Kkirizanga Okukangavvula kwa Yakuwa
“Tonyoomanga kubuulirira [“kukangavvula,” NW] kwa Mukama.”—ENGERO 3:11.
1. Lwaki twandikkirizza okukangavvula okuva eri Katonda?
KABAKA SULEMAANI owa Isiraeri ey’edda, awa buli omu ku ffe ensonga ennungi okukkiriza okukangavvula okuva eri Katonda. Sulemaani agamba: ‘Tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama; So n’okunenya kwe kulemenga okukukooya. Kubanga Mukama gw’ayagala gw’anenya; Era nga kitaawe omwana we gw’asanyukira.’ (Engero 3:11, 12) Yee, Kitaffe ow’omu ggulu akukangavvula olw’okubanga akwagala.
2. ‘Okukangavvula’ kye ki era omuntu ayinza atya okukangavvulwa?
2 “Okukangavvula” kitegeeza okubonereza, okutereeza, n’okuyigiriza. Mutume Pawulo yagamba nti: “Okukangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu wabula kwa nnaku: naye oluvannyuma kubala ebibala eby’emirembe eri abo abayigirizibwa mu kwo, bye by’obutuukirivu.” (Abaebbulaniya 12:11) Okukkiriza okukangavvula okuva eri Katonda kiyinza okukuyamba okweyongera okutambulira mu kkubo ery’obutuukirivu era bwe kityo n’obeera n’enkolagana ennungi ne Katonda omutukuvu, Yakuwa. (Zabbuli 99:5) Oyinza okutereezebwa okuyitira mu bakkiriza banno, mu ebyo by’oyiga mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, mu kusoma Ekigambo kya Katonda era n’okuyitira mu bitabo ‘by’omuwanika omwesigwa.’ (Lukka 12:42-44) Nga wandibadde musanyufu nnyo singa otegeezebwa kye weetaaga okulongoosaamu! Naye, kukangavvula kwa ngeri ki okuyinza okwetaagibwa ng’ekibi eky’amaanyi kikoleddwa?
Ensonga Lwaki Abamu Bagobebwa mu Kibiina
3. Ddi omuntu lw’agobebwa mu kibiina?
3 Abaweereza ba Katonda basoma Baibuli n’ebitabo by’Ekikristaayo. Emitindo gya Yakuwa gyogerwako mu nkuŋŋaana zaabwe, ne mu nkuŋŋaana ennene. N’olwekyo, Abakristaayo bategeezebwa ekyo Yakuwa ky’abeetaaza. Omuntu agobebwa mu kibiina singa yeeyongera okwenyigira mu kibi awatali kwenenya.
4, 5. Kyakulabirako ki okuva mu Baibuli eky’okugoba omuntu mu kibiina ekyogerwako, era lwaki ekibiina kyakubirizibwa okumukomyawo?
4 Lowooza ku muntu omu ayogerwako mu Baibuli eyagobebwa mu kibiina. Ab’omu kibiina ky’e Kkolinso baali bagumiikiriza ‘obwenzi obutaali ne mu b’amawanga, ng’omuntu atwala mukazi wa kitaawe okuba mukyala we.’ Pawulo yakubiriza Abakkolinso “okuwaayo ali bw’atyo eri Setaani omubiri okuzikirizibwa, omwoyo gulyoke gulokoke.” (1 Abakkolinso 5:1-5) Omuntu bw’agobebwa mu kibiina era bwe kityo n’aweebwayo eri Setaani, addamu n’abeera ekitundu ky’ensi y’Omulyolyomi. (1 Yokaana 5:19) Okugobebwa mu kibiina kwasobozesa ekibiina okusigala nga kirina ‘omwoyo’ gwa Katonda ne kisobola okwoleka engeri za Katonda.—2 Timoseewo 4:22; 1 Abakkolinso 5:11-13.
5 Nga tewannayitawo kiseera kiwanvu, Pawulo yakubiriza Abakristaayo abaali mu Kkolinso okukomyawo omwonoonyi mu kibiina. Lwaki? Kubanga, singa tebaamukomyawo baali bayinza ‘okuzingizibwa Setaani,’ bw’atyo omutume bwe yagamba. Kirabika omwonoonyi yali yeenenyeza era ng’atereezezza obulamu bwe. (2 Abakkolinso 2:8-11) Singa Abakkolinso baagana okukomyawo omuntu eyeenenyezza, Setaani yandibazingizza mu ngeri nti bandibadde abantu abatalumirirwa era abatasonyiwa era ng’ekyo Omulyolyomi ky’ayagala. Kirabika mangu ddala ‘baasonyiwa era ne babudaabuda’ omusajja oyo eyali yeenenyezza.—2 Abakkolinso 2:5-7.
