LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be lup. 13-lup. 16 kat. 5
  • “Ssaayo Omwoyo ku Ngeri gy’Owulirizaamu”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Ssaayo Omwoyo ku Ngeri gy’Owulirizaamu”
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Teekateeka Omutima Gwo
  • Ssaayo Omwoyo
  • Okuwuliriza ng’Emboozi Ziweebwa
  • Okuwuliriza ng’Ebirowoozo Bikubaganyizibwa
  • Okuwuliriza nga Tuli mu Nkuŋŋaana Ennene
  • Okutendeka Abaana Okuwuliriza
  • Beera Omuwuliriza Omulungi
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Engeri Yakuwa gy’Atukulemberamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Programu Empya ey’Olukuŋŋaana Olunene olw’Enjawulo olw’Olunaku Olumu
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be lup. 13-lup. 16 kat. 5

“Ssaayo Omwoyo ku Ngeri gy’Owulirizaamu”

OKUWULIRIZA kukulu nnyo mu kuyiga. Ate era kuyinza n’okusobozesa omuntu okuwonya obulamu bwe. Yakuwa bwe yali ateekateeka okununula abantu be okuva mu buddu bwa Misiri, yawa Musa ebiragiro, ate ne Musa naye n’ategeeza abakadde mu Isiraeri kye baali bateekwa okukola abaana baabwe ababereberye baleme okuzikirizibwa malayika. (Kuv. 12:21-23) Abakadde baatuusa obubaka obwo mu buli maka. Obubaka obwo baabwogeranga bwogezi. Abantu baalina okuwuliriza n’obwegendereza. Kiki kye baakola? Baibuli egamba: ‘Abaana ba Isiraeri bonna baakola nga Yakuwa bwe yalagira Musa ne Alooni. Bwe batyo bwe baakola.’ (Kuv. 12:28, 50, 51) N’ekyavaamu, Isiraeri yanunulwa mu ngeri ey’ekitalo.

Leero, waliwo okununulibwa okusingawo n’obukulu Yakuwa kw’atuyamba okweteekerateekera. N’olwekyo, twandisizzaayo omwoyo ku ebyo by’atuyigiriza. Okuyigiriza ng’okwo tukufuna mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Oganyulwa mu bujjuvu mu nkuŋŋaana ng’ezo? Ekyo kyesigama ku ngeri gy’owulirizaamu.

Ojjukira ebintu ebikulu ebiyigirizibwa mu nkuŋŋaana? Mpisa yo okuteeka mu nkola by’oba oyize buli wiiki era n’obitegeezaako n’abalala?

Teekateeka Omutima Gwo

Okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu ebyo ebiyigirizibwa mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, tulina okuteekateeka emitima gyaffe. Obukulu bw’okukola ekyo bulabikira ku ekyo ekyaliwo mu bufuzi bwa Kabaka Yekosofaati owa Yuda. Yekosofaati yanywerera ku kusinza okw’amazima. ‘Yaggyawo ebifo ebigulumivu ne Baasera mu Yuda’ era n’awa abalangira, Abaleevi ne bakabona obuvunaanyizibwa obw’okuyigiriza abantu mu bibuga byonna ebya Yuda Amateeka ga Yakuwa. Wadde kyali kityo, ‘ebifo ebigulumivu byasigalawo.’ (2 Byom. 17:6-9; 20:33) Okusinza bakatonda ab’obulimba n’okusinza Yakuwa mu ngeri gy’atasiima mu bifo ebigulumivu eby’abakaafiiri kwali kwasimba dda amakanda era tebyaggibwawo.

Lwaki enteekateeka ey’okuyigiriza abantu Yekosofaati gye yateekawo teyavaamu miganyulo gya lubeerera? Ebyawandiikibwa byeyongera ne bigamba: ‘Abantu baali tebannateekateeka mitima gyabwe okuwuliriza Katonda wa bajjajjaabwe.’ Baawulira naye tebaakolera ku ebyo bye baawulira. Oboolyawo baalowooza nti okugenda e Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka kyali kikooyesa. K’ebe nga yali nsonga ki, tebaalaga kukkiriza mu mitima gyabwe.

Okusobola okwewala okuddamu okugoberera amakubo g’ensi ya Setaani, tuteekwa okuteekateeka emitima gyaffe ne tukkiriza Yakuwa by’atuyigiriza leero. Mu ngeri ki? Engeri emu enkulu kwe kusaba. Twandisabye tusobole okusiima ebyo Yakuwa by’atuyigiriza. (Zab. 27:4; 95:2) Kino kijja kutuyamba okusiima baganda baffe abatatuukiridde Yakuwa b’akozesa okuyigiriza abantu be. Kijja kutuleetera okwebaza Yakuwa si olw’ebintu ebippya byokka bye tuyiga, naye era n’okusiima ennyo ebintu bye twayiga edda. Olw’okuba twagala okukola Katonda by’ayagala mu bujjuvu, tusaba: “Onjigirizenga ekkubo lyo, ai Mukama. . . . Ogatte wamu omutima gwange gutye erinnya lyo.”​—Zab. 86:11.

