Engeri Yakuwa gy’Atukulemberamu
“Onkulembere mu kkubo eggolokofu.”—ZABBULI 27:11, NW.
1, 2. (a) Yakuwa akulembera atya abantu be leero? (b) Kiki ekizingirwamu mu kukozesa mu bujjuvu enkuŋŋaana?
YAKUWA y’Ensibuko y’ekitangaala n’amazima, nga bwe twayiga mu kitundu ekivuddeko. Ekigambo kye kimulisa ekkubo lyaffe nga tutambula mu kkubo eggolokofu. Yakuwa atukulembera ng’atuyigiriza amakubo ge. (Zabbuli 119:105) Okufaananako omuwandiisi wa Zabbuli ow’edda, tusiima engeri Katonda gy’atukulemberamu era tusaba nti: “Ai Yakuwa, njigiriza ekkubo lyo, era onkulembere mu kkubo eggolokofu.”—Zabbuli 27:11, NW.
2 Engeri emu Yakuwa mw’ayitira okutuyigiriza leero z’enkuŋŋaana ez’Ekikristaayo. Tweyambisa enteekateeka eno ey’okwagala mu bujjuvu (1) nga tubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa, (2) nga tussaayo omwoyo eri programu, era (3) nga twenyigira mu bitundu ebyetaaza abawuliriza okubaako kye baddamu? Ate era, tusiima bwe tuweebwa amagezi aganaatuyamba okusigala mu “kkubo eggolokofu”?
Okubaawo Kwo mu Nkuŋŋaana Kuli Kutya?
3. Omuweereza omu ow’ekiseera kyonna yakulaakulanya atya empisa ennungi ey’okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa?
3 Ababuulizi b’Obwakabaka abamu babadde bajja mu nkuŋŋaana obutayosa okuva mu buto bwabwe. “Nze ne baganda bange nga tukyali bato mu myaka gya 1930,” bw’atyo omu ku Bajulirwa ba Yakuwa aweereza ekiseera kyonna bw’agamba, “tetwabuuzanga bazadde baffe obanga naffe tunaagenda mu nkuŋŋaana. Twali tukimanyi nti tulina okugenda okuggyako nga tuli balwadde. Ab’omu maka gaffe tebaasubwanga nkuŋŋaana.” Okufaananako nnabbi omukazi Ana, mwannyinaffe ono ‘abaawo bulijjo’ mu kifo kya Yakuwa eky’okusinzizaamu.—Lukka 2:36, 37, NW.
4-6. (a) Lwaki ababuulizi b’Obwakabaka abamu basubwa enkuŋŋaana? (b) Lwaki kikulu nnyo okubaawo mu nkuŋŋaana?
4 Oli omu ku abo ababaawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo obutayosa, oba otandise okwosayosaamu? Abakristaayo abamu abaali balowooza nti bakola bulungi baasalawo okukikakasa. Okumala wiiki entonotono, baawandiikanga buli lukuŋŋaana lwe baagendangamu. Bwe bekkaanya bye baawandiika oluvannyuma lw’ekiseera ekigere, beewuunya omuwendo gw’enkuŋŋaana ze baali basubiddwa.
5 ‘Ekyo tekyewuunyisa,’ bw’atyo omuntu bw’ayinza okugamba. ‘Abantu balina ebibanyigiriza bingi nnyo leero ne kibazibuwalira okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa.’ Kyo kituufu nti tuli mu biseera bizibu. Ate era, kikakafu nti okunyigirizibwa kujja kweyongera. (2 Timoseewo 3:13) Naye ekyo tekyongera bwongezi kukifuula kikulu nnyo okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa? Awatali mmere ya bya mwoyo ezimba okutubeesaawo, tetuyinza kusuubira kwaŋŋanga kunyigirizibwa okuleetebwa embeera zino. Awatali kukuŋŋaana ne bannaffe obutayosa tuyinza okwabulira ddala “ekkubo ery’abatuukirivu”! (Engero 4:18) Kyo kituufu nti bwe tukomawo awaka oluvannyuma lw’okukola ennyo, tuyinza obutaagala kugenda mu nkuŋŋaana. Kyokka, bwe tugenda mu nkuŋŋaana, wadde nga tukooye, tuganyulwa ffe ffennyini, era tuzzaamu amaanyi Bakristaayo bannaffe mu Kingdom Hall.
