EKITUNDU EKY’OKUSOMA 36
OLUYIMBA 103 Abasumba Birabo
‘Yita Abakadde’
“Ayite abakadde b’ekibiina.”—YAK. 5:14.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba ensonga lwaki kikulu okusaba abakadde okutuyamba.
1. Yakuwa akiraze atya nti endiga ze za muwendo nnyo gy’ali?
ENDIGA za Yakuwa za muwendo nnyo gy’ali. Yazigula n’omusaayi gwa Yesu Kristo era yawa abakadde mu kibiina obuvunaanyizibwa okuzirabirira. (Bik. 20:28) Katonda ayagala endiga ze ziyisibwe mu ngeri ey’ekisa. Abakadde bakolera ku bulagirizi bwa Kristo okuzzaamu endiga amaanyi n’okuzikuuma obutatuukibwako kabi mu by’omwoyo.—Is. 32:1, 2.
2. Okusinziira ku Ezeekyeri 34:15, 16, b’ani Yakuwa b’asinga okufaako?
2 Yakuwa afaayo nnyo ku baweereza be bonna, naye afaayo mu ngeri ey’enjawulo ku abo ababonaabona. Akozesa abakadde okuyamba abo ababa banafuye mu by’omwoyo. (Soma Ezeekyeri 34:15, 16.) Yakuwa ayagala tumusabe okutuwa obuyambi, wonna we tuba tubwetaagira. Kyokka ng’oggyeeko okumusaba okutuyamba, Yakuwa era ataddewo ‘abasumba n’abayigiriza’ mu kibiina nabo batuyambe.—Bef. 4:11, 12.
3. Ffenna tuganyulwa tutya bwe twekenneenya obuvunaanyizibwa abakadde bwe balina?
3 Mu kitundu kino tugenda kwekenneenya enteekateeka Katonda gy’akoze okutuwa obuyambi bwe twetaaga mu by’omwoyo okuyitira mu bakadde. Tugenda kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Ddi lwe tusaanidde okusaba abakadde okutuyamba? Lwaki tusaanidde okusaba abakadde okutuyamba? Abakadde batuyamba batya? Ne bwe kiba nti mu kiseera kino tetwetaaga buyambi bwa bakadde, eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bijja kutuyamba okweyongera okusiima enteekateeka ya Katonda eyo, era tuyinza okugiganyulwamu mu biseera eby’omu maaso.
DDI LWE TULINA ‘OKUYITA ABAKADDE’?
4. Lwaki tugamba nti ebyo ebiri mu Yakobo 5:14-16, 19, 20, bikwata ku bulwadde obw’eby’omwoyo? (Laba n’ebifaananyi.)
4 Omuyigiriza Yakobo yannyonnyola engeri Yakuwa gy’akozesaamu abakadde okutuyamba mu by’omwoyo. Yagamba nti: “Waliwo omuntu yenna mu mmwe alwadde? Ayite abakadde b’ekibiina.” (Soma Yakobo 5:14-16, 19, 20.) Ennyiriri eziriraanyeewo ziraga nti Yakobo yali ayogera ku bulwadde obw’eby’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, omulwadde agambibwa okuyita abakadde b’ekibiina, so si omusawo. Ate era Yakobo yalaga nti omulwadde awona, ebibi bye bwe bisonyiyibwa. Mu ngeri emu oba endala, ebyo omuntu by’akola okuwona obulwadde obw’eby’omwoyo bifaananako n’ebyo bye tukola okusobola okuwona obulwadde obutuluma mu mubiri. Bwe tuba abalwadde mu mubiri, tugenda eri omusawo, tumunnyonnyola ekituluma, era tukolera ku magezi g’atuwa. Mu ngeri y’emu, bwe tuba abalwadde mu by’omwoyo, tusaanidde okutuukirira abakadde, ne tubannyonnyola embeera gye tulimu, era ne tukolera ku magezi ag’omu Byawandiikibwa ge batuwa.
