LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 4/03 lup. 3-6
  • Ebiseera mu Byawandiikibwa Ebitukuvu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebiseera mu Byawandiikibwa Ebitukuvu
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Similar Material
  • Tendereza Yakuwa mu Kibiina Ekinene
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Ekiseera eky’Okuliisibwa mu by’Omwoyo n’Okusanyuka
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • ‘Tutendereze Erinnya Lye Ffenna’
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Lindirira Yakuwa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
km 4/03 lup. 3-6

Ebiseera mu Byawandiikibwa Ebitukuvu

18. (a) Lwaki amakulu g’ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “omwaka” gatuukirawo bulungi? (b) Solar year kye ki?

18 Omwaka. Okwekenneenya ebiseera mu Baibuli kati kututuusa ku kigambo “omwaka.” Ekigambo kino kibadde kikozesebwa okuviira ddala ku ntandikwa y’ebyafaayo by’omuntu. (Lub. 1:14) Ekigambo ky’Olwebbulaniya sha·nahʹ ekivvuunulwa “omwaka,” kiva mu kigambo ekitegeeza “okuddamu” era nga kirina amakulu agakwata ku ntambula y’ebiseera. Ekyo kituukirawo bulungi, kubanga buli mwaka ebiro eby’enjawulo nga ttoggo ne ddumbi biddamu nate okubaawo. Omwaka kye kiseera ensi ky’etwala okwetooloola enjuba omulundi gumu. Ensi kigitwalira ennaku 365, essaawa 5, eddakiika 48, n’obutikitiki 46 okwetooloola enjuba, oba ennaku 365 1/4. Ekiseera ekyo kye kiyitibwa solar year.

19. (a) Emyaka egy’edda egy’omu Baibuli gyabalwanga gitya? (b) Mwaka ki ‘omutukuvu’ Yakuwa gwe yassaawo oluvannyuma?

19 Emyaka egy’Omu Baibuli. Okusinziira ku mbala ey’edda ey’omu Baibuli, omwaka gwatandikiranga mu ttoggo era nga guggwaako mu ttoggo. Kino kyali kituukana bulungi nnyo n’eby’obulimi, ng’omwaka gutandika n’okulongoosa ennimiro awamu n’okusiga ensigo, mu mwezi kati ffe gwe tuyita ogwa Okitobba, ate ne gukomekkerezebwa n’okukungula ebintu ebirimiddwa. Nuuwa yabala omwaka ng’ava mu ttoggo. Yawandiika nti Amataba gaatandika mu ‘mwezi ogw’okubiri,’ ng’ekiseera ekyo kati kye kitundu eky’okubiri eky’omwezi gwa Okitobba n’ekitundu ekisooka eky’omwezi gwa Noovemba. (Lub. 7:11) N’okutuusa kati, amawanga mangi mu nsi gabala omwaka omuppya nga gatandikira mu biseera bya ttoggo. Abaisiraeri bwe baali bava e Misiri, mu 1513 B.C.E., Yakuwa yalagira nti omwezi gwa Abibu (Nisani) gwe gwali ogw’okuba “ogw’olubereberye” eri Abayudaaya, ne kiba nti okuva olwo baatandika okuba n’omwaka omutukuvu, ogutandikira mu ddumbi era ne guggwaako mu ddumbi. (Kuv. 12:2) Kyokka, Abayudaaya ab’omu kiseera kyaffe tebagoberera mwaka ogwo omutukuvu, wabula gwe bagoberera gutandikira mu ttoggo, era nga Tisiri gwe mwezi ogusooka.

