‘Tutendereze Erinnya Lye Ffenna’
1. Kiki ekinaatusobozesa okutendereza erinnya lya Katonda, era tulina kukola nteekateeka ki kati?
1 ‘Mujje tugulumize Yakuwa, tutendereze erinnya lye ffenna,’ bw’atyo omuwandiisi wa Zabbuli bwe yayimba. (Zab. 34:3) Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti lwe tulindirira olulina omutwe “Tambula ne Katonda” lujja kutusobozesa okutendereza erinnya lya Yakuwa nga tuli wamu ne baganda baffe okuva mu bibiina bingi. Omaze okukola enteekateeka ezikwata ku by’ensula, eby’entambula, n’okusaba olukusa obutakola ku nnaku z’olukuŋŋaana? Kya magezi okukola enteekateeka zino nga bukyali.—Nge. 21:5.
2. Lwaki kiba kirungi okutuuka ku lukuŋŋaana nga bukyali?
2 Nga Tutuuse Awanaabeera Olukuŋŋaana: Waliwo ebintu bingi eby’okukolako nga tuteekateeka okugenda mu lukuŋŋaana olunene. Bwe tuva awaka amangu kijja kutuyamba okukkalira mu bifo byaffe nga bukyali kitusobozese okuyimbira awamu oluyimba oluggulawo n’okusaba. (Zab. 69:30) Nga wabulayo eddakiika ntono olukuŋŋaana okutandika, ssentebe ajja kutuula ku pulatifomu ng’eno obuyimba obuggulawo bwe bugenda mu maaso. Mu kiseera kino ffenna twandibadde twakalidde dda mu bifo byaffe.—1 Kol. 14:33, 40.
3. Bwe tunaaba tunoonya aw’okutuula tuyinza tutya okulaga nti tufaayo ku balala?
3 Ekigambo kya Katonda kitukubiriza ‘okukola byonna mu kwagala.’ (1 Kol. 16:14) Okufaayo ku balala kujja kutukugira okusindikagana olw’okuba twagala okufuna aw’okutuula. Abo bokka b’ozze nabo mu mmotoka oba b’osula nabo b’osaanidde okukwatira ebifo.—1 Kol. 13:5; Baf. 2:4.
4. Nteekateeka ki ez’ekyemisana ze munaakola, era mu ngeri ki kino gye kiri eky’omuganyulo?
4 Musabibwa okuleeta eby’okulya ku lukuŋŋaana mu kifo ky’okugenda okubigula mu biseera eby’okuwummula. Kino kijja kusobozesa buli omu okuzimba munne n’okubeerawo ng’ekitundu eky’olweggulo kitandika. Eby’okutwaliramu emmere ebinene ennyo, ebyatika, n’ebitamiiza tebikkirizibwa ku lukuŋŋaana.
5. Abo abatawulira bulungi bakoleddwa nteekateeka ki?
5 Abo abatasobola kuwulira bulungi banditegeezezza abo abakola enteekateeka z’olukuŋŋaana olunene nga bukyali basobole okubafunira aw’okutuula awatuufu.
6. Tuyinza tutya okuteekateeka emitima gyaffe tusobole okuganyulwa mu ebyo bye tunaayiga?
6 Twesunga Embaga Ey’Eby’Omwoyo: Kabaka Yekosofaati ‘yateekateeka omutima gwe okukola Katonda by’ayagala.’ (2 Byom. 19:3) Tuyinza tutya okuteekateeka emitima gyaffe ng’olukuŋŋaana terunnatuuka? Ebitundu ebiri ku lupapula olusembayo olwa Awake! aka Maayi 22 ne Jjuuni 8, byogera ku mbaga ey’eby’omwoyo etutegekeddwa. Lwaki towaayo biseera n’obisoma osobole okwesunga embaga eno ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atutegekedde? Okuteekateeka emitima gyaffe era kitwaliramu okusaba Yakuwa okutuyamba tutegeere ebyo bye tunaayiga n’okubissa mu nkola.—Zab. 25:4, 5.
7. Kiki ffenna kye twesunga, era lwaki?
7 Ffenna twesunga okuyiga bingi okuva mu Kigambo kya Katonda, olw’okuba tukimanyi nti okuyitira mu kyo tusobola okufuna obulokozi. (1 Peet. 2:2) N’olwekyo, ka ffenna tubeewo ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti Olwa “Tambula ne Katonda” era ka ‘ffenna tutendereze erinnya lya Yakuwa.’—Zab. 37:3.
[Akasanduuko akali ku lupapula 3]
Engeri z’Okutenderezaamu Erinnya lya Katonda
◼ Okweteekateeka nga bukyali
◼ Okulaga abalala okwagala
◼ Teekateeka omutima gwo