Oganyulwa?
1 Obukadde n’obukadde bw’abantu leero baagala okumanya engeri y’okuvuunukamu ebizibu era n’okufuna obulamu obw’essanyu. Banyumirwa okusoma ebitabo ebiwa amagezi ku kwekulaakulanya oba bakyukira ebibiina ebitali bimu okufuna amagezi ku ngeri y’okulongoosaamu obulamu bwabwe. Oboolyawo abamu bayinza okusonga ku miganyulo egimu gye bafunye. Kyokka, okusinziira ku mutindo gw’obulamu oguliwo leero, abantu okutwalira awamu bafunye obulamu obw’essanyu era obumatiriza ddala okuyitira mu nteekateeka z’abantu eziwa obulagirizi? Mazima ddala ekyo si bwe kiri n’akatono!—1 Kol. 3:18-20.
2 Ku ludda olulala, Omutonzi waffe awa amagezi ga bwereere agawa obuyambi obusingirayo ddala obulungi eri abo abagagoberera. Yakuwa ayagala buli omu okuganyulwa okuva mu kuyigiriza kwe. Ataddewo Ekigambo kye ekyaluŋŋamizibwa okukulembera abantu mu bugolokofu, era aleetedde amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwe okubuulirwa mu nsi yonna. (Zab. 19:7, 8; Mat. 24:14; 2 Tim. 3:16) Obulamu obw’essanyu erya nnamaddala bwesigamye ku kussaayo omwoyo eri ebiragiro bya Yakuwa.—Is. 48:17, 18.
3 Obulagirizi bwa Yakuwa busingira wala obwo obuweebwa mu bitabo ebiwa amagezi oba entegeka z’ensi eziwa obuyambi. Tuyinza okufuna obuyambi obwa nnamaddala n’emiganyulo egy’olubeerera singa tweyambisa mu bujjuvu byonna Yakuwa by’atuwa nga bwe byogerwako mu Kigambo kye era ne biyigirizibwa ekibiina kye.—1 Peet. 3:10-12.
4 Ganyulwa mu Nkuŋŋaana z’Ekibiina: Leero, Yakuwa alaga okufaayo okwa nnamaddala ng’atuyigiriza amakubo ge, era tuganyulwa bwe tussaayo omwoyo eri obulagirizi bwe. Enkuŋŋaana ettaano ze tubeera nazo buli wiiki ziraga okufaayo kwa Yakuwa okw’okwagala. Bwe tugenda mu nkuŋŋaana z’ekibiina, okumanya kwaffe okukwata ku Katonda kweyongera. Tuyiga engeri y’okwekuumamu okuva ku kibi nga tweyongera okusemberera Yakuwa. Mu ngeri eno tuzzibwamu amaanyi.
5 Waliwo ebisingawo. Mu nkuŋŋaana z’ekibiina tusobola “okugaziwa.” (2 Kol. 6:13) Kino kitwaliramu okumanya abalala mu kibiina. Tuganyulwa okuva mu kuzziŋŋanamu amaanyi ffekka na ffekka, ng’okwo omutume Pawulo kwe yawandiikako mu bbaluwa ye eri Abaruumi. (Bar. 1:11, 12, NW) Bwe yali awandiikira Abaebbulaniya, yabuulirira n’amaanyi abo abaali batandise okukulaakulanya empisa ey’okulagajjalira okukuŋŋaana kw’Ekikristaayo.—Beb. 10:24, 25.
6 Okubeera omumativu mu bulamu kikwataganyizibwa n’okufaayo ku mbeera y’abalala. Tukubirizibwa okunoonyereza engeri y’okuleetera abalala essanyu. N’olwekyo, enkuŋŋaana zaffe ez’Ekikristaayo, mazima ddala ziriwo kutuganyula kinnoomu era n’okuganyula abo be tukuŋŋaana nabo. Kye twetaaga kwe kuzenyigiramu n’omutima gwaffe gwonna.
