Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Noovemba 12
Oluyimba 22
Ddak. 8: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Langa enteekateeka y’obuweereza bw’ennimiro eya wiikendi.
Ddak. 15: “Weesige Yakuwa Okufuna Amaanyi.”a Baako ebirala by’oyogera mu bufunze okuva mu Watchtower aka Okitobba 1, 1999, empapula 18-19, obutundu 6-8.
Ddak. 22: “Weegendereze Enjogera Ezikyase Ezeesigamiziddwa ku Ndowooza Enkyamu.” Kya kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza ng’akubaganya ebirowoozo n’abawuliriza.
Oluyimba 85 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Noovemba 19
Oluyimba 76
Ddak. 8: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 22: “Kulaakulanya Obusobozi Bwo obw’Okutegeera.”b Omukadde akubiriza n’ebbugumu ekitundu ekikwata ku programu y’olukuŋŋaana olw’enjawulo olw’olunaku olumu olwaliwo mu mwaka gw’obuweereza oguyise.
Oluyimba 87 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Noovemba 26
Oluyimba 79
Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Ababuulizi bonna bajjukize okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza bw’ennimiro ez’omwezi gwa Noovemba. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri mu kitundu “Kye Tulina Okwogera nga Tugaba Magazini,” laga ebyokulabirako bibiri ebitegekeddwa obulungi ku ngeri y’okugabamu magazini. Ekimu ng’okozesa Watchtower aka Ddesemba 1 n’ekirala ng’okozesa Awake! aka Ddesemba 8 oba magazini yonna empya eri mu kibiina. Oluvannyuma nnyonnyola engeri y’okufunamu ennyanjula ez’okukozesa mu kugaba brocuwa yonna ey’empapula 32 eri mu kibiina mu mwezi gwa Ddesemba. Watch Tower Publications Index bwe zibaawo mukebere wansi w’omutwe “Ennyanjula” era ne ku mutwe omutono “Olukalala lw’Ebitabo.” Waayo ekyokulabirako kimu oba bibiri. Bonna bakubirize okukozesa tulakiti eziri mu kibiina buli kiseera.
Ddak. 15: “Wa We Nnyinza Okuggya Ebiseera?” Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abakuwuliriza. Gattako ensonga enkulu eziri mu Watchtower aka Okitobba 1, 2000, empapula 20-1, obutundu 9-10, wansi w’omutwe “Engeri Abamu Gye Bafunamu Ebiseera Okuyiga.” Saba abawuliriza boogere engeri gye bafunyeemu ebiseera okusobola okukola ku bintu ebisingayo obukulu nga balekayo ebiteetaagisa. Ggumiza obwetaavu bw’omuntu okukola entegeka y’okweyigiriza yekka, okuyiga ng’amaka, okubeera mu nkuŋŋaana z’ekibiina, okubeera mu buweereza bw’ennimiro n’okusoma Baibuli obutayosa.
Ddak. 15: Abato Batendereza Yakuwa. Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Ebibiina bingi birina abato bangi abeenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Kibagwanira okukola bwe batyo wadde ng’ebiseera ebisinga obungi kiyinza okubeetaagisa okubuulira abantu abakulu. (Zab. 148:12, 13; Mat. 21:15, 16) Abazadde n’ababuulizi abalala bwe babatendeka era ne babazzaamu amaanyi, abato abo bafuna essanyu lingi nnyo mu buweereza bw’ennimiro. Saba abawuliriza bawe amagezi ku ngeri gye bayinza okukolamu n’abato nga babuulira nnyumba ku nnyumba ne mu kuddiŋŋana. Saba abazadde boogere ku kye bakoze okuyamba abaana baabwe okuyiga engeri y’okugabamu magazini, okukozesa Baibuli nga babuulira era n’okwogera n’obuvumu nga bali mu maka g’abantu. Ggumiza emiganyulo egiva mu kwebaza abaana abato. Buuza ebibuuzo omubuulizi omu omuto oba babiri era basabe boogere ku kye banyumirwa mu mulimu gw’okubuulira ne lwaki.
Oluyimba 68 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ddesemba 3
Oluyimba 89
Ddak. 8: Ebirango by’ekibiina.
Ddak. 17: Ebiri mu Katabo Reasoning. Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Mwekenneenye ebyokulabirako ebiddirira ebiraga engeri ebiri mu katabo ako bwe biri eby’omuganyulo mu kunnyonnyola enjigiriza za Baibuli: Gamba nga ennyinnyonnyola y’ekigambo “Obwakabaka” (empapula 225-6) oba “omwoyo” (empapula 380); okugeraageranya enkyusa ezitali zimu okusobola okulaba mu kifo ki era mu ngeri ki erinnya lya Katonda gye likozesebwamu mu Baibuli (empapula 191-3) oba amazima agakwata ku hell (empapula 169-70); enkalala ezinnyonnyola enjigiriza ezitwawulawo ku madiini amalala (empapula 199-201) n’eziraga engeri omuntu gy’ayinza okumanyaamu eddiini ey’amazima (empapula 328-30); ebyafaayo ebiraga ensibuko ya Ssekukkulu (empapula 176-8) n’ebikwata ku Bakristaayo obutabaako ludda mu by’obufuzi (empapula 273-5); obujulizi obulaga nti sayansi awagira okutondebwa (empapula 85-6) oba obulaga akabi akali mu kukozesa enjaga oba taaba (empapula 108-11). Kubiriza ababuulizi okukozesa akatabo kano akalungi ennyo mu kuyigiriza buli lwe bafuna akakisa nga bali mu buweereza bw’ennimiro.
Ddak. 20: “Emiganyulo Egiva mu Kusiima Okwagala kwa Yakuwa—Ekitundu 1.”c Nga mukubaganya ebirowoozo ku butundu 3-6, saba ekibiina kyogere ku byokulabirako ebizzaamu amaanyi bye baafuna nga babuulira nnyumba ku nnyumba, ku nguudo, mu kuddiŋŋana ne mu mulimu gw’okuyigiriza abantu Baibuli.
Oluyimba 88 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obwa wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukozese okubuuza ebibuuzo n’okuddamu.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukozese okubuuza ebibuuzo n’okuddamu.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukozese okubuuza ebibuuzo n’okuddamu.