Bwe tuba abalwadde mu mubiri, tugenda eri omusawo; bwe tuba abalwadde mu by’omwoyo, tusaanidde okugenda eri abakadde (Laba akatundu 4)
5. Tumanya tutya nti tutandise okunafuwa mu by’omwoyo?
5 Enteekateeka eyogerwako mu Yakobo essuula 5 etukubiriza okutuukirira abakadde okutuyamba bwe tuwulira nti tutandise okunafuwa mu by’omwoyo. Kyokka kiba kya magezi okusaba abakadde okutuyamba ng’enkolagana yaffe ne Yakuwa tennaba kwonoonekera ddala! Tusaanidde okwekebera mu bwesimbu. Bayibuli eraga nti ebiseera ebimu tuyinza okwerimba nga tulowooza nti tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa kyokka nga tetugirina. (Yak. 1:22) Abakristaayo abamu mu kibiina ky’e Saadi eky’omu kyasa ekyasooka baali beerimbalimba mu ngeri eyo, era Yesu yabalabula ku kabi ak’eby’omwoyo akaali kaboolekedde. (Kub. 3:1, 2) Emu ku ngeri gye tusobola okumanya obanga tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa kwe kugeraageranya obunyiikivu bwe twoleka mu kiseera kino nga tuweereza Yakuwa n’obwo bwe twalina mu biseera ebyayita. (Kub. 2:4, 5) Tusobola okwebuuza ebibuuzo bino: ‘Nkyanyumirwa okusoma Bayibuli n’okufumiitiriza nga bwe nnakolanga edda? Okweteekerateekera enkuŋŋaana n’okuzibaamu nkikola lumu na lumu? Nkyali munyiikivu mu mulimu gw’okubuulira nga bwe nnabeeranga edda? Ndowooza nnyo ku by’amasanyu oba eby’obugagga era bintwalira ebiseera bingi?’ Bw’oddamu nti yee mu kimu ku bibuuzo ebyo, kiyinza okulaga nti onafuye mu by’omwoyo era singa tobaako ky’okolawo mu bwangu embeera eyinza okusajjuka. Bwe kiba nti ku lwaffe tulemereddwa okukola ku bunafu bwe tulina, oba nga butuleetedde okukola ebintu ebimenya amateeka ga Katonda, tusaanidde okusaba abakadde okutuyamba.
6. Kiki Omukristaayo aba akoze ekibi eky’amaanyi ky’alina okukola?
6 Kya lwatu, oyo aba akoze ekibi eky’amaanyi ekisobola n’okumuviirako okuggibwa mu kibiina, alina okutuukirira abakadde. (1 Kol. 5:11-13) Omuntu aba akoze ekibi eky’amaanyi tasobola kuzzaawo nkolagana ye ne Yakuwa ku lulwe. Yakuwa okusobola okumusonyiwa ng’asinziira ku kinunulo, omuntu oyo aba alina okukola ‘ebikolwa ebiraga nti yeenenyezza.’ (Bik. 26:20) Ekimu ku bikolwa ebyo kwe kutuukirira abakadde singa tuba tukoze ekibi eky’amaanyi.
7. Baani abalala abeetaaga okusaba abakadde okubayamba?
7 Abakadde tebayamba abo bokka ababa bakoze ebibi eby’amaanyi, bayamba n’abo ababa banafuye mu by’omwoyo. (Bik. 20:35) Ng’ekyokulabirako, oyinza okuwulira nti olemereddwa okulwanyisa okwegomba okubi. Ekyo kiyinza okuba bwe kityo naddala singa bwe wali tonnayiga mazima wali okozesa ebiragalalagala, ng’olaba ebifaananyi eby’obuseegu, oba nga weenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Naye tosaanidde kutya kusaba buyambi. Oyinza okwogerako n’omu ku bakadde anaakuwuliriza obulungi, n’akuwa amagezi amalungi era anaakukakasa nti osobola okusanyusa Yakuwa singa olwanyisa okwegomba okubi. (Mub. 4:12) Bw’owulira ng’oweddemu amaanyi olw’okuba olemereddwa okulwanyisa okwegomba okubi, abakadde bajja kukuyamba okukiraba nti enkolagana yo ne Yakuwa ogitwala nga ya muwendo nnyo era nti weewala okwekakasa ekisukkiridde.—1 Kol. 10:12.
