‘Kuŋŋaanya Abantu’
1. Enkuŋŋaana zaffe ennene zifaananako zitya olukuŋŋaana Abaisiraeri lwe baafuna nga baakava e Misiri?
1 Abaisiraeri bwe baali baakava e Misiri, Yakuwa yagamba Musa ‘akuŋŋaanye abantu’ ku lusozi Sinaayi bawulire ebigambo bya Yakuwa, basobole okumutya era n’okuyigiriza abaana baabwe amakubo ge. (Ma. 4:10-13) Ng’Abaisiraeri bateekwa okuba nga baaganyulwa nnyo mu lukuŋŋaana olwo! Mu myezi egijja, abaweereza ba Yakuwa bajja kuba n’enkuŋŋaana ennene ez’ennaku essatu awamu n’enkuŋŋaana ennene ez’ensi yonna, era bajja kuyigirizibwa Yakuwa. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okuganyulwa mu bujjuvu?
2. Tuyinza tutya ‘okweteekerateekera’ olukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu?
2 ‘Weeteeketeeke’: Yakuwa yalagira Abaisiraeri ‘okweteekerateekera’ olukuŋŋaana olw’ebyafaayo olwali lugenda okuba ku lusozi Sinaayi. (Kuv. 19:10, 11) Ne leero, ffenna tusaanidde okweteekerateekera enkuŋŋaana zaffe ennene so si abo bokka abanaaba n’ebitundu mu nkuŋŋaana ezo. Ng’ekyokulabirako, bangi kijja kubeetaagisa okusaba bakama baabwe olukusa basobole okubaawo ku lukuŋŋaana. Oboolyawo embeera gy’olimu eringa eya Nekkemiya. Yali ayagala kuva ku mulimu gwe ogw’okuwa Kabaka Alutagizerugiizi eby’okunywa asobole okugenda e Yerusaalemi ayambeko mu kuzimba bbugwe w’ekibuga, naye yali tamanyi obanga kabaka yandimukkirizza. Nekkemiya yasaba Yakuwa mu kasirise, oluvannyuma n’ategeeza kabaka ensonga ye mu buwombeefu. Kabaka yamukkiriza okugenda, yamuwa ebikozesebwa, era yamuwa n’abantu abandimuwerekeddeko! (Nek. 2:1-9) Ng’oggyeeko okusaba mukama wo olukusa, omaze okuteekateeka eby’entambula n’awokusula? Abakadde bajja kuba beetegefu okuyamba abo bonna abanaaba beetaaga obuyambi. Kakasa nti buli lunaku otuuka nga bukyali, era ‘osseeyo nnyo omwoyo’ ku ebyo by’onooba oyigirizibwa.—Beb. 2:1.
3. Tuyinza tutya okuteekateeka emitima gyaffe?
3 Ekintu ekirala ekikulu kye tulina okukola kwe kuteekateeka emitima gyaffe tusobole okuwuliriza era tuyige. (Ezer. 7:10) Programu y’olukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu eriko emitwe gy’emboozi n’ekyawandiikibwa kimu oba bibiri kwe gyesigamiziddwa, era ejja kuteekebwa ku mukutu gwaffe ogwa jw.org nga bukyali. Ebiri ku programu eyo musobola okubikubaganyaako ebirowoozo mu Kusinza kw’Amaka ng’olukuŋŋaana terunnatuuka. Ababuulizi abamu bagifunamu kopi ne bawandiikako ebyo bye baba bayiga mu lukuŋŋaana.
4. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okuganyulwa mu bujjuvu mu lukuŋŋaana?
4 ‘Yigiriza Abaana Bo’: Yakuwa yali ayagala abazadde Abaisiraeri ‘bayigirize abaana baabwe’ ebimukwatako era eyo y’emu ku nsonga lwaki yabagamba okukuŋŋaana ku lusozi Sinaayi. (Ma. 4:10) Enkuŋŋaana zaffe ennene nazo zisobozesa abazadde okuyigiriza abaana baabwe. N’olwekyo, abazadde basaanidde okutuula n’abaana baabwe era n’okubakubiriza okussaayo omwoyo. Ku nkomerero ya buli lunaku oba ng’olukuŋŋaana luwedde, muyinza okukozesa ebimu ku biseera byammwe eby’okusinza kw’amaka okukubaganya ebirowoozo ku ebyo bye munaaba muyize mu lukuŋŋaana.
5. Bwe tunaafuba okubeerawo mu lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu, tunaaganyulwa tutya?
5 Olukuŋŋaana olwali ku lusozi Sinaayi lwayamba Abaisiraeri okukiraba nti baalina enkizo ey’ekitalo ey’okuyitibwa abantu ba Katonda. (Ma. 4:7, 8) Olukuŋŋaana lwaffe olunene olw’ennaku essatu nalwo lujja kutuyamba mu ngeri y’emu. Okumala ennaku ssatu tujja kuba ng’abavudde mu nsi ya Sitaani; tujja kuba tuzzibwamu amaanyi mu by’omwoyo nga tuli wamu ne baganda baffe. (Is. 35:7-9) Ng’olunaku lwa Yakuwa bwe lweyongera okusembera, ka tukozese akakisa kano okukuŋŋaana awamu ne baganda baffe tusobole okuzziŋŋanamu amaanyi!—Beb. 10:24, 25.