LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 2/00 lup. 7
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 2/00 lup. 7

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Febwali: Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka. Maaki: Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo. Okufuba okw’enjawulo kujja kukolebwa okufuna abayizi ba Baibuli. Apuli ne Maayi: Obutabo bwa Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Beera ne brocuwa Atwetaagisa okugabira abo abaagala okuyiga naffe, era fuba okutandika okubayigiriza Baibuli mu maka gaabwe.

◼ Omuwandiisi n’omulabirizi w’obuweereza basaanidde okwekkaanya omulimu gwa bapayoniya ab’enkalakkalira bonna. Bwe wabaawo abakaluubiriddwa okutuukiriza essaawa zaabwe, abakadde bandikoze enteekateeka okubawa obuyambi. Okufuna ebirowoozo, mwejjukanye ebiri mu bbaluwa za Sosayate (S-201) eza buli mwaka eziriko ennaku z’omwezi Okitobba 1. Era mulabe n’obutundu 12-20 obw’olupapula olw’omunda olwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Agusito 1986.

◼ Omuwandiisi asaanidde okulaba nti Akakiiko ak’Omu Kitundu Akakola ku Kuzimba kamanyisibwa ebikwata ku mbeera y’ababuulizi ababatize bonna abajjuzza foomu Kingdom Hall Volunteer Worker Questionnaire (S-82). Bwe wabaawo enkyukakyuka yonna mu mbeera ya nnakyewa, gamba ng’okusenguka oba ng’alondeddwa okubeera omuweereza oba omukadde, foomu empya zandijjuziddwa mangu ddala ne ziweerezebwa. Endagiriro ya nnakyewa oba essimu ye bw’ekyuka, oba bw’aba takyalina nnyimirira nnungi mu kibiina, abakadde banditegeezezza akakiiko k’omu kitundu kyabwe amangu ago okuyitira mu bbaluwa.

◼ Okutandika ne wiiki eya Apuli 17, 2000, tujja kusoma akatabo Pay Attention to Daniel’s Prophecy! mu Kusoma Ekitabo okw’Ekibiina.

◼ Ebitabo Ebippya Ebiriwo:

Katonda Atwetaagisa Ki?​—Luo

Awake! kati efunika mu Lithuanian emirundi ebiri buli mwezi.

◼ Kaseti Empya Eziwulirizwa Eziriwo:

Appreciating Our Spritual Heritage (Omuzannyo, kaseti emu)​—Lungereza

◼ Kaseti za Vidiyo Empya Eziriwo:

Noah​—He Walked With God​—Lufalansa

◼ Ebitabo Ebippya mu Lulimi lwa Bamuzibe:

Examining the Scriptures Daily​—2000 (emizingo ena)​—Lungereza olwa grade-two

Is There a Creator Who Cares About You? (emizingo ebiri)​—Lufalansa olwa grade-two

Is There a Creator Who Cares About You? (emizingo esatu)​—Lufalansa olwa grade-one

Pay Attention to Daniel’s Prophecy! (emizingo esatu)​—Lungereza olwa grade-two

Entegeka y’Essomero ly’Obuweereza bwa Teyokulase mu 2000 (omuzingo gumu)​—Lungereza olwa grade-two

Katonda Atwetaagisa Ki? (omuzingo gumu)​—Luswayiri olwa grade-two

Musabibwa okuwandiika ku kusaba kwammwe okw’ebitabo by’Olulimi lwa Bamuzibe ATTENTION: BRAILLE DESK. Muteekeko erinnya n’endagiriro y’omuntu agenda okukozesa ebitabo ebyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza