuna okuyitira mu kibiina kya Yakuwa, ekikulemberwa Yesu Kristo ng’ayitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Mat. 24:45-47; Bik. 1:8) Olw’okuba bategedde nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma, basazeewo okwegatta ku bantu ba Yakuwa mu kukola omulimu Yesu gwe yatandikawo era gwe yalagira abagoberezi be okukola. (Luk. 8:1; Mat. 24:14) Okubatizibwa ke kabonero akalaga nti abayigirizwa abo beewaddeyo eri Yakuwa Katonda.—Geerageranya ne Zabbuli 40:8.
Kikulu okukijjukira nti tuyamba abayizi ba Bayibuli okufuuka abagoberezi ba Yesu Kristo so si bagoberezi baffe. N’olwekyo, bwe kiba nti tetujja kusobola kuyamba muyizi wa Bayibuli kukulaakulana olw’okuba tulina ebiseera bitono oba olw’ensonga endala yonna, tusaanidde okutegeeza abakadde. Abakadde basobola okubaako kye bakolawo okulaba nti omuyizi wa Bayibuli akulaakulana mu by’omwoyo.—1 Kol. 3:5-9.
Omuyizi ne bw’aba ng’amaze okubatizibwa asaanidde okweyongera okuyiga okutuusa lw’amalako obutabo obubiri, Kiki Ddala Baibuli ky’Eyigiriza? ne ‘Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda.’ Bwe kiba nti akamu ku butabo oba obutabo bwombi temubulina mu lulimi omuyizi wa Bayibuli lw’akozesa, ebitabo ebirala ebikozesebwa mu kibiina kya Yakuwa, ebirimu enjigiriza ezisookerwako era ebinnyonnyola emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu, bisobola okukozesebwa.