Okwejjukanya Ebibadde Mu Lukuŋŋaana Olunene Olw’ennaku Ebbiri
Bino wammanga bijja kukozesebwa okwogera ku binaaba mu programu y’olukuŋŋaana olw’ennaku ebbiri olw’omwaka gw’obuweereza 2005, era n’okubyejjukanya. Ekitundu ekirina omutwe, “Enteekateeka Empya ey’Okwejjukanya Ebibadde mu Lukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu n’olw’Ennaku Ebbiri,” ekiri ku lupapula 4, kinnyonnyola engeri kino gye kinaakolebwamu. Bwe muba mwejjukanya, gabanyaamu bulungi ebiseera kibasobozese okwekenneenya ebibuuzo byonna. Bwe muba mwejjukanya, essira lirina kuteekebwa ku ngeri gye muyinza okussa mu nkola bye mwayiga.
EKITUNDU EKY’OKU MAKYA KU LUNAKU OLUSOOKA
1. Kiki ekinaatuyamba okufuna amagezi agava eri Katonda?
2. Abo abali mu kitundu kyaffe bafubye mu ngeri ki okusobola okutuusa amawulire amalungi ku bantu bangi?
EKITUNDU EKY’OLWEGGULO KU LUNAKU OLUSOOKA
3. Lwaki kikulu Abakristaayo obutayonoona ndowooza yaabwe? Kino kibeetaagisa kukola ki?
4. Tuyinza tutya okuba mu mirembe ne baganda baffe?
5. Okwoleka okutegeera kye ki, era tuyinza tutya okukulaga mu ngeri gye tukozesaamu ebiseera byaffe?
6. Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako kya Sawulo n’ekya Nuuwa? Ngeri ki mwe tuyinza okulagira nti tuli ‘bawulize’? (Yak. 3:17)
7. Abakristaayo bayinza batya okwewala okutambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri?
8. Tuyinza tutya okukoppa Pawulo nga tubuulira ebikwata ku magezi ga Katonda?
EKITUNDU EKY’OKU MAKYA KU LUNAKU OLW’OKUBIRI
9. Lwaki twandyegenderezza nga tulonda eby’okukola, era kiki ekinaatuyamba okukola kino?
10. Abo abali mu kitundu kyammwe bafubye mu ngeri ki okusobola okubangawo mu nkuŋŋaana zonna, era baganyuddwa batya mu kukola ekyo?
11. Emitwe gy’amaka bayinza batya okuzimba amaka gaabwe?
12. Ekitundu kyaffe kirina byetaago ki ebyayogerwako mu lukuŋŋaana?
EKITUNDU EKY’OLWEGGULO KU LUNAKU OLW’OKUBIRI
13. Nga bwe kyalagibwa mu mboozi ya bonna, bikolwa ki eby’obutuukirivu ebivudde mu magezi agava waggulu?
14. Lwaki kiba kya busiru okwesigama ku kutegeera kwaffe oba ku abo abatagoberera magezi agava eri Katonda? Bintu ki bye tulina okwegendereza?
15. Amagezi agava waggulu gatukuuma kuva ku mitego ki?
16. Lwaki kikulu ffe okussa mu nkola okubuulirira okwaweebwa mu programu y’olukuŋŋaana olunene olw’ennaku ebbiri?