LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w02 10/1 lup. 8-13
  • ‘Ssaayo Nnyo Omwoyo’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Ssaayo Nnyo Omwoyo’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Baali Beetaaga Okussaayo Ennyo Omwoyo
  • “Okussaayo Ennyo Omwoyo” Leero
  • Okulongoosa mu Ngeri Gye Tuwulirizaamu nga Tuli mu Nkuŋŋaana
  • Ganyulwa mu Kwesomesa Wekka
  • Engeri Yakuwa gy’Atukulemberamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Oganyulwa?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Okwesomesa Okutusobozesa Okubeera Abasomesa Abalungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Nyumirwa Okwesomesa Ekigambo kya Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 10/1 lup. 8-13

‘Ssaayo Nnyo Omwoyo’

“Kitugwanira okussaayo ennyo omwoyo ku ebyo bye twawulira, tulyoke tuleme okubivaako.”​—ABAEBBULANIYA 2:1, NW.

1. Nnyonnyola engeri okuwugulibwa gye kuyinza okuleetawo akabenje.

OBUBENJE bw’ebidduka bufiiramu abantu 37,000 buli mwaka mu nsi y’Amereka yokka. Abakugu bagamba nti bungi ku bubenje obwo bwandyewaliddwa singa abavuzi b’ebidduka bassaayo omwoyo nga bali ku luguudo. Abavuzi b’ebidduka abamu bawugulibwa ebipande eby’oku nguudo oba obusimu bwabwe obw’omu ngalo. Waliwo abalina omuze ogw’okulya ebintu ng’eno bwe bavuga. Mu mbeera zino zonna, okuwugulibwa kuyinza okuleetawo akabenje.

2, 3. Kubuulirira ki Pawulo kwe yawa Abakristaayo Abebbulaniya, era lwaki okubuulirira kwe kwali kutuukirawo?

2 Emyaka nga 2,000 emabega ng’emmotoka tennaba na kuvumbulwa, omutume Pawulo yalaga ekika ky’okuwugulibwa ekyali eky’akabi ennyo eri Abakristaayo abamu Abebbulaniya. Pawulo yaggumiza nti Yesu Kristo eyali amaze okuzuukizibwa yali aweereddwa ekifo ekisinga ekya bamalayika bonna, kubanga yatuuzibwa ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo. Awo omutume kyeyava agamba: “Kye kivudde kitugwanira okussaayo ennyo omwoyo ku ebyo bye twawulira, tulyoke tuleme okubivaako.”​—Abaebbulaniya 2:1, NW.

3 Lwaki Abakristaayo Abebbulaniya baalina ‘okussaayo ennyo omwoyo eri ebyo bye baawulira’ ebikwata ku Yesu? Kubanga emyaka nga 30 gyali gimaze okuyitawo bukya Yesu ava ku nsi. Olw’okuba Mukama waabwe yali takyali nabo, Abakristaayo abamu Abebbulaniya baali batandise okuseeseetuka nga bava mu kusinza okw’amazima. Baali batandise okuwugulibwa ensinza y’Ekiyudaaya, eddiini gye baali basoma nga tebannafuuka Bakristaayo.

Baali Beetaaga Okussaayo Ennyo Omwoyo

4. Nsonga ki eziyinza okuba nga zaaviirako Abakristaayo Abebbulaniya abamu okwagala okuddayo mu ddiini y’Ekiyudaaya?

4 Lwaki Omukristaayo yandikemeddwa okuddayo mu ddiini y’Ekiyudaaya? Ensinza eyo eyali yeesigamiziddwa ku Mateeka ga Musa, yalimu ebintu ebyali birabwako n’amaaso. Abantu baasobolanga okulaba bakabona n’okuwunyirwa evvumbe lya ssaddaaka. Kyokka, Obukristaayo bwali bwawufu mu ngeri ezimu. Abakristaayo baalina Kabona Omukulu, Yesu Kristo, naye yali amaze emyaka asatu nga takubibwako kimunye ku nsi. (Abaebbulaniya 4:14) Baalina yeekaalu, naye ekifo kyayo ekitukuvu kyali mu ggulu. (Abaebbulaniya 9:24) Obutafaananako kukomolebwa okw’omubiri okwali kulagirwa mu Mateeka, okukomolebwa kw’Abakristaayo kwali ‘kwa mutima, mu ngeri ey’omwoyo.’ (Abaruumi 2:29) N’olwekyo, eri Abakristaayo Abebbulaniya, Obukristaayo buyinza okuba nga bwatandika okubalabikira ng’obutaali bwa ddala.