6. Okugoba omuntu mu kibiina kituukiriza ki?
6 Okugoba omuntu mu kibiina kutuukiriza ki? Kukuuma erinnya lya Yakuwa nga teririko kivume ne kikuuma n’erinnya eddungi ery’abantu be. (1 Peetero 1:14-16) Okuggya omwonoonyi ateenenya mu kibiina kikuuma emitindo gya Yakuwa era ne kikuuma ekibiina nga kiyonjo mu by’omwoyo. Ate era kiyinza n’okuleetera oyo ateenenyezza okutegeera nti ekibi ky’akoze ky’amaanyi nnyo.
Okwenenya Kwetaagisa Okusobola Okukomezebwawo
7. Dawudi yayisibwa atya bwe yalemererwa okwatula ebibi bye?
7 Bangi abakola ekibi eky’amaanyi era ne beenenya mu bwesimbu tebagobwa mu kibiina. Kya lwatu, abamu bazibuwalirwa okwenenya mu bwesimbu. Lowooza ku Dawudi Kabaka wa Isiraeri eyayiiya Zabbuli 32. Zabbuli eyo eraga nti Dawudi yamala akaseera nga tannayatula kibi kye ne Basuseba. N’ekyavaamu, ennaku gye yalina olw’ekibi kye yamumalamu amaanyi, ng’ekyeya bwe kikaza omuti. Dawudi yalumizibwa mu mubiri ne mu birowoozo, naye bwe ‘yayatula ekibi kye Yakuwa yamusonyiwa.’ (Zabbuli 32:3-5) Dawudi yagamba: “Aweereddwa omukisa Mukama gw’atabalira obutali butuukirivu.” (Zabbuli 32:1, 2) Nga kyali kirungi nnyo okusaasirwa Katonda!
8, 9. Omuntu alaga atya nti yeenenyeza, era okwenenya kukulu kwenkana wa omuntu agobeddwa bw’aba ow’okukomezebwawo mu kibiina?
8 Kya lwatu, omwonoonyi ateekwa okwenenya bw’aba ow’okusaasirwa. Kyokka, okutya okuswala n’okweraliikirira nti ekibi kyo kijja kumanyika, si kwe kwenenya. “Okwenenya” kizingiramu “okukyusa endowooza” olw’okunakuwalira ekibi kyo n’olw’engeri embi gye weeyisaamu. Omuntu ayeenenyeza ‘omutima gwe guba gumenyese era nga guboneredde’ era aba ayagala ‘okutereeza ekisobye,’ bwe kiba kisoboka.—Zabbuli 51:17; 2 Abakkolinso 7:11.
9 Okwenenya kukulu nnyo omuntu bw’aba ow’okukomezebwawo mu kibiina Ekikristaayo. Omuntu agobeddwa takomezebwawo nga wamaze kuyitawo ekiseera ekigereke. Nga tannakomezebwawo alina okusooka okukyusa endowooza ye. Alina okukitegeera nti ekibi ky’akoze kya maanyi nnyo era nti kireese ekivume ku Yakuwa n’ekibiina kye. Omwonoonyi ateekwa okwenenya, okusaba mu bwesimbu okusonyiyibwa, era n’okutuukanya obulamu bwe n’emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. Bw’asaba okukomezebwawo mu kibiina, ateekwa okulaga nti yeenenyeza era n’ayoleka ‘ebikolwa ebiraga okwenenya.’—Ebikolwa 26:20.
Lwaki Wandyatudde Ekibi Kyo?
10, 11. Lwaki tetwandigezezaako kukweka kibi?
10 Abamu abakoze kibi bayinza okugamba: ‘Singa mbuulira omuntu yenna ku kibi kyange bayinza okumbuuza ebibuuzo ebiswaza era nnyinza n’okugobebwa mu kibiina. Naye singa nsirika ebyo nnyinza okubyewala era tewali n’omu mu kibiina ajja kumanya.’ Omuntu bw’aba n’endowooza ng’eyo abuusa maaso ensonga enkulu. Ze ziruwa?
