Beera n’Eriiso Eriraba Awamu
1. Kitegeeza ki okuba n’eriiso eriraba awamu, era lwaki ekyo kikulu?
1 Mu Kubuulirira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yayogera ku ngeri eriiso lyaffe ery’akabonero oba ery’eby’omwoyo gye liyinza okubaako eky’amaanyi kye likola ku bulamu bwaffe. Yagamba: “Eriiso lyo bwe liraba awamu, omubiri gwo gwonna gunaabanga n’okutangaala. Naye eriiso lyo bwe liba ebbi, omubiri gwo gwonna gunaabanga n’ekizikiza.” (Mat. 6:22, 23) Eriiso eriraba awamu ly’eryo eriba n’ekigendererwa ekimu, kwe kugamba, okukola Katonda by’ayagala awatali kuwugulibwa kufuna bya bugagga. (Mat. 6:19-21, 24-33) Kiki ekiyinza okutuyamba okweyongera okubeera n’eriiso eriraba awamu?
2. Ekigambo kya Katonda kitukubiriza kuba na ndowooza ki etagudde lubege ku bikwata ku bintu?
2 Okuba Abamativu n’Ebyo bye Tulina: Okusinziira ku byawandiikibwa, omuntu avunaanyizibwa okukola ku byetaago by’ab’omu maka ge. (1 Tim. 5:8) Naye kino tekitegeeza nti alina kwemalira ku kunoonya bintu ebisingayo obulungi n’ebyo ebiri ku mulembe. (Nge. 27:20; 30:8, 9) Mu kifo ky’ekyo, Ebyawandiikibwa bitukubiriza okuba abamativu n’ebintu ebyetaagisa mu bulamu, kwe kugamba, ‘emmere n’eby’okwambala.’ (1 Tim. 6:8; Beb. 13:5, 6) Bwe tugoberera okubuulirira kuno, kijja kutuyamba okubeera n’eriiso eriraba awamu.
3. Kiki ekiyinza okutuyamba okwewala okukaluubiriza obulamu bwaffe?
3 Kiba kya magezi okwewala amabanja agateetaagisa era n’ebintu ebiyinza okutumalira ebiseera. (1 Tim. 6:9, 10) Kino tuyinza kukikola tutya? Bw’oba ng’olina ky’olowooza okukola, sooka kusaba Yakuwa era mu bwesimbu laba obanga tekitaataaganye nteekateeka yo ey’eby’omwoyo. Beera mumalirivu okukulembeza ebintu eby’eby’omwoyo mu bulamu bwo.—Baf. 1:10; 4:6, 7.
4. Lwaki twandikoze kyonna ekisoboka obutakaluubiriza bulamu bwaffe?
4 Tokaluubiriza Bulamu Bwo: Ekintu ekirala ekinaakuyamba obutatwalirizibwa bya bugagga, bwe butakaluubiriza bulamu bwo. Ow’oluganda omu eyakizuula nti ab’omu maka ge basobola okuba obulungi wadde nga tebalina bintu bingi yagamba: “Kati nsobola okukola ekisingawo mu kibiina nga mpeereza baganda bange. Ndi mukakafu nti Yakuwa awa omukisa abaweereza be bonna bwe bakulembeza okusinza okw’amazima mu kifo ky’okukulembeza bo bye baagala.” Tetwandyagadde kufuna mikisa mingi nga tetukaluubiriza bulamu bwaffe?
5. Lwaki kyetaagisa okufuba buli kiseera okuba n’eriiso eriraba awamu?
5 Kyetaagisa okufuba buli kiseera tuleme kutwalirizibwa Setaani, ensi ye ekubiriza abantu okufuna eby’obugagga era n’obutali butuukirivu bwaffe. Mu kifo ky’okuleka amaaso gaffe okuwugulibwa, ka tugakuumire ku kukola Katonda by’ayagala ne ku ssuubi ery’obulamu obutaggwaawo.—Nge. 4:25; 2 Kol. 4:18.