Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Kisaanira okukuba mu ngalo bwe balanga nti omuntu akomezeddwawo mu kibiina?
Mu kisa kye eky’okwagala, Yakuwa Katonda ataddewo ekkubo ery’omu Byawandiikibwa erisobozesa aboonoonyi abeenenya okuddamu okusiimibwa gy’ali era n’okukomezebwawo mu kibiina Ekikristaayo. (Zab. 51:12, 17) Kino bwe kibaawo, tukubirizibwa okulaga okwagala kwaffe eri abalinga abo abeenenyezza.—2 Kol. 2:6-8.
Wadde kiri kityo, era nga tuba basanyufu nnyo ow’eŋŋanda zaffe oba ow’omukwano ng’akomezeddwawo mu kibiina, obukkakkamu n’ekitiibwa byandibaddewo mu kiseera ekyo ng’okukomezebwawo kw’omuntu kulangirirwa mu kibiina. Omunaala gw’Omukuumi aka Okitobba 1, 1998, ku lupapula 29, kaagamba bwe kati: “Kyokka, tuteekwa okujjukira nti abasinga obungi mu kibiina tebamanyi kyaviirako muntu kugobebwa mu kibiina oba okukomezebwawo. Ate era, wayinza okubaawo abaakwatibwako oba abaakosebwa—oboolyawo okumala ekiseera kiwanvu—olw’ekibi ky’oyo eyeenenyezza. N’olwekyo, olw’okukwatibwako ennyo ensonga ng’ezo, bwe balanga nti akomezeddwawo, kitegeerekeka singa ebikolwa eby’okumwaniriza birekerwa buli muntu kinnoomu.”
Wadde tuba basanyufu nnyo okulaba omuntu ng’akomyewo mu mazima, okukuba mu ngalo mu kiseera ekyo ng’akomezeddwawo kwandibadde tekusaanira.