LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 8/00 lup. 8
  • Enkuŋŋaana Ziganyula Abavubuka

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Enkuŋŋaana Ziganyula Abavubuka
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Similar Material
  • Enkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa Ziyinza Kukuganyula Zitya?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Lwaki Tusaanidde Okukuŋŋaananga Awamu Okusinza?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Engeri Yakuwa gy’Atukulemberamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Olina ky’Okola Okulaba Nti Enkuŋŋaana z’Ekikristaayo Zizimba?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 8/00 lup. 8

Enkuŋŋaana Ziganyula Abavubuka

1 Omuwala omutiini yagamba: “Ebiseera ebimu ndowooza nti abavubuka be basingayo okukaluubirirwa mu bulamu. Twetooloddwa abantu abenyigira mu bwenzi, abeekamirira amalagala, n’abanywa omwenge.” Bw’otyo bw’owulira? Bwe kiba bwe kityo, kiki ky’olowooza ekinaakuyamba okulwanyisa ebintu ebyo ebibi? Weetaaga okukkiriza, okukkiriza okunywevu mu butuufu bw’amakubo ga Yakuwa, kubanga awatali ekyo “tekiyinzika kusiimibwa [gy’ali].” (Beb. 11:6) Okubeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina kijja kukuyamba okunyweza okukkiriza kwo okw’Ekikristaayo era n’obumalirivu bwo okwewala ekyo ekibi.

2 Enkuŋŋaana Zikuganyula Nnyo: Kiki ekifuula okuliira awamu ne mikwano gyo egy’oku lusegere okuba ekisanyusa ennyo? Si ye mmere ennungi awamu n’embeera ennungi ebaawo ng’oli n’emikwano egyo emirungi? Enkuŋŋaana zaffe nazo zibaamu ebintu ebirungi ng’ebyo, naye mu ngeri ey’eby’omwoyo.

3 Ebintu ebikubaganyizibwako ebirowoozo mu nkuŋŋaana bizimba, nga mu bino mwe muli ensonga ezikwata ku bizibu ebya bulijjo mu bulamu n’okutuukira ddala ku kusoma obunnabbi bwa Baibuli obuwuniikiriza. Mubaamu okuyigiriza okulungi okulaga ekkubo ly’obulamu erisingayo obulungi era n’engeri y’okwaŋŋangamu ebizibu by’osanga. Emikwano egisangibwa mu nkuŋŋaana gye gisingayo obulungi wonna, era n’embeera ey’eby’omwoyo ebeerayo nnungi era teriiko kabi konna. (Zab. 133:1) Tekyewuunyisa lwaki omuvubuka omu yagamba bw’ati: “Ku ssomero mbeerayo olunaku lwonna, era kinkooya nnyo. Naye enkuŋŋaana ziringa ensulo y’amazzi mu ddungu, olw’okuba zimpa amaanyi okusobola okwaŋŋanga embeera z’oku ssomero olunaku oluddako.” Omulala yagamba: “Nkizudde nti okukolagana ennyo n’abalala abaagala Yakuwa kinnyamba okubeera okumpi naye.”

4 Nga weewandiisizza mu Ssomero ly’Obuweereza bwa Teyokulase, oyiga okunoonyereza ebintu ebikwatagana ne Baibuli, n’obikolamu emboozi, ate n’ogiwa mu ngeri ey’okunyumya eri abakuwuliriza mu Kingdom Hall. Fumiitiriza ku miganyulo gy’okutendekebwa okuyigiriza obulungi amazima agawonya obulamu agali mu Kigambo kya Katonda! Wa awalala abavubuka gye bayinza okufuna okutendekebwa okw’omuwendo bwe kutyo?

5 Engeri y’Okuganyulwa Ekisingiridde Okuva mu Nkuŋŋaana: Okuganyulwa ekisingiridde mu nkuŋŋaana, waliwo ebintu bisatu ebikulu ebitwalirwamu. Bino kwe kuteekateeka, okwenyigiramu, n’okussa mu nkola.

