Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Nkola ki ekibiina gye kisaanidde okugoberera nga kikola ku nsaasaanya y’omulabirizi w’ekitundu?
Kiba kirungi okwanjula ekiteeso eri ekibiina kibeeko kye kisalawo buli kiseera ssente z’ekibiina lwe ziba zigenda okukozesebwa okukola ku nsaasaanya y’omulabirizi w’ekitundu. Ku nkomerero ya wiiki ey’okukyala kw’omulabirizi w’ekitundu eri ekibiina, omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde atera okubuuza omulabirizi w’ekitundu ebikwata ku nsaasaanya ye eya wiiki eyo. Omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde n’abakadde abalala abali mu kibiina bakubaganya ebirowoozo ku nsaasaanya eyo era ne babaako kye basalawo. Mu lukuŋŋaana lw’obuweereza oluddako, ekiteeso kyandibadde kyanjulwa eri ekibiina kibeeko kye kisalawo. Ekiteeso nga kimaze okukkirizibwa, kisaana kiteekebweko olunaku lw’omwezi, emikono era kiterekebwe mu fayiro.
Ku bikwata ku nkola erina okugobererwa ng’ebiteeso byanjulibwa eri ekibiina, Akasanduuko k’Ebibuuzo akaali mu Our Kingdom Ministry aka Febwali 1994 kaagamba: “Singa wabaawo obwetaavu, akakiiko k’abakadde kasaanidde kakubaganye ebirowoozo ku nsonga eyo. Singa abasinga obungi bakkiriza nti wateekwa okubaawo ekikolebwa, omu ku bakadde, oboolyawo ali ku Kakiiko k’Ekibiina ak’Obuweereza, asaanidde okuteekateeka mu buwandiike ekiteeso ekinaayanjulibwa mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza.
Omukadde akola nga ssentebe asaanidde okunnyonnyola obulungi, naye mu bufunze, obwetaavu obuliwo era n’ekyo akakiiko k’abakadde kye kasazeewo okukola ku bwetaavu obwo. Oluvannyuma ekibiina kyandiweereddwa omukisa okubuuza ebibuuzo.
Abo abawanika emikono okuwagira ekiteeso ekyo bateekwa okuba ab’omu kibiina ekyo abeewaddeyo era ababatize. Kiba tekisaana abagenyi okuva mu bibiina ebirala okwenyigiramu.
Ng’ekiteeso kimaze okukkirizibwa, kisaana kiteekebweko olunaku lw’omwezi, emikono era kiterekebwe mu fayiro.”