Kaweefube ow’Ensi Yonna ow’Okulangirira Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwa “Goberera Kristo”
Ababuulizi Nate Bajja Kugaba Obupapula obw’Enjawulo Obuyita Abantu
1 Omwaka oguwedde kaweefube ow’ensi yonna ow’okulangirira Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwa “Okununulibwa Kuli Kumpi!” yakwata nnyo ku bantu abaagala amazima. Abo abaayitibwa era ne bajja, ku mulundi ogwasookera ddala baafuna ekijjulo makeke eky’emmere ey’eby’omwoyo nga bali wamu n’Abajulirwa ba Yakuwa. (Is. 65:13) Baanyumirwa okubeera awamu n’Abakristaayo abali obumu era abasanyufu. (Zab. 133:1) Okusobola okuyamba abantu bangi nga bwe kisoboka okubeerawo ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwa “Goberera Kristo!” nate tujja kwenyigira mu kugaba obupapula obw’enjawulo obuyita abantu.
2 Ebyavaamu Omwaka Oguwedde: Okusinziira ku lipoota ezaafunibwa okuva mu bitundu byonna eby’ensi, ebyava mu kulangirira Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwa “Okununulibwa Kuli Kumpi!” byali birungi nnyo. Mu bitundu bingi twayogerwako bulungi. Ng’ekyokulabirako, mu kibuga ekimu, olupapula lw’amawulire lwalimu emiko mukaaga egikwata ku kaweefube oyo era lwagamba nti: “Okusobola okutuukirira buli muntu ng’olukuŋŋaana terunnabaawo, Abajulirwa babadde bakola butaweera—nga bakola essaawa nnyingi, batambula eŋŋendo mpanvu, era nga tebalandaga.” Kaweefube ono yakwata ne ku bannamawulire ab’omu kibuga ekirala era ne batuuka n’okumwogerako ennyo ku mawulire. Empapula z’amawulire nga ssatu zaayogera bulungi ku kaweefube oyo ng’olukuŋŋaana terunnabaawo. Munnamawulire omu yawandiika ebintu bingi nnyo ebitukwatako mu lupapula lw’amawulire olufuluma buli lwa Ssande. Bye yawandiika byali byogera nnyo ku nzikiriza zaffe, oluganda lwaffe, omulimu gw’okugaba obupapula obuyita abantu, n’olukuŋŋaana olunene. Ow’oluganda omu bwe yali awa nnyinimu akapapula ako, nnyinimu yamugamba nti: “Mazima ddala, nnaakava okusoma ku bintu bino mu lupapula lw’amawulire!” Omuntu omulala yagamba nti: “Munsanze nnaakamala okusoma ebibakwatako essaawa eno! Ako ke kange ke mundeetedde?” Ate era yagattako nti, “Kino Abajulirwa ba Yakuwa kye bakola kirungi nnyo.”
3 Abantu bangi abaagala amazima bajja ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti nga balina obupapula obwo. Abamu ku bo baatambula eŋŋendo mpanvu okusobola okubeerawo ku lukuŋŋaana olwo. Olw’okuba twafuba nnyo okuyita abantu, kyaviirako omuwendo gw’abantu abaaliwo okweyongera. Ng’ekyokulabirako, mu ensi emu abantu abaaliwo ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti beeyongera obutundu 27 ku buli kikumi okusinga abo abaaliwo mu mwaka 2005.
4 Okubuulira mu Kitundu Kyammwe Kyonna: Muyinza okutandika okugaba obupapula obuyita abantu ng’ekyabulayo wiiki ssatu olukuŋŋaana lwa disitulikiti lubeewo. Musaanidde okufuba ennyo okumalako ekitundu kyammwe kyonna ekibiina kyammwe kye kibuuliramu. Ababuulizi abali mu bibiina ebirina ebitundu ebinene eby’okubuuliramu, bayinza okukozesa amagezi nga baleka obupapula obwo mu maka mwe baba tebasanze bantu mu wiiki esembayo ng’olukuŋŋaana lwa disitulikiti terunnabaawo. Ebibiina birina okufuba okugaba obupapula bwonna obunaabiweebwa era n’okufuba okububunyisa mu kitundu kyonna ekibuulirwamu. Obwo obunaasigalawo, bapayoniya abali mu kibiina bayinza okubugaba.
5 Eky’Okwogera: Oyinza okwogera bw’oti: “Tuli mu kaweefube ow’ensi yonna ow’okugaba obupapula buno obuyita abantu okubaawo ku mukolo omukulu ennyo ogugenda okubaawo gye bujjako awo. Eno ye kopi yo. Ebisingawo ojja kubisanga mu kapapula ako.” Bwe tutalandaga, tujja kusobola okubugaba mu bitundu bingi. Kya lwatu, singa nnyinimu aba n’ebibuuzo, waayo ebiseera okumuddamu. Omuntu bw’aba ng’ayagala okumanya ebisingawo, baako w’owandiika era omuddire amangu ddala nga bwe kisoboka.
6 Nga kikulu nnyo okufuba okugoberera Kristo! (Yok. 3:36) Olukuŋŋaana lwaffe olwa disitulikiti oluddako lujja kuyamba bonna abanaabaawo okukola ekyo. Mazima ddala tusuubira nti obujulirwa obw’amaanyi bujja kuweebwa nate mu kaweefube ono ow’okulangirira Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwa “Goberera Kristo!” N’olwekyo, fuba nnyo okuyita abantu bangi nga bwe kisoboka okubaawo. Ka Yakuwa awe omukisa okufuba kwo nga bwe wenyigira mu kaweefube ono ow’ensi yonna.