6 Zeeteekereteekere: Teekawo ebiseera eby’okuteekateeka enkuŋŋaana obutayosa. Tokkiriza ebikuweereddwa ku ssomero, omulimu gw’okola ebiseera ebimu, oba eby’okwesanyusaamu okukumalako ebiseera bye weetaaga okuyita mu ebyo ebinaakubaganyizibwako ebirowoozo mu buli lukuŋŋaana. Kiyamba okubeera n’enkola ennuŋŋamu gy’ogoberera. Okusooka byonna, goberera enteekateeka y’Essomero ly’Obuweereza bwa Teyokulase ey’okusoma Baibuli buli wiiki. Kyetaagisa eddakiika ntono nnyo buli lunaku okusoma n’okufumiitiriza ku ssuula ezirina okusomebwa. Funa ekiseera eky’okwetegekera olukuŋŋaana lw’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina era n’Essomo lya Omunaala gw’Omukuumi. Abamu kino bakikola ng’ebulayo olunaku lumu oba bbiri enkuŋŋaana ezo zituuke. Nga bwe kiba kisobose, kola kye kimu ne ku bitundu ebibeera mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza buli wiiki.

7 Zenyigiremu: Baibuli egamba nti ng’aweza emyaka egy’obukulu 12, Yesu yasangibwa mu yeekaalu, ng’awuliriza, ng’abuuza ebibuuzo, era ng’awa eby’okuddamu. (Luk. 2:46, 47) Mu ngeri endala, yali yenyigiddemu mu bujjuvu. Ojja kuganyulwa nnyo mu nkuŋŋaana singa ofuba okuzenyigiramu.​—Nge. 15:23.

8 Olina okussaayo omwoyo ku ebyo ebiyigirizibwa mu nkuŋŋaana. Ebiseera ebimu, okuwuliriza emboozi kuba kuzibu okusinga okugiwa. Lwaki? Ebirowoozo biyinza okuwugulibwa ng’omuntu omulala ayogera. Kino oyinza kukirwanyisa otya? Ng’obaako by’owandiika. Wandiika ensonga enkulu z’ojja okwetaaga okukozesa gye bujja. Okubaako by’owandiika kijja kukuyamba okussaayo omwoyo ku programu. Era bikkula ebyawandiikibwa, era ogoberere ng’omwogezi abisoma.

9 Okwongereza ku ekyo, beera n’ekiruubirirwa okwenyigira mu buli kitundu ky’olukuŋŋaana eky’okubuuza ebibuuzo n’okuddamu. Ojja kuganyulwa n’okusingawo singa olowooza ku ekyo ky’oyagala okwogera. Engero 15:28 lugamba: “Omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza okwanukula.”

10 Kozesa By’Oyiga: Ekisembayo kwe kukakasa nti by’oyiga ‘bikolera mu gwe.’ (1 Bas. 2:13) Ng’ossa mu nkola ensonga ennungi z’oyiga mu buli lukuŋŋaana, ojja kusemberera Yakuwa Katonda. Ajja kuba wa ddala gy’oli, era ojja kubeera n’essanyu lingi n’obumativu ng’ogenda weeyongera “okutambulira mu mazima,” ng’ogafuula agago.​—3 Yok. 4.

11 Baganda baffe ne bannyinaffe abato, nga mweteekerateekera enkuŋŋaana obutayosa, nga muzenyigiramu, era nga mussa mu nkola bye muyiga, mujja kunyumirwa enkuŋŋaana mu bujjuvu. Mu kiseera kye kimu, mujja kuziganyulwamu mu bujjuvu. Okukkiriza kwammwe kujja kunywezebwa, era n’obumalirivu bwammwe okubeera abeesigwa eri Kitammwe ow’omu ggulu, Yakuwa.​—Zab. 145:18.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share