Ssaayo Omwoyo

Waliwo bingi ebiyinza okutulemesa okussaayo omwoyo. Tuyinza okuba n’ebitweraliikiriza. Ebitaataaganya munda n’ebweru w’ekizimbe biyinza okutuwugula. Bwe tuba tetwewulira bulungi tuyinza okulemererwa okussaayo omwoyo. Abo abalina abaana abato bayinza okukisanga nga kizibu okussaayo omwoyo. Kiki ekiyinza okutuyamba okussaayo omwoyo ku programu?

Bye tutunuulira bye tutera okussaako omwoyo. Weeyambise amaaso go okussaayo omwoyo ng’otunuulira omwogezi. Bw’ajuliza ekyawandiikibwa okuva mu Baibuli, wadde ekyo ky’omanyi, kikebere era ogoberere nga kisomebwa. Weewale okutunula buli awali ebitaataaganya. Bw’otunuulira ebitaataaganya, ebirowoozo byo bijja kuwuguka era ojja kusubwa bingi ebyogerwa ku pulatifomu.

Bw’oba ‘n’ebirowoozo’ ebikulemesa okussaayo omwoyo ku programu, saba Yakuwa akukkakkanye osobole okussaayo omwoyo. (Zab. 94:19; Baf. 4:6, 7) Saba enfunda n’enfunda bwe kiba kyetaagisa. (Mat. 7:7, 8) Enkuŋŋaana z’ekibiina nteekateeka ya Yakuwa. Oyinza okuba omukakafu nti ayagala oziganyulwemu.​—1 Yok. 5:14, 15.

Okuwuliriza ng’Emboozi Ziweebwa

Kyandiba ng’oyinza okujjukira ensonga ezaakusanyusa ze wawulira mu mboozi. Kyokka, okuwuliriza emboozi kisingawo ku kujjukira obujjukizi ensonga enkulu. Emboozi eringa olugendo. Wadde wayinza okubaawo ebintu ebisanyusa okulaba ng’oli ku lugendo, ekisinga obukulu kye kifo gy’olaga. Omwogezi ayinza okuba ayagala abamuwuliriza babeeko kye basalawo oba kye bakolawo.

Lowooza ku ebyo Yoswa bye yayogera eri eggwanga lya Isiraeri, ebisangibwa mu Yoswa 24:1-15. Ekiruubirirwa kye kyali okukubiriza abantu okunywerera ku kusinza okw’amazima nga beeyawulira ddala ku kusinza ebifaananyi okw’amawanga ag’omuliraano. Lwaki ekyo kyali kikulu nnyo? Okusinza ebifaananyi okwali kucaase kwali kusobola okwonoona enkolagana yaabwe ennungi ne Yakuwa. Abantu baddamu Yoswa nga bagamba: “Kikafuwe ffe okuleka Mukama okuweerezanga bakatonda abalala. . . . [tujja kuweereza] Mukama.” Era ekyo kye baakola!​—Yos. 24:16, 18, 31.

Ng’owuliriza emboozi, gezaako okutegeera ekigendererwa kyayo. Weetegereze engeri ensonga omwogezi z’awa gye zikulaakulanyizibwa okutuuka ku kigendererwa ekyo. Weebuuze ebyogerwa kye bikukubiriza okukola.

Okuwuliriza ng’Ebirowoozo Bikubaganyizibwa

Mu kusoma okwa Omunaala gw’Omukuumi, Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina n’ebitundu ebimu eby’Olukuŋŋaana olw’Obuweereza mubaamu okubuuza ebibuuzo n’okuddamu.

Okuwuliriza ng’ebirowoozo bikubaganyizibwa, mu ngeri emu kiba ng’okunyuma. Okusobola okuganyulwa mu bujjuvu, wuliriza n’obwegendereza. Weetegereze ekigendererwa ky’akubiriza ekitundu. Era weetegereze engeri akubiriza gy’aggumizzaamu omutwe n’ensonga enkulu. Lowooza ku ngeri gye wandizzeemu ebibuuzo by’abuuza. Wuliriza ng’abalala bannyonnyola era nga balaga engeri ebiyigibwa gye biyinza okukozesebwamu mu bulamu bwaffe. Bw’owuliriza endowooza y’abalala ku bintu by’obadde omanyi kiyinza okukuleetera okubitegeera mu ngeri esingawo. Naawe yoleka okukkiriza kwo ng’obaako by’oyogera.​—Bar. 1:12.

