Ssaayo Omwoyo eri Ebigambo Ebitukuvu
1 Si buli kintu ekyogerwa abantu ekyetaagisa okussaako omwoyo. Naye Katonda bw’ayogera, kikulu okuwuliriza. (Ma. 28:1, 2) Kya ssanyu nti abantu abaaluŋŋamizibwa baawandiika ‘ebigambo ebitukuvu ebyava eri Katonda’ olw’okutuganyula. (Bar. 3:2, NW) Olukuŋŋaana lwa district olujja lujja kutuwa emikisa egy’omuwendo okuwulira ebigambo bino nga bisomebwa era nga byogerwako. Oyinza otya okussaayo omwoyo?
2 Tuuka nga Bukyali Buli Nkya: Teebereza akabuguumiriro Abaisiraeri ke baalina bwe baagambibwa okusisinkana Yakuwa ku Lusozi Sinaayi okuwulira Amateeka ge! (Kuv. 19:10, 11, 16-19) Bw’oba n’endowooza ng’eyo ku bikwata ku kufuna okuyigirizibwa okuva eri Yakuwa mu lukuŋŋaana lwa district, ojja kukola enteekateeka okutuukanga nga bukyali buli lunaku. Tetusobola kuwuliriza programu yonna singa tutuuka kikeerezi era ne tutabulatabula abalala nga tunoonya aw’okutuula. Enzigi zijja kuggulwawo mu kifo ky’olukuŋŋaana ku ssaawa 2:00 ez’oku makya, era programu ejja kutandikanga ku ssaawa 3:30 ez’oku makya buli lunaku.
3 N’abamu abatuuka nga bukyali baba tebannatuula mu bifo byabwe nga programu etandika. Lwaki kiba bwe kityo? Balinda okutuusa ssentebe bw’ayanjula oluyimba olutandika ne balyoka balekera awo okunyumya ne bannaabwe ne bagenda we banaatuula. Tusaanidde okukyetegereza nti okumala eddakiika eziwerako ng’oluyimba oluggulawo ekitundu ky’olukuŋŋaana terunnatandika, ssentebe aba atudde ku pulatifomu ng’obuyimba bw’Obwakabaka bukubibwa. Kano ke kabonero akanditulaze nti kye kiseera okutuula! Olwo, oluyimba oluggulawo bwe lunaatandika, tujja kuba beetegefu okuyimbira awamu ennyimba ezitendereza Yakuwa.
4 Muwulirize nga Muli Wamu ng’Amaka: Ebigambo ebitukuvu bwe byabanga bisomebwa eri Abaisiraeri abaali bakuŋŋaanye, amaka, nga mw’otwalidde ne “abato” baali ba kuwuliriza era n’okuyiga. (Ma. 31:12) Ku nkuŋŋaana zaffe ennene, abaana tebasaanidde ‘kulekebwa kwetaaya.’ (Nge. 29:15, NW) Abazadde,muteeketeeke ab’omu maka gammwe bonna okutuula awamu—nga n’abatiini mwe bali. Abazadde abamu balinda okutuusa ng’oluyimba oluggulawo lutandise olwo ne balyoka batwala abaana baabwe mu kaabuyonjo. Kyokka, kino tekisobola kuyigiriza baana bukulu bw’ennyimba n’okusaba mu kusinza kwaffe. Nga kiba kirungi nnyo okusingawo, bwe kiba kisoboka, okubatwala mu kaabuyonjo ng’olukuŋŋaana terunnaba kutandika!
5 Tujja kusobola okuwuliriza obulungi singa tufuna otulo otumala buli kiro era ne twewala okulya emmere nnyingi emisana. Ssaayo omwoyo ku ebyo omwogezi by’ayogera. Tokkiriza birowoozo byo kutangatanga. Goberera mu Baibuli yo ng’ebyawandiikibwa bisomebwa. Baako by’owandiika mu bufunze. Ng’emboozi eweebwa, lowooza ku mwogezi by’ayogedde, era n’engeri gy’onoobiteekamu mu nkola. Ku nkomerero y’olunaku, mukubaganye ebirowoozo ku programu ng’amaka. Nsonga ki buli omu z’anyumiddwa? Amaka gammwe gayinza gatya okweyambisa ebyo ebiyigiddwa?
6 Ssa Ekitiibwa mu Kigambo kya Katonda: Enkuŋŋaana ennene zituwa omukisa omulungi okwogera n’emikwano gyaffe era n’okuba awamu n’emikwano egizimba. Bwe tutuuka nga bukyali, tujja kubeera n’ekiseera eky’okunyumya nga programu tennatandika. Kyokka abamu baba banyumya nga programu egenda mu maaso, nga balowooza mu bukyamu nti abalala batawaanyizibwa kitono nnyo bwe baba mu bisaawe oba ebizimbe ebinene ebikuŋŋaanirwamu. Enkuŋŋaana bwe zibeera mu kifo ekigazi, kiba kiseera kya kuwuliriza, nga bwe twandikoze nga tuli mu Kingdom Hall. Tetwandikozesezza busimu obw’omu ngalo, camcorder, ne kamera mu ngeri eyinza okutabulatabula programu.
7 Musa bwe yali afuna Amateeka okuva eri Yakuwa, yali “talya mmere so teyanywa mazzi.” (Kuv. 34:28) Mu ngeri y’emu, kyandibadde tekisaana okulya oba okunywa ng’olukuŋŋaana lugenda mu maaso. Okuggyako nga waliwo ensonga ez’amaanyi ezikwatagana n’obulwadde, lindako okutuusa ‘ekiseera’ eky’okuliiramu.—Mub. 3:1.
8 Ku nkuŋŋaana ezimu, wakyaliwo ekizibu ky’ab’oluganda bangi ne bannyinaffe era n’abaana abato okutambulatambula mu nkuubo ng’olukuŋŋaana lugenda mu maaso. Abaaniriza bajja kusaba abali ng’abo okuddayo mu bifo byabwe. Bannakyewa abakola mu bitongole eby’enjawulo basaanidde okutuula okuwuliriza amangu ddala nga baakamaliriza omulimu gwabwe. Okuggyako nga bannakyewa abaweereddwa emirimu egy’okukola ng’olukuŋŋaana lugenda mu maaso, basaanidde okubeera mu bifo byabwe, nga bawuliriza programu. Tebasaanidde kusigala mu bitongole byabwe, nga banyumya bokka na bokka ng’eno programu egenda mu maaso.
9 Tetwagala kubeera ‘baggavu b’amatu’ nga tuwuliriza Ekigambo kya Katonda. (Beb. 5:11) N’olwekyo, ka tumalirire okulaga ekitiibwa ekigwanidde nga tussaayo omwoyo eri ebigambo ebitukuvu ebiva eri Yakuwa nga byekenneenyezebwa mu lukuŋŋaana lwaffe olujja olwa district.