6 Abaebbulaniya 10:25 luwa ensonga endala enkulu lwaki tetwandyosezza kubaawo mu nkuŋŋaana. Mu lunyiriri olwo, omutume Pawulo akubiriza Bakristaayo banne okukuŋŋaana awamu ‘nga balaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka.’ Yee, tetusaanidde kwerabira nti ‘olunaku lwa Yakuwa’ lunaatera okutuuka. (2 Peetero 3:12) Singa tulowooza nti enkomerero y’embeera zino ekyali wala nnyo, tuyinza okutandika okuleka ebiruubirirwa byaffe okutulemesa okwenyigira mu bintu eby’eby’omwoyo ebyetaagisa, gamba ng’okubaawo mu nkuŋŋaana. Awo nno, nga Yesu bwe yalabula, ‘olunaku olwo luyinza okututuukako nga tetwetegese.’—Lukka 21:34.
Beera Muwuliriza Mulungi
7. Lwaki kikulu nnyo abaana okussaayo omwoyo mu nkuŋŋaana?
7 Tekimala okubaawo obubeezi mu nkuŋŋaana. Tuteekwa okuwuliriza, n’okussaayo omwoyo eri ebyogerwa. (Engero 7:24 ) Kino kitwaliramu n’abaana baffe. Omwana bw’agenda ku ssomero, asuubirwa okussaayo omwoyo eri omusomesa we by’ayogera, wadde ng’essomo erimu terimusanyusa oba nga lirabika nti limuzibuwalidde okutegeera. Omusomesa akimanyi nti singa omwana agezaako okussaayo omwoyo, ajja kubaako ky’aganyulwa mu ssomo. Kati olwo, si kya magezi abaana abasoma okussaayo omwoyo eri okuyigirizibwa okuweebwa mu nkuŋŋaana mu kifo ky’okubaleka ne beebaka ng’olukuŋŋaana lwakatandika? Kyo kituufu nti mu mazima ag’omuwendo agasangibwa mu Byawandiikibwa mulimu ‘ebintu ebizibu okutegeera.’ (2 Peetero 3:16) Naye tetwandibuusizza maaso obusobozi bw’omwana obw’okuyiga. Katonda tabubuusa maaso. Mu biseera bya Baibuli, yalagira abaweereza be abato ‘okuwuliriza n’okuyiga okutya Yakuwa n’okukwata ebigambo byonna eby’amateeka,’ era ng’awatali kubuusabuusa ebimu biteekwa okuba nga byazibuwalira abaana okutegeera. (Ekyamateeka 31:12; geraageranya Eby’Abaleevi 18:1-30.) Yakuwa tasuubira kye kimu okuva eri abaana leero?
8. Abazadde abamu bakoze ki okuyamba abaana baabwe okussaayo omwoyo mu nkuŋŋaana?
8 Abazadde Abakristaayo bakitegeera nti ebyetaago by’abaana baabwe ebimu eby’eby’omwoyo bikolwako olw’ebyo bye bayiga mu nkuŋŋaana. N’olwekyo, abazadde abamu bakola enteekateeka abaana baabwe ne beebakamu ng’enkuŋŋaana tezinnatandika basobole okutuuka ku Kingdom Hall nga beetegefu okuyiga. Abazadde abamu bateeka ekkomo oba bagaana abaana baabwe okulaba ttivi ku nnaku ez’enkuŋŋaana. (Abaefeso 5:15, 16) Era abazadde ng’abo beewala ebintu ebiwugula, era bakubiriza abaana baabwe okuwuliriza n’okuyiga, okusinziira ku myaka gyabwe n’obusobozi bwabwe.—Engero 8:32.
9. Kiki ekiyinza okutuyamba okukulaakulanya obusobozi bwaffe obw’okuwulira?
9 Yesu yali ayogera eri bantu bakulu bwe yagamba: “Musseeyo omwoyo ku ngeri gye muwulirizaamu.” (Lukka 8:18, NW) Ennaku zino, kyangu okwogera bw’otyo naye si kyangu okukiteeka mu nkola. Kyo kituufu nti, okuwuliriza si mulimu mwangu, naye obusobozi bw’okuwuliriza buyinza okukulaakulanyizibwa. Ng’owuliriza emboozi ekwata ku Baibuli oba ekitundu ekimu mu lukuŋŋaana, gezaako okuggyamu ensonga enkulu. Lowooza ku ekyo omwogezi ky’agenda okuddako okwogera. Noonya ensonga z’oyinza okukozesa mu buweereza bwo oba mu bulamu bwo. Fumiitiriza ku nsonga nga zoogerwako. Baako by’owandiika mu bufunze.