5. Pawulo yalaga atya nti ensinza Yesu gye yatandikawo yali esingira wala nnyo ey’Amateeka ga Musa?

5 Abakristaayo Abebbulaniya baali beetaaga okutegeera ekintu kimu ekikulu ennyo ekyali kikwata ku kusinza Kristo kwe yatandikawo. Okusinza okwo kwali kwesigamiziddwa ku kukkiriza so si ku kulaba, kyokka kwali kusingira wala nnyo Amateeka agaaweebwa okuyitira mu nnabbi Musa. Omutume Pawulo yawandiika: “Kuba oba ng’omusaayi gw’embuzi n’ente ennume n’evvu ly’ente enduusi, ebimansirwa ku abo abalina empitambi, bitukuza okunaaza omubiri; omusaayi gwa Kristo, eyeewaayo yekka olw’[o]mwoyo ataggwaawo eri Katonda nga taliiko bulema, tegulisinga nnyo okunaaza omwoyo gwammwe mu bikolwa ebifu okuweereza Katonda omulamu?” (Abaebbulaniya 9:13, 14) Yee, okusonyiyibwa okuva mu kukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu Kristo, mu ngeri nnyingi kusingira wala nnyo okwo okuva mu ssaddaaka ezaaweebwangayo mu nkola y’amateeka ga Musa.​—Abaebbulaniya 7:26-28.

6, 7. (a) Mbeera ki eyali yeetaagisa Abakristaayo Abebbulaniya ‘okussaayo ennyo omwoyo ku ebyo bye baali bawulidde’? (b) Pawulo we yawandiikira ebbaluwa ye eri Abebbulaniya, Yerusaalemi kyali kibuzaayo bbanga ki okuzikirizibwa? (Laba obugambo obutono obuli wansi.)

6 Waaliwo ensonga endala lwaki Abakristaayo Abebbulaniya baalina okussaayo ennyo omwoyo ku bintu bye baawulira ebikwata ku Yesu. Yali alagudde nti Yerusaalemi kyali kya kuzikirizibwa. Yesu yagamba: “Ennaku zirikujjira, abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo, balikwetooloola, balikuzingiza enjuyi zonna balikusuula wansi, n’abaana bo abali mu nda yo; so tebalikulekamu jjinja eriri kungulu ku jjinja; kubanga tewamanya biro bya kukyalirwa kwo.”​—Lukka 19:43, 44.

7 Kino kyandibaddewo ddi? Yesu teyawa lunaku na ssaawa. Mu kifo ky’ekyo, yalagira: “Bwe muliraba Yerusaalemi nga kyetooloddwa eggye, ne mulyoka mutegeera nti okuzikirira kwakyo kunaatera okutuuka. Mu biro ebyo ababanga mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi; n’ababanga wakati mu kyo bakifulumangamu; n’ababanga mu byalo tebakiyingirangamu.” (Lukka 21:20, 21) Nga wayiseewo emyaka 30 oluvannyuma lwa Yesu okwogera ebigambo ebyo, Abakristaayo abamu mu Yerusaalemi baalekera awo okuba obulindaala. Baawugulibwa. Bwe batandikyusizza ndowooza yaabwe, baali boolekedde akatyabaga. Ka babe nga baali baakilowoozaako oba nedda, Yerusaalemi kyali kigenda kuzikirizibwa!a Ka tusuubire nti okubuulira kwa Pawulo kwazuukusa Abakristaayo abaali baddiridde mu by’omwoyo mu Yerusaalemi.