11 Yakuwa “ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n’amazima amangi. Ajjukira okusaasira eri abantu enkumi n’enkumi, asonyiwa obutali butuukirivu n’okwonoona n’ekibi.” Kyokka, akangavvula abantu be ‘ekisaanidde.’ (Okuva 34:6, 7; Yeremiya 30:11) Singa okola ekibi eky’amaanyi, oyinza okusaasirwa Katonda singa ogezaako okukweka ekibi kyo? Yakuwa aba akimanyi era tamala gabuusa maaso ekibi ekiba kikoleddwa.—Engero 15:3; Kaabakuuku 1:13.
12, 13. Kiki ekiyinza okuvaamu singa ogezaako okukweka ekibi?
12 Bw’oba okoze ekibi eky’amaanyi, okukyatula kiyinza okukuyamba okuddamu okufuna omuntu ow’omunda omulungi. (1 Timoseewo 1:18-20) Naye bw’olemererwa okukyatula kiyinza okukuviirako omuntu wo ow’omunda okwonooneka ne kikuleetera okukola ekibi ekirala. Kijjukire nti ekibi oba tokikoze muntu mulala yekka oba ekibiina. Oba okikoze Katonda. Omuwandiisi wa zabbuli yagamba: ‘Mukama, entebe ye eri mu ggulu; amaaso ge galaba abaana b’abantu, ebikowe bye bibakema. Mukama akema abatuukirivu n’omubi.’—Zabbuli 11:4, 5.
13 Yakuwa tajja kuwa mukisa oyo yenna akweka ekibi eky’amaanyi era n’agezaako okusigala mu kibiina Ekikristaayo ekiyonjo. (Yakobo 4:6) N’olwekyo, bw’oba okoze ekibi era ng’oyogala okukola ekituufu tolonzalonza kukyatula mu bwesimbu. Bw’otakikola, omuntu wo ow’omunda ajja kukulumiriza naddala bw’onoosoma oba bw’onoowulira okubuulirira okukwata ku kibi ekyo. Watya nga Yakuwa akuggyeko omwoyo gwe nga bwe yakola Kabaka Sawulo? (1 Samwiri 16:14) Omwoyo gwa Katonda bwe gukuggyibwako, oyinza n’okwenyigira ne mu bibi ebisingawo okuba eby’amaanyi.
Weesige Baganda bo Abeesigwa
14. Lwaki omukozi w’ekibi yandigoberedde okubuulirira okuli mu Yakobo 5:14, 15?
14 Kati olwo, omwonoonyi eyeenenyezza yandikoze ki? “Ayitenga abakadde b’ekkanisa; bamusabirenga, nga bamusiigako amafuta mu linnya lya [Yakuwa]: n’okusaba kw’okukkiriza kulirokola omulwadde, ne [Yakuwa] alimuyimusa.” (Yakobo 5:14, 15) Okutuukirira abakadde ye ngeri emu omuntu mwalagira nti ‘abala ebibala eby’okwenenya.’ (Matayo 3:8) Abasajja bano abeesigwa era ab’ekisa bajja ‘kumusabira era bamusiigeko amafuta mu linnya lya Yakuwa.’ Okufaananako amafuta agaweweeza, okubuulirira kwabwe okuva mu Baibuli kujja kubudaabuda oyo yenna eyeenenyezza mu bwesimbu.—Yeremiya 8:22.
15, 16. Abakadde Abakristaayo bagoberera batya ekyokulabirako kya Katonda ekisangibwa mu Ezeekyeri 34:15, 16?
15 Nga Yakuwa Omusumba waffe yalaga okwagala bwe yanunula Abayudaaya okuva mu buwambe e Babulooni mu 537 B.C.E. era ne bwe yanunula Isiraeri ey’omwoyo okuva mu “Babulooni Ekinene” mu 1919 C.E.! (Okubikkulirwa 17:3-5; Abaggalatiya 6:16) Bwe kityo yatuukiriza ekisuubizo kye: ‘Nze mwene ndiriisa endiga zange ne nzigalamiza. Ndinoonya eyo ebuze ne nkomyawo eyo egobeddwa ne nsiba emenyese ne nzizaamu amaanyi mu eyo erwadde.’—Ezeekyeri 34:15, 16.
