Programu Empya ey’Olukuŋŋaana Olunene olw’Enjawulo olw’Olunaku Olumu
Bwe tulaba oba bwe tuwulira ekintu ekitulabula ku katyabaga akabindabinda naye ne tutabaako kye tukolawo, ebivaamu biyinza okuba ebibi ennyo. Kyokka, kikulu nnyo n’okusingawo okugoberera obulagirizi obw’eby’omwoyo Yakuwa bw’atuwa. Ensonga eno ejja okuggumizibwa mu programu ey’olukuŋŋaana olw’enjawulo olw’olunaku olumu olunaabaawo mu mwaka ogw’obuweereza ogujja. Lujja kuba n’omutwe, “Ssaayo Omwoyo ku Ngeri gy’Owulirizaamu.”—Luk. 8:18, NW.
Mu mboozi gy’anaasooka okuwa, omugenyi ajja kulaga engeri okubuulirira okuli mu ssuula ezisooka ez’ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abaebbulaniya gye kutukwatako leero. Mu mboozi ye eneefundikira, eneeba n’omutwe, “Weeyongere Okussaayo Omwoyo ku Bulagirizi bwa Katonda,” ajja kuyamba bonna abanaabeerawo okwekebera oba nga ddala bawuliriza Yakuwa, Omwana we, era ‘n’omuddu omwesigwa.’—Mat. 24:45.
Ebitundu ebiwerako mu programu eno biggya kuganyula nnyo amaka. Emboozi erina omutwe, “Amaka Agawuliriza Ekigambo kya Katonda Awatali Kuwugulibwa” ejja kutuyamba obutaganya bintu eby’omu nsi okwonoona embeera yaffe ey’eby’omwoyo. Egya kubaamu okubuuza ebibuuzo abo abakoze enkyukakyuka mu bulamu bwabwe basobole okukulembeza ebintu eby’omwoyo. Emboozi erina omutwe, “Engeri Okuwuliriza Ekigambo kya Katonda n’Obwegendereza gye Kiyamba Abavubuka Baffe,” ejja kubaamu okubuuza ebibuuzo abavubuka abasobodde okusigala nga beesigwa ku ssomero, nga bali ne bavubuka bannaabwe, era ne mu buweereza obw’omu nnimiro. Emboozi eriko omutwe, “Abaana Abato Abawuliriza Katonda era ne Bayiga” ejja kutuyamba obutabuusa maaso busobozi bw’abaana abato obw’okuyiga. Okubuuza ebibuuzo abato awamu ne bazadde baabwe kijja kutuyamba okulaba ebirungi ebiva mu kuyigiriza abaana baffe amakubo ga Yakuwa okuviira ddala mu buwere.
Wadde nga Setaani ‘alimbalimba ensi zonna,’ Yakuwa ye alaga abaweereza be abeesigwa ekkubo lye bagwanira okutambuliramu. (Kub. 12:9; Is. 30:21) Okussaayo omwoyo ku kubuulirira kwe era n’okukugoberera mu bulamu bwaffe kiggya kutufuula ba magezi, kituleetera essanyu, era kitutuuse mu bulamu obutaggwaawo.—Nge. 8:32-35.