Ssaayo Omwoyo ku Ngeri gy’Owulirizaamu
Okussaayo omwoyo kikulu nnyo nga tuli mu nkuŋŋaana entono n’ennene. (Lukka 8:18, NW) Oyinza otya okulongoosa mu ngeri gy’owulirizaamu?
◼ Weewale okulya emmere ennyingi ng’ogenda mu nkuŋŋaana.
◼ Tokkiriza birowoozo byo kuwugulibwa.
◼ Wandiika ensonga enkulu.
◼ Bikkula ebyawandiikibwa ebisomebwa.
◼ Ddamu ebibuuzo ng’ofunye omukisa.
◼ Fumiitiriza ku ebyo ebyogerwako.
◼ Lowooza ku ngeri y’okweyambisaamu by’owulira.
◼ Oluvannyuma, kubaganya ebirowoozo n’abalala ku by’oyize.
Laba Theocratic Ministry School Guidebook, essomo 5.