“Okussaayo Ennyo Omwoyo” Leero

8. Lwaki twetaaga “okussaayo ennyo omwoyo” ku mazima agali mu Kigambo kya Katonda?

8 Okufaananako Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, naffe twetaaga “okussaayo ennyo omwoyo” ku mazima agali mu Kigambo kya Katonda. Lwaki? Kubanga naffe twolekaganye n’okuzikiriza, era ng’okuzikiriza okwo si kwa ggwanga limu lyokka, wabula kwa nteekateeka yonna ey’ebintu bino. (Okubikkulirwa 11:18; 16:14, 16) Kya lwatu, tetumanyi lunaku lwennyini na ssaawa Yakuwa w’anaakolera ekyo. (Matayo 24:36) Wadde kiri bwe kityo, tulaba n’amaaso gaffe okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli obulaga nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma.” (2 Timoseewo 3:1-5) N’olwekyo, tulina okwekuuma ekintu kyonna ekiyinza okutuwugula. Tulina okussaayo omwoyo ku Kigambo kya Katonda era tubeere bulindaala. Bwe tunaakola bwe tutyo tujja kusobola “okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo.”​—Lukka 21:36.

9, 10. (a) Tuyinza tutya okussaayo omwoyo ku bintu eby’omwoyo? (b) Ekigambo kya Katonda kikola kitya ‘ng’ettabaaza eri ebigere byaffe’ era ‘ng’ekitangaala eri ekkubo lyaffe’?

9 Mu biseera bino ebikulu ennyo, tuyinza tutya okulaga nti “tussaayo nnyo omwoyo” ku bintu by’omwoyo? Engeri emu kwe kubaawo obutayosa mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu nkuŋŋaana ennene. Era tulina okuba abayizi ba Baibuli abanyiikivu tusobole okuba n’enkolagana ennungi ne nnannyini kugiwandiisa, Yakuwa. (Yakobo 4:8) Bwe tunaafuna okumanya okukwata ku Yakuwa okuyitira mu nkuŋŋaana n’okweyigiriza ffekka, tujja kuba ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba Katonda nti: “Ekigambo kyo ye ttabaaza eri ebigere byange, n’omusana eri ekkubo lyange.”​—Zabbuli 119:105.

10 Baibuli ekola ‘ng’ekitangaala eri ekkubo lyaffe’ bw’etutegeeza ebigendererwa bya Katonda ebikwata ku biseera eby’omu maaso. Ate era ‘ttabaaza eri ebigere byaffe.’ Mu ngeri endala, esobola okutuwa obulagirizi bwe twolekagana n’ebizibu. Eyo ye nsonga lwaki kikulu nnyo “okussaayo ennyo omwoyo” bwe tukuŋŋaana awamu ne baganda baffe okuyigirizibwa era ne bwe tuba nga twesomesa Baibuli ffekka. Bye tuyiga bisobola okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi era esanyusa omutima gwa Yakuwa. (Engero 27:11; Isaaya 48:17) Tuyinza tutya okwongera ku kiseera kye tumala nga tussizzaayo omwoyo nga tuli mu nkuŋŋaana era nga twesomesa ffekka tusobole okuganyulwa mu ngeri esingawo mu bintu eby’omwoyo Katonda by’atuwa?

Okulongoosa mu Ngeri Gye Tuwulirizaamu nga Tuli mu Nkuŋŋaana

11. Lwaki emirundi egimu kiba kizibu okussaayo omwoyo nga tuli mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo?

11 Emirundi egimu, kiyinza okubeera ekizibu okussaayo omwoyo nga tuli mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Ebirowoozo byaffe biyinza okuwugulibwa, gamba omwana bw’akaaba oba omuntu bw’atuuka ekikeerezi n’atandika okunoonya aw’okutuula. Tuyinza okuba abakoowu oluvannyuma lw’okunnyuka ku mirimu gyaffe. Omwogezi ayinza okuba nga si wa bbugumu, era bwe tuba tetwegenderezza tuyinza okwesanga ng’ebirowoozo byaffe bitambudde oba nga tusumagidde! Olw’obukulu bw’ebyo ebiba byogerwako, tulina okufuba okwongera okussaayo omwoyo nga tuli mu nkuŋŋaana. Naye ekyo tuyinza kukikola tutya?

