Okwejjukanya Ebibadde Mu Lukuŋŋaana Olunene Olw’enjawulo Olw’olunaku Olumu
Ebibuuzo bye tugenda okukubaganyako ebirowoozo bijja kutuyamba okumanya ebinaaba mu programu y’olukuŋŋaana olunene olw’enjawulo olw’olunaku olumu olunaabaawo mu mwaka gw’obuweereza 2005. Era tujja kubikozesa okwejjukanya bye tunaaba tuyize mu lukuŋŋaana olwo. Ekitundu ekirina omutwe: “Enteekateeka Empya ey’Okwejjukanya Ebibadde mu Lukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu n’olw’Ennaku Ebbiri” ekiri ku lupapula 4, kinnyonnyola engeri ekitundu kino gye kinaakubirizibwamu. Mu kwejjukanya ebiseera byandigabanyiziddwamu bulungi kisobozeseebibuuzo byonna okubuuzibwa. Essira lijja kuteekebwa ku ngeri gye tuyinza okussa mu nkola ebyo bye twayiga.
KU MAKYA
1. Lwaki leero kyetaagisa nnyo okuwuliriza Yakuwa? Okuwuliriza kitegeeza ki? (“Lwaki Twandiwulirizza Eddoboozi lya Yakuwa”)
2. Amaka gasobola gatya okubeera n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo? (“Amaka Agawuliriza Ekigambo kya Katonda Awatali Kuwugulibwa”)
3. Abo abali mu kitundu kyaffe basobodde batya okubuulira embagirawo? (“Okukola Byonna olw’Okuweesa Katonda Ekitiibwa”)
4. Kiki kye tusobola okuyigira ku kulabula okuli mu Abaebbulaniya essuula 3 ne 4 ? Yakuwa ayogera atya naffe leero? (“Okuwuliriza Katonda by’Atugamba Kitukuuma”)
5. Waganyulwa otya mu mboozi ekwata ku kubatizibwa? (“Okwewaayo n’Okubatizibwa”)
OLWEGGULO
6. Kiki kye tuyigira ku Yesu ng’akyali muto, era abato mu kitundu kyaffe bakoppye batya ekyokulabirako kye? (“Engeri Okuwuliriza Ekigambo kya Katonda n’Obwegendereza gye Kiyamba Abavubuka Baffe”)
7. Ngeri ki ezimu abazadde ze bayinza okukozesa okutendeka abaana abato mu makubo ga Yakuwa? (“Abaana Abato Abawuliriza Katonda era ne Bayiga”)
8. Okusingira ddala ddi lwe tusaanidde okuwuliririza Yakuwa, Omwana we, ‘n’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’? (Mat. 24:45) Lwaki kikulu okukola bwe tutyo? (“Weeyongere Okussaayo Omwoyo ku Kuyigiriza kwa Katonda”)