Programu Empya ey’Olukuŋŋaana olw’Enjawulo olw’Olunaku Olumu
Omutwe gw’olukuŋŋaana olw’enjawulo olw’olunaku olumu olw’omwaka gw’obuweereza omuppya, gwesigamiziddwa ku Kyawandiikibwa: ‘Mugonderenga Katonda, Naye Mulwanyisenga Setaani.’ (Yak. 4:7, NW) Obwo bulagirizi bulungi nnyo mu biseera bino ebizibu ennyo! Bwe tugondera ebiragiro bya Katonda, kituleetera okulwanagana ne Setaani. Programu eno ejja kutuyigiriza engeri y’okuziyizaamu enkwe z’Omulyolyomi eziyinza okusaanyawo okukkiriza kwaffe. Ebimu ku by’omuwendo eby’omwoyo bye tunaafuna mu lukuŋŋaana olwo bye biruwa?
Omulabirizi w’ekitundu ajja kulaga engeri “Okugondera Katonda ng’Amaka” bwe kuyinza okunyweza amaka okuziyiza okupikiriza kw’ensi. Emboozi y’omwogezi omugenyi enaasooka ku lunaku olwo erina omutwe ogugamba: “Okuziyiza Omulyolyomi Kye Kitegeeza.” Ajja kunnyonnyola engeri era n’ensonga lwaki twetaaga okufuba ennyo okuziyiza Setaani aleme kwonoona mbeera yaffe ennungi ey’eby’omwoyo. Wajja kubaawo ebitundu bibiri ebikwatira ddala ku bavubuka, nabo abateekwa okwegendereza enkwe z’Omulyolyomi. Abakristaayo bangi nga kati basajja oba bakazi bakulu baagaana okutwalirizibwa okwegomba kw’ensi nga bakyali bato. Tujja kunyumirwa okubawuliriza nga boogera ku bikwata ku bulamu bwabwe.
Abantu bonna kibeetaagisa okugondera ab’obuyinza. N’olwekyo, emboozi y’omwogezi omugenyi eneesembayo ejja kutangaaza ku bifo bina mwe tulagira nti tugondera Katonda: (1) obuwulize eri gavumenti, (2) mu kibiina, (3) ku mirimu ne (4) mu maka. Ng’enaaba programu nnungi nnyo!
Abo abandyagadde okubatizibwa mu lukuŋŋaana olwo olw’enjawulo olw’olunaku olumu, bateekwa okutegeeza omukadde akubiriza akakiiko k’abakadde amangu ddala nga bwe kisoboka. Ffenna twandirambye olunaku olwo ku kalenda zaffe era tukole enteekateeka okubaawo mu programu y’olukuŋŋaana olwo yonna. Emikisa gye tunaafuna gijja kuba gya mirembe gyonna nga bwe tweyongera okugondera Yakuwa emirembe n’emirembe.