Tendereza Yakuwa mu Kibiina Ekinene
1, 2. Kakisa ki ke tufuna nga tuli mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti, era tuyinza kukakozesa tutya?
1 Enkuŋŋaana za disitulikiti ezibaawo buli mwaka zituwa akakisa okutendereza Yakuwa. Tuba n’endowooza ya Dawudi eyagamba nti: ‘Nnaakwebaliza mu kibiina ekinene; nnaakutenderereza mu bantu abangi.’ (Zab. 35:18) Mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti olujja olwa “Obuwulize eri Katonda,” tunaakakasa tutya nti ffenna awamu tutendereza Yakuwa?
2 Engeri emu gye tuyinza okukikolamu kwe kweyisa obulungi. Bannannyini kifo ekimu awaali olukuŋŋaana lwaffe olunene baagamba: “Tukubiriza bannaddiini abalala abaagala okupangisa ekifo kino okujja balabe engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye bateekateekamu obulungi enkuŋŋaana zaabwe.” Endabika yaffe, engeri gye tukolaganamu n’abalala, n’empisa zaffe, bye biviirako abantu okutwogerako obulungi era ekyo ne kiweesa Yakuwa ekitiibwa.—1 Peet. 2:12.
3, 4. Obuwombeefu bunaatuyamba butya okwambala mu ngeri egwanira Abakristaayo ng’olukuŋŋaana lugenda mu maaso n’oluvannyuma nga luwedde?
3 Endabika Yaffe: Okusobola okwambala n’okwekolako mu ngeri eneetenderezesa Yakuwa kyetaagisa obuwombeefu. (1 Tim. 2:9, NW) Mu kitabo Ministry School ku lupapula 132, wagamba: “Omuntu Omuwombeefu teyeegulumiza era yeewala okwesittaza abalala.” Mu nsi nyingi kya bulijjo okwambala engoye ezitasaana. Kyokka, Yakuwa akusiima nnyo bw’omuweesa ekitiibwa. (Bik. 15:14) Wadde ng’olukuŋŋaana luyinza okuba mu kisaawe ky’omupiira oba mu kifo ekirala ekisanyukirwamu, lubeera “ekibiina ekinene” okumala ennaku ezo essatu. N’olwekyo, bwe tuba tukuŋŋaanye mu maaso ga Yakuwa, tusaanidde okwambala mu ngeri eweesa ekitiibwa oyo asingiridde mu butonde bwonna.—1 Byom. 29:11.
4 Ate era tusaanidde okufaayo ku ndabika yaffe buli luvannyuma lwa programu eya buli lunaku. Wadde nga tuyinza okwagala okwambala engoye endala mu biseera byaffe eby’eddembe oba nga tugenda mu bifo ebirirwamu, kikulu nnyo okwambala n’okwekolako mu ngeri eraga nti ‘tutya Katonda.’ (1 Tim. 2:10) Engoye ezisaana si zeezo abasinga obungi ze baagala. (1 Yok. 2:16, 17) Ebitabo byaffe eby’Ekikristaayo birimu ebifaananyi ebiraga abasajja n’abakazi abambadde mu ngeri esaanira nga bali mu mbeera ez’enjawulo. Bwe twambala bubaagi bwaffe nga tuli mu kitundu awali olukuŋŋaana, kijja kutujjukiza buli kiseera nti tuli Bakristaayo.—2 Kol. 6:3, 4.
5. Kyakulabirako ki ekirungi abantu kye baatekawo mu kiseera kya Ezera?
5 Okuwa Emmeeza ya Yakuwa Ekitiibwa: Ezera bwe yali ateekateeka okusoma Ebyawandiikibwa, ‘abantu baayimirira’ olw’okussa ekitiibwa mu mukolo ogwo era nga beesunga bye baali bagenda okuyigirizibwa. Ezera bwe yasoma, ‘abantu baatega amatu okuwuliriza.’ (Nek. 8:3, 5, 6) Baakitegeera nti Yakuwa yali ayogera gye bali, era kino kyabaleetera okussaayo omwoyo. Naffe tukola kye kimu mu nkuŋŋaana zaffe ennene?
