Wuliriza era Oyige
1. Lwaki kiyinza okutwetaagisa okufuba ennyo okusobola okuwuliriza n’okuyiga nga tuli ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti?
1 Olukuŋŋaana lwa disitulikiti olw’omwaka 2013 lunaatera okutuuka. Bingi nnyo ebikoleddwa okuteekateeka olukuŋŋaana olujja okuganyula abantu okwetooloola ensi yonna. Omaze okukola enteekateeka ezinaakusobozesa okubaawo ennaku zonna essatu? Waliwo ebintu bingi ebisobola okutuwugula nga tuli ku lukuŋŋaana ng’olwo. Ate era lutwala ekiseera kiwanvu okusinga ku ezo ze tuba nazo buli wiiki. Okugatta ku ebyo, oluusi tugenda okutuuka awali olukuŋŋaana nga tukooye. N’olwekyo kitwetaagisa okufuba ennyo okusobola okussaayo omwoyo ng’olukuŋŋaana lugenda mu maaso. Biki ebinaatuyamba okussaayo omwoyo tusobole okuwuliriza era tuyige?—Ma. 31:12.
2. Tuyinza tutya okuteekateeka omutima gwaffe ng’olukuŋŋaana lwa disitulikiti terunnatuuka?
2 Ng’Olukuŋŋaana Terunnatuuka: Ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti, www.pr418.com, kubaako programu y’olukuŋŋaana lwa disitulikiti. Programu eyo ebaako emitwe gy’emboozi zonna, era buli mutwe gubaako ekyawandiikibwa kimu oba bibiri. Bw’oba osobola okukozesa Intaneeti, okufumiitiriza ku mitwe egyo kijja kukuyamba okuteekateeka omutima gwo osobole okuganyulwa mu lukuŋŋaana. (Ezer. 7:10) Ate era kiba kirungi okukubaganya ebirowoozo ku programu eyo mu kusinza kwammwe okw’amaka, kubanga kijja kuleetera ab’omu maka okwesunga olukuŋŋaana olwo.
3. Biki ebinaatuyamba okuwuliriza obulungi?
3 Ng’Olukuŋŋaana Lugenda mu Maaso: Kiba kirungi okugenda mu kabuyonjo ng’olukuŋŋaana terunnatandika. Ggyako essimu yo ereme kukuwugula. Bwe kiba nti oteekwa okulekako essimu yo, ggyako eddoboozi lyayo ereme kutaataaganya balala. Si kirungi kulya oba kunywa nga programu egenda mu maaso, okuggyako ng’oli mulwadde oba nga ddala kyetaagisa. (Mub. 3:1) Tunuulira omwogezi era baako by’owandiika. Ekyawandiikibwa bwe kiba kisomebwa, goberera mu Bayibuli yo.
4. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okussaayo omwoyo?
4 Twagala abaana baffe nabo bawulirize era bayige. Engero 29:15 wagamba nti: “Omwana gwe balekera awo akwasa nnyina ensonyi.” N’olwekyo, kiba kirungi amaka okutuula wamu kisobozese abazadde okuyamba abaana baabwe okussaayo omwoyo mu kifo ky’okuba nti boogerayogera, baweereza abalala obubaka ku ssimu, oba batambulatambula. Wadde ng’abaana bayinza okuba nga bato nnyo era nga tebategeera byonna ebiba biyigirizibwa, abazadde basaanidde okubayigiriza nti si kirungi kuzannya oba kwebaka ng’olukuŋŋaana lugenda mu maaso.
5. Lwaki kya muganyulo nnyo okwejjukanya ebibadde mu programu, era tuyinza kukikola tutya?
5 Nga Programu y’Olunaku Ewedde: Bw’oddayo eka, weebake nga bukyali osobole okuwummula ekimala. Okwejjukanya ebibadde mu programu kijja kubayamba obutabyerabira. N’olwekyo, kya muganyulo nnyo okufunayo eddakiika ntonotono ne mubikubaganyaako ebirowoozo ng’amaka buli kawungeezi. Bw’oba ogenda ne mikwano gyo mu kifo awatundirwa emmere, oyinza okutwala by’owandiise musobole okwogerako ku nsonga emu oba bbiri ezisinze okukukwatako. Ng’olukuŋŋaana luwedde, musobola okukubaganya ebirowoozo mu Kusinza kw’Amaka ku ngeri gye muyinza okukolera ku ebyo bye muyize. Ate era, musobola okufunayo ekiseera buli wiiki okukubaganya ebirowoozo ku bintu ebipya ebinaaba bifulumiziddwa.
6. Okubeerawo obubeezi ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti kimala? Nnyonnyola.
6 Emmere bw’eba ey’okutuganyula, tulina okugirya era n’omubiri gulina okugisa. Mu ngeri y’emu tulina okulya n’okufumiitiriza ku mmere ey’eby’omwoyo enaatuweebwa ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti. Ka tufube okubaawo ku lukuŋŋaana olwo, okuwuliriza obulungi, n’okukolera ku ebyo bye tunaayiga, tusobole okuluganyulwamu mu bujjuvu.
[Akasanduuko akali ku lupapula 2-5]
Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti Olwa 2013
◼ Essaawa za Programu: Buli lunaku, programu ejja kutandikanga ku ssaawa 3:20 ez’oku makya. Obuyimba obuggulawo bwe butandika, ffenna tusaanidde okutuula mu bifo byaffe, olukuŋŋaana lutandike mu ngeri entegeke obulungi. Ku Lwokutaano ne ku Lwomukaaga, programu ejja kufundikirwa ku ssaawa 10:50 ez’olweggulo ate ku Ssande efundikirwe ku ssaawa 9:35 ez’olweggulo.
