LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • od sul. 14 lup. 141-156
  • Okukuuma Emirembe mu Kibiina n’Okukikuuma nga Kiyonjo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okukuuma Emirembe mu Kibiina n’Okukikuuma nga Kiyonjo
  • Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OKUGONJOOLA OBUTATEGEERAGANA OBUTONOTONO
  • OKUKOZESA EBYAWANDIIKIBWA OKUBUULIRIRA AB’OLUGANDA
  • OKUSSA ERIISO KU ABO ABATATAMBULA BULUNGI
  • OKUGONJOOLA EBIZIBU EBY’AMAANYI WAKATI W’AB’OLUGANDA
  • EBIBI EBY’AMAANYI
  • OKULANGA NTI OW’OLUGANDA AKANGAVVUDDWA
  • BWE KISALIBWAWO NTI OMUNTU AGOBEBWE MU KIBIINA
  • OKULANGA NTI OMUNTU AGOBEDDWA MU KIBIINA
  • OKWEYAWULA KU KIBIINA
  • OKUKOMEZEBWAWO MU KIBIINA
  • OKULANGA NTI OMUNTU AKOMEZEDDWAWO MU KIBIINA
  • OMWANA OMUBATIZE BW’AKOLA EKIBI EKY’AMAANYI
  • OMUBUULIZI ATALI MUBATIZE BW’AKOLA EKIBI EKY’AMAANYI
  • YAKUWA AWA OMUKISA EKIBIINA KYE EKIYONJO ERA EKIRIMU EMIREMBE
  • Kkirizanga Okukangavvula kwa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Engeri Abakadde Gye Bayinza Okulaga Aboonoonyi Okwagala n’Obusaasizi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Engeri Abakadde Gye Bayinza Okuyamba Abo Ababa Baggiddwa mu Kibiina
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
od sul. 14 lup. 141-156

ESSUULA 14

Okukuuma Emirembe mu Kibiina n’Okukikuuma nga Kiyonjo

BULI mwaka abantu nkumi na nkumi beegatta ku kusinza okulongoofu, era kino kituukiriza obunnabbi bwa Bayibuli. (Mi. 4:1, 2) Kitusanyusa nnyo okulaba abantu nga beegatta ku ‘kibiina kya Katonda.’ (Bik. 20:28) Basiima nnyo enkizo ey’okuweereza Yakuwa nga bali wamu naffe, era n’okubeera mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo oluyonjo era omuli emirembe. Omwoyo gwa Katonda omutukuvu n’obulagirizi bwe tufuna mu Kigambo kya Katonda bituyamba okuba mu mirembe ne baganda baffe era n’okukuuma ekibiina nga kiyonjo.​—Zab. 119:105; Zek. 4:6.

2 Bwe tukolera ku misingi gya Bayibuli, twambala “omuntu omuggya.” (Bak. 3:10) Obutategeeragana bwe tuyinza okuba nabwo tubussa ku bbali. Okutunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira kituyamba okwewala ebintu by’ensi ebireetawo enjawukana era kitusobozesa okukolera awamu ng’ab’oluganda.​—Bik. 10:34, 35.

3 Wadde kiri kityo, oluusi wabaawo ebitabangula emirembe mu kibiina. Ekyo kiva ku ki? Ebiseera ebisinga obungi, kiva ku kulemererwa kugoberera misingi gya Bayibuli. Ffenna tetutuukiridde era tewali n’omu ku ffe atayonoona. (1 Yok. 1:10) Ow’oluganda ayinza okukola ekintu ekibi ne kireetera ekibiina obutaba kiyonjo mu mpisa oba mu by’omwoyo. Tuyinza okwogera oba okukola ekintu ne kinyiiza muganda waffe, oba tuyinza okwesittala olw’ekyo muganda waffe ky’aba ayogedde oba ky’aba akoze. (Bar. 3:23) Ebintu ng’ebyo bwe bibaawo, kiki kye tusaanidde okukola?