6, 7. Tuyinza tutya okuwa emmeeza ya Yakuwa ey’eby’omwoyo ekitiibwa?
6 Omuyinza w’Ebintu Byonna atutegekedde embaga. (Is. 25:6; 1 Kol. 10:21) Bwe tuba nga ddala twagala okuliisibwa ku mmeeza ya Yakuwa ey’eby’omwoyo, tujja kufuba okubeerawo ennaku zonna esatu ez’olukuŋŋaana. Omaze okukola enteekateeka ezikwata ku by’ensula, eby’entambula, era n’okusaba olukusa obutakola ku nnaku z’olukuŋŋaana? Omaze okukola enteekateeka ennungi ezinaakusobozesa okutuuka awanaabeera olukuŋŋaana mu budde osobole okufuna aw’okutuula, okunyumyako n’ab’oluganda, era n’okubeegattako mu kuyimba oluyimba oluggulawo ne mu kusaba?—Zab. 147:1.
7 Okuwa emmeeza ya Yakuwa ekitiibwa kijja kutukubiriza okussaayo omwoyo, okwewala okwogera n’abalala nga tekyetaagisa, okulya oba okutambulatambula nga programu egenda mu maaso. Okuyitira mu kibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi, Yakuwa atuwa emmere ey’eby’omwoyo gye twetaaga mu kiseera kino. (Mat. 24:45) Tewali n’omu ku ffe yandyagadde kusubwa kintu kyonna mu programu eno. Abazadde basaanidde okutuula n’abaana baabwe era n’okubayamba okuganyulwa mu bujjuvu—Ma. 31:12.
8. Kiki kye tukubirizibwa okukola mu biseera by’eky’emisana, era lwaki?
8 Tusabibwa okuleeta eby’okulya mu kifo ky’okugenda okubigula mu biseera by’okuwummulamu. Kya ssanyu nti abasinga obungi ku abo abaaliwo mu nkuŋŋaana ennene omwaka ogwayita, baagoberera obulagirizi obwo. Nga kijja kuba kirungi nnyo singa fenna tugoberera obulagirizi obwo omwaka guno! (Beb. 13:17) Enteekateeka eyo etusobozesa okuzimbagana, okubeera obumu era n’okubeera n’emirembe, ekiweesa Yakuwa ekitiibwa.—Zab. 133:1.
9, 10. Kakisa ki akalala ak’okutendereza Yakuwa ke tufuna ku lukuŋŋaana lwa Disitulikiti?
9 Okubuulira Embagirawo: Bwe tuba nga tugenda oba nga tuva mu kifo awali olukuŋŋaana, tuba n’emikisa mingi okutendereza Yakuwa n’emimwa gyaffe. (Beb. 13:15) Ka tube nga tuli mu wooteeri tulya oba nga tunyumya n’abo abakolamu, tusaanidde okukozesa buli kakisa ke tufuna okuwa obujulirwa. Ebirowoozo byaffe bijja kuba bijjudde ebintu eby’omwoyo. Ka tufube okubibuulirako abalala be tusanga.—1 Peet. 3:15.
10 Twesunga nnyo okutendereza Yakuwa ‘nga tuli mu bibiina.’ (Zab. 26:12) Ka ffenna tutendereze Yakuwa ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwa “Obuwulize eri Katonda.”
[Akasanduuko akali ku lupapula 4]
Okujjukizibwa Ebikwata ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti
◼ Ebiseera bya Programu: Buli lunaku, programu ejja kutandikanga ku ssaawa 3:30. Abantu bayinza okutandika okujja mu kifo awanaaba olukuŋŋaana okuva ku ssaawa 2:00. Ng’ekyabulayo eddakiika ntonotono ekitundu kitandike, ssentebe ajja kutuula ku pulatifomu era obuyimba butandike. Ffenna tusaanidde okukkalira mu bifo byaffe mu kiseera ekyo, programu esobole okutandika mu ngeri eweesa ekitiibwa. Ku lunaku Olwokutaano n’Olwomukaaga, programu ejja kufundikirwa ku ssaawa 11:05. ate ku Ssande efundikirwe ku ssaawa 10:10.