7 Omutume Pawulo yayogera ku nsonga efaananako eyo mu kubuulira kwe eri Timoseewo bwe yawandiika: “Weetendeke ggwe kennyini okwemalira ku Katonda.” (1 Tim. 4:7, NW) Tuyinza okwebuuza: ‘Nneetendeka? Njiga okuganyulwa okuva mu ebyo bye mpulira mu nkuŋŋaana z’ekibiina?’ Okuddamu kwaffe kujja kubeera yee singa tussaayo omwoyo ku ebyo bye tuwulira mu nkuŋŋaana era ne tugezaako okussa mu nkola bye tuyiga. N’amaaso ag’okukkiriza, tetwandikomye ku kulaba ba luganda abo bokka abayigiriza, naye era twandirabye Yakuwa ng’Omuyigiriza ow’Ekitalo ow’abantu be.—Is. 30:20.
8 Essomero ly’Obuweereza bwa Teyokulase n’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza: Enkuŋŋaana zino ebbiri zitegekeddwa okutuyamba okukola obulungi mu buweereza bwaffe obw’Ekikristaayo. Essomero ly’Obuweereza bwa Teyokulase lya kigendererwa ekyo kyennyini—ssomero eririmu abayizi abafuna obulagirizi n’okuwabulwa obutayosa. Obeera n’omukisa okwoleka okukulaakulana kwo ng’omwogezi w’omu lujjudde era ng’omuyigiriza w’Ekigambo kya Katonda. Naye okuganyulwa ekisingiridde okuva mu ssomero, olina okwewandiisa, okubeerawo, okwenyigiramu obutayosa, era n’okussaayo omutima ku ebyo ebiba bikuweereddwa okukola. Okukkiriza era n’okussa mu nkola okubuulirirwa okuweebwa kijja kukuyamba okukulaakulana.
9 Olukuŋŋaana lw’Obuweereza lutuyigiriza obukulu bw’obuweereza bw’Ekikristaayo era lutulaga engeri gye tulina okwenyigira mu mulimu gw’okufuula abayigirizwa. Ggwe n’ab’omu maka go muganyulwa mu bujjuvu okuva mu ebyo ebibeera mu nkuŋŋaana zino ebbiri? Omugogo gw’abafumbo Abakristaayo bagamba: “Mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olumu, twawulira nti tulina okwekenneenyanga ekyawandiikibwa ky’olunaku ng’amaka. Kino twali tetukikola, naye kati tukikola.” Baganyuddwa batya? Bagamba: “Tukisanga nti emboozi zaffe nga tuli ku mmeeza nga tulya, zinyuma nnyo okusingawo. Tewakyali kuwakana mu kiseera eky’okulya.” N’abaana abato baganyulwa okuva mu nkuŋŋaana? Yee. Maama agamba bw’ati: “Kya lwatu nti abaana baffe bakwatibwako nnyo ebibeera mu nkuŋŋaana. Wiiki emu twasanga katabani kaffe ak’emyaka mukaaga nga koogera eby’obulimba. Naye wiiki eyo yennyini mu lukuŋŋaana, emboozi ewa obulagirizi yali ekwata ku kulimba. Ng’amaaso gaako galaba nti omusango gukasinze, katabani kaffe katunuulira taata waako nga kawulira ensonyi mu ntebe yaako. Kaafuna eky’okuyiga, era tetwalina bizibu oluvannyuma lw’ekyo.”
10 Mwannyinaffe nga payoniya agamba nti musanyufu olw’okuba Olukuŋŋaana lw’Obuweereza lubaamu ebirowoozo ku ngeri y’okulongoosaamu obuweereza bwaffe. Lwaki? Annyonnyola: “Nneesanga nga nnina enkola gye mmanyidde etakyukako. Oluusi ndowooza nti amagezi agaweebwa mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka tegayinza kukola. Naye mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza, bwe mpulira nti tusaanidde okukigezaako, nfuna ebbugumu okussa amagezi ago mu nkola. Kifuula obuweereza bwange obunyuvu!” Oluvannyuma lwa wiiki eziwerako ng’akozesa amagezi ag’okugezaako okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli ku lukyala olusooka, ku mulundi ogwasooka yatandika okusoma n’omuwala eyali asaba okufuna obuyambi.