12. Kiki ekiyinza okutuyamba okussaayo omwoyo ku ebyo ebiba byogerwako mu nkuŋŋaana?

12 Kitera okuba ekyangu okussaayo omwoyo mu nkuŋŋaana bwe tuba nga tweteeseteese bulungi. N’olwekyo, lwaki towaayo budde n’olowooza ku ebyo ebigenda okwogerwako? Kyetaagisa obudakiika butono buli lunaku okusoma n’okufumiitiriza ku ssuula za Baibuli eza buli wiiki. Bwe tuba n’entegeka ennungi, tuyinza okufuna obudde okweteekerateekera olukuŋŋaana lw’okusoma ekitabo ne Omunaala gw’Omukuumi. Ka tubeere nga tusazeewo kugoberera ntegeka ki, Okuteekateeka kujja kutuyamba okussaayo omwoyo ku ebyo ebyogerwa mu nkuŋŋaana z’ekibiina.

13. Kiki ekiyinza okutuyamba okukuuma ebirowoozo byaffe bireme kuwugulibwa nga tuli mu nkuŋŋaana?

13 Ng’oggyeko okweteekateeka obulungi, abamu bakisanga nti basobola okussaayo ennyo omwoyo mu nkuŋŋaana bwe batuula mu bifo eby’omu maaso mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Okutunuulira omwogezi, okubikkula Baibuli ne tugoberera nga basoma ebyawandiikibwa, n’okubaako bye tuwandiika z’engeri endala ze tuyinza okukozesa okukuuma ebirowoozo byaffe bireme kuwugulibwa. Kyokka, okuteekateeka emitima gyaffe, kisingira wala nnyo engeri zonna ze tuyinza okweyambisa okussaayo omwoyo. Tulina okutegeera ensonga lwaki tukuŋŋaana wamu. Ensonga enkulu lwaki tukuŋŋaana wamu ne baganda baffe, kwe kusinza Yakuwa. (Zabbuli 26:12; Lukka 2:36, 37) Enkuŋŋaana ngeri nkulu nnyo mwe tuliisibwa mu by’omwoyo. (Matayo 24:45-47) Ekirala, zituwa emikisa ‘okukubiriza abalala okwagala n’okwenyigira mu bikolwa ebirungi.’​—Abaebbulaniya 10:24, 25.

14. Kiki ekiviirako olukuŋŋaana okuba olw’omuganyulo?

14 Abamu bayinza okugerageranya obulungi bw’enkuŋŋaana nga basinziira ku busobozi bw’abo abayigiriza. Aboogezi bwe baba nga boogera bulungi, olukuŋŋaana olwo luyinza okuyitibwa olulungi. Naye bwe baba nga tebayigirizza bulungi, tuyinza okwesanga nga tugambye nti terubadde lulungi. Kituufu nti abo ababa n’ebitundu mu lukuŋŋaana balina okufuba nga bwe basobola okukozesa obukodyo bw’okuyigiriza okusobola okutuuka ku mitima gy’abawuliriza. (1 Timoseewo 4:16) Kyokka, ffe abawuliriza tetwandinoonyerezza nnyo nsobi mu boogezi. Wadde nga kikulu aboogezi okubeera n’obusobozi bw’okuyigiriza obulungi, eyo si y’ensonga enkulu eviirako enkuŋŋaana okuba ez’omuganyulo. Tokkiriza nti twandifuddeyo nnyo ku ngeri gye tuwulirizaamu okusinga okufaayo ku ngeri omwogezi gy’ayogeramu? Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana era ne tussaayo omwoyo ku ebyo ebyogerwako, tuba tusinza Katonda nga bw’ayagala. Ekyo kye kifuula olukuŋŋaana okuba olw’omuganyulo. Bwe tuba twesunga okufuna okumanya okukwata ku Katonda, tujja kuganyulwa mu nkuŋŋaana, aboogezi ka babeere nga boogera bulungi oba nedda. (Engero 2:1-5) N’olwekyo, ka tumalirire “okussaayo ennyo omwoyo” nga tuli mu nkuŋŋaana zaffe.