◼ Emmotoka we Zisimba: Buli awanaabeera olukuŋŋaana, wajja kubaawo ekifo ekirungi aw’okusimba mmotoka ku bwereere, era anaasooka y’ajja okusooka okufiibwako. Bubaagi bwe bujja okusinziirwako okukuwa ekifo w’onoosimba emmotoka yo.
◼ Aw’Okutuula: Abo bokka b’onojja nabo mu mmotoka oba ab’omu maka go b’osaanidde okuterekera ebifo.
◼ Okuwaayo: Ssente ezisaasaanyizibwa okutegeka olukuŋŋaana lwa disitulikiti ziba nnyingi nnyo. Tuyinza okulaga okusiima nga tuwaayo kyeyagalire okuwagira omulimu gw’ensi yonna ogw’okubuulira nga tuli mu Kizimbe ky’Obwakabaka oba nga tuli mu lukuŋŋaana olunene.
◼ Abatasobola Kuwulira Bulungi: Abo abatasobola kuwulira bulungi basaanidde okutegeeza abo abakola enteekateeka basobole okubafunira aw’okutuula awatuufu.
◼ Eky’Emisana: Osabibwa okuleeta eby’okulya mu kifo ky’okugenda okubigula mu biseera by’okuwummula. Oyinza okubissa mu ka konteyina akatonotono akagya wansi w’entebbe yo. Eby’okuteekamu emmere ebinene ennyo, ebyatika n’ebitamiiza tebikkirizibwa mu lukuŋŋaana.
◼ Okukwata Amaloboozi n’Ebifaananyi: Ebyuma ebikwata amaloboozi n’ebifaananyi tebisaanidde kuyungibwa ku byuma eby’amasanyalaze oba eby’amaloboozi ebikozesebwa mu kifo awali olukuŋŋaana. Singa ebyuma ebyo obikozesa, olina okulaba nti totaataaganya balala.
◼ Okukuba Ebifaananyi: Bw’oba okuba ebifaananyi ng’olukuŋŋaana lugenda mu maaso, tokozesa bimyanso.
◼ Obusimu obw’Omu Ngalo: Tebusaanidde kutaataaganya balala.
◼ Obusimu obw’Omu Ngalo: Tebusaanidde kutaataaganya balala.
◼ Obubenje n’Ebizibu eby’Embagirawo: Singa wabaawo omuntu afuna obulwadde embagirawo ku lukuŋŋaana olunene, osabibwa okutuukirira omu ku baaniriza abagenyi, ajja okukutegeeza Ekitongole Ekiwa Obujjanjabi Obusookerwako omuntu asobole okufuna obuyambi.
◼ Ebifo Omuliirwa Emmere: Mu bitundu ebimu kiba kya mpisa okuwa akasiimo oyo aba atuweerezza.
◼ Wooteeri: (1) Saba ebisenge byokka bye munaakozesa, era abasulamu tebalina kusukka muwendo ogukkirizibwa. (2) Singa weesanga ng’ekisenge ky’osabye tojja kukikozesa, tegeerezaawo abo be kikwatako mu wooteeri. (3) Tofumbira mu kifo singa kiba tekikkirizibwa. (4) Oyo alabirira ekifo w’osula muwe akasiimo buli lunaku. (5) Ebintu ebiweebwa abagenyi ababa bazze mu wooteeri, gamba nga, eky’enkya, caayi oba bbalaafu tobikozesa bubi. (6) Fuba okwoleka ebibala eby’omwoyo ng’okolagana n’abo abakola mu wooteeri, naddala bwe baba nga balina eby’okukola bingi.