16 Yakuwa yaliisa endiga ze ez’akabonero, n’azigalamiza era n’aziwa obukuumi era n’anoonya ezo zaali ezibuze. Mu ngeri y’emu, n’Abasumba Abakristaayo bakakasa nti ekisibo kya Katonda kiriisibwa bulungi mu by’omwoyo era ne kikuumibwa. Abakadde banoonya endiga ewabye n’eva mu kibiina. Nga Katonda bwe ‘yasiba ezimenyese,’ abalabirizi ‘basiba’ endiga ezituusiddwako ebisago olw’ebigambo oba ebikolwa by’abalala. Era nga Katonda bwe ‘yazzaamu amaanyi ekirwadde,’ abakadde nabo bayamba abo abalwadde mu by’omwoyo oboolyawo olw’okuba balina ekibi kye bakoze.
Engeri Abasumba gye Bayambamu
17. Lwaki tetwandironzezalonzezza kufuna buyambi by’eby’omwoyo kuva eri abakadde?
17 Abakadde bagoberera okubuulira kuno: “Mubasaasirenga mu kutya.” (Yuda 23) Abakristaayo abamu bakoze ekibi eky’amaanyi nga beenyigira mu bwenzi. Naye bwe beenenya mu bwesimbu bayinza okuba abakakafu nti abakadde abaagala okubayamba okuddamu amaanyi mu by’omwoyo, bajja kubasaasira, era babalage okwagala. Nga naye yeetwalidddemu, Pawulo yayogera bw’ati ku basajja ng’abo: “Si kubanga tufuga okukkiriza kwammwe, naye tuli bakozi bannammwe ab’essanyu lyammwe.” (2 Abakkolinso 1:24) N’olwekyo, tolonzalonzanga kufuna buyambi bw’eby’omwoyo kuva gye bali.
18. Abakadde bakola batya ku nsonga za bakkiriza bannaabwe abakoze ekibi?
18 Bw’oba okoze ekibi eky’amaanyi, lwaki wanditadde obwesige mu bakadde? Kubanga okusingira ddala basumba b’ekisibo kya Katonda. (1 Peetero 5:1-4) Tewali musumba ayinza kukuba endiga ekaaba olw’okwereetako ekiwundu. N’olwekyo, abakadde bwe baba bakola ku nsonga za mukkiriza munnaabwe akoze ekibi, essira tebalissa ku kibonerezo kimugwanira, wabula ku kibi n’okumuzzaamu amaanyi mu by’omwoyo, bwe kiba kisoboka. (Yakobo 5:13-20) Abakadde bateekwa okusala omusango mu butuukirivu era ne “basaasira ekisibo.” (Ebikolwa 20:29, 30; Isaaya 32:1, 2) Okufaananako Abakristaayo abalala bonna, abakadde balina ‘okulaga obwenkanya, okwagala ekisa n’okutambula mu buwombeefu ne Katonda.’ (Mikka 6:8) Engeri ezo nkulu nnyo mu kusalawo ebikwata ku bulamu n’obuweereza obutukuvu obwa “endiga ez’omu ddundiro [lya Yakuwa].”—Zabbuli 100:3.
19. Abakadde Abakristaayo baba na ndowooza ki nga bagezaako okutereeza omuntu?
19 Abasumba Abakristaayo balondebwa omwoyo omutukuvu era bafuba okulaba nti bagoberera obulagirizi bwagwo. Singa “omuntu akwata ekkubo ekyamu nga tategedde” abalina ebisaanyizo mu by’omwoyo bagezaako “okutereeza omuntu oyo mu buwombeefu.” (Abaggalatiya 6:1, NW; Ebikolwa 20:28) Nga bawombeefu kyokka ate nga banywerera ku mitindo gya Katonda, abakadde bagezaako okutereeza endowooza ye, ng’omusawo ow’ekisa agezaako okuyunga eggumba n’obwegendereza omulwadde aleme kulumizibwa nnyo era nga mu kiseera kye kimu agonjoola ekizibu. (Abakkolosaayi 3:12) Okuva bwe kiri nti abakadde beesigama ku kusaba n’Ebyawandiikibwa ng’abalaga omuntu ekisa, kyonna kye baba basazeewo kyandyolese endowooza Katonda gy’alina ku nsonga.—Matayo 18:18.
20. Ddi lwe kiba kyetaagisa okutegeeza ekibiina nti omuntu akangavvuddwa?
20 Singa ekibi kiba kimanyiddwa nnyo oba nga mu buli ngeri yonna kijja kumanyibwa, era nga waliwo n’ensonga endala eyeetagisa okutegeeza ekibiina, kiba kisaanira okutegeeza ekibiina okusobola okukuuma erinnya lyakyo nga ddungi. Ekiseera omuntu eyakangavvuddwa akakiiko akakola ku misango ky’amala ng’awona mu by’omwoyo, kiyinza okufaananyizibwa omuntu alina ekiwundu ekigenda kiwona naye nga kimukugira okubaako by’akola okumala akaseera. Okumala ekiseera, kiba kya muganyulo oyo eyeenenyezza okuwuliriza mu kifo ky’obaako byaddamu mu nkuŋŋaana. Abakadde bayinza okukola enteekateeka omuntu omu n’amuyigiriza Baibuli okumuyamba okulongoosaamu wali omunafu asobole okuddamu okuba ‘omulamu mu kukkiriza.’ (Tito 2:2) Bino byonna bikolebwa lwa kwagala so si okubonereza omwonoonyi.
21. Ensonga ezimu ez’aboonoonyi ziyinza kukolebwako zitya?
21 Abakadde bawa obuyambi bw’eby’omwoyo mu ngeri ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, ka tugambe ow’oluganda eyali alina ekizibu ky’okunywa omwenge, olumu oba emirundi ebiri anywa ekisukkiridde ng’ali waka yekka. Oba omuntu eyali yalekayo dda okunywa sigala, amunywa mu nkiso omulundi gumu oba ebiri olw’obunafu. Wadde ng’asabye era ng’akkiriza nti Katonda amusonyiye, yandinoonyezza obuyambi bw’abakadde ne kiba nti ekibi ekyo tekimufuukira muzze. Omukadde omu oba babiri bayinza okukola ku nsonga eyo. Kyokka abakadde basaanidde okutegeeza omukadde akubiriza akakiiko k’abakadde, olw’okuba wayinza okubaawo ensonga endala ezizingirwamu.
Weeyongere Okukkiriza Okukangavvula kwa Katonda
22, 23. Lwaki wandyeyongedde okukkiriza okukangavvula okuva eri Katonda?
22 Okusobola okusiimibwa Katonda, buli Mukristaayo yandisiimye okukangavvula okuva eri Yakuwa. (1 Timoseewo 5:20) N’olwekyo, kkiriza okukangavvula kwonna kw’ofuna ng’osoma Ebyawandiikibwa n’ebitabo by’Ekikristaayo oba bw’owulira okubuulirira okuba mu nkuŋŋaana z’ekibiina n’enkuŋŋaana ennene ez’abantu ba Yakuwa. Sigala ng’oli munyiikivu mu kukola Yakuwa ky’ayagala. Okukangavvula okuva eri Katonda kujja kukuyamba okusigala ng’oli munywevu oleme kugwa mu kibi.
23 Okukkiriza okukangavvula okuva eri Katonda kijja kukusobozesa okusigala mu kwagala kwa Katonda. Kyo kituufu, abamu bagobeddwa mu kibiina Ekikristaayo, naye ekyo tekijja kukutuukako singa ‘okuuma omutima gwo’ era ‘n’otambula ng’omuntu ow’amagezi.’ (Engero 4:23; Abaefeso 5:15) Bw’oba ng’oli mugobe, lwaki tobaako ky’okolawo n’okomezebwawo mu kibiina? Katonda ayagala abo bonna abeewaddeyo gy’ali okumusinza nga beesigwa era nga balina ‘omutima ogujjudde essanyu.’ (Ekyamateeka 28:47) Oyinza okukola ekyo emirembe gyonna singa okkiriza okukangavvula okuva eri Yakuwa.—Zabbuli 100:2.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki abamu bagobebwa mu kibiina Ekikristaayo?
• Okwenenya okwa nnamaddala kuzingiramu ki?
• Lwaki omuntu yandyatudde ebibi eby’amaanyi?
• Mu ngeri ki abakadde Abakristaayo gye bayambamu aboonoonyi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Lwaki omutume Pawulo yawa ekibiina ky’e Kkolinso obulagirizi obukwata ku kugoba omuntu mu kibiina?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Okufaananako abasumba ab’edda, abakadde Abakristaayo ‘basiba’ endiga za Katonda ezifunye ebisago