Ganyulwa mu Kwesomesa Wekka

15. Okwesomesa n’okufumiitiriza biyinza kutuyamba bitya?

15 Tuganyulwa nnyo bwe ‘tussaayo ennyo omwoyo’ nga twesomesa ffekka era nga tufumiitiriza. Okusoma n’okufumiitiriza ku bye tusomye mu Baibuli ne mu bitabo by’Ekikristaayo, kitusobozesa okunnyikiza amazima g’Ekigambo kya Katonda mu mitima gyaffe. Era kino kijja kubaako kinene kye kikola ku ngeri gye tulowoozaamu n’engeri gye tweyisaamu. Mu butuufu, kijja kutuyamba okufuna essanyu mu kukola Katonda by’ayagala. (Zabbuli 1:2; 40:8) N’olwekyo, twetaaga okukulaakulanya obusobozi bwaffe obw’okussaayo omwoyo busobole okutuyamba nga tusoma. Kyangu nnyo okuwugulibwa! Ebintu ebitonotono gamba ng’essimu okuvuga, oba ekintu kyonna okuwoggana, kiyinza okutuwugula. Oba ne bwe watabaawo bintu ng’ebyo ebituwugula, tuyinza okwesanga nga kituzibuwalira okussaayo omwoyo. Tuyinza okutuula wansi nga tulina ekigendererwa eky’okulya emmere ey’ebyomwoyo, naye tugenda okwejjuukiriza ng’ebirowoozo byaffe biri bunaayira. Tuyinza tutya “okussaayo ennyo omwoyo” bwe tuba nga twesomesa ffekka Ekigambo kya Katonda?

16. (a) Lwaki kikulu nnyo gye tuli okukola entegeka ey’okwesomesa ffekka? (b) Okoze nteekateeka ki ey’okwesomesa Ekigambo kya Katonda?

16 Kiba kirungi okukola entegeka era ne tulonda n’ekifo ekirungi eky’okusomeramu. Eri abasinga obungi, kizibu nnyo gye tuli okufuna ebiseera n’ekifo ekyekusifu nga tuli ffekka. Tuyinza okuwulira ng’eby’okukola bye tuba nabyo ebingi mu lunaku bitumalawo bumazi. Wadde kiri kityo, tulina okulwana bwezizingirire okufuna akadde okusobola okusoma. Tetuyinza kulinda bulinzi okutuusa lwe tufuna akakisa ak’okusoma. Mu kifo ky’ekyo, tulina okugula obudde okusobola okusoma. (Abaefeso 5:15, 16) Abamu bakozesa akadde ak’oku makya nga tewali bibatawaanya nnyo. Abalala bakisanga ng’obudde bw’akawungeezi buba bulungi. Ekikulu kiri nti tuteekwa obutalagajjalira okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda n’Omwana we. (Yokaana 17:3) N’olwekyo, tukole enteekateeka ey’okwesomesa ffekka era tuginywerereko.

17. Okufumiitiriza kye ki, era kuyinza kutuyamba kutya?

17 Okufumiitiriza, kwe kugamba, okulowoolereza ennyo ku ebyo bye tuba tuyize nga tusoma​—kukulu nnyo. Kutuyamba okuggya ebirowoozo bya Katonda ku lupapula ne tubiyingiza mu mitima gyaffe. Okufumiitiriza kutuyamba okulaba engeri y’okuteeka mu nkola okubuulirira kwa Baibuli tusobole okubeera ‘abakolera ku kigambo, so si abawulira obuwulizi.’ (Yakobo 1:22-25) N’ekirala, okufumiitiriza kutuyamba okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa, kubanga kutusobozesa okulowooza ku ngeri ze era n’okulaba engeri gye zeeyoleka mu ebyo bye tuba tusoma.

