Okwekenneenya Ebikwata Ku Lukuŋŋaana Lw’ekitundu
Ebibuuzo bino bya kukozesebwa mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza ng’olukuŋŋaana lw’ekitundu olwa 2006 lunaatera okutuuka era bikubaganyizibweko ebirowoozo amangu ddala nga lwakaggwa. Akubiriza akakiiko k’abakadde ajja kuteekateeka byekenneenyezebwe ng’agoberera ebiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Agusito 2004 ku lupapula 4. Mu kukubaganya ebirowoozo, ebibuuzo byonna birina okubuuzibwa, ng’essira liteekebwa ku ngeri gye tuyinza okussa mu nkola bye twayiga mu lukuŋŋaana lw’ekitundu.
OLUNAKU OLUSOOKA
1. Twambala tutya omuntu omuggya, era lwaki tulina okweyongera okubeera n’omuntu oyo omuggya?
2. Abamu basobodde batya okwongera ku biseera bye bamala mu mulimu gw’okubuulira?
3. Lwaki twandyewaze okwegeraageranya ku balala?
4. Ab’omu maka bayinza batya okwoleka omuntu omuggya?
5. Tuyinza tutya okuwagira ekibiina?
6. Lwaki tusaanidde okwoleka omuntu omuggya mu buweereza bw’ennimiro?
7. Okufumiitiriza kuzingiramu ki, era tuganyulwa tutya bwe tufumiitiriza?
8. Yakuwa okusobola okututereeza nga bw’ayagala tulina kuba na ngeri ki?
OLUNAKU OLW’OKUBIRI
9. Lwaki kikulu okukozesa obulungi olulimi lwaffe?
10. Miganyulo ki egiva mu kukozesa obulungi olulimi lwaffe nga tuli ne bakozi bannaffe, basomi bannaffe, n’abantu abalala?
11. Tuyinza tutya okugoberera okubuulirira kwa Pawulo okuli mu Abaefeso 4:25-32 nga tukolagana ne bakkiriza bannaffe?
12. Olulimi lwaffe twandirukozesezza mu ngeri ki esingayo obulungi?
13. Kiki kye tuteekwa okukola okusobola okuwangula omubi?
14. Bintu ki bye tusaanidde okwewala okusobola okusigala nga tetuliiko bbala lya nsi?
15. Lwaki tuteekwa okuzza obuggya omuntu waffe ow’omunda buli lunaku era ekyo tuyinza kukikola tutya?
16. Kubuulirira ki okuweereddwa mu programu y’olukuŋŋaana olw’ekitundu olw’omwaka guno kw’oteeseteese okussa mu nkola?