10, 11. Abazadde abamu bayambye batya abaana baabwe okufuuka abawuliriza abalungi, era ngeri ki z’osanze nga za muganyulo?
10 Okuwuliriza obulungi kuyigibwa okuva mu buto. Nga tebannaba kuyiga kusoma na kuwandiika, abaana abamu abatannatandika kusoma bakubirizibwa bazadde baabwe okubaako bye ‘bawandiika’ mu nkuŋŋaana. Bakoloboza ku lupapula nga bawulidde ebigambo ebya bulijjo nga “Yakuwa,” “Yesu,” oba “Obwakabaka.” Mu ngeri eno, abaana bayiga okussaayo omwoyo eri ebyogerwa.
11 N’abaana abakulu emirundi egimu beetaaga okukubirizibwa okussaayo omwoyo. Ng’alabye nti mutabani we ow’emyaka 11 yali tassaayo mwoyo mu lukuŋŋaana olunene olw’Ekikristaayo, omutwe gw’amaka omu yawa mutabani we Baibuli n’amusaba okukebera ebyawandiikibwa aboogezi bye bawa. Taata, eyalina by’awandiika, yatunuulira mutabani we akutte Baibuli. Oluvannyuma lw’ekyo, omulenzi yagoberera programu y’olukuŋŋaana olunene mu ngeri esingawo.
Leka Eddoboozi Lyo Liwulirwe
12, 13. Lwaki kikulu nnyo okwenyigira mu kuyimba kw’ekibiina?
12 Kabaka Dawudi yayimba: “Nja kwetooloola ekyoto kyo, Ai Yakuwa, eddoboozi ery’okwebaza lisobole okuwulikika.” (Zabbuli 26:6, 7, NW) Enkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa zituteekerawo emikisa okwoleka okukkiriza kwaffe mu ddoboozi eriwulikika. Engeri emu gye tuyinza okukolamu kino kwe kwenyigira mu kuyimba okw’ekibiina. Kino kitundu kikulu eky’okusinza kwaffe, naye kiyinza okulagajjalirwa.
13 Abaana abamu abatannayiga kusoma bakwata mu mutwe ebigambo by’ennyimba z’Obwakabaka ezikozesebwa mu nkuŋŋaana buli wiiki. Basanyufu okuyimbira awamu n’abantu abakulu. Kyokka, abaana bwe beeyongera okukula, bayinza obutaagala okwenyigira mu kuyimba ennyimba z’Obwakabaka. Abakulu abamu nabo tebaagala kuyimba mu nkuŋŋaana. Kyokka, okuyimba kitundu kya kusinza kwaffe, ng’obuweereza bw’omu nnimiro bwe buli ekitundu ky’okusinza kwaffe. (Abaefeso 5:19) Tukola kyonna kye tusobola okutendereza Yakuwa mu buweereza obw’omu nnimiro. Tetuyinza kumutendereza n’amaloboozi gaffe—ka gabe malungi oba nedda—mu nnyimba ezitendereza okuva mu mutima?—Abaebbulaniya 13:15.
14. Lwaki ebintu bye tuyiga mu nkuŋŋaana z’ekibiina byetaaga okuteekateeka n’obwegendereza nga bukyali?
14 Era tutendereza Katonda bwe tuddamu ebintu ebizimba mu bitundu by’enkuŋŋaana zaffe ebyetaagisa abawuliriza okubaako kye baddamu. Kino kyetaagisa okweteekateeka. Kyetaagisa ekiseera okufumiitiriza ku bintu eby’omunda eby’Ekigambo kya Katonda. Omutume Pawulo, omuyizi w’Ebyawandiikibwa omunyiikivu, ekyo yakitegeera. Yawandiika: ‘Obugagga bwa Katonda n’amagezi ge, n’okumanya kwe nga tebikoma!’ (Abaruumi 11:33) Kikulu nnyo mmwe emitwe gy’amaka, okuyamba buli omu mu maka gammwe okunoonya amagezi ga Katonda agabikkuddwa mu Byawandiikibwa. Waayo ebiseera mu kuyiga kwa Baibuli okw’amaka okunnyonnyola ensonga enzibu n’okuyamba ab’omu maka go okweteekerateekera enkuŋŋaana.
15. Birowoozo ki ebiyinza okuyamba omuntu okubaako by’addamu mu kibiina?
15 Singa oyagala okuddamu ekisingawo mu nkuŋŋaana, lwaki toteekateeka nga bukyali by’oyagala okwogera? Tekyetaagisa kwogera bingi. Okusoma obulungi ekyawandiikibwa okuva mu Baibuli ekituukirawo oba okwogera ebigambo ebitonotono ebisengeke obulungi okuva mu mutima nakyo kijja kusiimibwa. Ababuulizi abamu basaba akubiriza essomo okubalonda okuddamu mu katundu akamu, baleme kusubwa mukisa ogw’okwoleka okukkiriza kwabwe.