18. Kiki ekyetaagisa okusobola okufumiitiriza obulungi?

18 Okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu bye tusoma era ne mu kufumiitiriza, tulina okukuuma ebirowoozo byaffe bireme kuwugulibwa. Okusobola okuyingiza ebintu ebippya mu birowoozo byaffe nga tufumiitiriza, twetaaga okuggya ebirowoozo byaffe ku bintu byonna ebiyinza okutuwugula. Okusobola okufumiitiriza kitwala obudde era kyetaagisa n’okufuna ekifo ekyekusifu, nga kizzaamu amaanyi okulya obulungi emmere ey’eby’omwoyo wamu n’okunywa amazzi g’amazima agali mu Kigambo kya Katonda!

19. (a) Kiki ekiyambye abamu okweyongera okussaayo omwoyo nga beesomesa bokka? (b) Twandibadde na ndowooza ki ku bikwata ku kwesomesa, era miganyulo ki gye tuyinza okufuna mu kwesomesa?

19 Kiba kitya singa tetusobola kussaayo mwoyo kumala kiseera kiwanvu era nga bwe tuba twakatandika okusoma, ebirowoozo byaffe bitandikirawo okutambulatambula? Abamu bakizudde nti bayinza okulongoosa ku busobozi bwabwe obw’okussaayo omwoyo nga mu ntandikwa batwala ebbanga ttono okusoma naye ne bagenda nga balyongerako mpolampola. Ekiruubirirwa kyaffe kyandibadde okutwala obudde obumala nga tusoma mu kifo ky’okupapiriza. Tulina okulaba nti tunyumirwa bye tusoma. Era tuyinza okunoonyereza ebisingawo nga tukozesa ebitabo ebingi ebituweebwa omuddu omwesigwa. Waliwo emiganyulo mingi egiva mu ‘kunoonya ebintu bya Katonda ebizibu okutegeera.’ (1 Abakkolinso 2:10) Bwe tukola bwe tutyo kitusobozesa okweyongera okumanya Katonda n’okukulaakulanya obusobozi bwaffe obw’okutegeera. (Abaebbulaniya 5:14) Bwe tubeera abayizi ba Baibuli abanyiikivu, kijja kutuyamba okuba ‘n’ebisaanyizo okuyigiriza abalala.’​—2 Timoseewo 2:2.

20. Tuyinza tutya okufuna era ne tukuuma enkolagana ennungi ne Yakuwa Katonda?

20 Okubaawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo n’okwesomesa ffekka bijja kutuyamba nnyo okusobola okufuna era n’okukuuma enkolagana ennungi ne Yakuwa. Kirabika n’omuwandiisi wa Zabbuli yalina endowooza bw’etyo bwe yagamba: “Amateeka go nga ngaagala! Ago ge nfumiitiriza okuzibya obudde.” (Zabbuli 119:97) N’olwekyo, ka tukole kyonna kye tusobola okubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina era n’enkuŋŋaana ennene. Era ka tugule obudde okusoma Baibuli n’okufumiitiriza. Mu ngeri eyo tujja kufuna emiganyulo mingi nnyo ‘olw’okussaayo ennyo omwoyo’ ku Kigambo kya Katonda.

[Obugambo obuli wansi]

a Ebbaluwa ya Pawulo eri Abebbulaniya eyinza okuba nga yawandiikibwa mu 61 C.E. Bwe kiba bwe kityo, waayitawo emyaka etaano gyokka Yerusaalemi ne kizingizibwa amagye ga Cestius Gallus. Mangu ddala, amagye ago gejjulula, ne kiwa Abakristaayo abaali obulindaala omukisa okudduka. Oluvannyuma lw’emyaka ena, ekibuga kyazikirizibwa Abaruumi nga bakulemberwa Omugabe Tito.

Ojjukira?

• Lwaki Abakristaayo Abebbulaniya abamu baali batandise okuwugulibwa okuva mu kukkiriza?

• Tuyinza tutya okussaayo omwoyo nga tuli mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo?

• Kiki ekinaatuyamba okuganyulwa mu kwesomesa ffekka Baibuli era ne mu kufumiitiriza?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Abakristaayo Abebbulaniya baalina okuba obulindaala olw’okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi okwali kubindabinda

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]

Abazadde bayinza okuyamba abaana baabwe okuganyulwa mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share