Okuteekateeka nga bukyali kijja kukuyamba okwenyigira mu kukubaganya ebirowoozo n’okugoberera obulungi ng’abalala baddamu. Bw’oba tofunye kadde kuteekateeka bulungi, waakiri waayo eddakiika ntono oyiseemu amaaso. Bw’onookola bw’otyo kijja kukuyamba okuganyulwa ekisingawo mu biba bikubaganyizibwako ebirowoozo.

Okuwuliriza nga Tuli mu Nkuŋŋaana Ennene

Mu nkuŋŋaana ennene eyinza okubaayo ebiwugula bingi okusinga mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Kino kiyinza okukifuula ekizibu okuwuliriza. Kiki ekiyinza okutuyamba?

Ekintu ekimu ekikulu kwe kwebaka ekimala ekiro. Buli lunaku nga programu tennatandika, lowooza ku mutwe ogunaakulaakulanyizibwa. Tunuulira buli mutwe gwa mboozi era teebereza ku biyinza okwogerwa. Kozesa Baibuli yo. Bangi bakisanga nti okuwandiika ensonga enkulu kibayamba okussaayo omwoyo ku programu. Wandiika ensonga z’oyagala okussa mu nkola mu bulamu bwo oba okukozesa mu nnimiro. Buli lunaku nga muva oba nga mugenda mu lukuŋŋaana, mukubaganye ebirowoozo ku nsonga ezimu enkulu. Ekyo kijja kubayamba okujjukira ebibadde mu lukuŋŋaana.

Okutendeka Abaana Okuwuliriza

Abazadde Abakristaayo bayinza okuyamba abaana baabwe, ka babe bawere, ‘okulokolebwa’ nga babaleeta mu nkuŋŋaana z’ekibiina, n’enkuŋŋaana ennene. (2 Tim. 3:15) Okuva abaana bwe baawukana, era ng’ekiseera kye bamala nga bataddeyo omwoyo tekyenkanankana, kyetaagisa okukozesa amagezi okusobola okubayamba okussaayo omwoyo. Ebirowoozo bino wammanga oyinza okubisanga nga bya muganyulo.

Nga muli awaka, tegekawo ebiseera abaana bo batuule mu kasirise nga basoma oba nga balaba ebifaananyi mu bitabo byaffe eby’Ekikristaayo. Ng’oli mu nkuŋŋaana, weewale okuwa abaana bo eby’okuzannyisa. Nga bwe kyali mu Isiraeri ey’edda, n’abaana baffe abato bajja mu nkuŋŋaana ‘basobole okuwuliriza n’okuyiga.’ (Ma. 31:12) We kiba kyetaagisa, abazadde abamu bawa abaana baabwe ebitabo ebikozesebwa. Abaana bwe bagenda bakula, bayambe okweteekateeka babeeko ne bye baddamu bwe wabaawo okukubaganya ebirowoozo.

Ebyawandiikibwa biraga akakwate akaliwo wakati w’okuwuliriza Yakuwa n’okumugondera. Kino kirabikira mu bigambo Musa bye yagamba eggwanga lya Isiraeri: ‘Ntadde mu maaso go obulamu n’okufa, omukisa n’okukolimirwa: kale weeroboze obulamu ng’oyagala Mukama Katonda wo, ng’owulirizanga eddoboozi lye, era ng’omunywererako.’ (Ma. 30:19, 20) Bwe tuba twagala okusiimibwa Katonda n’okufuna obulamu obutaggwaawo, twetaaga okuwuliriza ebyo by’atuyigiriza era n’okubissa mu nkola. Mazima ddala nga kikulu nnyo okugondera okubuulirira kwa Yesu: ‘Ssaayo omwoyo ku ngeri gy’owulirizaamu’!​—Luk. 8:18.

EBIYAMBA OKUWULIRIZA OBULUNGI

  • Saba osobole okussaayo omwoyo ku programu

  • Tunuulira omwogezi

  • Ebyawandiikibwa bwe bijulizibwa, bikebere mu Baibuli yo, era goberera nga bisomebwa

  • Noonya ekigendererwa ky’emboozi

  • Mu birowoozo byo ddamu ebibuuzo ebibuuzibwa; wuliriza bulungi abalala bye baddamu

  • Baako by’owandiika mu bufunze

  • Wandiika ensonga z’oyagala okussa mu nkola mu bulamu bwo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share