Abatalina Bumanyirivu Bafuuka ba Magezi
16, 17. Kubuulirira ki omukadde omu kwe yawa omuweereza mu kibiina, era lwaki kwali kwa muganyulo?
16 Mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa, emirundi mingi tujjukizibwa okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku. Okukola bwe tutyo kituzzaamu endasi. Era kitusobozesa okusalawo n’amagezi, okulongoosa engeri zaffe, okuziyiza okukemebwa, era n’okunywera mu by’omwoyo singa tuba tututte ekkubo ekkyamu.—Zabbuli 19:7.
17 Abakadde mu kibiina abalina obumanyirivu beetegefu okuwa okubuulirira kw’omu Byawandiikibwa okutuukana n’ebyetaago byaffe. Kyokka, kye twetaaga okukola kwe ‘kukusena’ nga tunoonya okubuulirira kwabwe okwesigamiziddwa ku Baibuli. (Engero 20:5) Lumu omuweereza omu mu kibiina yabuuza omukadde engeri gy’ayinza okubeera ow’omuganyulo okusingawo mu kibiina. Omukadde eyali amanyi omuvubuka ono obulungi, yabikkula Baibuli mu 1 Timoseewo 3:3, olugamba nti abasajja abalondebwa bateekwa okubeera ‘abatali bakakanyavu.’ N’ekisa yalaga omuvubuka engeri gy’ayinza okwoleka obutali bukakanyavu ng’akolagana n’abalala. Omuvubuka yanyiiga olw’okubuulirira kwe yaweebwa? N’akatono! “Omukadde yakozesa Baibuli,” bw’atyo bwe yagamba, “n’olwekyo nnakitegeera nti okubuulirira kwali kuva eri Yakuwa.” Omuweereza oyo yassa mu nkola okubuulirira okwo era yeeyongera okukulaakulana.
18. (a) Kiki ekyayamba Omukristaayo omu omuto okuziyiza okukemebwa kwe yafuna ku ssomero? (b) Byawandiikibwa ki by’oyinza okujjukira ng’oyolekaganye n’okukemebwa?
18 Ekigambo kya Katonda era kiyinza okuyamba abavubuka ‘okwewala okwegomba okw’omu buvubuka.’ (2 Timoseewo 2:22) Omujulirwa wa Yakuwa omuto eyamaliriza emisomo gya sekendule gye buvuddeko awo yasobola okuziyiza okukemebwa mu kiseera kye yamala ng’asoma olw’okufumiitiriza era n’okussa mu nkola ebyawandiikibwa bya Baibuli ebimu. Emirundi mingi yalowooza ku magezi agali mu Engero 13:20: ‘Atambula n’abantu ab’amagezi, alifuuka wa magezi.’ N’olwekyo, yakolanga emikwano n’abo bokka abassa ekitiibwa mu misingi gy’omu Byawandiikibwa. Yagamba: “Nninga abantu abalala. Singa nkolagana n’abantu abakyamu, nja kwagala okusanyusa mikwano gyange, era ekyo kiyinza okuvaamu emitawaana.” Okubuulirira kwa Pawulo okuli mu 2 Timoseewo 1:8 nakwo kwamuyamba. Yawandiika: “Tokwatirwanga nsonyi kutegeeza kwa Mukama waffe, . . . naye obonyaabonyezebwanga wamu n’enjiri ng’amaanyi ga Katonda bwe gali.” Ng’atuukana n’okubuulirira okwo, n’obuvumu yabuuliranga bayizi banne enzikiriza ze ezeesigamiziddwa ku Baibuli buli lwe yafunanga omukisa. Buli lwe yagambibwanga okubaako ky’ayogera eri ekibiina, yalondanga omutwe ogwamusobozesa okuwa obujulirwa ku Bwakabaka bwa Katonda.
