Enteekateeka Empya ey’Olukuŋŋaana lw’Ekitundu
Mu nnaku zino ez’enkomerero y’ensi eno embi, kikulu nnyo okukuuma ebyambalo byaffe eby’eby’omwoyo era n’okunywerera ku ekyo kye tuli ng’Abakristaayo. (Kub. 16:15) N’olwekyo, kituukirawo bulungi nti omutwe gw’olukuŋŋaana olw’ekitundu olw’omwaka gw’obuweereza 2006 guli ‘Mwambale Omuntu Omuggya.’—Bak. 3:10.
Olunaku Olusooka: Emboozi ezikwatagana ezisooka, ezirina omutwe “Okwoleka Engeri z’Omuntu Omuggya,” zijja kutulaga engeri okwambala omuntu omuggya gye kituganyula mu mbeera zonna ez’obulamu bwaffe. Tuyinza tutya okwambala omuntu omuggya? Ekyo kijja kwogerwako mu mboozi ebbiri ezinaasembayo ku lunaku olusooka ezirina omutwe “Weemanyiize Okufumiitiriza Obulungi” ne “Okuyigirizibwa Okutuyamba Okwambala Omuntu Omuggya.”
Olunaku olw’Okubiri: Engeri omuntu omuggya gy’atuyamba okukozesa obulungi olulimi nakyo kijja kwogerwako mu mboozi ezikwatagana ezirina omutwe “Okufuna Olulimi lw’Ab’Amagezi.” Emboozi ya bonna erina omutwe “Owangula Omubi?” ejja kulaga obukulu bw’okweyongera okwekuuma obukodyo bwa Setaani. Emboozi ebbiri ezinaasembayo ezirina omutwe “Weekuume Amabala g’Ensi” ne “Okuzza Obuggya Omuntu ow’Omunda Buli Lunaku,” zijja kutuyamba okwewala endowooza n’empisa ebikontana n’emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu era n’okusigala nga tunyweredde ku kusinza Yakuwa.
Nga twesunga nnyo olukuŋŋaana olwo olujja okutukubiriza okwambala omuntu omuggya!