Enteekateeka Empya ey’Okwejjukanya Ebibadde mu Lukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu n’olw’Ennaku Ebbiri
Ng’ensi ya Setaani yeeyongera okwonooneka, Yakuwa atukubiriza ‘okumussaamu ekitiibwa n’okwewala okwegomba okw’omu nsi, tulyoke tubeerenga abalamu mu mirembe egya kaakano mu kwegendereza n’obutuukirivu n’okutya Katonda.’ (Tito 2:12) Mu nteekateeka z’atukolera bulijjo okuyitira mu “muddu omwesigwa era ow’amagezi” mwe muli olukuŋŋaana olunene olw’ennaku ebbiri n’olw’olunaku olumu. (Mat. 24:45) Ng’enkuŋŋaana zino ez’eby’omwoyo zituzzaamu nnyo amaanyi!
Okusobola okutuyamba okujjukira n’okussa mu nkola okubuulirira kwe tufuna, enteekateeka empya ekoleddwa ey’okwejjukanya ebibadde mu olukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu n’olw’ennaku ebbiri mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2005. Ku lupapula 5 ne 6 kuliko ebitundu ebiraga ebyo ebinaabeera ku programu n’ebibuuzo ebinaakozesebwa okwejjukanya ebinaabeera mu nkuŋŋaana ezo. Ebibiina bijja kwekenneenya ensonga zino mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza ng’ebulayo ennaku ntono olukuŋŋaana okutuuka era n’oluvannyuma lw’olukuŋŋaana. Kino kinaakolebwa kitya?
Ng’ebulayo wiiki emu oba bbiri olukuŋŋaana okutuuka, wajja kubaawo emboozi ya ddakiika kumi mu Lukuŋŋaana olw’Obuweereza ng’ekwata ku katundu akalina omutwe “Programu Empya ey’Olukuŋŋaana olw’Ennaku Ebbiri,” kitusobozese okwesunga ebinaaba mu programu y’olukuŋŋaana. Ate era omwogezi ajja kwogera ne ku bibuuzo eby’okwejjukanya era akubirize bonna okubaako ne bye bawandiika nga beeteekerateekera okwejjukanya okunaabaawo wiiki ntono nnyo oluvannyuma lw’olukuŋŋaana.
Nga wayiseewo wiiki ntono nnyo oluvannyuma lw’olukuŋŋaana, eddakiika 15 mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza zijja kukozesebwa okwejjukanya ebyali mu programu y’olunaku olusooka. Wiiki eddako eddakiika 15 zijja kukozesebwa okwejjukanya ebyali mu programu y’olunaku olw’okubiri. Ebibuuzo eby’okwejjukanya ebiri ku lupapula olw’omunda bye bijja okukozesebwa okukubaganya ebirowoozo. Mu kwejjukanya essira lirina kuteekebwa ku ngeri gye tuyinza okuganyulwa mu ebyo bye twayiga. Abakadde basobola okukola enteekateeka ebitundu ebimu eby’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza ne bifunzibwa, oba ne biggibwamu, oba ne bateekateeka okubifuna omulundi omulala kisobozese okwejjukanya okubaawo.
Enteekateeka y’emu y’ejja okugobererwa ku bikwata ku programu y’olukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu, okuggyako, okwejjukanya programu eyo kujja kutwala eddakiika 15. Ffenna kitwetaagisa okutereka olupapula luno olw’omunda tusobole okuganyulwa mu bujjuvu mu kuyigiriza kwa Yakuwa.—Is. 48:17, 18.