Goberera Kristo nga Weeyisa mu Ngeri Eweesa Yakuwa Ekitiibwa
1. Omutwe gw’olukuŋŋaana lwa disitulikiti olw’omwaka guno gukwatagana gutya n’okuwa Yakuwa ekitiibwa?
1 Baibuli eyogera ku Mufuzi ow’Obutonde Bwonna, Yakuwa, ng’oyo ayambadde ekitiibwa. (Zab. 104:1) Yesu yayogeranga era ne yeeyisa mu ngeri eyaweesanga Kitaawe ekitiibwa awamu n’enteekateeka ye. (Yok. 17:4) Buli omu ku ffe ajja kufuna akakisa okukoppa Yesu era n’okuwa Yakuwa ekitiibwa mu Lukuŋŋaana lwaffe olwa Disitulikiti oluddako olulina omutwe “Goberera Kristo!”
2. Enteekateeka ze tukola okusobola okubaawo mu lukuŋŋaana lwonna ziweesa zitya Yakuwa ekitiibwa?
2 Okusinza Okuweesa Yakuwa Ekitiibwa: Tusobola okuwa Yakuwa ekitiibwa nga tukola enteekateeka ezinaatusobozesa okubaawo ku kijjulo eky’eby’omwoyo ky’atutegekedde. Oyogeddeko n’oyo akukozesa era okoze enteekateeka ezinaakusobozesa okubaawo ennaku zonna ez’olukuŋŋaana olwo, nga mw’otwalidde n’Olwokutaano? Okoze enteekateeka ezinaakusobozesa okutuuka nga bukyali osobole okufuna w’onootuula era n’okwenyigira mu kuyimba oluyimba oluggulawo era ne mu kusaba okuggulawo? Otegese eky’emisana ky’onoolya ng’oli wamu ne baganda bo ku lukuŋŋaana olunene? Ku ntandikwa ya buli kitundu, nga ssentebe atusaba okutuula mu bifo byaffe ng’obuyimba tebunnatandika, tusaanidde okulekera awo okunyumya, programu etandike nga tutudde mu bifo byaffe.
3. Okussaayo ennyo omwoyo ku ebyo ebiri mu programu kiweesa kitya okusinza kwaffe ekitiibwa?
3 Okussaayo ennyo omwoyo ku ebyo ebiri mu programu nakyo kiweesa Kitaffe ow’omu ggulu ekitiibwa. Oluvannyuma lw’okwetegereza olukuŋŋaana lwa disitulikiti olwali mu kitundu kye, munnamawulire omu yawandiika nti singa waaliwo abantu abaali balaba ebigenda mu maaso, bandikwatiddwako nnyo olw’okulaba “enneeyisa ennungi ey’abo abaali mu lukuŋŋaana olwo, abaali bawuliriza obulungi era nga kyeyoleka kaati nti banyumirwa nnyo ebintu eby’omwoyo.” Era yayogera ku “muwendo omunene ogw’abaana abaaliwo . . . , nga bonna beeyisa bulungi era nga babikkula ebyawandiikibwa mu Baibuli zaabwe.” Nga programu egenda mu maaso, tekiba kiseera kya kunyumya, okusindika obubaka ku ssimu, okulya, oba okutambulatambula. Abavubuka basaanidde okutuula ne bazadde baabwe basobole okuyambibwa okuganyulwa mu programu. (Ma. 31:12; Nge. 29:15) Okukola ebyo byonna kiraga nti ossa ekitiibwa mu balala era nti osiima nnyo emmere ey’eby’omwoyo eba etuweebwa.
4. Lwaki tusaanidde okuba n’endabika eweesa Katonda ekitiibwa nga tuli mu nkuŋŋaana ennene?
4 Endabika Eweesa Ekitiibwa: Bangi baasiima nnyo okujjukizibwa okwali mu kwogera okwalina omutwe “Kuuma Ekitiibwa ky’Obukristaayo Ekiseera Kyonna” okwali mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti omwaka oguwedde. Okwogera kuno, kwakiggumiza bulungi nti Abaweereza ba Katonda basaanidde okufuba ennyo okukuuma ekitiibwa ky’Obukristaayo mu nnyambala yaabwe ne mu ngeri gye beekolako. N’omwaka guno tusaanidde okulowooza ennyo ku nsonga eno. Endabika yaffe eraga engeri gye tutwalamu Yakuwa n’enkizo gye tulina ey’okubeera Abajulirwa be. Bulijjo tusaanidde okwambala ng’abo “abeeyita abatya Katonda.”—1 Tim. 2:9, 10.
5. Tuyinza tutya okukuuma endabika yaffe ng’eweesa Yakuwa ekitiibwa mu biseera byaffe eby’eddembe nga tuli mu kitundu awali olukuŋŋaana lwa disitulikiti?
5 Tusaanidde okuba n’endabika eweesa Katonda ekitiibwa mu kiseera ekyo kyokka ng’olukuŋŋaana lugenda mu maaso? Kijjukire nti bangi bajja kutulaba nga tutaddeko bbaagi zaffe ez’olukuŋŋaana lwa disitulikiti nga tuli mu kitundu awanaabeera olukuŋŋaana olwo. Endabika yaffe esaanidde okutwawulawo ku bantu abalala. N’olwekyo, ne mu biseera byaffe eby’eddembe, gamba nga tugenda okulya emmere oluvannyuma lwa programu, tusaanidde okwambala ng’abaweereza Abakristaayo abazze okubaawo mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti. Era tetusaanidde kwambala ngoye gamba ng’empale ennyimpi, jjiini, oba T-shirt. Nga kino kijja kuwa obujulirwa bwa maanyi nnyo eri abantu b’omu kitundu! Yakuwa aba musanyufu nnyo endabika yaffe bw’eba ng’ekyoleka bulungi nti tuli baweereza be.
6. Birungi ki ebiva mu kukuuma ekitiibwa kyaffe eky’Obukristaayo?
6 Ebirungi Ebivaamu: Bwe tukuuma ekitiibwa kyaffe eky’Obukristaayo nga tuli mu nkuŋŋaana eza disitulikiti, kitusobozesa okuwa obujulirwa embagirawo era ne kireetera n’abantu abatulaba okuba n’endowooza ennungi gye tuli. Ku nkomerero y’olukuŋŋaana olumu olwa disitulikiti, omukungu omu yagamba: “Tetulabangako bantu beeyisa bulungi nga mmwe. Mmwe mweyisa nga Katonda bw’ayagala tweyise.” Okukuuma ekitiibwa kyaffe eky’Obukristaayo kyoleka nti tussa ekitiibwa mu balala, twagalana, era kino kigulumiza Yakuwa. (1 Peet. 2:12) Kyoleka nti tutya Katonda era nti tusiima enkizo ey’okuyigirizibwa Kitaffe. (Beb. 12:28) Ka tufube nnyo okukuuma ekitiibwa kyaffe eky’Obukristaayo nga bwe twesunga Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olulina omutwe “Goberera Kristo!”