Programu Empya ey’Olukuŋŋaana olw’Enjawulo olw’Olunaku Olumu
“Mubeere Bakulu mu Kutegeera” gwe mutwe gwa programu ey’olukuŋŋaana olw’enjawulo olw’olunaku olumu etandika mu Ssebutemba 2000. (1 Kol. 14:20, NW) Lwaki kinaaba kya muganyulo gye tuli okubeerawo? Tuli mu nsi ejjudde obubi. Okuziyiza kino, tulina okukulaakulanya obusobozi bwaffe obw’okutegeera okw’eby’omwoyo tusobole okuwangula ekibi nga tukozesa ekirungi. Ekyo olukuŋŋaana olw’enjawulo olw’olunaku olumu kye lujja okutuyamba okukola.
Mu kitundu ekisooka, omulabirizi wa circuit ajja kwogera ku mutwe ogugamba “Ebituyamba Okubeera Abakulu mu Kutegeera Baibuli.” Ajja kutulaga engeri gye tuyinza okubeera abanywevu mu kukkiriza kw’Ekikristaayo. Omwogezi omugenyi ajja kutangaaza engeri okukozesa, oba okussa mu nkola, emisingi gya Baibuli gye kiri ekikulu mu kukulaakulanya okutegeera, ng’ayogera ku mutwe “Kuuma Embeera Ennungi ey’Eby’Omwoyo ng’Okulaakulanya Obusobozi Bwo obw’Okutegeera.”
Abavubuka nabo balina okukulaakulanya obusobozi bw’okutegeera. Kino kijja kwogerwako mu bitundu “Lwaki Tusaanidde Okubeera Abato ku Bikwata ku Bubi” ne “Abavubuka Abafuna Okutegeera Kaakano.” Wuliriza abavubuka nga boogera ku bye bakola okwenyweza mu by’omwoyo baleme okwegomba ebintu ebibi eby’ensi era beewale ebizibu.
Tuyinza tutya okufuna essanyu erisingayo mu bulamu? Omwogezi omugenyi ajja kunnyonnyola kino mu kwogera okusembayo “Ganyulwa mu Kugoberera Emisingi gya Baibuli n’Okutegeera.” Ajja kuwa ebyokulabirako okulaga nti okugoberera Ekigambo kya Katonda kituyamba okwaŋŋanga ebizibu, okusalawo, era n’okuganyulwa ddala mu ebyo Yakuwa by’atuyigiriza.
Abo abandyagadde okulaga okwewaayo kwabwe eri Katonda nga babatizibwa mu mazzi mu lukuŋŋaana luno balina okutegeeza omukadde akubiriza akakiiko k’abakadde amangu ddala nga bwe kisoboka. Wandiika ku kalenda yo nga baakalanga ennaku z’omwezi olukuŋŋaana olw’enjawulo olw’olunaku olumu we lunaabeererawo, era kola enteekateeka okuganyulwa mu programu eno ennungi. Tosubwa kitundu kyonna eky’olukuŋŋaana luno olw’enjawulo olw’olunaku olumu! Lujja kukunyweza okugumiikiriza embeera zino embi era osigale ng’oli mwesigwa eri Yakuwa.