4 Yakuwa akimanyi nti ebyo byonna bisobola okubaawo era Ekigambo kye kitubuulira kye tusaanidde okukola mu mbeera ng’ezo. Abakadde mu kibiina nabo basobola okutuyamba. Bwe tukolera ku magezi ge batuwa agava mu Byawandiikibwa, tusobola okuzzaawo enkolagana ne baganda baffe era ne tusigala nga tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa. Bwe tuwabulwa oba bwe tukangavvulwa olw’ensobi gye tuba tukoze, ekyo kiba kiraga nti Kitaffe ow’omu ggulu atwagala nnyo.​—Nge. 3:11, 12; Beb. 12:6.

OKUGONJOOLA OBUTATEGEERAGANA OBUTONOTONO

5 Oluusi ab’oluganda mu kibiina bafuna obutategeeragana obutonotono. Obutategeeragana obwo busaanidde okugonjoolwa awatali kulwa. (Bef. 4:26; Baf. 2:2-4; Bak. 3:12-14) Bw’ofuna obutategeeragana ne Mukristaayo munno, osobola okubugonjoola ng’okolera ku kubuulirira kwa Peetero okugamba nti, “mwagalanenga nnyo, kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi.” (1 Peet. 4:8) Bayibuli egamba nti: “Emirundi mingi ffenna tusobya.” (Yak. 3:2) Bwe tukolera ku musingi ogutukubiriza akukola abalala kye twagala batukole, tusobola okusonyiwa baganda baffe ne twerabira ensobi ze baakola.​—Mat. 6:14, 15; 7:12.

6 Bw’okitegeera nti waliwo eyayisiddwa obubi olw’ekyo kye wakoze oba kye wayogedde, osaanidde okubaako ky’okolawo okuzzaawo emirembe awatali kulwa. Kijjukire nti ekyo kiba kikwata ne ku nkolagana yo ne Yakuwa. Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Bw’oba otutte ekirabo kyo ku kyoto n’ojjukira nti muganda wo alina ky’akwemulugunyaako, ekirabo kyo kireke mu maaso g’ekyoto osooke ogende otabagane ne muganda wo, n’oluvannyuma oddeyo oweeyo ekirabo kyo.” (Mat. 5:23, 24) Oyo aba yayisiddwa obubi ayinza okuba nga teyakutegedde bulungi. N’olwekyo, yogerako naye. Bwe wabaawo empuliziganya ennungi mu kibiina, kiyamba ab’oluganda okugonjoola amangu obutategeeragana obuba buzzeewo.

OKUKOZESA EBYAWANDIIKIBWA OKUBUULIRIRA AB’OLUGANDA

7 Oluusi abakadde bayinza okukiraba nti beetaaga okwogerako n’ow’oluganda basobole okutereeza endowooza ye. Kino tekitera kuba kyangu. Pawulo yagamba Abakristaayo abaali mu kibiina ky’e Ggalatiya nti: “Ab’oluganda, omuntu ne bw’aba ng’akutte ekkubo ekkyamu nga tannakitegeera, mmwe abalina ebisaanyizo eby’eby’omwoyo mugezeeko okumutereeza nga mukikola mu mwoyo omukkakkamu.”​—Bag. 6:1.

8 Abakadde bwe balabirira obulungi ekisibo, ab’oluganda baba mu mbeera nnungi mu by’omwoyo era ekibiina tekibaamu bizibu bya maanyi. Abakadde bafuba okulaba nti engeri gye balabiriramu ekibiina etuukagana n’ekyo Yakuwa kye yayogera okuyitira mu nnabbi Isaaya. Yagamba nti: “Buli omu aliba ng’ekifo eky’okwekwekamu okuwona embuyaga, ng’ekifo eky’okweggamamu enkuba ey’amaanyi, aliba ng’emigga mu nsi etaliimu mazzi, ng’ekisiikirize ky’olwazi olunene mu nsi enkalu.”​—Is. 32:2.

OKUSSA ERIISO KU ABO ABATATAMBULA BULUNGI

9 Omutume Pawulo yalabula ab’oluganda ku bantu abaali bayinza okwonoona ekibiina. Yagamba nti: “Tubalagira . . . okweyawula ku buli wa luganda atatambula bulungi era atagoberera ebyo bye mwafuna okuva gye tuli.” Yatangaazaamu ku nsonga eyo ng’agamba nti: “Singa omuntu yenna tagondera kigambo kyaffe ekiri mu bbaluwa eno, mumusseeko eriiso, era mulekere awo okukolagana naye, alyoke akwatibwe ensonyi. Kyokka temumutwalanga ng’omulabe, naye mweyongere okumubuulirira ng’ow’oluganda.”​—2 Bas. 3:6, 14, 15.

10 Oluusi ow’oluganda ayinza okukola ekintu ekiraga nti agaanidde ddala okutambulira ku mitindo gya Katonda Abakristaayo gye balina okutambulirako, wadde ng’ekintu ky’aba akola kiyinza obutamugobya mu kibiina. Ng’ekyokulabirako, ayinza okuba nga mugayaavu nnyo, nga yeemulugunya nnyo, oba nga mucaafu nnyo, oba nga ‘yeeyingiza mu nsonga ezitamukwatako.’ (2 Bas. 3:11) Ayinza n’okuba ng’akozesa olukujjukujju okubaako bye yeefunira, oba nga yeesanyusaamu mu ngeri etesaana. Ow’oluganda bw’aba yeeyisa bw’atyo kireeta ekivume ku kibiina, era abalala bayinza okutandika okweyisa nga ye.

11 Ow’oluganda oyo abakadde basooka kugezaako okumuyamba nga bakozesa Bayibuli. Kyokka bwe yeeyongera okusuula omuguluka emisingi gya Bayibuli ng’amaze okubuulirirwa enfunda n’enfunda, abakadde bayinza okusalawo okuwa emboozi erabula ab’oluganda ku nneeyisa ng’eyo. Kyokka ng’abakadde tebannasalawo kuwa mboozi eyo, balina kusooka kukakasa nti enneeyisa y’ow’oluganda oyo mbi nnyo era yeesittaza abalala mu kibiina. Emboozi eyo bw’eba eweebwa, omwogezi tayogera linnya lya wa luganda eyeeyisa obubi. Wadde ng’abo abamanyi ow’oluganda eyeeyisa bw’atyo baba basobola okweyongera “okumubuulirira ng’ow’oluganda,” tebasaanidde kweyongera kuba na nkolagana ya ku lusegere naye.

12 Ab’oluganda bwe beewala okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’ow’oluganda atatambula bulungi, kiyinza okumuleetera okukwatibwa ensonyi n’akola enkyukakyuka. Bwe kyeyoleka obulungi nti ow’oluganda oyo aleseeyo ebintu ebibi by’abadde akola, kiba tekikyetaagisa kumussaako liiso.

OKUGONJOOLA EBIZIBU EBY’AMAANYI WAKATI W’AB’OLUGANDA

13 Bwe tubuusa amaaso ensobi z’abalala era bwe tubasonyiwa, tekitegeeza nti tuwagira ebintu bye baba bakoze oba nti tetubitwala nti bibi. Tekiri nti ebibi byonna abantu bye bakola biva ku butali butuukirivu, era tekiba kituufu kubuusa maaso ekibi eky’amaanyi omuntu ky’aba akoze. (Leev. 19:17; Zab. 141:5) Mu mateeka ga Musa ebibi ebimu byabanga bya maanyi okusinga ebirala, era bwe kityo bwe kiri ne mu kibiina Ekikristaayo.​—1 Yok. 5:16, 17.

14 Yesu yalaga engeri y’okugonjoolamu ebizibu eby’amaanyi ebiyinza okubaawo wakati w’ab’oluganda. Weetegereze emitendera egirina okugobererwa: “Muganda wo bw’ayonoona, [1] genda omulage ensobi ye nga muli mmwekka ggwe naye. Bw’akuwuliriza, ojja kuba okomezzaawo muganda wo mu kkubo ettuufu. Naye bw’atakuwuliriza, [2] twalayo omuntu omulala omu oba babiri, buli nsonga eryoke ekakasibwe nga waliwo obujulizi bwa bantu babiri oba basatu. Bw’atabawuliriza, [3] yogera n’ekibiina. Ekibiina nakyo bw’atakiwuliriza, mutwale nga munnaggwanga oba omusolooza w’omusolo.”​—Mat. 18:15-17.

