Kulaakulanya Obusobozi Bwo obw’Okutegeera
1 Ebiseera bino eby’oluvannyuma eby’okulaba ennaku, byongedde okuleetera abantu ba Katonda buli wamu okunyigirizibwa n’ebizibu eby’amaanyi ebya buli ngeri. (2 Tim. 3:1-5) Ffenna twetaaga okuzzibwamu amaanyi okusobola okunywerera mu kukkiriza. (1 Kol. 16:13) Ekyo tusobola okukikola n’obuyambi bwa Yakuwa nga tweyongera okuliisibwa ku Kigambo kye obutayosa, nga twesiga omwoyo gwe era nga tweyongera okubeera n’enkolagana ennywevu n’entegeka ye.—Zab. 37:28; Bar. 8:38, 39; Kub. 2:10.
2 Olw’ensonga ennungi, omutwe “Mubeere Bakulu mu Kutegeera” gwakulaakulanyizibwa mu programu y’olukuŋŋaana olw’enjawulo olw’olunaku olumu omwaka oguwedde. Gwali gwesigamiziddwa ku 1 Abakkolinso 14:20, we tusoma ebigambo by’omutume Pawulo: “Ab’oluganda, temubanga baana bato mu magezi: naye mu ttima mubeerenga baana bawere, naye mu magezi mubeerenga bakulu.” Programu eyo wagirowoozaako ki?
3 “Ng’etuzizzaamu nnyo amaanyi!” “Ekyo kyennyini kye tubadde twetaaga!” Ebyo bye bimu ku bigambo abantu bye baayogera. N’omusajja atali Mujulirwa eyajja mu lukuŋŋaana olw’enjawulo olw’olunaku olumu okulaba muwala we ow’emyaka 12 ng’abatizibwa, yagamba nti programu eyo yamukwatako nnyo era nti yalaba engeri bw’eyinza okubeera ey’omuganyulo eri amaka ge. Bw’otyo naawe bw’owulira? Ka tujjukire ezimu ku nsonga enkulu ezaali mu lukuŋŋaana olwo.
4 Okumanya Okutuufu Kwetaagisa Okusobola Okukulaakulanya Obusobozi bw’Okutegeera: Mu kwogera okwasooka, “Kulaakulanya Kati Obusobozi Bwo obw’Okutegeera,” kiki omwogezi kye yaggumiza ekyetaagisa mu kwolekagana n’ebizibu ebiriwo ennaku zino? Kyetaagisa ekisingawo ku kubeera obubeezi n’amagezi. Twetaaga okweyongera okukulaakulanya obusobozi bwaffe obw’okutegeera Baibuli. Singa tetukola tutyo, tuyinza okuwangulwa ebibi byonna ebitwetoolodde. Okusobola okufuna okutegeera ng’okwo, twetaaga obulagirizi bwa Katonda. Okufaananako omuwandiisi wa Zabbuli, tuteekwa okusaba Yakuwa atuyambe okutegeera amateeka ge ne by’atujjukiza tusobole okumuweereza n’omutima gwonna.—Zab. 119:1, 2, 34.
5 Mu mboozi eyaddako, omulabirizi w’ekitundu yakiraga nti, Yakuwa, okuyitira mu Kigambo kye n’entegeka ye, atuwa “Ebituyamba Okubeera Abakulu mu Kutegeera Baibuli.” Okutegeera kwannyonnyolebwa nga “obusobozi bw’okumanya ensonga mu bujjuvu era n’engeri gye ziyinza okukwataganyizibwamu. Mu ngeri eyo, tuba tusobola okugimanyira ddala.” Ani ayinza okutuyamba okukulaakulanya obusobozi obwo? Yakuwa atuwadde ebirabo mu bantu okutuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo. (Bef. 4:11, 12) Entegeka ye ey’oku nsi etukubiriza okusoma Ekigambo kye buli lunaku era n’okubeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina obutayosa. (Zab. 1:2) Tuyigirizibwa engeri y’okukozesaamu Baibuli n’ebitabo byaffe eby’Ekikristaayo nga tweyigiriza ffekka, mu kuyiga kw’amaka, ne mu kweteekerateekera enkuŋŋaana n’obuweereza bw’ennimiro. Obadde okozesa enteekateeka zino zonna? Olina enteekateeka ey’okweyigiriza Baibuli obutayosa? Kino kikulu nnyo nnaddala bwe tuba nga twagala okukuumibwa tuleme okutwalirizibwa endowooza y’ensi, emitindo n’emisono gyayo.—Bak. 2:6-8.