20. Lunar year gwakwataganyizibwanga gutya ne solar year, ate lunisolar years gye giruwa?

20 Lunisolar Year. Okutuukira ddala mu kiseera kya Kristo, amawanga agasinga obungi gaabalanga ebiseera nga gagoberera myaka egirimu emyezi egipimirwa ku kuboneka kw’omwezi (lunar year), era nga gakozesa engeri ezitali zimu okukyusa mu myaka egy’ekika ekyo gisobole okukwatagana n’omwaka ogupimirwa ku njuba (solar year). Lunar year gubaamu ennaku 354, era ng’emyezi egirimu giba n’ennaku 29 oba 30, nga kisinziira ku kiseera omwezi lwe guba gubonese. N’olwekyo, lunar year guba mumpi ku solar year ogubaamu ennaku 365 1/4 era ng’enjawulo eba ya nnaku 11 1/4. Abebbulaniya baagobereranga lunar year. Baibuli tetunnyonnyola ngeri gye baakwataganyangamu omwaka guno ne solar year, naye bateekwa okuba nga baagattangako emyezi we kyabanga kyetaagisiza. Okugattangako emyezi mu ngeri eyo kyafuulibwa enkola enkakafu mu kyasa eky’okutaano B.C.E., era enkola eyo mu kiseera kino emanyiddwa nga Metonic cycle. Okusinziira ku nkola eno, mu buli myaka 19 omwezi ogwongerwako gwagattibwangako emirundi musanvu, songa ate ku kalenda y’Ekiyudaaya, gwagattibwangako oluvannyuma lw’omwezi ogw’ekkumi n’ebiri oguyitibwa Adari, era omwezi ogwo ogugattiddwako gwayitibwanga Veda, oba “Adari ey’okubiri.” Kalenda eyeesigamiziddwa ku lunar year bw’ekwataganyizibwa n’eyo eyeesigamiziddwa ku njuba, emyaka, egibeeramu emyezi 12 oba 13, giyitibwa lunisolar years.

21. (a) Kalenda ya Yuliyo y’eruwa? (b) Lwaki kalenda eya Girigooli y’esinga okuba entuufu?

21 Kalenda ya Yuliyo n’Eya Girigooli. Kalenda ye nkola ey’okupima entandikwa y’omwaka, obuwanvu bwagwo, n’ebitundu eby’enjawulo ebigulimu era n’okubisengeka nga bwe biddiriŋŋana. Kalenda eya Yuliyo yatandikibwawo Kayisaali Yuliyo mu 46 B.C.E., esobozese Abaruumi okupima ebiseera nga beeyambisa omwaka ogulimu emyezi egipimirwa ku njuba so si ku mwezi. Kalenda ya Yuliyo ebaamu ennaku 365 mu mwaka, era nga buli luvannyuma lwa myaka ena, olunaku lumu lugattibwako, omwaka ogwo ogw’okuna (leap year) ne guba nga gulimu ennaku 366. Kyokka, oluvannyuma lw’ekiseera kyazuulibwa nti omwaka ogw’oku kalenda ya Yuliyo muwanvu okusinga omwaka ogubalwa okusinziira ku njuba, nga gugusinza eddakiika 11 obuwanvu. Ekyasa eky’ekkumi n’omukaaga okugenda okutuuka ng’eddakiika ezo ezisukkamu bwe zigattibwa awamu zivaamu ennaku kkumi be ddu. Bwe kityo nno, mu 1582, Ppaapa Girigooli ow’ekkumi n’abasatu yakolawo enkyukakyuka, n’atandikawo kalenda kati emanyiddwa nga eya Girigooli. Okusinziira ku kiragiro ekyava eri ppaapa oyo ennaku kkumi zaatoolebwa ku mwaka 1582, ne kiba nti olunaku olwaddirira olwa Okitobba 4 lwali Okitobba 15. Enkola ya kalenda ya Girigooli eri nti singa ekyasa kiba tekisobola kugabanyizibwamu emirundi 400 omwaka ogwo teguyitibwa leap year. Ng’ekyokulabirako, obutafaananako mwaka 2000, omwaka 1,900 tegwayitibwa leap year kubanga teguyinza kugabanyizibwamu 400. Kalenda ya Girigooli y’ekozesebwa kati mu bitundu ebisinga obungi eby’ensi.

22, 23. Omwaka ogw’obunnabbi gwenkana wa?

22 “Omwaka” ogw’Obunnabbi. Mu bunnabbi bwa Baibuli, ekigambo “omwaka” kitera okukozesebwa mu ngeri ey’enjawulo okutegeeza ekiseera eky’emyezi 12, nga buli mwezi gulimu ennaku 30, zonna awamu ne ziba ennaku 360 mu mwaka. Weetegereze omuwandiisi omu ky’ayogera ku Ezeekyeri 4:5, 6: “Tulina okukitwala nti Ezeekyeri yakimanya nga omwaka gubaamu ennaku 360. Guno teguba mwaka ogubalibwa okusinziira ku njuba, ate era si gwegwo ogulimu emyezi egibalibwa okusinziira ku kuboneka kw’omwezi. Guno mwaka gwa njawulo nga buli mwezi gubeera gwa nnaku 30.”a

a Ekitabo Biblical Calendars, 1961, ekyawandiikibwa J. Van Goudoever, lupapula 75.