15 Okusinziira ku kyokulabirako Yesu kye yawa ng’amaze okwogera ebigambo ebyo, ekiri mu Matayo 18:23-35, kirabika ekimu ku bibi ebyogerwako mu Matayo 18:15-17 kikwata ku bya nsimbi, oba ebintu ebirala eby’obwannannyini. Ng’ekyokulabirako, omuntu bw’atasasula munne ssente z’amubanja oba bw’amukumpanya. Ate era ekibi ekyo kiyinza okuba eky’okuwaayiriza omuntu, ne kiviirako erinnya lye okwonooneka.

16 Bw’oba olina obujulizi obulaga nti waliwo ow’oluganda eyakukola ekintu ng’ekyo, toyanguyiriza kusaba bakadde kuyingira mu nsonga zammwe. Nga Yesu bwe yagamba, sooka oyogere n’ow’oluganda oyo. Fuba okulaba nti ensonga eyo mugigonjoola babiri, ggwe naye, nga temuyingizzaamu muntu mulala. Yesu teyagamba nti ‘genda oyogere naye omulundi gumu gwokka, awo olyoke oyingizeemu abantu abalala.’ N’olwekyo, omuntu bw’aba takkirizza nsobi ye era nga takwetondedde, kiyinza okukwetaagisa okuddamu okwogerako naye omulundi omulala. Ensonga bw’egonjoolwa mu ngeri eyo, oyo eyakola ensobi ajja kuba musanyufu okukimanya nti tewabuulirako balala ku nsobi ye oba nti tewayonoona linnya lye mu kibiina. Mu ngeri eyo, ojja kuba “okomezzaawo muganda wo mu kkubo ettuufu.”

17 Oyo eyasobya bw’akkiriza ensobi ye, n’asaba ekisonyiwo, era n’abaako ky’akola okutereeza ensonga, kiba tekyetaagisa kwongerayo nsonga eyo. Ensobi ne bw’eba nga ya maanyi, esobola okugonjoolwa abantu ababiri abakwatibwako.

18 Bwe muba temusobodde kugonjoola nsonga eyo “nga muli mmwekka ggwe naye,” awo oyinza okukola nga Yesu bwe yagamba, ‘n’otwalayo omuntu omulala omu oba babiri.’ Abo b’otwalayo nabo basaanidde okuba n’ekigendererwa eky’okukomyawo muganda wo mu kkubo ettuufu. Kiba kirungi abo b’otwalayo ne baba nga baaliwo ne balaba oba ne bawulira ekyaliwo, naye bw’oba nga tolina bajulizi, oyinza okusaba omuntu omu oba babiri babe abajulizi ng’ozzeeyo okwogera naye. Abantu abo bayinza okuba nga balina obumanyirivu ku nsonga gye mwagala okugonjoola, era nga basobola okutegeera obanga ddala ekyakolebwa kyali kikyamu. Abakadde ababa basabiddwa okuba abajulizi baba tebakiikirira kibiina, kubanga akakiiko k’abakadde si ke kaba kabalonze okukola ku nsonga eyo.

19 Ensonga bw’eba tegonjoddwa oluvannyuma lw’okwogera n’ow’oluganda enfunda eziwera​—nga wayogera naye nga muli mmwekka ate n’oddayo n’omuntu omu oba babiri​—era ng’owulira nti tosobola kugireka, awo oba osobola okugitwala mu bakadde b’omu kibiina. Kijjukire nti ekigendererwa ky’abakadde kwe kulaba nti ekibiina kisigala nga kiyonjo era nga kirimu emirembe. Ensonga bw’omala okugitwala mu bakadde, kiba kirungi n’ogibalekera era ne weesiga Yakuwa. Tokkirizanga nneeyisa ya muntu yenna kukwesittaza oba okukumalako essanyu ly’ofuna mu kuweereza Yakuwa.​—Zab. 119:165.

20 Abakadde baba bajja kunoonyereza ku nsonga eyo. Bwe bakizuula nti omuntu oyo kye yakola kibi kya maanyi, ate ng’agaanye okwenenya n’okubaako ky’akolawo okutereeza ensonga, bayinza okusalawo okumugoba mu kibiina. Ekyo kisobozesa ekibiina okusigala nga kiyonjo.​—Mat. 18:17.