6 Tuteekwa Okutendeka Obusobozi Bwaffe obw’Okutegeera: Mu mboozi ye eyasooka eyalina omutwe “Kuuma Embeera Ennungi ey’Eby’Omwoyo ng’Otendeka Obusobozi Bwo obw’Okutegeera,” omwogezi omugenyi yannyonnyola nti abo abali mu nsi tebasobola kwawulawo kituufu na kikyamu. (Is. 5:20, 21) Ekyo kiri kityo kubanga bagaana okugoberera emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. Okubaawukanako, ffe abafunye okutendekebwa mu by’omwoyo mu ntegeka ya Yakuwa, tukkiriza emitindo gya Katonda, era tugigoberera mu byonna bye tukola. Bwe kityo, tusobola okumanya ekirungi era ekikkirizibwa mu maaso ga Yakuwa era nga kituukagana ne by’ayagala.—Bar. 12:2.
7 Okusobola okwewala endowooza y’ensi etali nnungi era n’ebibi ebivaamu, tuteekwa okweyongera okutendeka obusobozi bwaffe obw’okutegeera. Ekyo kiyinza kukolebwa kitya? Nga bwe kiri mu Abaebbulaniya 5:12-14, omutume Pawulo yaggumiza obwetaavu bw’okulya ekisingawo ku ‘mata’ ag’ekigambo kya Katonda. Twetaaga emmere enkalubo ey’eby’omwoyo. Ate oluvannyuma tuteekwa okubeera abeetegefu okukozesa bye tuyiga mu bulamu bwaffe. Bwe tukola bwe tutyo, tuba bakakafu ku butuufu bw’emitindo n’emisingi gya Yakuwa. Ekyo kitendeka obusobozi bwaffe obw’okutegeera ne tusobola okwawula ekirungi n’ekibi.
8 Eky’ennaku, abamu baddiridde mu by’omwoyo. Lwaki? Ebirowoozo byabwe tebabitadde ku bintu ebirungi era ebirongoofu mu maaso ga Yakuwa. N’ekivuddemu, batwaliriziddwa programu z’oku ttivi ne rediyo ezibaamu ebintu ebikontana n’Ebyawandiikibwa, ennyimba embi oba ebintu ebibi ku kompyuta. Bwe tweyisa mu ngeri ey’amagezi, tetujja kutwalirizibwa abantu ababi abeenyigira mu mpisa ez’obugwenyufu oba abasirusiru.—Nge. 13:20; Bag. 5:7; 1 Tim. 6:20, 21.
9 Abavubuka Bateekwa ‘Okubeera Abato ku Bikwata ku Kibi’: Programu eno yalimu ebitundu bibiri ebyakubiriza abavubuka okukulaakulanya obusobozi bwabwe obw’okutegeera. Aboogezi baakiraga nti okubeera ‘abawere ku bikwata ku bubi’ kitegeeza obutakola bintu ebitali birongoofu mu maaso ga Yakuwa. (1 Kol. 14:20) Ffenna twakubirizibwa okwegendereza engeri gye tukozesaamu ebiseera byaffe, tusobole okwewala okweyanika eri obubi obwa buli ngeri era n’obutatwalirizibwa bubi ng’obwo. (Bef. 5:15-17) Twakubirizibwa okubalirira ebiseera bye tumala nga tusoma ebitabo ebitalina kye bituyamba mu kweyongera okukula mu by’omwoyo. Ekyo wakikola? Ebyavaamu byayoleka ki? Okwongereza ku kusoma Baibuli buli lunaku, beera mumalirivu okweyongera okusoma ebitabo byonna entegeka ya Yakuwa by’etuwa. Okukola ekyo kijja kutuyamba ffenna nga mw’otwalidde n’abato ‘okufuna okutegeera.’—Nge. 4:7-9.
10 “Ganyulwa mu Kugoberera Emisingi gya Baibuli ng’Okozesa Okutegeera”: Ogwo gwe gwali omutwe gw’emboozi eyasembayo ey’olukuŋŋaana olw’enjawulo olw’olunaku olumu. Omwogezi omugenyi yannyonnyola nti Yakuwa ye Nsibuko y’okumanya okuwa obulamu, era okusinga okumanya kwonna abantu kwe balina. Fumiitiriza ku ky’okubeera n’omukisa ogw’okufuna okumanya kwa Yakuwa! Akuwa abo abakunoonya n’abamusaba mu bwesimbu. (Nge. 2:3-5, 9; 28:5) Okozesa omukisa ogwo gw’atuwadde?
