Engeri y’Okukulaakulanyamu Obusobozi bw’Okunnyonnyola Obulungi
1 Ennyinnyonnyola emu ey’ekigambo “okunnyonnyola obulungi” kwe “kwogera n’omuntu omulala obeeko ky’okola ku nneeyisa ye oba ku ndowooza ye.” Okusobola okweyongera okukuguka mu buweereza bwo, weetaaga okukulaakulanya obusobozi bw’okunnyonnyola obulungi abo b’osanga. (Bik. 17:2-4) Naye osobola otya okukulaakulanya obusobozi buno?
2 Kitandika na Kufumiitiriza: Bw’oba oyiga amazima ga Baibuli, ojja kukisanga nga kya muganyulo okufumiitiriza ku by’osoma. Bwe wabaawo ebitundu ebikalubo, waayo ebiseera okunoonyereza era fumiitiriza ku ky’okuddamu. Tokoma ku kutegeera nnyinnyonnyola yokka eweereddwa naye era tegeera n’ensonga z’omu Byawandiikibwa ezeesigamiziddwako ennyinnyonnyola ezo.
3 Kitwaliramu Okweteekerateekera Obuweereza: Lowooza ku ngeri gye wandinnyonnyoddemu amazima abantu ab’ebika ebitali bimu. Tegeka ekibuuzo ekisikiriza ekireetera omuntu okulowooza. Funa engeri gy’onoogattamu ensonga okuva mu Byawandiikibwa era n’okuginnyonnyola obulungi. Lowooza ku biyinza okukubuuzibwa n’engeri gy’oyinza okubiddamu. Laga ensonga etuukirawo okuva mu kitabo ky’ogaba.
4 Goberera Ekyokulabirako kya Yesu: Yesu yateekawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi eky’okunnyonnyola obulungi Ebyawandiikibwa. Okusobola okwekenneenya engeri gye yayigirizaamu, soma ebiri mu Lukka 10:25-37. Weetegereze emitendera gino: (1) Kozesa Ebyawandiikibwa ng’oddamu ebibuuzo by’abantu. (2) Basabe bawe endowooza zaabwe, era beebaze nga bazzeemu bulungi. (3) Kakasa nti ekibuuzo n’Ebyawandiikibwa bikwatagana bulungi. (4) Kozesa ekyokulabirako ekituuka ku mutima okukakasa nti ensonga enkulu eri mu ky’okuddamu agitegedde.—Laba Watchtower aka Maaki 1, 1986, empapula 27-8, obutundu 8-10.
5 Weeyambise Eky’Okukozesa Kye Twaweebwa: Akatabo Reasoning From the Scriptures kaakubibwa okweyambisibwa mu buweereza bw’omu nnimiro. Ennyanjula ezikalimu, eby’okuddamu abaziyiza emboozi, era n’ensonga ez’okwogerako bituyamba okukulaakulanya obusobozi bw’okunnyonnyola obulungi. Akatabo Reasoning kya kukozesa eky’omugaso ennyo kye twandibadde nakyo bulijjo mu buweereza era ne tukikozesa nga tukubaganya ebirowoozo ku Baibuli. Weetegereze ebiri ku mpapula 7-8 ez’akatabo ako okulaba engeri y’okukakozesaamu obulungi.
6 Okukulaakulanya obusobozi bw’okunnyonnyola obulungi kujja kukuyamba okukuguka mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza. Kino kijja kukuviiramu emikisa mingi era n’abo b’osanga mu buweereza.