EBIBI EBY’AMAANYI

21 Bwe kituuka ku bibi eby’amaanyi, gamba ng’obwenzi, okulya ebisiyaga, okuvvoola, obwakyewaggula, okusinza ebifaananyi, n’ebibi ebirala ebiri ng’ebyo, kiba tekimala oyo gwe baakikola okusonyiwa eyakimukola. (1 Kol. 6:9, 10; Bag. 5:19-21) Olw’okuba ebibi ng’ebyo bisobola okuleetera ekibiina obutaba kiyonjo mu by’omwoyo ne mu mpisa, abakadde baba balina okutegeezebwa nga waliwo akoze ekibi ng’ekyo. (1 Kol. 5:6; Yak. 5:14, 15) Ab’oluganda abamu bwe baba bakoze ekibi eky’amaanyi oba bwe bakitegeerako nti waliwo omuntu omulala akoze ekibi eky’amaanyi, bagenda eri abakadde ne babategeeza. (Leev. 5:1; Yak. 5:16) Abakadde bwe bakiwulirako nti omubuulizi omubatize akoze ekibi eky’amaanyi, abakadde babiri baba balina okunoonyereza ku nsonga eyo. Bwe kizuulibwa nti ddala ow’oluganda yakola ekibi eky’amaanyi era nga waliwo n’obukakafu obulaga nti yakikola, akakiiko k’abakadde kalonda akakiiko akalamuzi okukola ku nsonga eyo. Akakiiko ako kabaako abakadde basatu, oba n’okusingawo.

22 Abakadde bafuba okulabirira ekisibo kireme kutuukibwako kabi konna mu by’omwoyo. Ate era bafuba okukozesa Ekigambo kya Katonda okutereeza oyo aba akoze ekibi n’okumuyamba okuddamu amaanyi mu by’omwoyo. (Yud. 21-23) Bakola ebyo omutume Pawulo bye yakuutira Timoseewo okukola. Yamugamba nti: “Nkukuutira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu aliramula abalamu n’abafu, . . . Nenyanga, labulanga, buuliriranga, ng’olaga obugumiikiriza era ng’oyigiriza mu ngeri ennungi.” (2 Tim. 4:1, 2) Okukola ebintu ebyo kiyinza okutwala ebiseera bingi, naye ebyo bye bimu ku bintu abakadde bye balina okukola. Ab’oluganda mu kibiina basiima nnyo abakadde bye bakola era bakitwala nti bagwanira ‘okussibwamu ennyo ekitiibwa.’​—1 Tim. 5:17.

23 Abakadde bwe bakizuula nti ow’oluganda yakola ekibi eky’amaanyi, ekigendererwa kyabwe ekikulu kiba kya kumuyamba kuzzaawo nkolagana ye ne Yakuwa. Bwe yeenenya mu bwesimbu, abakadde ne bamukangavvula mu kyama oba mu maaso g’abajulizi abaamulumiriza, kimuyamba okulaba nti alina okulongoosa mu nneeyisa ye era ne kiyamba n’abalala okutya okukola ekibi eky’amaanyi. (2 Sam. 12:13; 1 Tim. 5:20) Ow’oluganda bw’akangavvulwa mu kyama oba mu lujjudde, wabaawo enkizo ezimuggibwako. Ekyo kiyinza okumuyamba ‘okutereeza amakubo ge.’ (Beb. 12:13) Oluvannyuma lw’ekiseera, bw’aba akoze enkyukakyuka ezeetaagisa, enkizo ezo zimuddizibwa.

OKULANGA NTI OW’OLUGANDA AKANGAVVUDDWA

24 Akakiiko akalamuzi bwe kakiraba nti ow’oluganda yeenenyezza naye nga kye yakola kiyinza okumanyibwa mu kibiina oba mu kitundu, oba bwe kiba nti ab’oluganda mu kibiina beetaaga okuba abeegendereza nga bakolagana n’ow’oluganda oyo, ekirango kiyinza okuyisibwa mu lukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo. Ekirango ekyo kiba kigamba nti: “Ow’oluganda oba mwannyinaffe [Erinnya lye] akangavuddwa.”