19. Lwaki omuvubuka omu yalemererwa okuziyiza okunyigirizibwa kw’ensi eno, naye kiki ekyamuwa amaanyi mu by’omwoyo?
19 Singa tuwaba okuva ‘mu kkubo ery’abatuukirivu,’ Ekigambo kya Katonda kiyinza okutuyamba okutereeza ekkubo lyaffe. (Engero 4:18) Omuvubuka abeera mu Afirika yayiga ekintu kino. Omu ku Bajulirwa ba Yakuwa bwe yamukyalira, yakkiriza okuyiga Baibuli. Yasanyukira bye yali ayiga naye mu kabanga katono yatandika okukolagana n’emikwano emibi ku ssomero. Ekiseera bwe kyayitawo, yatandika okwenyigira mu mpisa ez’obugwenyufu. “Omuntu wange ow’omunda yannumiriza nnyo, era nnalina okulekera awo okugenda mu nkuŋŋaana,” bw’atyo bw’agamba. Oluvannyuma, yaddamu okugenda mu nkuŋŋaana. Omuvubuka ono yayogera ebigambo bino: “Nnakizuula nti ekyaviirako bino byonna kyali nti nnalina enjala ey’eby’omwoyo. Nnali seesomesa nzekka. Eyo ye nsonga lwaki nnali siyinza kuziyiza kukemebwa. Awo ne ntandika okusoma Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Mpolampola, nnaddamu okunywera mu by’omwoyo era ne nnongoosa obulamu bwange. Kino kyawa obujulirwa abo abaalaba enkyukakyuka ze nnakola. Nnabatizibwa, era kati ndi musanyufu.” Kiki ekyawa omuvubuka ono amaanyi okuvvuunuka obunafu bwe obw’omubiri? Yaddamu okufuna amaanyi mu by’omwoyo nga yeesomesa Baibuli obutayosa.
20. Omuvubuka ayinza atya okuziyiza okulumba kwa Setaani?
20 Abavubuka Abakristaayo, mulumbibwa leero! Bwe muba ab’okuziyiza okulumba kwa Setaani, muteekwa okulya emmere ey’eby’omwoyo obutayosa. Omuwandiisi wa Zabbuli, naye eyali omuvubuka, ekyo yakitegeera. Yeebaza Yakuwa okuteekawo Ekigambo kye, ‘omuvubuka asobole okulongoosa ekkubo lye.’ —Zabbuli 119:9.
Wonna Katonda gy’Atukulembera, Tujja Kumugoberera
21, 22. Lwaki tetwandirowoozezza nti ekkubo ly’amazima lizibu nnyo?
21 Yakuwa yakulembera eggwanga lya Isiraeri okuva mu Misiri okutuuka mu Nsi Ensuubize. Ekkubo lye yalonda okuyitamu liyinza okuba lyalabika ng’ezzibu okusinziira ku ndowooza y’obuntu. Mu kifo ky’okutwala ekkubo eryalabika ng’eryangu, erigenda obutereevu okuyitira ku mabbali g’Ennyanja Mediterranean, Yakuwa yakulembera abantu be mu kkubo ezzibu eriyitira mu ddungu. Kyokka, kino kyali kikolwa kya kisa ku luuyi lwa Katonda. Wadde lyali lya kumpi, ekkubo eriyitira ku mabbali g’ennyanja lwandiyisizza Abaisiraeri mu nsi y’Abafirisuuti ab’obulabe. Mu kulonda ekkubo eddala, Yakuwa yawonya abantu be okwolekagana n’Abafirisuuti.
22 Mu ngeri y’emu, ekkubo Yakuwa mw’atuyisa leero liyinza okulabika ng’erizibu ebiseera ebimu. Buli wiiki, tubeera n’enteekateeka enzijuvu ey’emirimu gy’Ekikristaayo, nga mw’otwalidde enkuŋŋaana z’ekibiina, okwesomesa ffekka, n’obuweereza bw’omu nnimiro. Amakubo amalala gayinza okulabika ng’amangu. Naye tetujja kutuuka gye tuluubirira okutuuka okuggyako nga tugoberedde obukulembeze bwa Katonda. N’olwekyo, ka tweyongere okufuna okuyigirizibwa okukulu okuva eri Yakuwa tusobole okusigala mu “kkubo eggolokofu” emirembe gyonna!—Zabbuli 27:11.
Osobola Okunnyonnyola?
• Lwaki twetaaga okubaawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo obutayosa?
• Abazadde bayinza kukola ki okuyamba abaana baabwe okussaayo omwoyo mu nkuŋŋaana?
• Biki ebizingirwamu mu kubeera omuwuliriza omulungi?
• Kiki ekiyinza okutuyamba okubaako bye tuddamu mu nkuŋŋaana?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Okubaawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo kituyamba okukuumira olunaku lwa Yakuwa mu birowoozo byaffe
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]
Waliwo engeri nnyingi ez’okutenderezaamu Yakuwa mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo