LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w24 Agusito lup. 20-25
  • Engeri Abakadde Gye Bayinza Okulaga Aboonoonyi Okwagala n’Obusaasizi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri Abakadde Gye Bayinza Okulaga Aboonoonyi Okwagala n’Obusaasizi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ENGERI ABAKADDE GYE BAYAMBA ABO ABABA BAKOZE EBIBI EBY’AMAANYI
  • “BANENYENGA MU MAASO G’ABANTU BONNA”
  • “YAKUWA ALINA OKWAGALA KUNGI ERA MUSAASIZI”
  • Engeri Abakadde Gye Bayinza Okuyamba Abo Ababa Baggiddwa mu Kibiina
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • ‘Yita Abakadde’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Engeri Ekibiina Gye Kiyinza Okukoppa Endowooza Yakuwa gy’Alina ku Abo Abakoze Ekibi eky’Amaanyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Engeri Ekibiina Gye Kitegekeddwamu
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
w24 Agusito lup. 20-25

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 34

OLUYIMBA 107 Ekyokulabirako kya Katonda eky’Okwagala

Engeri Abakadde Gye Bayinza Okulaga Aboonoonyi Okwagala n’Obusaasizi

“Katonda akulaga ekisa kye akusobozese okwenenya?”—BAR. 2:4.

EKIGENDERERWA

Engeri abakadde gye bagezaako okuyamba abo ababa bakoze ekibi eky’amaanyi mu kibiina.

1. Kiki ekiyinza okubaawo oluvannyuma lw’omuntu okukola ekibi eky’amaanyi?

MU KITUNDU ekyayita twalaba ekyo omutume Pawulo kye yagamba ekibiina ky’e Kkolinso okukola, omusajja omu bwe yakola ekibi eky’amaanyi. Olw’okuba omwonoonyi yali teyeenenyezza, yalina okuggibwa mu kibiina. Naye ng’ekyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino bwe kiraga, abamu ku abo abakola ebibi eby’amaanyi basobola okuyambibwa ne beenenya. (Bar. 2:4) Abakadde bayinza batya okubayamba okwenenya?

2-3. Kiki kye tusaanidde okukola singa tukimanyaako nti mukkiriza munnaffe yakoze ekibi eky’amaanyi, era lwaki?

2 Ng’abakadde tebannayamba muntu, balina okusooka okumanya ekizibu kye. N’olwekyo, kiki kye tusaanidde okukola singa tukimanyaako nti mukkiriza munnaffe yakoze ekibi eky’amaanyi ekiyinza okumuviirako okuggibwa mu kibiina? Tusaanidde okumukubiriza okwogerako n’abakadde bamuyambe.—Is. 1:18; Bik. 20:28; 1 Peet. 5:2.

3 Naye watya singa omwonoonyi agaana okwogerako n’abakadde? Awo tuba tulina okutuukirira abakadde omuntu oyo asobole okuyambibwa. Bwe tukola bwe tutyo, tuba twolese okwagala kubanga tukimanyi nti abakadde basobola okumuyamba. Omwonoonyi bwe yeeyongera okukola ekibi ayongera okwonoona enkolagana ye ne Yakuwa. Ate era ayinza n’okuleeta ekivume ku kibiina. N’olwekyo, olw’okuba twagala Yakuwa n’omwonoonyi oyo, twoleka obuvumu ne tutegeezaako abakadde.—Zab. 27:14.

ENGERI ABAKADDE GYE BAYAMBA ABO ABABA BAKOZE EBIBI EBY’AMAANYI

4. Abakadde basaanidde kuba na kiruubirirwa ki nga boogerako n’omuntu aba akoze ekibi eky’amaanyi?

4 Bwe wabaawo omuntu mu kibiina aba akoze ekibi eky’amaanyi, abakadde beerondamu abakadde basatu abanaakola akakiiko ak’okukola ku nsonga eyo.a Abakadde abo balina okuba abeetoowaze. Wadde nga bajja kugezaako okuyamba omwonoonyi okwenenya, basaanidde okukijjukira nti tebasobola kukaka muntu kukyusa makubo ge. (Ma. 30:19) Abakadde bakimanyi nti si buli muntu nti aba mwetegefu okwenenya nga Kabaka Dawudi bwe yakola. (2 Sam. 12:13) Aboonoonyi abamu bayinza okusalawo obutawuliriza kubuulirira okuva eri Yakuwa. (Lub. 4:​6-8) Wadde kiri kityo, ekigendererwa ky’abakadde kirina kuba kya kuyamba mwonoonyi oyo okwenenya bwe kiba kisoboka. Misingi ki gye basaanidde okukolerako nga boogerako n’omwonoonyi?

5. Kubuulirira ki abakadde kwe basaanidde okukolerako bwe batuula okwogerako n’omwonoonyi? (2 Timoseewo 2:​24-26) (Laba n’ekifaananyi.)

5 Abakadde basaanidde okutunuulira omwonoonyi ng’endiga ey’omuwendo eyabula. (Luk. 15:​4, 6) N’olwekyo, bwe batuula okwogerako n’omwonoonyi oyo, tebasaanidde kwogera naye mu bukambwe, oba okumuyisa mu ngeri etali ya kisa. Era tebasaanidde kukitwala nti balina kumubuuza bubuuza bibuuzo okusobola okumanya ekituufu. Mu kifo ky’ekyo, basaanidde okwoleka engeri ezoogerwako mu 2 Timoseewo 2:​24-26. (Soma.) Basaanidde okusigala nga bakkakkamu era nga ba kisa nga bagezaako okuyamba omwonoonyi okukyusa endowooza ye.

Omusumba ng’ali n’endiga ze era ng’anoonya endiga ebuze. Endiga ebuze ng’ewagamidde mu miti era okugulu okumu kuliko ekiwundu.

Okufaananako abasumba b’omu biseera eby’edda, abakadde bafuba okukomyawo endiga eba ebuze (Laba akatundu 5)


6. Abakadde bateekateeka batya emitima gyabwe nga tebannatuula kwogerako n’omwonoonyi? (Abaruumi 2:4)

6 Abakadde basaanidde okuteekateeka emitima gyabwe. Bwe baba boogerako n’omwonoonyi, basaanidde okufuba okukoppa Yakuwa nga bajjukira ebigambo bya Pawulo bino: “Katonda akulaga ekisa kye akusobozese okwenenya.” (Soma Abaruumi 2:4.) Abakadde basaanidde okukijjukira nti basumba abakolera ku bulagirizi bwa Kristo. (Is. 11:​3, 4; Mat. 18:​18-20) Nga tebannatuulako n’omwonoonyi, basaba Yakuwa abayambe okutuukiriza ekigendererwa kyabwe eky’okufuba okuyamba omwonoonyi okwenenya. Basaanidde okunoonyereza mu Byawandiikibwa ne mu bitabo by’ekibiina era n’okusaba Yakuwa abayambe okutegeera obulungi omuntu oyo n’embeera ye. Bafumiitiriza ku ebyo bye beetaaga okumanya ku muntu ebiyinza okuba nga bye byamuviiriddeko okuba n’endowooza gy’alina oba okukola kye yakoze.—Nge. 20:5.

7-8. Abakadde bayinza batya okukoppa obugumiikiriza bwa Yakuwa bwe baba boogerako n’omwonoonyi?

7 Abakadde basaanidde okukoppa obugumiikiriza bwa Yakuwa. Basaanidde okujjukira engeri Yakuwa gye yafuba okuyamba aboonoonyi mu biseera eby’emabega. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yali mugumiikiriza eri Kayini era n’amubuulira ekyandibaddewo bw’atandikyusizza ndowooza ye, era n’emikisa gye yandifunye bwe yandimugondedde. (Lub. 4:​6, 7) Yakuwa yayamba Dawudi okwenenya ng’akozesa nnabbi Nasani, eyagera olugero olwayamba Dawudi okutegeera nti ekibi kye yali akoze kyali kya maanyi. (2 Sam. 12:​1-7) “Enfunda n’enfunda” Yakuwa ‘yatumanga’ bannabbi eri abantu ba Isirayiri abaali abajeemu. (Yer. 7:​24, 25) Teyalinda bantu be kusooka kwenenya alyoke abayambe. Mu kifo ky’ekyo, ye yasooka okubaako ky’akolawo n’abakubiriza okwenenya.

8 Abakadde basaanidde okukoppa ekyokulabirako kya Yakuwa nga bagezaako okuyamba abo ababa bakoze ekibi eky’amaanyi. Basaanidde okuba abagumiikiriza gye bali nga bwe kiragibwa mu 2 Timoseewo 4:2. N’olwekyo, bulijjo omukadde alina okuba omukkakkamu era omugumiikiriza okusobola okuyamba omwonoonyi okwagala okukola ekituufu. Singa omukadde asunguwala oba akambuwala, omwonoonyi ayinza obutawuliriza magezi agamuweebwa era ayinza okugaana okwenenya.

9-10. Abakadde bayinza batya okuyamba omwonoonyi okufumiitiriza ku ebyo ebyamuviiriddeko okukola ekibi?

9 Abakadde basaanidde okufuba okumanya ebintu ebiba byaviiriddeko omuntu okukola ekibi. Ng’ekyokulabirako, omuntu oyo azze anafuwa mpola mu by’omwoyo olw’okuba yalagajjalira okwesomesa oba okubuulira? Abadde asaba lumu na lumu era ng’essaala ze teziviira ddala ku mutima? Abadde akolera ku kwegomba okubi kw’afuna? Abadde n’emikwano emibi oba abadde yeesanyusaamu mu ngeri etasaana? Ebintu ebyo biyinza okuba nga bikutte bitya ku mutima gwe? Ategeera engeri Kitaawe Yakuwa gy’akwatiddwako olw’ebyo by’azze asalawo n’olw’engeri gye yeeyisaamu?

10 Abakadde basobola okubuuza omuntu ebibuuzo ng’ebyo okumuyamba okulowooza ku bintu ebiba byamuviiriddeko okunafuwa mu by’omwoyo n’akola ekibi. Ekyo bakikola mu ngeri ey’ekisa, era tebamubuuza bintu ebimukwatako bye batateekeddwa kumanya. (Nge. 20:5) Ate era basobola okukozesa ebyokulabirako okuyamba omuntu okufumiitiriza n’okukitegeera nti kye yakoze kyabadde kikyamu, nga Nasani bwe yakola eri Dawudi. Oboolyawo ku mulundi gwe basooka okutuulako naye, omuntu oyo ayinza okutandika okuwulira obubi olw’ekyo ky’aba yakoze. Ayinza n’okwenenya.

11. Yesu yakwata atya aboonoonyi?

11 Abakadde basaanidde okufuba okukoppa Yesu. Yesu yayamba Sawulo ow’e Taluso ng’amubuuza ekibuuzo kino: “Sawulo, Sawulo, lwaki onjigganya?” Mu kubuuza Sawulo ekibuuzo ekyo, yamuyamba okukitegeera nti kye yali akola kyali kikyamu. (Bik. 9:​3-6) Ate Yesu yayogera bw’ati ku ‘mukazi Yezebeeri’: “Nnamuwa ekiseera yeenenye.”—Kub. 2:​20, 21.

12-13. Abakadde bayinza batya okuwa omwonoonyi ekiseera okwenenya? (Laba n’ekifaananyi.)

12 Olw’okuba abakadde bakoppa Yesu, tebanguwa kukitwala nti omwonoonyi tajja kwenenya. Wadde ng’abamu bayinza okwenenya omulundi gwe basooka okutuulako n’abakadde, abalala bayinza okwetaaga ekiseera ekisingawo. N’olwekyo, abakadde bayinza okusalawo okwogerako n’omwonoonyi emirundi egisukka mu gumu. Oboolyawo oluvannyuma lw’okwogera naye omulundi ogusooka, ayinza okutandika okufumiitiriza ku ebyo bye baba boogedde naye. Ayinza okwetoowaza n’asaba Yakuwa amusonyiwe. (Zab. 32:5; 38:18) Bwe kityo, bwe baddamu okutuula naye omulundi omulala, ayinza okukyoleka nti kati endowooza ye ya njawulo ku eyo gye yalina mu kusooka.

13 Okusobola okuyamba omwonoonyi okwenenya, abakadde bakyoleka nti bamulumirirwa, era bamulaga ekisa. Basaba Yakuwa awe omukisa okufuba kwabwe era baba basuubira nti omwonoonyi oyo ajja kwekuba mu kifuba yeenenye.—2 Tim. 2:​25, 26.

Ebifaananyi: 1. Abakadde basatu nga boogerako n’ow’oluganda. Ow’oluganda atunudde bbali ng’abakadde boogera naye. 2. Oluvannyuma abakadde baddamu okwogerako n’ow’oluganda. Ow’oluganda awuliriza abakadde nga boogera naye.

Abakadde bayinza okwogerako n’omwonoonyi emirundi egisukka mu gumu okusobola okumuwa ekiseera okwenenya (Laba akatundu 12)


14. Omwonoonyi bwe yeenenya, ani asaanidde okutenderezebwa, era lwaki?

14 Omwonoonyi bwe yeenenya kireeta essanyu lingi nnyo! (Luk. 15:​7, 10) Ani aba agwanidde okutenderezebwa? Bakadde? Weetegereze ebigambo bino Pawulo bye yawandiika ebikwata ku boonoonyi: “Oboolyawo Katonda anaabasobozesa okwenenya.” (2 Tim. 2:25) N’olwekyo, Yakuwa so si muntu yenna y’ayamba Omukristaayo okukyusa endowooza ye. Pawulo yalaga ebintu ebirungi ebivaamu oluvannyuma lw’omuntu okwenenya. Omuntu oyo yeeyongera okutegeera amazima, era yeekuba mu kifuba ne kimusobozesa ‘okuva mu mutego gw’Omulyolyomi.’—2 Tim. 2:26.

15. Abakadde bayinza batya okweyongera okuyamba omwonoonyi eyeenenya?

15 Omwonoonyi bwe yeenenya abakadde bakola enteekateeka okweyongera okumukyalira asobole okufuna obuyambi bwe yeetaaga okwewala okugwa mu mitego gya Sitaani, era asobole okukola ekituufu. (Beb. 12:​12, 13) Kya lwatu, abakadde tebalina gwe babuulirako ebyo ebikwata ku ekyo omwonoonyi kye yakola. Naye kiki ekibiina kye kiyinza okwetaaga okumanya?

“BANENYENGA MU MAASO G’ABANTU BONNA”

16. Okusinziira ku 1 Timoseewo 5:​20, ebigambo “mu maaso g’abantu bonna” Pawulo bye yayogera bitegeeza ki?

16 Soma 1 Timoseewo 5:20. Pawulo yagamba Timoseewo naye eyali aweereza ng’omukadde nti abo “abakola ebibi” abanenyeze mu maaso g’abantu bonna. Kiki kye yali ategeeza? Ebigambo “mu maaso g’abantu bonna” biyinza obutategeeza kibiina kyonna. Biyinza okutegeeza abo abayinza okuba nga balina kye bamanyi ku kibi ekyakolebwa. Bayinza okuba nga baalaba omwonoonyi oyo ng’akola ekibi ekyo, oba bayinza okuba abo omwonoonyi be yategeezaako ku kibi kye yakola. Abakadde baba balina okutegeeza abantu ng’abo mu ngeri ey’amagezi nti ensonga ekoleddwako, era nti omwonoonyi ayambiddwa.

17. Ekibi eky’amaanyi bwe kimanyibwa abantu bangi mu kibiina oba bwe kiba nga kijja kumanyibwa abantu bangi, kirango ki ekiyisibwa, era lwaki?

17 Mu mbeera ezimu abantu bangi mu kibiina bayinza okuba nga bamanyi ekibi ekyakoleddwa, oba nga bajja kukimanya. Mu mbeera ng’ezo ebigambo “mu maaso g’abantu bonna,” biyinza okutegeeza ekibiina kyonna. N’olwekyo, omukadde aba ajja kusoma ekirango eri kibiina nti ow’oluganda oba mwannyinaffe akangavvuddwa. Lwaki? Pawulo yagamba nti: “Abalala babayigireko” baleme okugwa mu kibi.

18. Omwana omubatize atannaweza myaka 18 bw’akola ekibi eky’amaanyi, kiki abakadde kye bakola? (Laba n’ekifaananyi.)

18 Ate kiki ekikolebwa singa abaana ababatize abatannaweza myaka 18 bakola ekibi eky’amaanyi? Akakiiko k’abakadde kakola enteekateeka abakadde babiri ne batuulako n’omwana oyo awamu ne bazadde be abali mu mazima.b Abakadde babuuza abazadde ebyo bye bakozeewo okuyamba omwana oyo okwenenya. Omwana oyo bw’aba n’endowooza ennungi era nga bazadde be basobodde okumuyamba okwenenya, abakadde abo bayinza okusalawo nti tekyetaagisa kwongerayo nsonga. Abakadde bakimanyi nti abazadde Katonda be yawa obuvunaanyizibwa obw’okutereeza abaana baabwe. (Ma. 6:​6, 7; Nge. 6:20; 22:6; Bef. 6:​2-4) Buli luvannyuma lwa kiseera abakadde boogerako n’abazadde okukakasa nti omwana oyo afuna obuyambi bwe yeetaaga. Naye watya singa omwana omubatize agaana okwenenya ne yeeyongera okukola ekibi? Mu mbeera ng’eyo abakadde basatu bajja kutuula boogereko n’omwana oyo ng’ali wamu ne bazadde be abali mu mazima.

Abakadde babiri boogerako n’omwana atannaweza myaka kkumi na munaana ng’ali wamu ne bazadde be. Omu ku bakadde amusomera ekyawandiikibwa.

Omwana atannaweza myaka 18 bw’akola ekibi eky’amaanyi, abakadde babiri batuula ne boogerako naye ng’ali wamu ne bazadde be Abakristaayo (Laba akatundu 18))


“YAKUWA ALINA OKWAGALA KUNGI ERA MUSAASIZI”

19. Abakadde bafuba batya okukoppa Yakuwa nga bagezaako okuyamba aboonoonyi?

19 Yakuwa yeetaagisa abakadde okukuuma ekibiina kireme okwonoonebwa abo abagaana okukwata amateeka ge. (1 Kol. 5:7) Naye era abakadde bakola kyonna kye basobola okuyamba omuntu okwenenya bwe kiba kisoboka. Era bwe baba bamuyamba baba n’essuubi nti ajja kukyusaamu. Lwaki? Kubanga baagala okukoppa Yakuwa ‘alina okwagala okungi era omusaasizi.’ (Yak. 5:11) Weetegereze engeri omutume Yokaana gye yayoleka endowooza eyo. Yagamba nti: “Baana bange abato, mbawandiikira ebintu bino mulemenga okukola ekibi. Naye omuntu yenna bw’akola ekibi, tulina omuyambi ali ne Kitaffe, Yesu Kristo omutuukirivu.”—1 Yok. 2:1.

20. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

20 Eky’ennaku, oluusi Omukristaayo agaana okwenenya. Ekyo bwe kibaawo aba alina okuggibwa mu kibiina. Abakadde bakwata batya ensonga eyo? Ekyo kijja kwogerwako mu kitundu ekiddako.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Okusinziira ku Abaruumi 2:​4, kiruubirirwa ki abakadde kye basaanidde okuba nakyo nga boogerako n’omwonoonyi?

  • Bulagirizi ki abakadde bwe basaanidde okukolerako obuli mu 2 Timoseewo 2:​24-26?

  • Kitegeeza ki ‘okunenya omwonoonyi mu maaso g’abantu bonna’?

OLUYIMBA 103 Abasumba Birabo

a Emabega akakiiko ako tubaddenga tukayita akakiiko akalamuzi. Naye olw’okuba abakadde tebakola mulimu gwa kulamula gwokka, tulekedde awo okukozesa ebigambo ebyo. Tujja kukayitanga buyisi kakiiko akaliko abakadde.

b Ebyogerwa ku bazadde mu kitundu kino bikwata ne ku abo abalabirira abaana abatali baabwe oba ababalinako obuvunaanyizibwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share