BWE KISALIBWAWO NTI OMUNTU AGOBEBWE MU KIBIINA

25 Ow’oluganda aba akoze ekibi eky’amaanyi oluusi ayinza okuwaganyala n’agaana okuwuliriza abakadde kye bamugamba, era nga mu kiseera ekyo tewali ‘bikolwa biraga nti yeenenyezza.’ (Bik. 26:20) Mu mbeera ng’eyo, abakadde bakola batya? Omuntu oyo aba alina okugobebwa mu kibiina, bw’atyo n’aba nga takyasobola kukolagana na bantu ba Yakuwa. Omuntu omubi bw’aggibwa mu kibiina, kisigala nga kiyonjo mu by’omwoyo ne mu mpisa, era tekibaako kivume. (Ma. 21:20, 21; 22:23, 24) Omutume Pawulo bwe yakitegeerako nti mu kibiina ky’e Kkolinso waaliyo ow’oluganda eyali akoze ekintu ekibi ennyo, yagamba abakadde nti “omusajja oyo mumuweeyo eri Sitaani . . . , omwoyo [gw’ekibiina] gusobole okuwonawo.” (1 Kol. 5:5, 11-13) Pawulo yayogera ne ku bantu abalala abaagobebwa mu kibiina mu kyasa ekyasooka.​—1 Tim. 1:20.

26 Abakadde abali ku kakiiko akalamuzi bwe baba basazeewo nti ow’oluganda eyakola ekibi eky’amaanyi asaanidde okugobwa mu kibiina, baba balina okumutegeeza ekisaliddwawo, era n’ensonga ey’omu Byawandiikibwa kwe basinzidde. Akakiiko akalamuzi bwe kamala okumutegeeza ekisaliddwawo, kamutegeeza nti bw’aba awulira nti ensonga ze tezikoleddwako mu bwenkanya era ng’ayagala kujulira, asaanidde okuwandiika ebbaluwa n’alaga ensonga lwaki ajulidde. Oyo ayagala okujulira alina okukikola mu bbanga eritasukka nnaku musanvu, nga zibalibwa okuva ku olwo akakiiko lwe kamutegeezezza nti agobeddwa mu kibiina. Abakadde bwe bafuna ebbaluwa eraga nti ajulidde, bategeeza omulabirizi w’ekitundu, era omulabirizi w’ekitundu alonda abakadde abanaabeera ku kakiiko akanaddamu okuwulira ensonga ze. Abakadde abo bafuba okulaba nti ensonga eyo bagikolako mu bbanga eritasukka wiiki emu okuva lwe baafuna ebbaluwa y’oyo ajulidde. Ow’oluganda bw’ajulira, basooka ne balindako okumulanga nti agobeddwa. Mu kiseera ekyo, ow’oluganda oyo aba takkirizibwa kukulembera balala mu kusaba wadde okuddamu ebibuuzo mu nkuŋŋaana, era aggibwako enkizo zonna z’abadde nazo.

27 Omuntu okuweebwa akakisa okujulira kikolwa kya kisa era ensonga ze ziba zigenda kuddamu okwetegerezebwa. N’olwekyo, singa omuntu oyo asalawo obutajja eri akakiiko akagenda okuddamu okuwuliriza ensonga ze, wadde nga bafubye nnyo okumuyita abeewo, ekirango kiyisibwa mu kibiina nti agobeddwa.

28 Ow’oluganda gwe bagambye nti agobeddwa mu kibiina bw’aba taajulire, abakadde abali ku kakiiko akalamuzi bamunnyonnyola ensonga lwaki yeetaaga okwenenya era ne bamubuulira ne by’alina okukola okusobola okukomezebwawo mu kibiina. Ekyo kiba kikolwa kya kisa era abakadde bakikola nga balina essuubi nti ajja kukola enkyukakyuka asobole okukomezebwawo mu kibiina kya Yakuwa.​—2 Kol. 2:6, 7.

OKULANGA NTI OMUNTU AGOBEDDWA MU KIBIINA

29 Ow’oluganda aba akoze ekibi eky’amaanyi n’ateenenya bw’agobebwa mu kibiina, ekirango kiyisibwa. Kiba kigamba nti: “[Erinnya lye] takyali Mujulirwa wa Yakuwa.” Ab’oluganda mu kibiina bwe bakiwulira, balekera awo okukolagana n’omuntu oyo.​—1 Kol. 5:11.

