LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w05 8/1/05 lup. 8-12
  • ‘Mukakasize Ddala Ekyo Kye Muli’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Mukakasize Ddala Ekyo Kye Muli’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “Mwekebere Mwekka oba nga Muli mu Kukkiriza”
  • ‘Mukakasize Ddala Ekyo Kye Muli’
  • Sanyukira Okukola Katonda by’Ayagala
  • Fuba Okukula mu by’Omwoyo—“Olunaku lwa Yakuwa Olukulu Luli Kumpi”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Kulaakulanya Obusobozi Bwo obw’Okutegeera
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • “Mwezimbire Ku Musingi ogw’Okukkiriza Kwammwe Okutukuvu Ennyo”
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Weeyongere Okutendeka Obusobozi Bwo obw’Okutegeera
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 8/1/05 lup. 8-12

‘Mukakasize Ddala Ekyo Kye Muli’

‘Mwekebere mwekka oba nga muli mu kukkiriza; mukakasize ddala ekyo kye muli.’​—2 ABAKKOLINSO 13:5, NW.

1, 2. (a) Kiki ekiyinza okubaawo singa tutandika okubuusabuusa enzikiriza zaffe? (b) Mbeera ki eyali mu kibiina ky’e Kkolinso eyinza okuba nga ye yaviirako abamu okubuusabuusa ekkubo ettuufu?

OMUSAJJA omu aliko gy’alaga, asanga amasaŋŋanzira. Nga tamanyi kkubo linamutuusa gy’agenda, abuuza abayise okumulagirira. Kyokka, buli omu ky’amugamba tekikwatagana na kya munne. Ng’asobeddwa, alemererwa okweyongerayo ku lugendo lwe. Naffe tuyinza okufaananako omusajja oyo singa tutandika okubuusabuusa enzikiriza zaffe. Okubuusabuusa ng’okwo kuyinza okutulemesa okusalawo obulungi, ne tulemererwa okutegeera ekkubo ettuufu.

2 Mu kyasa ekyasooka, Abakristaayo ab’omu kibiina ky’e Kkolinso eky’omu Buyonaani, baafuna ekizibu kye kimu. “Abatume abakulu ennyo” baali bawakanya omutume Pawulo, nga bagamba nti: “Ebbaluwa ze nzibu, za maanyi; naye bw’abaawo omubiri gwe munafu, n’okwogera kwe si kintu.” (2 Abakkolinso 10:7-12; 11:5, 6) Endowooza ng’eyo eyinza okuba nga yaleetera abamu ku abo abaali mu kibiina ky’e Kkolinso okubuusabuusa ekkubo ettuufu.

3, 4. Lwaki okubuulirira Pawulo kwe yawa Abakkolinso naffe kutukwatako?

3 Pawulo yatandikawo ekibiina ky’e Kkolinso bwe yakyalayo awo nga mu 50 C.E. Yamalayo “omwaka [gumu] n’emyezi mukaaga, ng’abayigiriza ekigambo kya Katonda.” N’ekyavaamu, ‘Abakkolinso bangi baawulira ne bakkiriza era ne babatizibwa.’ (Ebikolwa 18:5-11) Pawulo yali afaayo nnyo ku mbeera ey’eby’omwoyo eya bakkiriza banne abaali mu Kkolinso. Ng’oggyeko ekyo, Abakkolinso baali bamuwandiikidde nga bamusaba okubawa amagezi ku nsonga emu. (1 Abakkolinso 7:1) Bwe kityo, yabawa okubuulira okwali okulungi ennyo.

4 Pawulo yabagamba nti: ‘Mwekebere mwekka oba nga muli mu kukkiriza; mukakasize ddala ekyo kye muli.’ (2 Abakkolinso 13:5, NW) Ab’oluganda abo abaali mu Kkolinso bwe bandigoberedde okubuulira okwo, kyandibayambye obutabuusabuusa ekkubo ettuufu. Naffe bwe tugoberera okubuulirira okwo tujja kuganyulwa mu ngeri y’emu. Kati olwo, tuyinza tutya okukolera ku kubuulirira kwa Pawulo? Tuyinza tutya okukakasa obanga tuli mu kukkiriza? Era, biki ebizingirwa mu kukakasiza ddala ekyo kye tuli?