11 Bw’owulira emboozi erimu okubuulirira okw’omu Baibuli okukwata ku by’osalawo okukola, okitegeera nti Yakuwa aba ayogera naawe butereevu? Ow’oluganda bw’atyo bwe yawulira. Yagamba: “Gye buvuddeko awo mu lukuŋŋaana olumu, waaliwo emboozi ow’oluganda omu mwe yannyonnyolera ku ngeri z’okwesanyusaamu ezisaana eri Abakristaayo n’ezitasaana. Nnayagalanga nnyo okulaba abakuba ebikonde ku ttivi. Naye oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olwo, nnasalawo nti omuzannyo guno guggwa mu ttuluba ly’eby’okwesanyusaamu ebitali birungi eri Abakristaayo. N’olwekyo sikyagulaba.” Yee, wadde ow’oluganda ono yali akulaakulanyizza okwagala ekintu eky’obukambwe, n’obuwombeefu yagoberera obulagirizi bwa Yakuwa.—Zab. 11:5.
12 Olukuŋŋaana lwa Bonna, Okusoma Omunaala gw’Omukuumi n’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina: Emboozi za bonna ze tuwulira buli wiiki zikwata ku nsonga nnyingi ez’omu Baibuli. Kiki ky’ofuna okuva mu mboozi zino? Omwami omu Omukristaayo yayogera ku miganyulo gye yali afunye: “Emboozi ya bonna emu yatangaaza ku bibala by’omwoyo byonna. Omwogezi yagamba nti, ye ku lulwe, ng’afuba okukulaakulanya ebibala bino, yalondangayo engeri emu n’akola ku eyo okumala wiiki emu. Ku nkomerero ya wiiki, yalowoozanga ku ngeri gy’ayolesezaamu ekibala ekyo mu by’abadde akola buli lunaku. Kati ate n’akola ku ngeri endala mu wiiki eddako. Nnayagala amagezi ago era nange ne ntandika okukola bwe ntyo.” Nga kuno kwali okukozesa obulungi ennyo ekyo ekyayigibwa!
13 Okusoma Omunaala gw’Omukuumi kutuyigiriza okussa mu nkola emisingi gya Baibuli mu mbeera ez’enjawulo ez’obulamu. Kino kituyamba okubeera abakkakkamu mu birowoozo ne mu mutima wadde nga twolekaganye n’ebyeraliikiriza mu bulamu. Okusoma Omunaala gw’Omukuumi era kituyamba okugendera okumu n’amazima agagenda geeyongerayongera. Ng’ekyokulabirako, tetwaganyulwa mu kusoma ebitundu bya Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maayi 1, 1999, ebyalina emitwe gino: “Ebintu Bino Biteekwa Okubaawo,” “Omusomi Akozese Okutegeera,” ne “Tunula era Beera Munyiikivu!” Okusoma kuno kwakukwatako kutya? Olaga n’ebikolwa nti ofaayo ku kulabula kwa Yesu okukwata ku biseera eby’omu maaso? Weeteekerateekera okugezesebwa okunaabaawo mu maaso bwe tunaalaba “eky’omuzizo ekizikiriza nga . . . kiyimiridde mu kifo ekitukuvu”? (Mat. 24:15-22) Ebiruubirirwa byo n’enneeyisa yo byoleka nti okutukuza erinnya lya Yakuwa kye kintu ekisingayo obukulu gy’oli, so si okwetuumira eby’obugagga? Mu kusoma kwa Omunaala gw’Omukuumi, tetuyiga okuganyulwa ffe ffennyini kati?
14 Lowooza ku bintu ebingi bye tuyiga mu Kusoma Ekitabo okw’Ekibiina buli wiiki. Mu kiseera kino tusoma akatabo Emirembe. Mu myezi ena kati gye tumaze nga tusoma akatabo ako, tetulabye okukkiriza kwaffe nga kweyongera buli wiiki?
15 Yakuwa Atuyigiriza Okubeera nga Tuli Basanyufu: Twewala ebizibu bingi bwe tussaayo ebirowoozo ku biragiro bya Katonda. Ate era, tulina obulamu obw’essanyu. Nga tugoberera obulagirizi bwa Yakuwa, twenyigira mu mulimu gwe, tetubeera batunuulizi butunuulizi. Era abo abakola omulimu gwa Katonda bantu basanyufu.—1 Kol. 3:9; Yak. 1:25.
16 Lowooza ku ngeri gy’onookozesaamu ebintu by’owulira ng’oli mu nkuŋŋaana z’ekibiina. (Yok. 13:17) Weereza Katonda n’essanyu, n’omutima gwo gwonna. Essanyu lyo lijja kubeera lingi. Obulamu bwo bujja kubeera bulungi era bwa makulu okusingawo. Yee, ojja kuganyulwa gwe kennyini.