23 Omwaka ogw’obunnabbi era guyitibwa “ekiseera,” era Okubikkulirwa 11:2, 3 ne 12:6, 14 walaga engeri “ekiseera” ekimu bwe kyenkanankana ennaku 360. Ate era, oluusi mu bunnabbi omwaka gwogerwako mu kabonero nga “olunaku.”​—Ez. 4:5, 6.

24. Abantu ab’edda baabalanga nga batandikira ku nnamba ki?

24 Teri Mwaka Guyitibwa Zeero. Abantu ab’edda, nga mw’otwalidde Abayonaani, Abaruumi, n’Abayudaaya, tebaalina nnamba eyitibwa zeero. Buli kimu baakibalanga nga batandikira ku emu. Bw’oba wasomako mu ssomero engeri Abaruumi gye bawandiikamu ennamba (I, II, III, IV, V, X, n’endala) wayigako ku nnamba eyitibwa zeero? Nedda, kubanga Abaruumi tebaagirina. Olw’okuba Abaruumi tebaalina nnamba eyo, Embala Eno gye tulimu kati, teyatandika na mwaka guyitibwa zeero, wabula n’omwaka 1 C.E. Era kuno kwe kuva enkola ey’okubala ebintu, nga tugamba nti ekisooka (1st), eky’okubiri (2nd), eky’okusatu (3rd), eky’ekkumi (10th), oba eky’ekikumi (100th). Mu kubala okw’ennaku zino, omuntu abala ebintu ng’ava ku zeero. Oboolyawo Abahindu be baatandikawo ennamba eyitibwa zeero.

25. Nnamba eziraga ebintu nga bwe biddiriŋŋana zaawukana zitya ku ezo eziraga omuwendo?

25 Bwe kityo nno, buli lwe tukozesa ennamba eziraga ebintu nga bwe biddiriŋŋana, kiba kitwetaagisa okutoolako emu okufuna nnamba enzijuvu. Ng’ekyokulabirako, bwe twogera ku mwaka ogumu mu kyasa ekya 20, kiba kitegeeza nti ebyasa 20 ebijjuvu bimaze okuyitawo? Nedda, kiba kitegeeza nti wayiseewo ebyasa 19 n’emyaka egiba gyeyongeramu. Mu Baibuli, era ne mu kubala okwa bulijjo, nnamba eziraga omuwendo, gamba nga emu, bbiri, ssatu, kkumi, oba kikumi zikozesebwa okulaga emiwendo emijjuvu. Era ziyitibwa “nnamba enzijuvu.”

26. Osobola otya okumanya (a) emyaka egiriwo okuva Okitobba 1, 607 B.C.E., okutuuka nga Okitobba 1, 1914 C.E.? (b) guba mwaka ki ng’obaze emyaka 2,520 okuva nga Okitobba 1, 607 B.C.E.?

26 Bwe kityo, olw’okuba Embala Eno gye tulimu kati teyatandika na mwaka oguyitibwa zeero wabula ne 1 C.E., era nga ne kalenda bw’eba eyogera ku myaka egy’emabega ng’Embala Eno gye tulimu tennatuuka teva ku mwaka ogwa zeero wabula eva ku mwaka 1 B.C.E. ng’eddayo emabega, ennamba yonna eraga omwaka bw’ekozesebwa eba eraga bulazi okuddiriŋŋana okuliwo. N’olwekyo bw’ogamba nti omwaka 1990 kiba kitegeeza nti wayiseewo emyaka emijjuvu 1989 kasookedde Embala Eno gye tulimu etandika, era ennaku z’omwezi Jjulaayi 1, 1990, ziba ziraga nti waayiseewo emyaka 1989 n’ekitundu kasookedde Embala Eno etandika. Omusingi gwe gumu gwe gukozesebwa ku nnaku z’omwezi ng’Embala Eno tennatandika. N’olwekyo okusobola okumanya emyaka emeka egiri wakati wa Okitobba 1, 607 B.C.E., ne Okitobba 1, 1914 C.E., ogatta emyaka 606 (awamu n’emyezi esatu egisembayo mu mwaka oguvuddeko) ku 1,913 (awamu n’emyezi mwenda egy’omwaka oguddako), era ofuna emyaka 2,519 (n’emyezi 12), oba emyaka 2,520. Oba ate singa oyagala okumanya guba mwaka ki ng’obaze emyaka 2,520 okuva nga Okitobba 1, 607 B.C.E., jjukira nti 607 guba gutegeeza nti wayiseewo emyaka emijjuvu 606, ate olw’okuba tubala okuva nga Okitobba 1, 607 B.C.E. so si Ddesemba 31, 607 B.C.E., tuteekwa okugatta ku 606 emyezi esatu egikomererayo mu 607 B.C.E. Kati bw’otoola 606 1/4 okuva ku 2,520 wasigalawo 1,913 3/4. Kino kitegeeza nti bw’obala emyaka 2,520 okuva nga Okitobba 1, 607 B.C.E., tuba tuyingira mu Mbala Eno gye tulimu emyaka 1,913 3/4​—ng’emyaka 1,913 emijjuvu gitutuusa ku ntandikwa y’omwaka 1914 C.E., ate bisatu bya kuna eby’omwaka ne bitutuusa ku Okitobba 1, 1914 C.E.