◼ Aw’Okusimba Ebidduka: Buli awanaabeera olukuŋŋaana wajja kubaawo ekifo ekirungi aw’okusimba ebidduka ku bwereere, era ng’anaasooka okutuuka y’ajja okusooka okufiibwako.
◼ Okukwata Ebifo eby’Okutuulamu: Abo bokka b’otambudde nabo, ab’omu maka go, oba abayizi bo aba Bayibuli b’oyinza okukwatira ebifo. Ebifo by’abalina obulemu n’abakaddiye biba bitono, n’olwekyo kiyinza obutasoboka abantu ng’abo okutuula n’ab’omu maka gaabwe bonna. Ebifo ebyo tusabibwa okubirekera abaliko obulemu n’abakaddiye awamu n’abo ababayambako—1 Kol. 13:5.
◼ Eky’Emisana: Osabibwa okujja n’eby’okulya mu kifo ky’okugenda okubigula mu kiseera eky’okuwummulamu. Oyinza okubissa mu kantu akatonotono akagya wansi w’entebe yo. Eby’okuteekamu emmere ebinene ennyo n’ebyatika, tebikkirizibwa mu kifo awali olukuŋŋaana.
◼ Okuwaayo: Bwe tuba mu lukuŋŋaana olunene, tusobola okulaga nti tusiima enteekateeka z’olukuŋŋaana olwo nga tuwaayo kyeyagalire okuwagira omulimu gw’ensi yonna ogw’okubuulira. Ceeke zonna ezinaaweebwayo ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti, zisaanidde kuweebwayo mu linnya lya “The Registered Trustees of Christian Congregation of Jehovah’s Witnesses.”
◼ Ebigwa Bitalaze: Singa wabaawo omuntu afuna obulwadde oba akabenje ng’ali mu lukuŋŋaana, musabibwa okutuukirira omu ku abo abaaniriza abagenyi. Ow’oluganda oyo ajja kutegeeza Ekitongole Ekiwa Obujjanjabi Obusookerwako kisobozese omulwadde okufuna obuyambi.
◼ Eddagala: Bwe kiba nti waliwo eddagala ly’olina okumira okusinziira ku bulagirizi bw’omusawo, osabibwa okutwala eddagala erimala okuva bwe kiri nti tetujja kuba na ddagala eryo ku lukuŋŋaana. Empiso ezikozeseddwa abalwadde ba sukaali tezirina kusuulibwa mu bintu ebiteekebwamu kasasiro ebiteekeddwawo mu bifo eby’enjawulo awali olukuŋŋaana kubanga ziyinza okuba ez’obulabe ku balala.
◼ Engatto: Buli mwaka abantu bafuna ebisago olw’engatto ze baba bambadde. Kiba kirungi ne twambala engatto ezisaanira era ezitutuuka obulungi, ezinaatusobozesa okutambulira obulungi ku madaala oba awalala wonna.
◼ Obuwoowo: Enkuŋŋaana ezimu ziba mu bizimbe ebirimu ebyuma ebiyingiza empewo. N’olwekyo, kyandibadde kirungi ne tuteekuba buwoowo buwunya nnyo obuyinza okuyisa obubi abalala.—1 Kol. 10:24.
◼ Foomu Ezikwata ku Baagala Okumanya Ebisingawo: Foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43) esaanidde okujjuzibwamu bwe wabaawo omuntu yenna abuuliddwa embagirawo ku lukuŋŋaana era ng’ayagala okumanya ebisingawo. Foomu ezijjuziddwamu osobola okuziwaayo eri Ekitongole Ekikola ku Bitabo oba okuziwa omuwandiisi w’ekibiina kyo ng’ozzeeyo.
◼ Ebifo Awatundirwa Emmere: Weeyise era yambala mu ngeri eweesa Yakuwa ekitiibwa ng’oli mu bifo ng’ebyo. Mu bitundu bingi, kiba kya buntu bulamu okulekawo akasiimo, okusinziira ku ebyo bye baba bakukoledde.
◼ Wooteeri:
(1) Saba ebisenge ebyo byokka bye munaakozesa, era abasulamu tebalina kusukka muwendo ogukkirizibwa.
(2) Singa weesanga ng’ekisenge ky’osabye tojja kukikozesa, tegeerezaawo abo be kikwatako.—Mat. 5:37
(3) Oyo akusituliddeko ku migugu n’oyo ayonja ekisenge mw’osula bawe akasiimo.
(4) Fumbira mu bisenge ebyo byokka mwe bakkiriza okufumbira.
(5) Todiibuuda ebyo ebiba bikuweereddwa okukozesa ku ky’enkya.
(6) Fuba okwoleka engeri eziri mu kibala eky’omwoyo ng’okolagana n’abakozi b’omu wooteeri. Baweereza abagenyi bangi era basiima bwe tubalaga ekisa, obugumiikiriza, n’obukkakkamu.
(7) Abazadde basaanidde okufaayo ku baana baabwe ekiseera kyonna nga bali mu wooteeri, nnaddala nga bali we bawugira, mu nkuubo, ne mu bifo ebirala.
(8) Singa ofuna ekizibu mu kisenge kya wooteeri ekiba kikuweereddwa, tegeeza Ekitongole Ekikola ku by’Ensula ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti.
◼ Okuweereza nga Nnakyewa: Oyo yenna eyandyagadde okuweereza nga nnakyewa asobola okutegeeza Ekitongole Ekikola ku Bannakyewa ku lukuŋŋaana. Abaana abali wansi w’emyaka 16 basobola okuyambako nga bakolera ku bulagirizi bwa bazadde baabwe oba abantu abalala abakulu abali ku lukuŋŋaana.