8. Kyetaagisa okwogera n’abakadde ku buli nsobi gye tuba tukoze? Nnyonnyola.
8 Tetwetaaga kwogera na bakadde ku buli nsobi gye tuba tukoze. Ng’ekyokulabirako, oyinza okwogera ekintu ekirumya mukkiriza munno, oba n’omunyiigira. Mu kifo ky’okugenda eri omukadde, osobola okukolera ku magezi Yesu ge yawa agakwata ku kuzzaawo emirembe wakati wo ne mukkiriza munno. (Mat. 5:23, 24) Osobola okunoonyereza ku ngeri gamba nga obukkakkamu, obugumiikiriza, n’okwefuga, osobole okuzooleka ku kigero ekisingako mu biseera eby’omu maaso. Kya lwatu bw’oba okyetaaga obuyambi, osobola okusaba omukadde okukuyamba. Mu bbaluwa omutume Pawulo gye yawandiikira Abafiripi, yasaba ow’oluganda gw’ataayogera linnya okuyamba Ewudiya ne Suntuke okugonjoola obutakkaanya bwe baalina. Naawe omukadde mu kibiina kyo asobola okukuyamba mu ngeri y’emu.—Baf. 4:2, 3.
LWAKI TUSAANIDDE OKUYITA ABAKADDE?
9. Lwaki tusaanidde okusaba abakadde okutuyamba ne bwe tuba nga tuwulira ensonyi olw’ensobi gye tuba tukoze? (Engero 28:13)
9 Bwe tuba tukoze ekibi eky’amaanyi oba bwe tuwulira nti tulemereddwa okulwanyisa obunafu obumu, twetaaga okwoleka okukkiriza n’obuvumu ne tusaba abakadde okutuyamba. Ne bwe tuba nga tuwulira ensonyi, tusaanidde okwogera n’abakadde. Lwaki? Bwe tukolera ku nteekateeka Yakuwa gy’ataddewo, tukiraga nti tumwesiga era nti tukolera ku bulagirizi bw’atuwadde okutuyamba okweyongera okuba n’enkolagana ennungi naye. Ate era tukiraga nti twetaaga obuyambi bwa Yakuwa okweyongera okukola ekituufu. (Zab. 94:18) Bwe tuba tukoze ekibi, Katonda ajja kutulaga obusaasizi singa tukibuulirako abakadde, ne twenenya, era ne tulekayo ekibi ebyo.—Soma Engero 28:13.
10. Kiki ekisobola okubaawo singa tugezaako okukweka ebibi bye tuba tukoze?
10 Bwe tubuulira abakadde ebibi bye tuba tukoze Yakuwa asobola okutusonyiwa era ne tuddamu okuba n’enkolagana ennungi naye. Naye bwe tukweka ebibi bye tuba tukoze, kisobola okuvaamu ebizibu eby’amaanyi. Kabaka Dawudi bwe yakweka ebibi bye yali akoze, yennyamira era yali awulira obulumi olw’okuba yali akimanyi nti takyasiimibwa mu maaso ga Yakuwa. (Zab. 32:3-5) Omuntu bw’aba omulwadde oba ng’alina obuvune n’alwawo okugenda eri omusawo, embeera ye yeeyongera okuba embi. Mu ngeri y’emu, omuntu bw’aba n’ekizibu ky’eby’omwoyo, enkolagana ye ne Yakuwa yeeyongera okunafuwa singa tafuna buyambi bwa bakadde. Yakuwa tayagala tubeere mu mbeera eyo. N’olwekyo okuyitira mu nteekateeka gy’ataddewo okutuyamba okuddamu okuba n’enkolagana ennungi naye, atugamba nti: “Mujje tutereeze ensonga.”—Is. 1:5, 6, 18.
11. Abalala bakwatibwako batya bwe tutabuulira bakadde kibi eky’amaanyi kye tuba tukoze?
11 Bwe tukweka ekibi eky’amaanyi kye tuba tukoze, kiyinza okuleetera abalala ebizibu. Kiyinza okuviirako ekibiina kyonna obutafuna mwoyo gwa Katonda mu bujjuvu, era ne kitabangula emirembe gy’ekibiina. (Bef. 4:30) Ate era bwe tukimanya nti waliwo omuntu mu kibiina eyakoze ekibi eky’amaanyi, tulina okumukubiriza okwogera n’abakadde.a Bwe tukweka ekibi ky’omuntu omulala, naffe tuba tuvunaanyizibwa eri Yakuwa. (Leev. 5:1) Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kusaanidde okutuleetera okubuulira abakadde. Bwe tukola bwe tutyo, kisobozesa ekibiina okusigala nga kiyonjo era kiyamba omwonoonyi okuddamu okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.
ABAKADDE BATUYAMBA BATYA?
12. Abakadde bayamba batya abo abanafuye mu by’omwoyo?
12 Bayibuli ekubiriza abakadde okuyamba abo abanafuye mu by’omwoyo. (1 Bas. 5:14) Bw’oba okoze ensobi, bayinza okubaako ebibuuzo bye bakubuuza okumanya ekyo ky’olowooza n’engeri gye weewuliramu. (Nge. 20:5) Osobola okwanguyiza abakadde okukuyamba singa tobaako ky’obakweka, ne bwe kiba nti ekyo kikuzibuwalira olw’engeri gye wakuzibwamu, oba ng’owulira ensonyi olw’ekyo ky’oba okoze. Totya kubabuulira ng’olowooza nti bajja kulowooza nti ebyo by’obagamba ‘tebiriimu nsa.’ (Yob. 6:3) Mu kifo ky’okwanguyiriza okusalawo, abakadde bajja kufuba okukuwuliriza obulungi era n’okugezaako okutegeera byonna ebizingirwamu nga tebannaba kukuwa magezi okuva mu Bayibuli. (Nge. 18:13) Bakimanyi nti kitwala ekiseera okuwa omuntu obuyambi bwe yeetaaga. N’olwekyo nga tebannaba kukuwa magezi ge weetaaga, bayinza okwetaaga okwogerako naawe omulundi ogusukka mu gumu.
13. Abakadde batuyamba batya okuyitira mu kusaba ne mu magezi agali mu Bayibuli? (Laba n’ebifaananyi)
13 Abakadde bwe banaayogerako naawe, bajja kufuba obutakuleetera kweyongera kuwulira bubi. Mu kifo ky’ekyo, bajja kukusabira. Yakuwa ajja kuwuliriza essaala zaabwe era akuleetere okuddamu amaanyi. Obuyambi bwe bakuwa era buzingiramu ‘okukusiiga amafuta mu linnya lya Yakuwa.’ (Yak. 5:14-16) “Amafuta” ago gakiikirira Ekigambo kya Katonda. Abakadde bajja kukusomera ebyawandiikibwa ebijja okukubudaabuda, kikuyambe okuddamu okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. (Is. 57:18) Amagezi ge bakuwa okuva mu Byawandiikibwa gajja kukuyamba okweyongera okuba omumalirivu okukola ekituufu. Okuyitira mu bakadde, ojja kuba ng’awulira eddoboozi lya Yakuwa nga likugamba nti: ‘Lino lye kkubo. Litambuliremu.’—Is. 30:21.
Abakadde bakozesa Bayibuli okuzzaamu amaanyi n’okubudaabuda abo ababa balwadde mu by’omwoyo (Laba akatundu 13-14)
14. Okusinziira ku Abaggalatiya 6:1, abakadde bayamba batya omuntu aba akutte “ekkubo ekkyamu”? (Laba n’ebifaananyi.)
14 Soma Abaggalatiya 6:1. Omukristaayo ababa akutte “ekkubo ekkyamu” aba tatambulira ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. Ekkubo ekkyamu liyinza okutegeeza okusalawo obubi oba okukola ekibi eky’amaanyi. Omuntu bw’akwata ekkubo ekkyamu, okwagala kwe kukubiriza abakadde mu kibiina ‘okugezaako okumutereeza, nga bakikola mu mwoyo omukkakkamu.’ Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘okutereeza’ kyakozesebwanga okulaga engeri omusawo gye yatereezangamu eggumba eryabanga limenyese lisobole okuddamu okuyunga. Omusawo omukugu bw’aba atereeza eggumba akikola mu ngeri etaleetera mulwadde kuwulira bulumi bwa maanyi. Mu ngeri y’emu, abakadde bwe baba batereeza oyo akutte ekkubo ekkyamu, bakikola mu ngeri etamuleetera kweyongera kulumirizibwa mutima olw’ekyo ky’aba yakoze. Ate era Bayibuli ekubiriza abakadde ‘okwekuuma.’ Abakadde bwe baba batuyamba okutereeza amakubo gaffe, bakijjukira nti nabo tebatuukiridde era nti nabo basobola okukola ensobi. N’olwekyo basaanidde okuba abeetoowaze n’okulaga abalala obusaasizi mu kifo ky’okulowooza nti bo ba kitalo era nti batuukirivu okusinga omuntu gwe bagezaako okuyamba.—1 Peet. 3:8.
15. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tuba n’ekizibu?
15 Twesiga abakadde be tulina mu kibiina. Batendekeddwa okukuuma ebyama, okutuwa amagezi ageesigamiziddwa ku Bayibuli so si ku ndowooza zaabwe, n’okutuyamba okweyongera okugumira ebizibu bye tuba twolekagana nabyo. (Nge. 11:13; Bag. 6:2) Balina engeri za njawulo n’obumanyirivu bwa njawulo, naye tusobola okutuukirira omukadde yenna bwe tuba tulina ekizibu. Kya lwatu, tetujja kugenda eri buli mukadde okumusaba amagezi nga tunoonya oyo anaatubuulira bye twagala okuwulira. Bwe tukola bwe tutyo, tuba ng’abo abaagala abalala okubabuulira “bye baagala okuwulira” mu kifo ky’okukolera ku “kuyigiriza okw’omuganyulo” okuva mu Kigambo kya Katonda. (2 Tim. 4:3) Bwe tutuukirira omukadde nga tulina ekizibu, ayinza okusooka okutubuuza obanga twayogeddeko n’abakadde abalala era na magezi ki ge baatuwadde. Ate era olw’okuba aba amanyi obusobozi bwe we bukoma, ayinza okwagala okusooka okusaba bakadde banne okumuwa ku magezi.—Nge. 13:10.
OBUVUNAANYIZIBWA BULI OMU KU FFE BW’ALINA
16. Buvunaanyizibwa ki buli omu ku ffe bw’alina?
16 Wadde ng’abakadde batuwa amagezi bwe tuba n’ebizibu, tebatusalirawo kya kukola. Buli omu ku ffe yeetaaga okukiraga nti ayagala Yakuwa, era nti ayagala okumusanyusa okuyitira mu ebyo by’ayogera ne by’akola. Yakuwa asobola okutuyamba okusalawo obulungi ne tusigala nga tuli beesigwa gy’ali. (Bar. 14:12) N’olwekyo mu kifo ky’okutusalirawo eky’okukola, abakadde batuyamba okumanya endowooza ya Katonda nga bakozesa Bayibuli. Bwe tukolera ku magezi ge batuwa ageesigamiziddwa ku Bayibuli, tuba tutendeka ‘obusobozi bwaffe obw’okutegeera’ ne tusobola okusalawo obulungi.—Beb. 5:14.
17. Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?
17 Nga nkizo ya maanyi okuba mu kisibo kya Yakuwa! Yakuwa yasindika Yesu, omusumba omulungi,” okusasula ekinunulo, tusobole okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yok. 10:11) Ate era okuyitira mu bakadde mu kibiina, Yakuwa atuukirizza ekisuubizo kye kino: “Nja kubawa abasumba omutima gwange be gwagala, era bajja kubawa okumanya n’okutegeera.” (Yer. 3:15) Bwe tulwala mu by’omwoyo oba bwe tunafuwa mu by’omwoyo, tusaanidde okusaba abakadde okutuyamba. Ka tubeere bamalirivu okuganyulwa mu buyambi Yakuwa bw’atuwa okuyitira mu bakadde.
OLUYIMBA 31 Tambulanga ne Katonda!
a Singa omwonoonyi tatuukirira bakadde oluvannyuma lw’ekiseera ky’oba omuwadde, okwagala kw’olina eri Yakuwa kusaanidde okukukubiriza okubatuukirira n’obabuulira ky’omanyi.