OKWEYAWULA KU KIBIINA

30 Omuntu aba “yeeyawudde ku kibiina” y’oyo aba akiragidde ddala nti takyayagala kubeera oba kuyitibwa Mujulirwa wa Yakuwa, oba akola ebintu ebiraga nti takyali mu kibiina kya Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, ayinza okwegatta ku kibiina ekirina ebigendererwa ebikontana n’enjigiriza za Bayibuli era Yakuwa ky’asalidde omusango.​—Is. 2:4; Kub. 19:17-21.

31 Omutume Yokaana bwe yali ayogera ku abo abeeyawula ku kibiina Ekikristaayo mu kiseera kye, yagamba nti: “Baava mu ffe naye tebaali bamu ku ffe; kubanga singa baali bamu ku ffe bandibadde basigala mu ffe.”​—1 Yok. 2:19.

32 Omuntu eyeeyawudde ku kibiina n’omuntu atakyabuulira, Yakuwa abatunuulira mu ngeri za njawulo. Omuntu ayinza okulekera awo okubuulira olw’okuba abadde takyasoma Kigambo kya Katonda obutayosa, bw’atyo n’aba ng’anafuye mu by’omwoyo. Ayinza okuba n’ebizibu oba ng’ayigganyizibwa, ekyo ne kimuleetera okuggwaamu amaanyi. Abakadde n’ab’oluganda abalala mu kibiina baba basaanidde okweyongera okuyamba Omukristaayo atakyabuulira asobole okuddamu amaanyi mu by’omwoyo.​—Bar. 15:1; 1 Bas. 5:14; Beb. 12:12.

33 Kyokka Omukristaayo bw’asalawo okweyawula ku kibiina, ekirango kiyisibwa mu kibiina. Ekirango ekyo kiba kigamba nti: “[Erinnya lye] takyali Mujulirwa wa Yakuwa.” Omuntu oyo atwalibwa ng’omuntu agobeddwa mu kibiina.

OKUKOMEZEBWAWO MU KIBIINA

34 Omuntu aba agobeddwa oba oyo eyeeyawudde ku kibiina, ayinza okukomezebwawo mu kibiina bw’akiraga nti yeenenyeza era nti akyusizza empisa ze. Aba akiraze nti ayagala okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Abakadde baleka ekiseera ekimala okuyitawo kisobole okweyoleka nti oyo eyagobebwa yeenenyezza mu bwesimbu. Ekiseera ekyo kiyinza okuba emyezi egiwerako, omwaka, oba n’okusingawo. Akakiiko k’abakadde bwe kafuna ebbaluwa okuva eri omuntu asaba okukomezebwawo, akakiiko akanaakola ku ky’okumuzza koogera naye. Akakiiko ako katunula mu nsonga ze ne kalaba obanga ‘ebikolwa bye biraga nti yeenenyezza,’ olwo ne kalyoka kasalawo obanga asaanidde okukomezebwawo mu kiseera ekyo.​—Bik. 26:20.

35 Bwe kiba nti oyo asaba okukomezebwawo baamugobera mu kibiina kirala, akakiiko akanaakola ku ky’okumuzza kateekebwawo mu kibiina mw’ali ne kasisinkana n’omuntu oyo ne katunula mu nsonga ze. Abali ku kakiiko ako bwe bakiraba nti omuntu oyo asaanidde okukomezebwawo, bategeezaako akakiiko k’abakadde mu kibiina mwe baamugobera. Obukiiko mu bibiina ebyo ebibiri obukola ku ky’okumuzza, bukolera wamu ne bwetegereza byonna ebizingirwamu okusobola okusalawo obulungi. Kyokka, eky’okuzza omuntu oyo kisalibwawo akakiiko akakola ku ky’okumuzza ak’omu kibiina gye yagoberwa.

