Programu Empya ey’Olukuŋŋaana olw’Enjawulo olw’Olunaku Olumu
Eriiso lyakolebwa mu ngeri ya kyewuunyo. (Zab. 139:14) Naye terisobola kwetegereza bintu bingi ku mulundi gumu. Ekyo bwe kiri ne mu ngeri ey’akabonero. Okusobola okutunula obulungi mu by’omwoyo, tuteekwa okwemalira ku kukola Katonda by’ayagala. Olw’okuba ensi ya Setaani erimu ebintu bingi nnyo ebisobola okutuwugula, nga kituukirawo okulaba nti programu y’olukuŋŋaana olw’enjawulo ey’omwaka gw’obuweereza 2006 ejja kukulaakulanya omutwe “Beera n’Eriiso Eriraba Awamu.”—Mat. 6:22.
Kiki kye tuyinza okukola okusobola okufuna emikisa gya Yakuwa? (Nge. 10:22) Ekibuuzo kino kijja kuddibwamu mu mboozi erina omutwe ogugamba nti “Funa Emikisa Egiva mu Kubeera n’Eriiso Eriraba Awamu.” Abo abanaabuuzibwa ebibuuzo bajja kwogera ku ngeri gye tuyinza okuganyulwa bwe tugoberera emisingi egy’omu Byawandiikibwa. Emboozi esooka eneeweebwa omwogezi akyadde, ejja kuba n’omutwe “Okubeera n’Eriiso Eriraba Awamu mu Nsi Eno Embi,” era ejja kutulabula ku bintu ebiyinza okukaluubiriza obulamu bwaffe ne bitulemesa okukulaakulana mu by’omwoyo. Ate era tujja kumanya ebizingirwa mu kulonda “omugabo omulungi.”—Luk. 10:42.
Abazadde n’abantu abalala bayinza batya okukubiriza abavubuka Abakristaayo okuba n’ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo? Mu mboozi ezirina emitwe “Abazadde Abaluŋŋamya Obulungi Obusaale Bwabwe” ne “Abavubuka Abalina Ebiruubirirwa eby’Eby’Omwoyo,” tujja kuwulira ebyogerwa abazadde n’abavubuka ku kibuuzo kino ekikulu. (Zab. 127:4) Emboozi enaasembayo ey’omwogezi akyadde ejja kulaga engeri gye tuyinza okweyongera okutambulira awamu n’entegeka ya Yakuwa ng’abantu kinnoomu, ng’amaka era ng’ekibiina.
Ka tube nga twakayiga amazima oba nga tumaze emyaka mingi nga tuweereza Yakuwa, kikulu nnyo ‘okuba n’eriiso eriraba awamu.’ Olukuŋŋaana olw’enjawulo olw’olunaku olumu lujja kutuyamba okweyongera okubeera n’eriiso eriraba awamu.