“Mwekebere Mwekka oba nga Muli mu Kukkiriza”

5, 6. Kiki kye tusinziirako okwekebera obanga tuli mu kukkiriza era lwaki kye kisingayo okuba ekirungi?

5 Mu kukebera ekintu kyonna, walina okubaawo omutindo ogusinziirwako okukikebera. Wano ekikeberwa si kwe kukkiriza oba enjigiriza zaffe, wabula ye ffe fennyini kinnoomu. Tulina omutindo ogutuukiridde kwe tusinziira okwekebera. Dawudi omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Etteeka lya Mukama lyatuukirira, erikomyawo emmeeme: okutegeeza kwa Mukama kunywevu, okuwa abasirusiru amagezi. Okuyigiriza kwa Mukama kwa butuukirivu, okusanyusa omutima: ekiragiro kya Mukama kirongoofu, ekyakira amaaso.” (Zabbuli 19:7, 8) Baibuli erimu amateeka ga Yakuwa agatuukiridde. Obubaka obugirimu kwe tusinziira okwekebera.

6 Ng’ayogera ku bubaka bwa Katonda obwo obwaluŋŋamizibwa, omutume Pawulo yagamba: “Ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga ekitala kyonna eky’obwogi obubiri, era kiyitamu n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo, ennyingo n’obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n’okufumiitiriza okw’omu mutima.” (Abaebbulaniya 4:12) Yee, tusobola okukozesa Ekigambo kya Katonda okukebera ekyo ekiri mu mitima gyaffe, kwe kugamba ekyo kye tuli munda. Tuyinza tutya okukozesa Ekigambo kya Katonda ekisala okusinga ekitala? Omuwandiisi wa zabbuli annyonnyola bulungi engeri gye tuyinza okukikozesaamu okukebera emitima gyaffe. Agamba: ‘Alina omukisa oyo asanyukira amateeka ga Yakuwa, agalowoolezaamu emisana n’ekiro.’ (Zabbuli 1:1, 2) ‘Amateeka ga Yakuwa’ gasangibwa mu Kigambo kye, Baibuli. N’olwekyo tuteekwa okwettanira okukisoma. Tusaanidde okuwaayo ebiseera okukisoma n’okukifumiitirizaako. Bwe tukisoma, tusaanidde okulaba obanga tukolera ku ebyo ebikirimu.

7. Tuyinza tutya okwekebera oba nga tuli mu kukkiriza?

7 Ekintu ekisookera ddala ekinaatuyamba okwekebera oba nga tuli mu kukkiriza, kwe kusoma Ekigambo kya Katonda, ne tukifumiitirizaako, oluvannyuma ne tulaba obanga enneeyisa yaffe etuukana n’ebyo bye tusomye. Kya ssanyu nti tulina bingi ebisobola okutuyamba okutegeera obulungi Ekigambo kya Katonda.

8. Ebitabo ‘by’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ bituyamba bitya okwekebera obanga tuli mu kukkiriza?

8 Yakuwa atuyigiriza era atuwa obulagirizi ng’ayitira mu bitabo ebikubibwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” ebinnyonnyola obulungi Ebyawandiikibwa. (Matayo 24:45) Ng’ekyokulabirako, weetegereze akabokisi akali ku nkomerero ya buli ssuula mu katabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, akalina omutwe “Ebibuuzo eby’Okufumiitirizako.”a Ebibuuzo ebyo nga bisobola okutuyamba okwekebera obulungi! Ate era, waliwo ebitundu bingi mu Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!, ebituyamba okwekebera obanga tuli mu kukkiriza. Ng’ayogera ku bitundu ebinnyonnyola ekitabo ky’Engero ebyali mu Omunaala, omukyala omu Omukristaayo yagamba: “Ebitundu ebyo biŋŋanyudde nnyo. Binnyambye okutegeera obanga enjogera yange, enneeyisa yange, n’endowooza yange bituukagana n’emisingi gya Yakuwa egy’obutuukirivu.”

9, 10. Biki Yakuwa by’atuwadde okutuyamba okwekebera obanga tuli mu kukkiriza?

9 Ate era, tufuna obulagirizi n’okuzzibwamu amaanyi mu nkuŋŋaana z’ekibiina, n’enkuŋŋaana ennene. Zino ze zimu ku nteekateeka ez’eby’omwoyo Katonda z’ataddewo okuyamba abantu be Isaaya be yalagulako nti: “Awo olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma, olusozi olw’ennyumba ya Mukama lulinywezebwa ku ntikko y’ensozi era luligulumizibwa okukira ensozi; era amawanga gonna galikulukutira ku lwo. Era amawanga mangi agalyambuka ne googera nti Mujje, twambuke eri olusozi lwa Mukama, eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; era anaatuyigirizanga ku makubo ge, naffe tunaatambuliranga mu mpenda ze.” (Isaaya 2:2, 3) Mazima ddala tulina omukisa gwa maanyi okuyigirizibwa amakubo ga Yakuwa.

10 Ekintu ekirala ekisobola okutuyamba okwekebera, kwe kubuulirira okutuweebwa abo abakuze mu by’omwoyo nga mw’otwalidde n’abakadde Abakristaayo. Baibuli ebakubiriza bw’eti: “Ab’oluganda, omuntu bw’alabibwanga ng’ayonoonye, mmwe ab’omwoyo mumulongoosenga ali bw’atyo mu mwoyo gw’obuwombeefu; nga weekuuma wekka naawe olemenga okukemebwa.” (Abaggalatiya 6:1) Nga tuli basanyufu nnyo okuba n’abantu ng’abo abatuzzaamu amaanyi!

11. Kiki kye twetaaga okukola okusobola okukakasa obanga tuli mu kukkiriza?

11 Ebitabo byaffe, enkuŋŋaana z’Ekikristaayo, n’abakadde, bye bimu ku ebyo Yakuwa by’atuwadde okutuyamba. Okusobola okutegeera obanga tuli mu kukkiriza, twetaaga okwekebera. N’olwekyo, bwe tuba tusoma ebitabo byaffe oba nga tuwuliriza okubuulirira okw’omu Byawandiikibwa, tusaanidde okwebuuza: ‘Kino kikwata ku nze? Kye nkola? Nnyweredde ku njigiriza z’Ekikristaayo?’ Engeri gye tutwalamu ebyo ebituyigirizibwa okuyitira mu nteekateeka ezo, erina kinene ky’ekola ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo. Baibuli egamba: “Omuntu ow’omukka obukka takkiriza bya Mwoyo gwa Katonda: kubanga bya busirusiru gy’ali, . . . Naye omuntu ow’omwoyo akebera byonna.” (1 Abakkolinso 2:14, 15) Tetwandisiimye nnyo ebyo bye tusoma mu bitabo byaffe, mu magazini, bye tuyigirizibwa mu nkuŋŋaana n’okubuulirira okutuweebwa abakadde?

‘Mukakasize Ddala Ekyo Kye Muli’

12. Okusobola okukakasa ekyo kye tuli kizingiramu ki?

12 Okusobola okukakasa ekyo kye tuli, kyetaagisa okwekebera. Yee, tusobola okubeera mu mazima, naye, tuli banywevu kwenkana wa mu by’omwoyo? Okukakasa ekyo kye tuli kizingiramu okukola ebyo ebiraga nti tuli bakulu mu by’omwoyo era tusiima ebintu eby’omwoyo.

13. Okusinziira ku Abaebbulaniya 5:14, kiki ekiraga nti tuli bakulu mu by’omwoyo?

13 Tuyinza tutya okulaga nti tuli Bakristaayo abakuze mu by’omwoyo? Omutume Pawulo yawandiika: “Naye emmere enkalubo ya bakulu, abalina amagezi agayigirizibwa olw’okugakoza okwawulanga obulungi n’obubi.” (Abaebbulaniya 5:14) Tusobola okukakasa nti tukuze mu by’omwoyo nga tutendeka obusobozi bwaffe obw’okutegeera. Ng’omuddusi bw’asooka okutendekebwa nga tannaba kugenda mu mpaka, n’obusobozi bwaffe obw’okutegeera bulina okutendekebwa nga tweyambisa emisingi gya Baibuli.

14, 15. Lwaki twandifubye okwesomesa ebintu eby’omunda ebiri mu Kigambo kya Katonda?

14 Okusobola okwawulawo ekituufu n’ekikyamu tulina okusooka okufuna okumanya. Okusobola okukola kino, tulina okufuba okwesomesa. Singa twesomesa obutayosa​—naddala ne tusoma ku bintu eby’omunda ennyo ebiri mu Ekigambo kya Katonda,​—tujja kusobola okugaziya obusobozi bwaffe obw’okutegeera. Okumala emyaka mingi wabaddewo ebintu eby’omunda bingi ebibadde bifulumira mu Omunaala. Bwe tusanga ebitundu ng’ebyo, tubitwala tutya? Tubyewala olw’okuba birimu ebintu “ebizibu okutegeera”? (2 Peetero 3:16) Nedda. Mu kifo ky’okubyewala, twandifubye okutegeera ebitundu ebyo.​—Abaefeso 3:18.

15 Ate kiri kitya singa tukaluubirirwa okwesomesa? Kiba kirungi ne tugezaako nga bwe tusobola okubisoma.b (1 Peetero 2:2) Okusobola okukula mu by’omwoyo, kyetaagisa okwemanyiiza okulya mmere enkalubo ey’omu Kigambo kya Katonda. Bwe tutagirya, tetujja kusobola kwongera ku busobozi bwaffe obw’okutegeera. Kyokka, okulaga nti tuli bakulu mu by’omwoyo, kisingawo ku kuba n’obusobozi bw’okutegeera. Kizingiramu okussa mu nkola bye tuyiga.

16, 17. Kubuulirira ki omutume Yakobo kw’awa okukwata ku kuba ‘abakozi b’ekigambo’?

16 Ekintu ekirala ekisobola okutuyamba okukakasa ekyo kye tuli bye bikolwa ebyoleka nti tusiima amazima, kwe kugamba, ebikolwa ebyoleka okukkiriza. Yakobo yakozesa ekyokulabirako ekirungi ekiraga engeri gye tuyinza okwekeberamu. Yagamba: “Naye mubeerenga bakozi ba kigambo, so si bawulizi buwulizi, nga mwerimbalimba. Kubanga omuntu yenna bw’aba omuwulizi w’ekigambo, so nga si mukozi, oyo afaanana ng’omuntu eyeeraba amaaso ag’obuzaaliranwa bwe mu ndabirwamu: kubanga yeeraba n’agenda, amangu ago ne yeerabira bw’afaananye. Naye atunula mu mateeka amatuukirivu ag’eddembe n’anyiikiriramu, nga si muwulizi ayeerabira naye mukozi akola, oyo anaawebwanga omukisa mu kukola kwe.”​—Yakobo 1:22-25.

17 Wano Yakobo akukubiriza ‘okutunula mu ndabirwamu y’Ekigambo kya Katonda osobole okwekebera. Weekebere ng’osinziira ku ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda. Toyanguwa kwerabira ekyo ky’olabye. Tereeza awaba weetaagisa okutereeza.’ Kyokka, Ebiseera ebimu kiyinza obutaba kyangu okugoberera amagezi gano.

18. Lwaki kiyinza obutaba kyangu kugoberera kubuulira kwa Yakobo?

18 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mulimu gw’okubuulira Obwakabaka. Pawulo yawandiika: “Kubanga omuntu akkiriza na mutima okuweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa okulokoka.” (Abaruumi 10:10) Okusobola okwatula obulokozi n’akamwa kaffe, kyetaagisa okukola enkyukakyuka eziwerako. Abasinga obungi ku ffe tekitwanguyira kubuulira. N’olwekyo okusobola okukola omulimu guno n’obunyiikivu n’okuguteeka mu kifo kyagwo ekituufu mu bulamu, kyetaagisa okwerekereza n’okukola enkyukakyuka eziwerako. (Matayo 6:33) Kyokka, bwe tutandika okukola omulimu guno Katonda gw’atuwadde, tufuna essanyu olw’okuba omulimu guno guleetera Yakuwa ettendo. Tubuulira n’obunyiikivu obubaka bw’Obwakabaka?

19. Ebikolwa byaffe eby’okukkiriza bizingiramu ki?

19 Ebikolwa byaffe eby’okukkiriza bizingiramu ki? Pawulo agamba: “Bye mwayiga era ne muweebwa ne muwulira ne mulaba gye ndi, ebyo mubikolenga: ne Katonda ow’emirembe anaabeeranga nammwe.” (Abafiripi 4:9) N’olwekyo, tukakasa ekyo kye tuli nga tussa mu nkola bye twayiga, bye twakkiriza, bye twawulira, ne bye twalaba​—byonna ebizingirwa mu kutuukiriza okwewaayo kw’Ekikristaayo, n’okubatizibwa. “Lino lye kkubo, mulitambuliremu” bw’atyo Yakuwa bw’atukubiriza ng’ayitira mu kitabo kya Isaaya.​—Isaaya 30:21.

20. Bantu ba ngeri ki abayamba ennyo ekibiina?

20 Abasajja n’abakazi abanyiikivu mu kwesomesa Ekigambo kya Katonda, mu kubuulira amawulire amalungi, abakuuma obugolokofu era abawagizi ab’Obwakabaka abanyiikivu, ba mugaso nnyo eri ekibiina. Bakola kinene nnyo mu kunyweza ebibiina bye balimu. Baba ba mugaso nnyo naddala mu bibiina omulimu abappya abangi abeetaaga okuyambibwa. Bwe tugoberera okubuulira kwa Pawulo ne ‘twekebera obanga tuli mu kukkiriza, era ne tukakasiza ddala ekyo kye tuli,’ tujja kusobola okuyamba abalala.

Sanyukira Okukola Katonda by’Ayagala

21, 22. Kiki ekiyinza okutukubiriza okukola Katonda by’ayagala?

21 Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda yagamba: “Nsanyuka okukola by’oyagala, ai Katonda wange; weewaawo, amateeka go gali mu mutima gwange munda.” (Zabbuli 40:8) Dawudi yasanyukiranga okukola Katonda by’ayagala. Lwaki? Kubanga yakuumira amateeka ga Yakuwa mu mutima gwe. Dawudi yali amanyi bulungi ekkubo ly’asaanidde okutambuliramu.

22 Naffe bwe tukuumira amateeka ga Katonda mu mitima gyaffe, tuba tumanyi bulungi ekkubo ery’okutambuliramu. Tuba twagala nnyo okukola Katonda by’ayagala. N’olwekyo ka ‘tufube’ okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna.​—Lukka 13:24.

[Obugambo obuli wansi]

a Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

b Okusobola okufuna amagezi ku ngeri y’okwesomesaamu, laba empapula 27-32 ez’ekitabo Benefit From Theocratic Ministry School Education, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

Ojjukira?

• Tuyinza tutya okwekebera obanga tuli mu kukkiriza?

• Kiki ekizingirwa mu kukakasiza ddala ekyo kye tuli?

• Tukakasiza ku ki nti tuli Bakristaayo abakuze mu by’omwoyo?

• Mu ngeri ki ebikolwa byaffe eby’okukkiriza gye biyinza okutuyamba okumanya kye tuli?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Omanyi engeri esingirayo ddala okutuyamba okwekebera oba nga tuli mu kukkiriza?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Tulaga nti tuli Bakristaayo abakuze mu by’omwoyo nga tutendeka obusobozi bwaffe obw’okutegeera

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 11]

Tusobola okukakasa ekyo kye tuli nga ‘tetuba bawulize abeerabira, naye nga tuba bakozi ba kigambo’

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share