11 Twakubirizibwa okuyiga engeri y’okutegeeramu emisingi nga tusoma Baibuli. (2 Tim. 3:16, 17) Gisome n’obwegendereza okusobola okufuna okumanya okutuufu okukwata ku ebyo Yakuwa by’agamba. Waayo ebiseera okufumiitiriza ku misingi egyo gisobole okunywera mu birowoozo byo ne mu mutima gwo. Ekyo kijja kutendeka obusobozi bwo obw’okutegeera osobole okusalawo obulungi ku bintu ebibaawo mu bulamu. (Yos. 1:8) Ka twekenneenye embeera ezimu abantu bangi ze boolekaganye nazo, tulabe engeri okukozesa emisingi gya Baibuli bwe kiyinza okutuyamba okusalawo n’amagezi.
12 ‘Nkoppe omusono ogumu ogw’okwambala n’okwekolako?’ Emisono gy’ensi egikwata ku nnyambala n’okwekolako gitera okwoleka omwoyo ogw’obwewagguzi. Omwoyo ng’ogwo guleetera abantu okwambala mu ngeri eraga nti tebeefiirayo era etasaana oba esikiriza mu by’okwetaba. Misingi ki emirungi egy’omu Baibuli eginaatuyamba obutatwalirizibwa bintu ng’ebyo? Nga tumaze okutendeka obusobozi bwaffe obw’okutegeera, tujja kulowooza ku musingi ogusangibwa mu 1 Timoseewo 2:9, 10, awatukubiriza ‘okwambalanga ebyambalo ebisaana, mu ngeri esaanira abantu abeeyita abatya Katonda.’ Emisingi emirala egy’omuganyulo gitwaliramu egyo egiri mu 2 Abakkolinso 6:3 ne Abakkolosaayi 3:18, 20.
13 ‘Kiki kye nnyinza okukola okunyweza enkolagana ennungi mu maka gange?’ Empuliziganya ennungi mu b’omu maka kintu kikulu nnyo. Yakobo 1:19 watugamba: “Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, alwengawo okwogera, alwengawo okusunguwala.” Ab’omu maka beetaaga okuwuliriza era n’okwogera buli muntu ne munne kubanga empuliziganya ey’omu maka tebeera ya muntu omu. Kye twogera ne bwe kiba nga kituufu, singa kyogerwa mu ngeri ey’obukambwe, ey’amalala oba mu ngeri etali ya magezi, mu kifo ky’okuvaamu ebirungi, kireetawo buleesi bizibu. N’olwekyo, ka tube nga tuli baami mu maka oba bakyala, bazadde oba abaana, bye twogera bisaanidde okuba nga bya “kisa era nga binoga omunnyo.”—Bak. 4:6.
14 ‘Okuluubirira ebintu kulina kye kunkolako?’ Okuluubirira eby’obugagga kupikirizibwa okuli mu nsi okuyinza okuleeta ebizibu mu bulamu bw’omuntu. Tekuyamba muntu kufuna ssanyu mu bulamu. (Mub. 5:10; Luk. 12:15; 1 Tim. 6:9, 10) Okusobola okutuyamba okwewala emitego gy’okuluubirira eby’obugagga, Yesu yatuyigiriza omusingi guno omukulu: Beera n’eriiso eriraba awamu. Okusobola okubeera n’obulamu obulungi, era obwangu, kitwaliramu okukulembeza ebintu by’Obwakabaka ebirala byonna ne biba mu kifo eky’okubiri.—Mat. 6:22, 23, 33.
15 Ekirina Okuba Ekiruubirirwa Kyaffe: Mu Kigambo kya Katonda tusangamu emisingi egy’obutuukirivu egiyinza okutuyamba nga tulina kye tusalawo. Twetaaga okumanya emisingi egyo, tugifumiitirizeeko era tugitegeere n’engeri y’okugikozesaamu mu bulamu bwaffe. Bwe ‘tutendeka obusobozi bwaffe obw’okutegeera ne tuba nga tusobola okwawulawo ekirungi n’ekibi,’ tujja kuganyulwa era tujja kussa ekitiibwa mu Yakuwa.—Beb. 5:14.