OKULANGA NTI OMUNTU AKOMEZEDDWAWO MU KIBIINA

36 Akakiiko akakola ku ky’okuzza omuntu bwe kakikakasa nti omuntu eyagobebwa mu kibiina oba eyeeyawula ku kibiina yeenenyezza mu bwesimbu era nti agwana okukomezebwawo mu kibiina, ekirango ekiraga nti akomezeddwawo kiyisibwa mu kibiina gye baamugobera. Bw’aba nga kati ali mu kibiina kirala, ekirango kiyisibwa ne mu kibiina ekyo. Kiba kigamba nti: “[Erinnya lye] akomezeddwawo mu kibiina era kati Mujulirwa wa Yakuwa.”

OMWANA OMUBATIZE BW’AKOLA EKIBI EKY’AMAANYI

37 Omwana omubatize bw’akola ekibi eky’amaanyi, abakadde balina okutegeezebwa. Abakadde bwe baba bakola ku nsonga z’omwana akoze ekibi eky’amaanyi, kiba kirungi bazadde be ababatize ne babaawo. Abazadde abo basaanidde okukolera awamu n’akakiiko akalamuzi. Tebasaanidde kubikkirira nsobi za mwana waabwe abakadde baleme kumukangavvula. Akakiiko akalamuzi kafuba okutereeza omwana oyo n’okumuyamba okuzzaawo enkolagana ye ne Yakuwa, nga bwe kakola nga kayamba omuntu omukulu aba akoze ekibi eky’amaanyi. Kyokka omwana oyo bw’agaana okwenenya, agobebwa mu kibiina.

OMUBUULIZI ATALI MUBATIZE BW’AKOLA EKIBI EKY’AMAANYI

38 Kiki ekirina okukolebwa ng’omubuulizi atali mubatize akoze ekibi eky’amaanyi? Olw’okuba aba tannabatizibwa, tasobola kugobebwa mu kibiina. Kyokka, ayinza okuba nga tannaba kutegeera bulungi misingi gya Bayibuli, era ng’okumuwabula mu ngeri ey’ekisa kiyinza okumuyamba ‘okutereeza amakubo ge.’​—Beb. 12:13.

39 Omubuulizi atali mubatize bw’agaana okwenenya oluvannyuma lw’abakadde babiri okugezaako okumuyamba, ekirango kiyisibwa mu kibiina. Ekirango ekyo kiba kigamba nti: “[Erinnya lye] takyali mubuulizi atali mubatize.” Ekibiina kitandika okumutwala ng’omuntu w’ensi. Wadde ng’omuntu oyo aba tagobeddwa mu kibiina, Abakristaayo baba balina okwegendereza ennyo nga bakolagana naye. (1 Kol. 15:33) Aba talina kuwaayo lipoota ya buweereza.

40 Oluvannyuma lw’ekiseera, omuntu eyaliko omubuulizi atali mubatize ayinza okwagala okuddamu okuba omubuulizi. Ekyo bwe kibaawo, abakadde babiri boogerako naye okulaba obanga akoze enkyukakyuka ezeetaagisa. Bw’aba ng’atuukiriza ebisaanyizo, ekirango kiyisibwa mu kibiina. Kiba kigamba nti: “[Erinnya lye] azzeemu okuba omubuulizi atali mubatize.”

YAKUWA AWA OMUKISA EKIBIINA KYE EKIYONJO ERA EKIRIMU EMIREMBE

41 Abo bonna abali mu kibiina kya Katonda leero basanyufu nnyo olw’okuba bali mu mbeera nnungi nnyo ey’eby’omwoyo. Tulina emmere nnyingi ey’eby’omwoyo. Ate era Yakuwa atuwa obukuumi okuyitira mu kibiina kye ekikulemberwa Kristo. (Zab. 23; Is. 32:1, 2) Olw’okuba tuli mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo mu nnaku zino ez’enkomerero, tuwulira nga tulina obukuumi.

Bwe tufuba okukuuma ekibiina nga kiyonjo era nga kirimu emirembe, ekitangaala kyaffe kijja kweyongera okwakira abantu

42 Bwe tufuba okukuuma ekibiina nga kiyonjo era nga kirimu emirembe, ekitangaala kyaffe kijja kweyongera okwakira abantu. (Mat. 5:16; Yak. 3:18) Yakuwa ajja kutuwa emikisa tweyongere okuyamba abantu bangi okumumanya era batwegatteko mu kukola by’ayagala.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share