27. Ennaku z’omwezi eziyinza okusinziirwako okubalirira ebiseera mu byafaayo ze ziruwa, era lwaki za muganyulo nnyo?

27 Ennaku z’Omwezi Ezisinziirwako Okubalirira Ebiseera eby’Omu Byafaayo. Okubalirira ebiseera okwesigika okw’omu Baibuli kwesigamiziddwa ku nnaku ezimu enkulu ez’omu byafaayo. Ennaku ezo ezisinziirwako okubalirira ebiseera mu byafaayo ze nnaku z’omwezi mu byafaayo ezitabuusibwabuusibwa, era nga zikwataganyizibwa n’ekintu ekikulu ekyogerwako mu Baibuli. Ng’osinziira ku nnaku z’omwezi ezo kiba kisoboka okumanya ekiseera ebintu ebirala ebyogerwako mu Baibuli we byabeererawo. Oba osobola okubalirira ebiseera okuva ku kiseera ekyo ng’odda mu maaso oba emabega ng’osinziira ku byogerwako mu Baibuli, gamba ekiseera Baibuli ky’eraga abantu abamu kye baawangaala oba ekyo bakabaka abamu kye baafugira. Bwe kityo, nga tubala okuva ku kiseera kimu ekikakafu, tusobola okweyambisa ebiri mu Baibuli okumanya ekiseera ebintu bingi by’eyogerako we byabeererawo.

28. Nnaku ki ez’omwezi ezisinziirwako okubalirira ebiseera mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya?

28 Ennaku z’Omwezi Ezisinziirwako Okubalirira Ebiseera mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Ekintu ekikulu ennyo ekyaliwo ekyogerwako mu Baibuli ne mu byafaayo kwe kuzikirizibwa kw’ekibuga Babulooni okwakolebwa Abameedi n’Abaperusi nga bakulemberwa Kuulo. Baibuli ekyogerako mu Danyeri 5:30. Ebiwandiiko ebitali bimu eby’omu byafaayo (nga mw’otwalidde ebya Diyodorasi, ebya Afirikanasi, ebya Ewusebiyasi, ebya Ttolemi, n’eby’oku mayinja g’e Babulooni) bikakasa nti 539 B.C.E. gwe mwaka Kuulo we yawambira Babulooni. Byo, Ebiwandiiko bya Nabonidasi biwa mwezi na lunaku ekibuga ekyo we kyawambirwa (tebiraga mwaka). Abakugu mu kubalirira emyaka bagamba nti Babulooni kyagwa nga Okitobba 11, 539 B.C.E., okusinziira ku kalenda ya Yuliyo, oba Okitobba 5 okusinziira ku kalenda ya Girigooli.

29. Kuulo yayisa ddi ekiragiro, era kyasobozesa ki?

29 Oluvannyuma lw’okuwamba Babulooni, era mu mwaka gwe ogw’olubereberye ng’afuga Babulooni, Kuulo yayisa ekiragiro ekikkiriza Abayudaaya okuddayo e Yerusaalemi. Okusinziira ku Baibuli, ekiragiro ekyo kyayisibwa mu mafundikira g’omwaka 538 B.C.E. oba mu matandika ga 537 B.C.E. Ekyo kyandisobozesezza Abayudaaya okuddayo ku butaka n’okuzzaawo ensinza ya Yakuwa mu Yerusaalemi mu ‘mwezi ogw’omusanvu,’ ogwa Tisiri, oba nga Okitobba 1, 537 B.C.E.​—Ezer. 1:1-4; 3:1-6.

30. Ennaku z’omwezi ezisinziirwako okubalirira ebiseera awamu n’obunnabbi obwatuukirizibwa bituyamba bitya okumanya ekiseera Yesu we yabatirizibwa, era n’eky’okuzaalibwa kwe?

30 Ennaku z’Omwezi Ezisinziirwako Okubalirira Ebiseera mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. Ennaku z’omwezi ezisinziirwako okubalirira ebiseera mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani tusobola okuzimanya bwe tutegeera ekiseera Tiberiyo Kayisaali we yasikira Empura Agasitasi. Agasitasi yafa nga Agusito 17, 14 C.E. (kalenda ya Girigooli); Olukiiko Olukulu olw’Abaruumi lwafuula Tiberiyo omufuzi w’eggwanga eryo nga Ssebutemba 15, 14 C.E. Mu Lukka 3:1, 3 kiragibwa nti Yokaana Omubatiza yatandika obuweereza bwe mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’obufuzi bwa Tiberiyo. Emyaka gino bwe gibalwa okuva mu mwaka Agasitasi gwe yafiiramu, olwo nno omwaka ogw’ekkumi n’ettaano gwatandika nga Agusito 28 C.E. ne guggwaako nga Agusito 29 C.E. Bwe gibalwa okuva ku kiseera Olukiiko Olukulu we lwafuulira Tiberiyo omufuzi, omwaka ogwo gwatandika mu Ssebutemba 28 C.E. ne guggwaako mu Ssebutemba ow’omu 29 C.E. Amangu ddala oluvannyuma lw’ekyo, Yesu, eyali omuto ku Yokaana Omubatiza emyezi nga mukaaga, yajja okubatizibwa, ng’alina ‘emyaka ng’asatu.’ (Luk. 3:2, 21-23; 1:34-38) Kino kituukagana n’obunnabbi obuli mu Danyeri 9:25 obulaga nti ‘wiiki’ 69 (wiiki 7 ez’obunnabbi nga buli emu erimu emyaka 7, gyonna awamu ne giba emyaka 483) zandiyiseewo okuva ‘ekigambo lwe kifuluma okuzzaawo n’okuzimba Yerusaalemi’ ne bbuggwe waakyo okutuusa Masiya we yandirabikidde. (Dan. 9:24) Alutagizerugizi (Longimanusi) ye yafulumya ‘ekigambo’ mu 455 B.C.E., era Nekkemiya n’akissa mu nkola mu Yerusaalemi mu mafundikira g’omwaka ogwo. Ate nga wayiseewo emyaka 483, mu mafundikira ga 29 C.E., Yokaana bwe yabatiza Yesu, Katonda era yamufukako amafuta, Yesu n’afuuka Masiya, oba Eyafukibwako Amafuta. Okuba nti Yesu yabatizibwa era n’atandika obuweereza bwe ku nkomerero y’omwaka ogwo, kikwatagana n’obunnabbi obulaga nti yali wa kusalibwako ‘mu makkati ga wiiki’ ey’emyaka (oba oluvannyuma lw’emyaka esatu n’ekitundu). (Dan. 9:27) Olw’okuba yafa mu ttoggo, obuweereza bwe obw’emyaka esatu n’ekitundu buteekwa okuba nga bwatandika mu ddumbi w’omwaka 29 C.E. Ate era, obujulizi buno obw’emirundi ebiri era bukakasa nti Yesu yazaalibwa mu ttoggo wa 2 B.C.E., okuva Lukka 3:23 bwe walaga nti Yesu yalina emyaka nga 30 egy’obukulu we yatandikira omulimu gwe.

Ekitabo Insight on the Scriptures, Omuzingo 2, empapula 56-8.

31. (a) Lwaki engeri abantu gye batunuuliramu sipiidi ebiseera kwe bitambulira tefaanana? (b) N’olwekyo abakyali abato balina nkizo ki?

31 Engeri Ebiseera Gye Biddukamu. Waliwo enjogera egamba nti “bw’otunuulira amazzi tegeesera.” Kituufu nti bwe tutunuulira obutunuulizi ekiseera, nga tulinda ekintu kibeewo, awo ebiseera birabika nga bitambula mpola nnyo. Kyokka, bwe tuba nga tulina bye tukola ebitusanyusa era nga tubyemaliddeko, awo ebiseera ‘bidduka mangu nnyo.’ Ate era, abantu abakulu mu myaka balaba nga ebiseera bidduka mangu nnyo okusinga abaana abato. Lwaki kiri bwe kityo? Omwana ow’omwaka ogumu bw’oyongera ku bulamu bwe omwaka gumu, oba oyongedde ku bulamu bwe ebitundu 100 ku kikumi. Songa ate bw’oyongera omwaka gumu ku muntu alina emyaka 50 oba oyongedde ku bulamu bwe ebitundu 2 byokka ku kikumi. Eri omwana omuto, omwaka gulabika nga kiseera kiwanvu nnyo. Kyokka omuntu omukulu, bw’aba ng’alina by’akola era nga mulamu bulungi, akiraba nga emyaka gyeyongera bweyongezi okudduka sipiidi. Aba ategeerera ddala bulungi ebigambo bya Sulemaani: “Tewali kintu kiggya wansi w’enjuba.” Ku luuyi olulala, abakyali abato boolekaganye n’emyaka egirabika nga gitambula mpola nnyo. Mu kifo ‘ky’okugoberera empewo’ nga baluubirira okufuna ebintu mu nsi, bayinza okukozesa emyaka gino mu ngeri ennungi nga baweereza Katonda. Ebigambo ebirala Sulemaani bye yayogera nabyo bituukirawo bulungi: “Ojj[u]kiranga Omutonzi wo mu biro eby’obuvubuka bwo, ennaku embi nga tezinnajja n’emyaka nga teginnasembera bw’olyogera nti Sigisanyukira n’akamu.”​—Mub. 1:9, 14; 12:1.

32. Abantu bayinza batya okweyongera okutegeera engeri Yakuwa gy’atunuuliramu ebiseera?

32 Ekiseera—Abantu Lwe Baliba Abalamu Emirembe Gyonna. Kyokka, waliwo ebiseera eby’essanyu ebijja mu maaso ebitalibaamu kabi konna. Abaagala obutuukirivu, ‘ebiseera byabwe biri mu mukono gwa Yakuwa,’ era beesunga obulamu obutaggwaawo mu Bwakabaka bwa Katonda. (Zab. 31:14-16, NW; Mat. 25:34, 46) Wansi w’Obwakabaka, okufa tekulibaawo nate. (Kub. 21:4) Obutaba na kya kukola, obulwadde, ekiwuubaalo, n’ebintu ebitaliimu biriba bivuddewo. Walibaawo emirimu egy’okukola egimatiza, ate nga girisobozesa abantu okweyambisa mu bujjuvu ebitone byabwe ebituukiridde era n’okubaleetera essanyu ery’ensusso. Emyaka giryeyongera okudduka sipiidi, era abantu balyeyongera okusiima n’okujjukiranga ebintu eby’essanyu bye baliraba. Ng’enkumi n’enkumi z’emyaka gyekulungulula, awatali kubuusabuusa, abantu ku nsi balyeyongera okutegeera engeri Yakuwa gy’atunuuliramu ebiseera: ‘Kubanga emyaka olukumi mu maaso ga Yakuwa giri ng’olwajjo olwayita.’​—Zab. 90:4.

33. Ku bikwata ku biseera, mikisa ki Yakuwa gy’alagidde?

33 Bwe tutunuulira ebiseera nga bwe tubiraba kati era ne tulowooza ku kisuubizo kya Katonda eky’ensi empya ey’obutuukirivu, nga mikisa gya maanyi nnyo egiribaawo mu kiseera ekyo: “Kubanga eyo Mukama gye yalagirira omukisa, bwe bulamu obw’emirembe n’emirembe”!​—Zab. 133:3.

[Obugambo obuli wansi]

Ekitabo Insight on the Scriptures, Omuzingo 1, lupapula 458.

Ekitabo Insight on the Scriptures, Omuzingo 1, empapula 453-4, 458; Omuzingo 2, olupapula 459.

Ekitabo Insight on the Scriptures, Omuzingo 1, olupapula 568.

Ekitabo Insight on the Scriptures, Omuzingo 2, empapula 899-902.

Ekitabo Insight on the Scriptures, Omuzingo 1, lupapula 458.

Ekitabo Insight on the Scriptures, Omuzingo 1, empapula 453-4, 458; Omuzingo 2, olupapula 459.

Ekitabo Insight on the Scriptures, Omuzingo 1, olupapula 568.

Ekitabo Insight on the Scriptures, Omuzingo 2, empapula 899-902.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share